LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 10/1/05 lup. 3-4
  • Kikulu Nnyo Okufaayo ku Bubonero!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kikulu Nnyo Okufaayo ku Bubonero!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Obubonero Obukulu Ennyo
  • Addamu Okuliisa Abantu Emigaati era Alabula ku Kizimbulukusa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Otegeera Akabonero Akalaga Okubeerawo kwa Yesu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 10/1/05 lup. 3-4

Kikulu Nnyo Okufaayo ku Bubonero!

“Mu kusooka nnalowooza nti mutabani waffe Andreas omutwe gwe gwali gumuluma. Kyokka nnagenda okulaba nga takyayagala kulya era ng’ayokya nnyo. Bwe yeeyongera okuba obubi, nnatandika okweraliikirira. Omwami wange bwe yakomawo eka, twatwala Andreas ew’omusawo. Yamukebera era n’amuweerawo ekitanda. Kyazuulibwa nti omutwe si gwe gwali gumuluma, wabula yalina musujja gwa mulalama. Baamujjanjaba era oluvannyuma yawona n’aba bulungi.” Bw’atyo omuzadde ow’omu Bugirimaani ayitibwa Gertrud bwe yagamba.

EKIZIBU Gertrud kye yafuna abazadde bangi batera okukifuna. Bafaayo ku bubonero obulaga nti omwana waabwe ayinza okuba omulwadde. Wadde ng’obulwadde obumu tebuba bwa maanyi, abazadde tebabuusa maaso bubonero obwo. Kiba kikulu nnyo okulaba obubonero era n’obaako ky’okolawo.

Kino tekikoma ku kuba kikulu ku bikwata ku bulwadde kyokka, wabula kiyamba ne mu bintu ebirala. Ng’ekyokulabirako, waagwawo akatyabaga mu bitundu ebiriraanye oguyanja oguyitibwa Indian Ocean, mu Ddesemba wa 2004. Ebitongole bya gavumenti mu Australia ne Hawaii byakimanya nti waliwo musisi ow’amaanyi agenda okuyita mu bukiika kkono bwa Sumatra era nti yali agenda kuba wa maanyi nnyo. Kyokka, tewaaliwo ngeri ya kulabulamu bantu abaali mu bifo ebyo. N’ekyavaamu, abantu abasukka 220,000 baafiirwa obulamu bwabwe.

Obubonero Obukulu Ennyo

Yesu Kristo bwe yali ku nsi, yakubiriza abaali bamuwuliriza okwetegereza obubonero n’okubaako kye bakolawo. Obubonero bwe yali ayogerako wano bwali bukulu nnyo. Baibuli egamba: “Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu. Naye n’addamu n’abagamba nti [Bwe buba akawungeezi, mugamba nti Bunaaba bulungi: kubanga eggulu limyuse. N’enkya nti Wanaaba omuyaga leero: kubanga eggulu limyuse libindabinda. Mumanyi okwawula eggulu bwe lifaanana; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?]”​—Matayo 16:1-3.

Mu kwogera ku ‘bubonero obw’ebiro,’ Yesu yalaga nti Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka abaali bamuwuliriza bandibadde bamanyi obukulu bw’ebiseera bye baalimu. Enteekateeka y’Ekiyudaaya yali enaatera okukomezebwa. Ng’ebulayo ennaku ntono afe, Yesu yategeeza abayigirizwa be akabonero akalala​—akabonero ak’okubeerawo kwe. Bye yayogera ku mulundi ogwo bitukwatako ffenna abaliwo mu kiseera kino.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza