Ebirimu
Maayi 15, 2008
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Jjuuni 30, 2008–Jjulaayi 6, 2008
Tusaanidde Kuyisa Tutya Abalala?
OLUPAPULA 3
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 15, 29
Jjulaayi 7-13, 2008
OLUPAPULA 7
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 7, 65
Jjulaayi 14-20, 2008
Obwakabaka bwa Katonda Buli Kumpi Okutununula!
OLUPAPULA 12
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 81, 53
Jjulaayi 21-27, 2008
Salawo Okuweereza Yakuwa ng’Okyali Muto
OLUPAPULA 17
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 68, 99
Jjulaayi 28–Agusito 3, 2008
Kulaakulana mu by’Omwoyo ng’Okoppa Ekyokulabirako kya Pawulo
OLUPAPULA 21
ENNYIMBA EZINAAKOZESEBWA: 50, 52
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
Ebitundu eby’Okusoma 1, 2 OLUPAPULA 3-11
Mu kubuulira kwe okw’Oku Lusozi okumanyiddwa ennyo, Yesu yalaga omugaso gw’okuba abateefu, abasaasizi, era abatabaganya. Yakubiriza abagoberezi be ‘okuleka omusana gwabwe okwaka’ era yalaga engeri gye tulina okuyisaamu abalabe baffe n’abantu abalala.
Ekitundu eky’Okusoma 3 OLUPAPULA 12-16
Lowooza ku ngeri gy’oyinza okunnyonnyolamu lwaki leero okununulibwa kwetaagibwa nnyo okusinga bwe kyali kibadde. Wekkaanye engeri gy’oyinza okulagamu nti Yakuwa ye Mununuzi Omukulu n’okulaga abalala nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okununula olulyo lw’omuntu.
Ebitundu eby’Okusoma 4, 5 OLUPAPULA 17-25
Lwaki abavubuka basaanidde okuweereza Katonda? Basobola okutuukiriza okwewaayo kwabwe eri Yakuwa wadde ng’abalala bayinza obutakitwala bulungi? Nkizo ki ez’obuweereza ze bayinza okuluubirira? Ekyokulabirako ky’omutume Pawulo kiyinza kitya okuyamba bonna abali mu kibiina okukulaakulana mu by’omwoyo? Ebibuuzo ng’ebyo ebikulu biddibwamu mu bitundu bino ebibiri.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
Noonya “Obutukuvu mu Kutya Katonda”
OLUPAPULA 26
Engeri Akakiiko Akafuzi gye Kategekeddwamu
OLUPAPULA 29
Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume
OLUPAPULA 30