LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w03 5/1 lup. 11-16
  • Abavubuka—Yakuwa Tagenda Kwerabira Mirimu Gyammwe!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abavubuka—Yakuwa Tagenda Kwerabira Mirimu Gyammwe!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Emitwe emitono
  • Okusiima Enkizo Yo ey’Ekitalo
  • “Yakuwa Ajja Kukuyamba”
  • ‘Weeteeketeeke Okuddamu’
  • Vidiyo n’Eby’Okunoonyerezaako eby’Enjawulo
  • Ng’Omuvubuka, Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
w03 5/1 lup. 11-16

Abavubuka​—Yakuwa Tagenda Kwerabira Mirimu Gyammwe!

“Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.”​—ABAEBBULANIYA 6:10.

1. Ebitabo bya Baibuli ekya Abaebbulaniya ne Malaki biraga bitya nti Yakuwa asiima obuweereza bwo?

WALI okoleddeko mukwano gwo ekintu ekirungi kyokka n’atakwebaza? Kiruma nnyo singa omuntu omukolera ekintu ekirungi kyokka n’atakisiima oba n’akyerabirira ddala. Naye nga kya njawulo nnyo naddala bwe tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna! Baibuli egamba: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.” (Abaebbulaniya 6:10) Lowooza ku ekyo kye kitegeeza. Yakuwa yandikitutte ng’obutali bwesigwa ku ludda lwe oba ekibi singa yeerabira bye wakola n’ebyo by’okola mu buweereza bwe. Nga Katonda asiima nnyo!​—Malaki 3:10.

2. Kiki ekifuula okuweereza Yakuwa okuba eky’enjawulo ennyo?

2 Olina enkizo ey’enjawulo okusinza n’okuweereza Katonda ono omusanyufu. Okuva bwe waliwo bakkiriza bano obukadde nga mukaaga bwokka bw’obageraageranya n’obuwumbi bw’abantu nga mukaaga abali mu nsi yonna, enkizo gy’olina tesangikasangika. Okwongereza ku ekyo, olw’okuba owuliriza era n’okolera ku bubaka bw’amawulire amalungi, bukakafu obulaga nti Yakuwa akufaako kinnoomu. Ate era Yesu yagamba: ‘Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamusembeza.’ (Yokaana 6:44) Yee, Yakuwa ayamba abantu kinnoomu okuganyulwa mu ssaddaaka ya Kristo.

Okusiima Enkizo Yo ey’Ekitalo

3. Batabani ba Koola baayoleka batya okusiima kwe baalina olw’enkizo ey’okuweereza Yakuwa?

3 Nga bwe kyogeddwako mu kitundu ekiwedde, olina enkizo ya njawulo okusanyusa omutima gwa Yakuwa. (Engero 27:11) Kino kye kintu ky’otalina kubuusa maaso. Mu emu ku Zabbuli ezaaluŋŋamizibwa ze baawandiika, batabani ba Koola baayoleka okusiima kwabwe olw’enkizo gye baalina ey’okuweereza Yakuwa. Tusoma bwe tuti: “Olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange okusinga okutuula mu weema ez’obubi.”​—Zabbuli 84:10.

4. (a) Kiki ekiyinza okuleetera abamu okulowooza nti okusinza Yakuwa kikugira? (b) Yakuwa akiraga atya nti afaayo okuwa abaweereza be empeera ?

4 Bw’otyo naawe bw’owulira olw’enkizo gy’olina ey’okuweereza Kitaawo ow’omu ggulu? Kituufu nti, emirundi egimu okusinza Yakuwa kuyinza okulabika ng’okukugira. Era kituufu nti okugoberera emisingi gya Baibuli kyetaagisa okwefiiriza. Kyokka, ekikulu kiri nti, buli Yakuwa ky’akusaba okukola, kiganyula gwe. (Zabbuli 1:1-3) Okugatta ku ekyo, Yakuwa alaba okufuba kwo era asiima obwesigwa bwo. Mu butuufu, Pawulo yawandiika nti Yakuwa “ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Ekyo Yakuwa ky’ayagala okukola. Nnabbi omutuukirivu mu Isiraeri ey’edda yagamba bw’ati: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”​—2 Ebyomumirembe 16:9.

5. (a) Ngeri ki emu ku ezo ezisingayo obulungi mw’oyinza okulagira nti omalidde omutima gwo ku Yakuwa? (b) Lwaki kiyinza okulabika ng’ekizibu okutegeeza abalala enzikkiriza yo?

5 Engeri emu ku ezo ezisingayo obulungi mw’oyinza okulagira nti omutima gwo ogumalidde ku Yakuwa, kwe kutegeeza abantu ebimukwatako. Waali ofunye omukisa okwogera n’abamu ku basomi banno ebikwata ku nzikkiriza yo? Okusooka, okubuulira kuyinza okukutiisa. Oyinza okwebuuza, ‘Kiba kitya singa bansekerera? Kiba kitya singa baŋŋamba nti eddiini yange tebagitegeera?’ Yesu yagamba nti abantu bonna tebandiwuliriza bubaka bw’Obwakabaka. (Yokaana 15:20) Kyokka, kino tekitegeeza nti buli kiseera ojja kuvumibwanga oba nti bajja kugaananga by’oyogera. Okwawukana ku ekyo, abavubuka bangi Abajulirwa ba Yakuwa bafunye abantu ababawuliriza era basiddwamu ekitiibwa bannaabwe olw’okunywerera ku nzikiriza zaabwe.

“Yakuwa Ajja Kukuyamba”

6, 7. (a) Omuwala ow’emyaka 17 yasobola atya okuwa basomi banne obujulirwa? (b) Kiki ky’oyize okuva ku kyokulabirako kya Jennifer?

6 Naye oyinza otya okufuna obuvumu okwogera ku nzikkiriza yo? Lwaki tomalirira kutegeeza balala ebikwata ku ddiini yo singa bakubuuza? Lowooza ku kyokulabirako kya Jennifer ow’emyaka 17. Agamba: “Nnali ku kya misana ku ssomero. Abawala be nnali ntudde nabo ku mmeeza baatandika okwogera ku ddiini, era omu ku bo kye yava ambuuza eddiini gye ndimu.” Jennifer yakwatibwa ensonyi okuddamu? “Yee,” bw’atyo bw’agamba, “kubanga nnali simanyi kiki ekyandivuddemu.” Kati olwo Jennifer yakola ki? “Nnategeeza abawala abo nti ndi omu ku Bajulirwa ba Yakuwa,” bw’atyo bw’ayongerezaako. “Okusooka, baalabika ng’abawuniikiridde ennyo. Kirabika kino kyava ku ndowooza gye baalina nti Abajulirwa ba Yakuwa bantu abatategeerekeka. Kino kyabaleetera okumbuuza ebibuuzo, era nnasobola okutereeza ezimu ku ndowooza enkyamu ze baalina. Era n’oluvannyuma lw’olunaku olwo, abamu ku bawala abo baantuukiriranga enfunda n’enfunda ne bambuuza ebibuuzo.”

7 Jennifer yejjusa olw’okuba yakozesa omukisa ogwo okwogera ku nzikkiriza ze? Si bwe kiri! Agamba bw’ati: “Nnawulira bulungi nnyo oluvannyuma lw’eky’emisana. Kati abawala abo balina ekifaananyi ekituufu ku Bajulirwa ba Yakuwa.” Amagezi Jennifer gaawa mangu: “Singa okisanga nga kizibu okubuulira abaana b’osoma nabo oba omusomesa wo, saba. Yakuwa ajja kukuyamba. Ojja kuba musanyufu olw’okukozesa obulungi akakisa k’oba ofunye okubuulira.”​—1 Peetero 3:15.

8. (a) Okusaba kwayamba kutya Nekkemiya bwe yayolekagana n’embeera eyali tesuubirwa? (b) Mbeera ki ku ssomero eyinza okukwetaagisa okusaba Yakuwa mu kasirise?

8 Weetegereze: Jennifer agamba nti singa wabaawo akakisa ak’okubuulira abalala ebikwata ku nzikkiriza yo, saba. Kino kyennyini Nekkemiya omusenero wa Kabaka Alutagizerugizi, owa Buperusi kye yakola bwe yayolekagana n’embeera gye yali tasuubira. Nekkemiya yali munakuwavu nnyo kubanga yali ategeezeddwa ebizibu by’Abayudaaya era yali akitegedde nti bbugwe wa Yerusaalemi agudde. Kabaka yalaba nga Nekkemiya mwennyamivu era n’amubuuza omutawaana ogwali gumutuuseeko. Nga tannaba kumuddamu, Nekkemiya yasaba Katonda amuwe obulagirizi. Awo mu ngeri ey’obuvumu, yasaba akkirizibwe okuddayo e Yerusaalemi ayambe mu kuddamu okuzimba ekibuga ekyali kigudde. Alutagizerugizi yakkiriza Nekkemiya okukola kye yasaba. (Nekkemiya 2:1-8) Kiki kye tuyiga mu ekyo? Singa owulira ng’otya okuwa obujulirwa ng’obadde ofunye akakisa, tobuusa maaso mukisa gw’olina ogw’okusaba mu kasirise. Peetero yawandiika: “Mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye [abafaako].”​—1 Peetero 5:7; Zabbuli 55:22.

‘Weeteeketeeke Okuddamu’

9. Leah ow’emyaka 13 yasobola atya okugaba obutabo 23 obwa Young People Ask?

9 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Leah, ow’emyaka 13 yali asoma akatabo Questions Young People Ask​—Answers That Worka mu kiseera eky’eky’emisana ku ssomero. Agamba: “Waaliwo abaali bandaba. Era mangu ddala ekibinja ky’abaana bajja ne bayimirira we nnali ne batunuulira kye nnali nsoma. Baatandika okumbuuza akatabo ako kye kaali koogerako.” Olunaku we lwagwerako, abawala bana baali bamaze okusaba Leah okubawa kopi z’obutabo Young People Ask. Mangu ddala, abawala abo baatandika okusomera awamu akatabo ako n’abawala abalala, era nabo ne baagala okufuna kopi zaabwe. Mu wiiki ntono ezaddirira, Leah yagabira basomi banne ne mikwano gye obutabo bwa Young People Ask 23. Leah kyamwanguyira okutegeeza banne ebyali mu katabo bwe baamubuuza? N’akatono! Agamba: “Okusooka nnatya. Kyokka, nnasaba, era nnali manyi nti Yakuwa ali wamu nange.”

10, 11. Omuwala omuto Omuisiraeri yasobola atya okuyamba omukulu w’amagye ga Busuuli okuyiga ebikwata ku Yakuwa, era nkyukakyuka ki ze yakola oluvannyuma?

10 Ekyokulabirako kya Leah kiyinza okukujjukiza embeera efaananako bw’etyo eyatuuka ku muwala omuto Omuisiraeri eyatwalibwa mu buwambe mu Busuuli. Naamani, omukulu w’amagye ga Busuuli, yali mugenge. Kiyinzika okuba nti mukyala we ye yatandika okunyumya emboozi eyaleetera omuwala omuto okwogera ku kukkiriza kwe. “Singa mukama wange ali ne nnabbi ali mu Samaliya! Kale yandiwonye ebigenge bye.”​—2 Bassekabaka 5:1-3.

11 Olw’okuba omuwala ono omuto yalina obuvumu, Naamani yategeera nti “tewali Katonda mulala mu nsi zonna wabula mu Isiraeri.” N’okusalawo yasalawo mu mutima gwe ‘obutaddamu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka eri bakatonda abalala wabula eri Yakuwa.’ (2 Bassekabaka 5:15, 17) Mazima ddala, Yakuwa yawa omukisa obuvumu bw’omuwala oyo omuto. Asobola era ajja kukolera abato ekintu kye kimu leero. Era bwe kityo bwe kyali eri Leah. Nga wayiseewo ekiseera, abamu ku basomi banne baamutuukirira ne bamugamba nti akatabo Young People Ask kaali kabayamba okukyusa empisa zaabwe. Leah agamba: “Nnali musanyufu kubanga nnamanya nti nnali nnyamba abalala okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa era nga mbayamba okukyusa engeri z’obulamu bwabwe.”

12. Osobola otya okufuna obuvumu okwogera ku nzikkiriza zo?

12 Ebyo ebyatuuka ku Leah ne Jennifer naawe bisobola okukutuukako. Goberera okubuulirira kwa Peetero, eyawandiika nti ng’Omukristaayo osaanidde buli kiseera ‘okubeera omwetegefu okuddamu buli muntu akubuuza ensonga ey’okusuubira okuli mu ggwe, naye n’obuwombeefu n’okutya.’ (1 Peetero 3:15) Ekyo osobola kukikola otya? Koppa ekyokulabirako ky’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaasaba Yakuwa abayambe okubuulira ‘n’obuvumu.’ (Ebikolwa 4:29) Ate era beera n’obuvumu okwogera n’abalala ku nzikkiriza zo. Ebivaamu biyinza okukwewuunyisa. Ate era ojja kusanyusa omutima gwa Yakuwa.

Vidiyo n’Eby’Okunoonyerezaako eby’Enjawulo

13. Mikisa ki abavubuka abamu gye bakozesezza okusobola okuwa obujulirwa? (Laba obusanduuko ku mpapula 14 ne 15.)

13 Abavubuka bangi bannnyonnyodde bayizi bannaabwe n’abasomesa ku ssomero ebikwata ku nzikkiriza zaabwe nga bakozesa vidiyo. Ebiseera ebimu amasomo ag’okunoonyerezaako nago gabawadde omukisa ogw’okutendereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, abavubuka babiri ab’emyaka 15, nga bombi Bajulirwa ba Yakuwa, baasabibwa okuwandiika alipoota ekwata ku emu ku ddiini eziri mu nsi yonna. Abavubuka bombi baakolera wamu ne bawandiika lipoota ku Bajulirwa ba Yakuwa nga bakozesa ekitabo Jehovah’s Witnesses​—Proclaimers of God’s Kingdom.b Era baali balina okuwaayo lipoota endala ey’eddakiika ttaano nga boogera bwogezi. Oluvannyuma, abayizi baabuuza ebibuuzo bingi era ne kiviirako abavubuka abo okuyimirira mu maaso g’ekibiina okumala eddakiika endala 20. Mu wiiki endala ezaddirira, basomi bannaabwe beeyongera okubabuuza ebibuuzo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa!

14, 15. (a) Lwaki okutya abantu kyambika? (b) Lwaki tewanditidde kutegeeza balala nzikiriza zo?

14 Ng’ebyokulabirako ebiwedde bwe biraze, osobola okufuna emikisa mingi ng’obuulira abalala ku by’okkiriza ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Tokkiriza kutya bantu kukulemesa kufuna nkizo n’essanyu ebiva mu kuyamba abalala okutegeera Yakuwa. Baibuli egamba: “Okutya abantu kuleeta ekyambika: naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.”​—Engero 29:25.

15 Kijjukire nti ng’omuvubuka Omukristaayo, olina ekintu bavubuka banno kye beetaaga ennyo, kwe kugamba, obulamu obulungi kaakano n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso. (1 Timoseewo 4:8) Ekyewuunyisa kiri nti, mu Amerika gy’oyinza okulowooza nti abantu tebeefiirayo era nti basinga kufaayo ku bintu ebitali bya ddiini, kyazuulibwa mu kunoonyereza okumu okwakolebwa nti kimu kya kubiri eky’abavubuka bafaayo nnyo ku ddiini, era kimu kya kusatu ku bo bagamba nti “eddiini kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwabwe. Kirabika embeera bw’etyo bw’eri ne mu bitundu ebirala eby’ensi. Kiyinzika okuba nti, bavubuka banno ku ssomero bajja kuba basanyufu okuwulira by’oyogera ku Baibuli.

Ng’Omuvubuka, Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa

16. Kiki ekizingirwa mu kusanyusa Yakuwa ng’oggyeko okumwogerako eri abalala?

16 Kya lwatu, okusanyusa omutima gwa Yakuwa kizingiramu ekisingawo ku kumwogerako obwogezi. Era olina okutuukanya empisa zo n’emitindo gye. Omutume Yokaana yawandiika: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Kino kijja kukubeerera kyangu singa ofuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. Ekyo oyinza kukikola otya?

17. Osobola otya okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa?

17 Funa ebiseera okusoma Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako. Gy’onookoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gye kijja okukoma okukubeerera ekyangu okumugondera era n’okumwogerako eri abalala. Yesu yagamba: “Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery’omutima gwe; n’omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.” (Lukka 6:45) N’olwekyo, Jjuzza omutima gwo n’ebintu ebirungi. Lwaki tossaawo ebiruubirirwa ku nsonga eno? Oboolyawo oyinza okulongoosaamu mu ngeri gye weeteekerateekeramu enkuŋŋaana z’ekibiina wiiki ejja. Ekiruubirirwa ekirala kiyinza okuba okwenyigira mu kubaako ky’oddamu ekimpimpi naye nga kiviiridde ddala ku mutima. Kya lwatu, kikulu nnyo okussa mu nkola ebintu by’oyiga.​—Abafiripi 4:9.

18. Ne bw’oba ng’oziyizibwa, osobola kuba mukakafu ku ki?

18 Emikisa egiva mu kuweereza Yakuwa gya lubeerera. Kyo kituufu nti, ebiseera ebimu oyinza okuziyizibwa oba okuvumibwa olw’okuba oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Naye lowooza ku Musa. Baibuli egamba nti “yeekaliriza empeera.” (Abaebbulaniya 11:24-26) Naawe osobola okuba n’obuvumu nti Yakuwa ajja kukuwa empeera olw’okufuba okuyiga ebimukwatako era n’okumwogerako eri abalala. Mazima ddala, tajja “kwerabira mulimu gwo n’okwagala kwe walaga eri erinnya lye.”​—Abaebbulaniya 6:10.

[Obugambo obuli wansi]

a Kakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

b Kikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ojjukira?

• Lwaki oyinza okuba omukakafu nti Yakuwa atwala obuweereza bwo nga bwa muwendo?

• Ngeri ki ez’okubuulira ku ssomero abamu ze basanze nga nnungi?

• Oyinza otya okufuna obuvumu okubuulira basomi banno?

• Osobola otya okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa?

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]

N’Abato Ennyo Batendereza Yakuwa!

N’abaana abatannatuuka mu myaka gya butiini basobodde okuwa obujulirwa ku ssomero. Weekenneenye ebyokulabirako bino ebimpimpi.

Amber, ow’emyaka ekkumi era ng’ali mu kibiina kya kutaano, yali asoma akatabo akakwata ku ngeri Abanazi gye baatulugunyamu Abayudaaya mu kiseera kya Ssematalo II. Amber yasalawo okutwalira omusomesa we vidiyo eyitibwa Purple Triangles. Omusomesa kyamwewuunyisa nnyo okumanya nti n’Abajulirwa ba Yakuwa baayigganyizibwa mu bufuzi bw’Abanazi. Omusomesa yalaga ekibiina kyonna vidiyo eyo.

Ng’aweza emyaka 8, Alexa yawandiikira ekibiina kye ebbaluwa n’abannyonnyola ensonga lwaki teyandibeegaseeko mu kukuza Ssekukkulu. Omusomesa we yakwatibwako nnyo era n’asaba Alexa asomere ekibiina kye awamu n’ebirala bibiri ebbaluwa eyo! “Nnayigirizibwa okussa ekitiibwa mu bantu abalala abatali ba nzikkiriza yange, era mbeebaza olw’okussa ekitiibwa mu kusalawo kwange okw’obutakuza Ssekukkulu,” bw’atyo bwe yayogera ku nkomerero y’ebbaluwa ye.

Amangu ddala nga yakatandika ekibiina eky’okubiri, Eric yatwala Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli ku Ssomero era n’asaba bamukkirize akirage bayizi banne. Omusomesa we yagamba: “Nnina ekirowoozo ekirungi. Lwaki tosomerayo ekibiina olugero?” Eric yakola bw’atyo. Oluvannyuma, yasaba bonna abaali baagala kopi y’ekitabo ekyo okuwanika emikono gyabwe. Abantu 18 ng’otwaliddemu n’omusomesa, baawanika emikono gyabwe! Kati Eric awulira nti alina ekitundu eky’enjawulo ekikye ku bubwe eky’okubuuliramu.

Whitney ow’emyaka 9 musanyufu nnyo olw’akatabo Jehovah’s Witnesses and Education.c Agamba bw’ati: “Maama wange atera okuwa abasomesa bange akatabo ako buli mwaka, naye omwaka guno, nze nnakabawa. Olw’akatabo ako, omusomesa wange yannonda okuweebwa ekirabo ng’omwana asinze okubeera ow’empisa ennungi mu wiiki eyo.”

[Obugambo obuli wansi]

c Ebitabo byonna ebyogeddwako bikubibwa Bajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]

Embeera Ezimu Abamu Ze Bakozesezza Okwogera ku Nzikiriza Yaabwe

Nga basabiddwa okubaako bye bawandiika oba okwogerako ku ssomero, abamu balonze omutwe ogubasobozesezza okuwa obujulirwa

Abavubuka bangi bawadde abasomesa baabwe vidiyo oba ekitabo ekikwata ku nsonga eba ekubaganyizibwako ebirowoozo mu kibiina

Abavubuka abamu bwe baba basoma Baibuli oba ekitabo ekigyesigamiziddwako mu biseera eby’okuwummulamu, abavubuka abalala babatuukiridde ne bababuuza ebibuuzo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Abalina obumanyirivu basobola okutendeka abavubuka okuweereza Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza