Oli Mwetegefu Okunnyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Yo?
WALI weesanzeeko mu mbeera ekwetaagisa okunnyonnyola abalala ebikwata ku nzikiriza yo? Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Susana, mwannyinaffe ow’emyaka 16 ow’omu Paraguay. Lumu bwe baali mu kibiina nga basoma ne wabaawo omuyizi eyagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiririza mu “Ndagaano Nkadde,” era tebakkiririza mu Yesu Kristo, ne Maria. Era abayizi abamu baagamba nti Abajulirwa waakiri bafa naye nga tebakkirizza kujjanjabibwa. Singa wali ggwe wandikoze ki?
Susana yasaba Yakuwa era n’awanika omukono. Olw’okuba baali banaatera okumala okuyiga, yasaba omusomesa we amukkirize afuneyo olunaku annyonnyole by’akkiririzaamu ng’omu ku Bajulirwa wa Yakuwa. Omusomesa we yakkiriza. Okumalira ddala wiiki bbiri, Susana yateekateeka by’anaayogera ng’akozesa brocuwa eyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa—Be Baani? Kiki Kye Bakkiriza?
Olunaku terwalwa ne lutuuka. Susana yannyonnyola lwaki tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Era yababuulira ku ssuubi lyaffe ery’omu biseera eby’omu maaso, n’abawa n’ensonga lwaki tetukkiriza kuteekebwamu musaayi. Ekyo bwe kyaggwa, yawa bayizi banne akakisa okubuuza ebibuuzo. Abayizi abasinga baawanika emikono. Omusomesa yeewunya nnyo okulaba ng’omuwala ono omuto byonna by’addamu abyesigamya ku Byawandiikibwa.
Omuyizi omu yagamba nti, “Lumu nnagendako mu Kizimbe ky’Obwakabaka, naye ssaalabayo kifaananyi na kimu.” Omusomesa yayagala okumanya lwaki kyali kityo. Susana yasoma Zabbuli 115:4-8 ne Okuva 20:4. Kino omusomesa kyamwewuunyisa nnyo era yabuuza nti, “Lwaki amakanisa gaffe gajjudde ebifaananyi ng’ate Baibuli ebivumirira?”
Okubuuza ebibuuzo n’okubiddamu kyatwala eddakiika 40. Susana bwe yabuuza bayizi banne obanga bandyagadde okulaba vidiyo eyitibwa No Blood—Medicine Meets the Challenge, bonna baddamu nti yee. N’olwekyo, omusomesa yasalawo vidiyo eyo eragibwe ku lunaku oluddako. Vidiyo bwe yaggwa, Susana yannyonnyola engeri z’obujjanjabi Abajulirwa ba Yakuwa abamu ze bakkiriza. Ku nsonga eyo omusomesa yagamba: “Mbadde simanyi nti eriyo engeri endala ez’obujjanjabi nnyingi bwe zityo; era mbadde simanyi miganyulo giri mu kujjanjaba muntu nga tateekeddwako musaayi. Enzijanjaba zino ziba za Bajulirwa ba Yakuwa bokka?” Omusomesa bwe yakimanya nti za buli omu, yagamba, “Abajulirwa ba Yakuwa lwe banadda ewange, nja kubawuliriza.”
Kyatwala essaawa ssatu buli kimu okuggwa, mu kifo ky’eddakiika 20 Susana ze yali ategese. Oluvannyuma lwa wiiki emu, abayizi abalala nabo baayogera eri ekibiina ku nzikiriza zaabwe. Baabuuzibwa ebintu bingi nga bamaze okwogera, naye byabalema okuddamu. Omusomesa yababuuza nti, “Lwaki mwe temusobola kunnyonnyola bikwata ku nzikiriza zammwe nga munnammwe Omujulirwa wa Yakuwa bwe yakola?”
Baamuddamu nti: “Bo basoma nnyo Baibuli. Naye ffe tetugisoma.”
Omusomesa yakyuka n’agamba Susana nti: “Ddala osoma Baibuli era ofuba okukolera ku by’egamba. Ky’okola kirungi nnyo.”
Susana yali akyayinza okusirika n’atabaako ky’ayogera. Naye mu kusalawo okubaako ky’ayogera okugolola abo abaali boogedde ebikyamu ku nzikiriza ye, yafaananako omuwala omuto Omuisiraeri atamanyiddwa linnya eyali yawambibwa Abasuuli. Omuwala oyo yali yatwalibwa mu maka ga Naamani, omudduumizi w’eggye lya Busuuli eyalina obulwadde bw’olususu obubi ennyo. Omuwala oyo Omuisiraeri yeevaamu n’agamba mukka mukama we nti: “Singa mukama wange ali ne nnabbi ali mu Samaliya! kale yandiwonye ebigenge bye.” Omuwala oyo yawulira nga tayinza kusirika n’atawa bujulirwa ku Katonda ow’amazima. Kino kyaviirako mukama we, Naamani, okufuuka omusinza wa Yakuwa.—2 Bassek. 5:3, 17.
Ne Susana bw’atyo yali tasobola kusirika n’atawa bujulirwa ku Yakuwa n’abantu be. Mu kukozesa akakisa ako n’annyonnyola ebikwata ku nzikiriza ye, Susana yali agondera kiragiro kino eky’omu Byawandiikibwa: “Mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe: nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey’okusuubira okuli mu mmwe, naye n’obuwombeefu n’okutya.” (1 Peet. 3:15) Bw’ofuna akakisa okunnyonnyola ebikwata ku nzikiriza yo, oli mwetegefu okukikola?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Bino biyinza okukuyamba okunnyonnyola enzikiriza yo