LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w08 6/15 lup. 28
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Laba Ebirala
  • Ekisibo Kimu, Omusumba Omu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Baazaalibwa mu Ggwanga Katonda Lye Yalonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Kyeyolese Nti Obufuzi bwa Yakuwa Bwe Busingayo Obulungi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 6/15 lup. 28

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Omutume Pawulo yagamba nti ‘Abaisiraeri bonna bandirokoleddwa.’ (Bar. 11:26) Yali ategeeza nti ekiseera kyandituuse Abayudaaya bonna ne bafuuka Abakristaayo?

Nedda, ekyo Pawulo si kye yali ategeeza. Ng’eggwanga, bazzukulu ba Ibulayimu ab’omubiri baagana okukkiriza nti Yesu ye Masiya. Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, kyeyoleka bulungi mu myaka egyaddirira nti Abayudaaya bonna ng’eggwanga tebandifuuse Bakristaayo. Wadde kyali kityo, Pawulo kye yayogera nti ‘Abaisiraeri bonna bandirokoleddwa’ kyali kituufu. Mu ngeri ki?

Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya nti: “Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Mat. 21:43) Olw’okuba eggwanga lya Isiraeri okutwalira awamu lyagaana okukkiririza mu Yesu, Yakuwa yali wa kulonda eggwanga eppya, eggwanga ery’omwoyo. Eggwanga lino Pawulo yaliyita “Isiraeri wa Katonda.”​—Bag. 6:16.

Ebyawandiikibwa ebirala eby’Oluyonaani biraga nti “Isiraeri wa Katonda” alimu Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000. (Bar. 8:15-17; Kub. 7:4) Okubikkulirwa 5:9, 10, walaga nti ekibiina kino kyandibaddemu abantu abatali Bayudaaya kubanga wagamba nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bava “mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga.” Abo abali mu Isiraeri ow’omwoyo baalondebwa okuba “obwakabaka era bakabona . . . ; era [ba kufuga ensi].” Wadde Yakuwa yali takyatwala Isiraeri ng’eggwanga eddonde, abantu kinnoomu baali basobola okufuna enkolagana ennungi naye. Bwe kityo bwe kyali ku batume n’Abakristaayo abalala bangi ab’omu kyasa ekyasooka. Kya lwatu nti Abayudaaya ng’abo, okufaananako abantu abalala bonna, baalina okugulibwa n’omusaayi gwa Yesu Kristo.​—1 Tim. 2:5, 6; Beb. 2:9; 1 Peet. 1:17-19.

Eky’okuba nti Abayudaaya ab’omubiri abasinga obungi baafiirwa enkizo ey’okufugira awamu ne Yesu tekyalemesa kigendererwa kya Katonda kutuukirira. Yakuwa yali tasobola kulemererwa kubanga yagamba ng’ayitira mu nnabbi we nti: “Bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”​—Is. 55:11.

Bwe kityo ekigendererwa kya Katonda eky’abantu 144,000 okufugira wamu n’Omwana we mu ggulu kirina okutuukirira. Baibuli ekiraga bulungi nti Katonda yandifuse amafuta ku bantu bonna 144,000. Tekujja kubulako wadde n’omu!​—Kub. 14:1-5.

N’olwekyo, Pawulo bwe yagamba nti ‘Abaisiraeri bonna bandirokoleddwa,’ yali tategeeza nti Abayudaaya bonna bandifuuse Bakristaayo. Yali ategeeza nti ekigendererwa kya Katonda eky’Abaisiraeri ab’omwoyo 144,000 okufugira awamu n’Omwana we Yesu Kristo mu ggulu kyandituukiridde. Mu kiseera kya Katonda ekigereke, omuwendo omujjuvu​—“Abaisiraeri bonna”​—bandirokoleddwa ne bafuga nga bakabaka era bakabona mu Bwakabaka bwa Masiya.​—Bef. 2:8.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Abaafukibwako amafuta bava “mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza