LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w08 2/15 lup. 16-20
  • Koppa Omuminsani Eyasinga Bonna

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Koppa Omuminsani Eyasinga Bonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • “Twaleka Byonna, ne Tukugoberera”
  • Yakuwa Atutendeka
  • Okuyigiriza Okutuuka ku Mutima
  • Koppa Endowooza Yesu gye Yalina ku Bantu
  • Weeyongere Okukoppa Kristo
  • Yesu Kristo—Omuminsani Eyasinga Bonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Olaba Obwetaavu bw’Okutendeka Abalala?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • ‘Kolanga Omulimu gw’Omubuulizi w’Enjiri’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • ‘Jjangu Ongoberere’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 2/15 lup. 16-20

Koppa Omuminsani Eyasinga Bonna

“Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.”​—1 KOL. 11:1, NW.

1. Lwaki tusaanidde okukoppa Yesu Kristo?

OMUTUME Pawulo yakoppa Yesu Kristo, Omuminsani eyasinga bonna. Pawulo era yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.” (1 Kol. 11:1, NW) Yesu bwe yamala okuyigiriza abatume be obwetoowaze ng’abanaaza ebigere, yabagamba nti: “Mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.” (Yok. 13:12-15) Ng’Abakristaayo, tulina okukoppa Yesu Kristo mu bye twogera, bye tukola ne mu ngeri gye tweyisaamu.​—1 Peet. 2:21.

2. Ne bw’oba ng’Akakiiko Akafuzi tekakusindikanga kuweereza nga muminsani, mwoyo ki gw’osobola okuba nagwo?

2 Mu kitundu ekyaggwa, twayiga nti omuminsani ye muntu aba atumiddwa okugenda okubuulira abalala amawulire amalungi. Pawulo yabuuza ebibuuzo ebituwa eky’okulowoozaako ku nsonga eno. (Soma Abaruumi 10:11-15.) Yagamba: “Baliwulira batya awatali abuulira?” Oluvannyuma yajuliza ebigambo ebiri mu bunnabbi bwa Isaaya: “Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey’ebirungi!” (Is. 52:7) Ne bwe kiba nti tewasindikibwa mu nsi ndala kuweereza nga muminsani, osobola okuba omubuulizi omunyiikivu ow’amawulire amalungi ng’olabira ku Yesu. Omwaka oguwedde, ababuulizi b’Obwakabaka 6,957,852 ‘baakola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri’ mu nsi 236.​—2 Tim. 4:5.

“Twaleka Byonna, ne Tukugoberera”

3, 4. Biki Yesu bye yaleka mu ggulu, era tulina kukola ki okusobola okubeera abagoberezi be?

3 Okusobola okutuukiriza omulimu gwe ku nsi, Yesu “yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu,” n’aleka ekitiibwa kye n’obulamu bwe obw’omu ggulu. (Baf. 2:7) Ne bwe tukola ki, tetuyinza kukoppa Yesu kutuuka ku ekyo kye yakola okusobola okujja ku nsi. Naye tuyinza okusigala nga tuli banywevu ng’abagoberezi be, nga tetwejjusa olw’ebyo bye twaleka mu nsi ya Setaani.​—1 Yok. 5:19.

4 Lumu, omutume Peetero yagamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera.” (Mat. 19:27) Yesu bwe yayita Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana, amangu ago baaleka obutimba bwabwe, ne bamugoberera. Baaleka bizineesi yaabwe ey’obuvubi ne bafuuka ababuulizi. Okusinziira ku Njiri ya Lukka, Peetero yagamba nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.” (Luk. 18:28) Abasinga obungi ku ffe tetwalina kuleka ‘byaffe’ byonna okusobola okugoberera Yesu. Kyokka, twalina ‘okwefiiriza’ okusobola okufuuka abagoberezi ba Kristo n’okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. (Mat. 16:24) Tufunye emikisa mingi olw’okukola bwe tutyo. (Soma Matayo 19:29.) Bwe tukoppa Kristo ne tuba banyiikivu mu kubuulira tufuna essanyu lingi, naddala bwe tuyamba omuntu okufuna enkolagana ennungi ne Katonda era n’Omwana we.

5. Waayo ekyokulabirako ekiraga ekyo omugwira ky’ayinza okukola bw’ayiga amazima ga Baibuli.

5 Valmir, omusajja enzaalwa y’omu Brazil eyali abeera mu Suriname, yali musimi wa zaabu. Yali anywa nnyo omwenge era nga mwenzi nnyo. Lumu bwe yali mu kibuga ekimu, Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okumusomesa Baibuli. Yasomanga buli lunaku, yakola enkyukyuka eziwerako era oluvannyuma lw’ekiseera kitono n’abatizibwa. Bwe yakiraba nti omulimu gwe gwali tegumusobozesa kussa bulungi mu nkola misingi gya Baibuli, yatunda bizineesi ye eyali emuleetera ssente ennyingi n’addayo e Brazil okuyamba ab’omu maka ge okuyiga amazima. Abagwira bangi bwe bayiga amazima ga Baibuli baleka emirimu gyabwe mu nsi engagga ne baddayo mu nsi gye baava bayambe ab’eŋŋanda zaabwe n’abalala okuyiga amazima. Ababuulizi b’Obwakabaka ng’abo bakyoleka nti ddala balina omwoyo gw’okubuulira.

6. Kiki kye tuyinza okukola singa tuba tetusobola kugenda mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako?

6 Abajulirwa abawerako basobodde okugenda mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako. Abamu basazeewo n’okugenda okubuulira mu nsi endala. Ffe tuyinza okuba nga tetusobola kugenda kuweereza mu bitundu birala, naye tuyinza okukoppa Yesu nga tufuba okukola ekisingayo mu buweereza bwaffe.

Yakuwa Atutendeka

7. Masomero ki agaliwo okuyamba abo abaagala okwongera ku busobozi bwabwe ng’abalangirizi b’Obwakabaka?

7 Nga Yesu bwe yatendekebwa Kitaawe, naffe tuyinza okuganyulwa mu kutendekebwa Yakuwa leero. Yesu kennyini yagamba nti: “Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda.” (Yok. 6:45; Is. 54:13) Leero, waliwo amasomero agateekeddwawo okutuyamba okuba abalangirizi b’Obwakabaka abalungi. Awatali kubuusabuusa, ffenna mu ngeri emu oba endala tuganyuddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda eribeerawo buli wiiki mu bibiina gye tukuŋŋaanira. Bapayoniya balina enkizo okugenda mu Ssomero lya Bapayoniya. Bapayoniya bangi abaludde nga baweereza bafunye enkizo okugenda mu ssomero eryo omulundi ogw’okubiri. Abakadde n’abaweereza batendekeddwa mu Ssomero ly’Obuweereza okusobola okulongoosa mu ngeri gye bayigirizaamu n’engeri gye baweerezaamu bakkiriza bannaabwe. Abakadde n’abaweereza bangi abakyali obwannamunigina bayise mu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde, eribatendeka okuyamba abalala mu mulimu gw’okubuulira. Era bangi ku b’oluganda abaweereza ng’abaminsani mu nsi endala baatendekebwa mu Ssomero lya Giriyaadi.

8. Ab’oluganda abamu beefiiriza ki okusobola okuganyulwa mu kutendekebwa Yakuwa?

8 Abajulirwa ba Yakuwa bangi bakoze enkyukakyuka nnyingi okusobola okugenda mu masomero gano. Okusobola okugenda mu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde mu Canada, Yugu yaleka omulimu gwe kubanga mukama we yagaana okumuwa olukusa okugenda mu ssomero eryo. Yugu agamba nti: “Kye nnakola saakyejjusa. Mu butuufu, singa baali bampadde olukusa okugenda, bandinsuubidde okusigala nga nkolera kampuni eyo. Naye kati nsobola okuweereza wonna Yakuwa w’aba antumye.” Okusobola okuganyulwa mu kutendekebwa Katonda, bangi beefiirizza bingi bye baali batwala ng’ebikulu mu bulamu.​—Luk. 5:28.

9. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okutendekebwa okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa awamu n’okufuba birina kye biyamba omuntu.

9 Okutendekebwa okwesigamiddwa ku Byawandiikibwa n’okufuba okw’amaanyi birina kye biyamba omuntu. (2 Tim. 3:16, 17) Weetegereze ekyokulabirako kya Saulo ow’omu Guatemala. Yazaalibwa alina ekizibu ku bwongo, era omu ku basomesa be yagamba nnyina nti tasaanidde kukaka mwana we kuyiga kusoma kubanga ekyo kijja kumuyisa bubi. Bw’atyo Saulo yava mu ssomero nga tamanyi kusoma. Kyokka, Omujulirwa yayigiriza Saulo okusoma nga yeeyambisa akatabo Apply Yourself to Reading and Writing. Ekiseera bwe kyayitawo, Saulo yakulaakulana n’atuuka okuwa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Lumu maama wa Saulo bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba yasanga omusomesa wa Saulo. Bwe yawulira nti Saulo yali amanyi okusoma, omusomesa yagamba maama we akomewo naye wiiki eddako. Wiiki eyaddako Saulo bwe yagenda mu maka g’omusomesa, omusomesa yamubuuza, “Kiki ky’ogenda okunjigiriza?” Saulo yatandika okusoma akatundu mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Omusomesa yeewuunya nnyo era n’agamba nti: “Siyinza kukikkiriza nti kati gwe onsomesa.” Ng’eno omusomesa bw’akulukusa amaziga, yagwa Saulo mu kifuba.

Okuyigiriza Okutuuka ku Mutima

10. Katabo ki akalungi ke tukozesa okuyigiriza abantu Baibuli?

10 Yesu yeesigamya okuyigiriza kwe ku ebyo Yakuwa kennyini bye yamuyigiriza ne ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. (Luk. 4:16-21; Yok. 8:28) Tukoppa Yesu nga tussa bye yayigiriza mu nkola era nga bye tuyigiriza tubyesigamya ku Byawandiikibwa. Olw’ensonga eyo ffenna twogera kimu, tulowooza kimu, era kino kireetawo obumu. (1 Kol. 1:10) Nga tuli basanyufu nti ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atuwa ebitabo ebinnyonnyola Baibuli ebituyamba okusigala nga tuli bumu mu bye tuyigiriza ne mu kutuukiriza obulungi omulimu gwaffe ng’ababuulizi! (Mat. 24:45; 28:19, 20) Ekimu ku bitabo bino ke katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, nga kati kali mu nnimi 179.

11. Mwannyinaffe omu ow’omu Ethiopia yavvuunuka atya okuwakanyizibwa ng’akozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza?

11 N’abo abawakanya amazima bwe bayiga Ebyawandiikibwa nga beeyambisa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kiyinza okukyusa omutima gwabwe. Lumu, Lula, payoniya ow’omu Ethiopia yali alina gw’ayigiriza Baibuli, omu ku b’eŋŋanda z’omuyizi oyo n’ajja n’agamba nti baali bamala biseera okuyiga Baibuli. Mu bukkakkamu Lulu yakozesa ekyokulabirako kya ssente ez’ekikwangala ekiri mu ssuula 15 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, n’annyonnyola omuntu oyo eyali amuwakanya. Omukazi yakkakkana era n’abaleka beeyongere mu maaso n’okuyiga kwabwe. Ku mulundi gwe baddako okusoma naye yaliwo era yasaba asomesebwe Baibuli ne bwe kyandibadde nga kimwetaagisa kusasula ssente! Yatandika okusoma emirundi essatu mu wiiki era yakulaakulana mangu mu by’omwoyo.

12. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri abavubuka gye bayinza okuyigiriza obulungi amazima ga Baibuli.

12 Abavubuka basobola okuyamba abalala nga bakozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Keanu ow’emyaka 11 ow’omu Hawaii bwe yali asoma akatabo kano ng’ali ku ssomero, omu ku bayizi banne n’amubuuza, “Lwaki temukuza nnaku nkulu?” Keanu yamuddamu ng’asoma butereevu mu kitundu ekirina omutwe “Twandikuzizza Ennaku Enkulu?” ekisangibwa mu byongerezeddwako. Oluvannyuma yabikkula olupapula oluliko olukalala lw’ebiri mu katabo ako n’agamba omulenzi alonde essuula eyali esinze okumusikiriza. Baatandika okuyiga Baibuli. Mu mwaka gw’obuweereza oguwedde, Abajulirwa ba Yakuwa baayigiriza Baibuli abantu 6,561,426, nga bangi beeyambisa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Okozesa akatabo kano okuyigiriza abantu Baibuli?

13. Mu ngeri ki okuyiga Baibuli gye kiyinza okuyamba ennyo abantu.

13 Okuyiga Ebyawandiikibwa ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kiyamba nnyo abo abaagala okukola Katonda by’ayagala. Omwami ne mukyala we abaweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Norway baatandika okuyiga Baibuli n’abantu b’omu maka agamu. Abafumbo bano abaali bava mu Zambia baalina abaana basatu ab’obuwala era baali tebaagala kwongerako mulala. Bwe kityo omukyala bwe yafuna olubuto, baasalawo okuluggyamu. Ng’ebulayo ennaku ntono bagende okulaba omusawo, baasoma essuula erina omutwe nti “Okutunuulira Obulamu nga Katonda bw’Abutunuulira.” Ekifaananyi ky’omwana atannazaalibwa ekiri mu ssuula eyo kyabakwatako nnyo era ne basalawo obutaggyamu lubuto olwo. Beeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo era omwana waabwe omulenzi gwe baazaala baamutuuma erinnya ly’ow’oluganda eyali abayigiriza Baibuli.

14. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okussa bye tuyigiriza abalala mu nkola gye kuyinza okuvaamu ebirungi.

14 Emu ku ngeri enkulu Yesu gye yayigirizaamu kwe kuba nti bye yayigirizanga yali abissa mu nkola. Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa bakoppa Yesu, abantu bangi basiima enneeyisa yaabwe. Munnabizineesi omu mu New Zealand baamubbako ensawo gye yali alese mu mmotoka ye. Owa poliisi gwe yategeeza yamugamba nti: “Ebintu byo tojja kuddamu kubiraba okuggyako ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa y’abironze.” Omujulirwa wa Yakuwa eyali atunda amawulire yalonda ensawo eyo. Nnannyini nsawo bwe yategeezebwa, yajja mu maka ga mwannyinaffe ono. Yaddamu amaanyi okusanga ng’ekiwandiiko kye ekyali eky’omuwendo ennyo kyali kizuuliddwa. Mwannyinaffe yamugamba, “Olw’okuba ndi Mujulirwa wa Yakuwa mbadde nteekwa buteekwa okukuddiza ebintu byo.” Munnabizineesi oyo yeewunya nnyo bwe yajjukira ebigambo owa poliisi bye yali amugambye ku makya g’olunaku olwo lwennyini. Kyeyoleka bulungi nti Abakristaayo ab’amazima bassa Baibuli by’eyigiriza mu nkola era mu kukola kino baba bakoppa Yesu.​—Beb. 13:18.

Koppa Endowooza Yesu gye Yalina ku Bantu

15, 16. Tuyinza tutya okusikiriza abantu okukkiriza obubaka bwe tubabuulira?

15 Endowooza Yesu gye yalina ku bantu yabasikiriza okuwuliriza obubaka bwe. Ng’ekyokulabirako, okwagala kwe n’obwetoowaze byasikiriza abantu aba wansi okumwagala. Yalaganga abo abajja gy’ali obusaasizi, yababudaabudanga ng’ayogera nabo mu ngeri ey’ekisa, era yawonyanga abalwadde bangi. (Soma Makko 2:1-5.) Tetusobola kukola byamagero, naye tusobola okulaga okwagala, obwetoowaze, n’obusaasizi​—era bino bireetera abantu okukkiriza amazima.

16 Okulaga obusaasizi kyayamba payoniya omu ayitibwa Tariua okwogera ne Beere, nnamukadde gwe yali akyalidde ku kimu ku bizinga by’omu Kiribati mu South Pacific. Wadde ng’omusajja ono yali akiraze nti tayagala kuwuliriza, Tariua yamukwatirwa ekisa bwe yakiraba nti yali yasannyalala oludda olumu. Yamubuuza nti: “Wali owulidde ku kisuubizo kya Katonda eri abalwadde n’abaddiye?” Yamusomera ennyiriri okuva mu bunnabbi bwa Isaaya. (Soma Isaaya 35:5, 6.) Omusajja yeewunya nnyo n’agamba, “Mbadde nsoma Baibuli okumala emyaka mingi era omuminsani w’omu ddiini yange abaddenga ankyalira, naye ekyo mbadde sikirabangako mu Baibuli.” Beere yatandika okuyigirizibwa Baibuli era yakulaakulana mu by’omwoyo. Kituufu nti yali mulema, naye yabatizibwa, era y’atwala obukulembeze mu kibiina ekyesudde, era atambula ekizinga kyonna ng’abuulira amawulire amalungi.

Weeyongere Okukoppa Kristo

17, 18. (a) Osobola otya okufuuka omubuulizi omulungi? (b) Abo abatwala obuweereza bwabwe ng’ekintu ekikulu banaafuna ki?

17 Ebyokulabirako bingi mu buweereza biraga nti tusobola okuba ababuulizi abalungi singa tufuba okwoleka engeri Kristo ze yayoleka. Nga kiba kirungi nnyo ffe okukoppa Kristo ng’ababuulizi banyiikivu!

18 Abantu abamu bwe baafuuka abayigirizwa ba Yesu mu kyasa ekyasooka, Peetero yabuuza nti: “Tuliba na ki?” Yesu yamuddamu nti: “Buli muntu yenna eyaleka ennyumba oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw’erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwawo.” (Mat. 19:27-29) Tujja kulaba obutuufu bw’ebigambo ebyo singa tweyongera okukoppa Yesu Kristo, Omuminsani eyasinga bonna.

Wandizzeemu Otya?

• Yakuwa atutendeka atya okuba ababuulizi abalungi?

• Lwaki akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kalungi okukozesa mu buweereza bwaffe?

• Tuyinza tutya okukoppa endowooza Yesu gye yalina ku bantu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Yesu bwe yayita Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana, amangu ago baamugoberera

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Ebitabo nga “Baibuli Ky’Eyigiriza” bituyamba okusigala nga tuli bumu mu bye tuyigiriza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza