Oli Mwesigwa mu Buli Kintu?
“Aba omwesigwa mu kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa.”—LUKKA 16:10.
1. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali omwesigwa?
WALI weetegerezza ekituuka ku kisiikirize essaawa bwe zigenda ziyitawo? Ekisiikirize ekyo kigenda kikyukakyuka. Ebyo abantu bye bakola awamu n’ebisuubizo byabwe bigenda bikyukakyuka ng’ekisiikirize. Kyokka, ye Yakuwa Katonda takyukakyuka. Ng’amwogerako nga “Kitaffe ow’ebyaka,” omuyigirizwa Yakobo agamba: ‘Takyukakyuka ng’ekisiikirize.’ (Yakobo 1:17) Yee, Yakuwa takyukakyuka era yeesigika mu buli kintu, ne bwe kiba kitono kitya. Ye “Katonda ow’obwesigwa.”—Ekyamateeka 32:4.
2. (a) Lwaki twandyekebedde okulaba obanga tuli beesigwa? (b) Bibuuzo ki ebikwata ku bwesigwa bye tugenda okwekenneenya?
2 Katonda atwala atya abaweereza be abeesigwa? Abatwala nga Dawudi eyaboogerako nti: “Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab’omu nsi, batuulenga wamu nange: atambulira mu kkubo ettuukirivu, ye anaamperezanga.” (Zabbuli 101:6) Yee, Yakuwa asanyuka abaweereza be bwe babeera abeesigwa. Omutume Pawulo yawandiika nti: ‘Abawanika kibagwanira okuba abeesigwa.’ (1 Abakkolinso 4:2) Biki ebizingirwa mu kubeera omwesigwa? Mbeera ki ez’enjawulo mwe tusaanidde okubeera abeesigwa? Miganyulo ki egiri mu ‘kubeera omwesigwa’?
Kye Kitegeeza Okuba Omwesigwa
3. Kiki ekisinziirwako okugamba nti tuli beesigwa?
3 “Ng’omuweereza, Musa yali mwesigwa,” bwe lutyo Abaebbulaniya 3:5, (NW) bwe lugamba. Kiki ekyamufuula omwesigwa? Mu kuzimba weema, “Musa [y]akola bw’atyo: nga byonna Mukama bye yamulagira, bwe yakola bw’atyo.” (Okuva 40:16) Ng’abasinza ba Yakuwa, tulaga nti tuli beesigwa nga tuba bawulize. Kino kizingiramu okunywerera ku Yakuwa nga twolekaganye n’ebizibu oba ebigezo eby’amaanyi. Kyokka, okugumira ebizibu eby’amaanyi si kye kyokka ekisinziirwako okugamba nti tuli beesigwa. Yesu yagamba: “Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.” (Lukka 16:10) Tuteekwa okuba abeesigwa ne mu bintu ebirabika ng’ebitono ennyo.
4, 5. Bwe tubeera abeesigwa mu ‘bintu ebitono ennyo’ kiba kiraga ki?
4 Waliwo ensonga bbiri lwaki kikulu bulijjo okubeera abeesigwa mu ‘bintu ebitono ennyo.’ Okusooka, kiraga engeri gye tutwalamu obufuzi bwa Yakuwa. Lowooza ku ngeri obwesigwa bw’abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa, gye bwagezesebwamu. Etteeka lye baaweebwa teryali kkakali n’akamu. Baali ba ddembe okulya ku miti gyonna egy’omu lusuku Adeni, okuggyako omuti gumu gwokka, kwe kugamba, “omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi.” (Olubereberye 2:16, 17) Bwe bandisigadde nga beesigwa ne bagondera ekiragiro ekyo ekyangu kyandyolese nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa. Bwe tugondera ebiragiro bya Yakuwa mu buli kye tukola, tuba tulaga nti tuwagira obufuzi bwe.
5 Ensonga ey’okubiri eri nti, bwe tuba abeesigwa mu ‘bintu ebitono ennyo’ kiraga nti tusobola okuba abeesigwa ne mu ‘bintu ebinene,’ kwe kugamba, ebigezo eby’amaanyi bye tuyinza okwolekagana nabyo. Ku nsonga eno, lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Danyeri ne banne Abaebbulaniya abasatu abaakuuma obwesigwa; Kananiya, Misayeri ne Azaliya. Baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni mu 617 B.C.E. Bwe baali bakyali bato, oboolyawo nga bali mu myaka gyabwe egy’obutiini, abaana bano abana baatwalibwa mu lubiri lwa Kabaka Nebukadduneeza. Nga bali eyo, kabaka yalagira baweebwenga ‘omugabo ogwa bulijjo ogw’oku mmere ye, n’ogw’oku mwenge gwe yanywanga, era babaliisize emyaka esatu: bwe gyandiweddeko balyoke bayimirire mu maaso ga kabaka.’—Danyeri 1:3-5.
6. Danyeri ne banne Abaebbulaniya abasatu baayolekagana na kigezo ki nga bali mu lubiri lwa kabaka e Babulooni?
6 Abavubuka bano abana Abaebbulaniya baayolekagana n’ekigezo eky’amaanyi bwe baagambibwa okulya ku mmere ya kabaka. Kirabika emu ku mmere kabaka gye yalyanga yali tekkirizibwa mu Mateeka ga Musa. (Ekyamateeka 14:3-20) Kyandiba nti ennyama gye yalyanga teyamalibwangamu bulungi musaayi, ne kiba nti okulya ennyama ng’eyo kyandibadde kimenya Amateeka ga Katonda. (Ekyamateeka 12:23-25) Ate era, emmere eyo eyinza okuba yali eweereddwayo eri ebifaananyi ng’empisa y’eddiini y’Abababulooni bwe yali.
7. Obuwulize bwa Danyeri ne banne abasatu bwayoleka ki?
7 Kya lwatu amateeka agakwata ku by’okulya tegaagobererwanga mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni. Kyokka, Danyeri ne banne baali bamalirivu obutalya kintu kyonna ekyali kitakkirizibwa mu Mateeka Katonda ge yawa Isiraeri. Ensonga eyo yali ekwata ku bwesigwa bwabwe eri Katonda. Bwe kityo baasaba baweebwe ebijanjaalo n’amazzi, era okusaba kwabwe kwakkirizibwa. (Danyeri 1:9-14) Leero, abantu abamu bayinza okukitwala nti ekigezo abavubuka abo abana kye baayolekagana nakyo tekyali kya maanyi nnyo. Kyokka, obuwulize bwabwe eri Katonda bwalaga nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa.
8. (a) Kigezo ki eky’amaanyi Abaebbulaniya abasatu kye bayolekagana nakyo? (b) Biki ebyava mu kugezesebwa okwo era kino kituyigiriza ki?
8 Okubeera abeesigwa mu bintu ebyalabika ng’ebitono ennyo, kye kyasobozesa banne ba Danyeri abasatu okugumira ekigezo ekinene. Bikkula Baibuli yo mu Danyeri essuula 3, osome ku ngeri Abaebbulaniya abo abasatu gye baayolekagana n’ekigezo eky’amaanyi bwe baagambibwa okuttibwa olw’okugaana okusinza ekifaananyi ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yassaawo. Bwe baaleetebwa mu maaso ga kabaka, baalaga ekyo kye baali bamaliridde okukola nga bagamba nti: “Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, ai kabaka. Naye bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.” (Danyeri 3:17, 18) Yakuwa yabayamba? Abaserikale abaasuula abavubuka bano mu kikoomi ky’omuliro, omuliro gwabasaanyawo, naye ate Abaebbulaniya abasatu abeesigwa, baava mu muliro nga balamu—nga tebafunye kizibu kyonna! Obwesigwa bwabwe mu bintu ebitono bwabayamba okusigala nga beesigwa mu kigezo eky’amaanyi. Kino tekiraga obukulu bw’okubeera abeesigwa mu bintu ebitono ennyo?
Obwesigwa ku Bikwata ku “Mamona Atali Mutuukirivu”
9. Yesu yali ayogera ku ki bwe yayogera ebigambo ebiri mu Lukka 16:10?
9 Nga tannawa musingi gulaga nti omuntu omwesigwa mu bintu ebitono aba mwesigwa ne mu ebinene, Yesu yasooka kukubiriza bw’ati abaali bamuwuliriza: “Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw’aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo.” Oluvannyuma yayogera ku ky’okubeera abeesigwa mu bintu ebitono nnyo. Yagamba: “Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw’amazima? . . . Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n’ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n’anyooma omulala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.”—Lukka 16:9-13.
10. Tuyinza tutya okuba abeesigwa mu ngeri gye tukozesaamu “mamona atali mutuukirivu”?
10 Okusinziira ku ekyo kye yali ayogerako, ebigambo bya Yesu ebisangibwa mu Lukka 16:10 okusingira ddala bikwata ku “mamona atali mutuukirivu,” kwe kugamba, eby’obugagga bwaffe. Eby’obugagga ebyo—n’okusingira ddala ssente—biyitibwa ebitali bituukirivu kubanga bya bantu abatali batuukirivu. Ate era omuntu bw’ayagala okufuna eby’obugagga kiyinza okumuleetera okukola ebitali bya butuukirivu. Tulaga nti tuli beesigwa bwe tukozesa eby’obugagga bwaffe mu ngeri ey’amagezi. Mu kifo ky’okubikozesa ku ebyo byokka ebituganyula ffe, twagala tubikozese nga tuwagira emirimu gy’Obwakabaka n’okuyamba abo bali mu bwetaavu. Bwe tubeera abeesigwa mu ngeri ng’eyo, tuba tukola omukwano ne Yakuwa Katonda awamu ne Yesu Kristo, bannannyini “weema ziri ezitaggwaawo.” Ate era bajja kututwala mu weema ezo, kwe kugamba, nga batuwa obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.
11. Lwaki twandigambye abantu okubaako kye bawaayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa?
11 Lowooza ku ekyo kye tuwa abantu be tubuulira obubaka bw’Obwakabaka bwe tubalekera Baibuli oba ebitabo byaffe ne tubagamba okubaako kye bawaayo okuwagira omulimu gw’abantu ba Yakuwa mu nsi yonna. Tetubawa omukisa okukozesa obulungi eby’obugagga byabwe? Wadde Lukka 16:10 lusinga kukwata ku bya bugagga, omusingi ogulimu gukwata ne mu mbeera endala ez’obulamu.
Obwesigwa Kintu Kikulu Nnyo
12, 13. Mbeera ki ez’enjawulo mwe tuyinza okwolekera obwesigwa?
12 Omutume Pawulo yawandiika bw’ati: ‘Tumanyi nti tulina omuntu ow’omunda omulungi, nga bwe twagala okubeera beesigwa mu bintu byonna.’ (Abaebbulaniya 13:18, NW) ‘Ebintu byonna’ ebyogerwako wano bizingiramu buli kintu ekirimu okukozesa ssente. Tusasula amabanja n’emisolo mu kiseera ekituufu. Lwaki? Kubanga omuntu waffe ow’omunda ky’atugamba okukola, ate n’okusingira ddala, tukikola lwa kuba twagala Katonda era twagala okugondera ebiragiro bye. (Abaruumi 13:5, 6) Kiki kye tukolawo singa tubaako ekintu kye tulonze? Twandifubye okunoonya nnyini kyo ne tukimuwa. Nga kiwa obujulirwa bwa maanyi bwe tumunnyonnyola ensonga lwaki tukimuddizza!
13 Okuba abeesigwa ‘mu bintu byonna’ kitwaliramu okuba abeesigwa ku mirimu gye tukolera. Bwe tuba abeesigwa ku mirimu, kiba kiraga Katonda wa ngeri ki gwe tusinza. ‘Tetubba’ biseera nga tukola n’obugayaavu. Wabula, tukola emirimu gyaffe n’amaanyi olw’okuweesa Yakuwa ekitiibwa. (Abaefeso 4:28; Abakkolosaayi 3:23) Mu nsi emu ey’omu Bulaaya, kigambibwa nti kimu kya kusatu eky’abakozi abagenda eri abasawo okubawa ebbaluwa ekakasa nti balwadde basobole okuwummulamu, baba balimba. Abaweereza ba Katonda ab’amazima tebeekwasa kintu kyonna olw’obutaagala kukola. Oluusi Abajulirwa ba Yakuwa bakuzibwa ku mirimu olw’okuba bakama baabwe babalaba nga beesigwa era nga bakola n’obunyiikivu.—Engero 10:4.
Obwesigwa mu Buweereza Bwaffe obw’Ekikristaayo
14, 15. Tuyinza tutya okulaga nti tuli beesigwa mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo?
14 Tuyinza tutya okuba abeesigwa mu buweereza bwaffe? Baibuli egamba: “Tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye.” (Abaebbulaniya 13:15) Engeri esingayo mwe tulagira nti tuli beesigwa mu buweereza kwe kuba abanyiikivu. Lwaki twandirese omwezi okuggwako nga tetubuulidde balala ku bigendererwa bya Yakuwa? Okubuulira entakera kituyamba okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu.
15 Engeri endala mwe tulagira nti tuli beesigwa mu buweereza obw’ennimiro, kwe kussa mu nkola amagezi agatuweebwa mu Omunaala gw’Omukuumi ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Bwe tuteekateeka obulungi era ne tukozesa ennyanjula eziba zituweereddwa oba endala zonna eziba zituukirawo, obuweereza bwaffe tebuvaamu ebibala? Bwe tusanga omuntu ayagala obubaka bw’Obwakabaka, tumuddira amangu ddala nga bwe kisoboka? Ate kiri kitya eri abantu be tutandise okuyigiriza Baibuli? Tubayigiriza Baibuli obutayosa? Bwe tuba abeesigwa mu buweereza kijja kutuviiramu okulokola obulamu bwaffe awamu n’obw’abo abatuwuliriza.—1 Timoseewo 4:15, 16.
Obutaba Kitundu kya Nsi
16, 17. Tuyinza tutya okulaga nti tetuli kitundu kya nsi?
16 Mu kusaba kwe eri Katonda, Yesu yayogera bw’ati ku bagoberezi be: “Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:14-16) Tukyayinza okuba abamalirivu obutakola nga nsi bw’ekola bwe kituuka ku bintu ebinene, gamba, ng’obutabaako ludda lwe tuwagira mu bya bufuzi, okukuza ennaku ez’eddiini enkulu n’obulombolombo bwazo, era n’okwesamba obugwenyufu. Naye, kiri kitya ate mu bintu ebitono ennyo? Kyandiba nti tutwalirizibwa ne tukola ng’ensi bw’ekola? Ng’ekyokulabirako, bwe tutaba beegendereza, tuyinza okutandika okwambala mu ngeri etasaana! Okuba omwesigwa kizingiramu okwambala n’okwekolako mu ngeri ‘esaana.’ (1 Timoseewo 2:9, 10) Yee, “tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa; naye mu byonna nga twetendereza ng’abaweereza ba Katonda.” —2 Abakkolinso 6:3, 4.
17 Olw’okuba twagala okuweesa Yakuwa ekitiibwa, twambala bulungi nga tugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ate era, twambala bulungi nga tugenda mu nkuŋŋaana ennene. Mu butuufu twandibadde twambala engoye ezisaanira. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiwa obujulirwa eri abo abatulaba. Ne bamalayika baba balaba bye tukola, nga bwe baakola eri Pawulo ne Bakristaayo banne. (1 Abakkolinso 4:9) N’olwekyo, twandibaddenga twambala mu ngeri esaanira. Wadde abamu tebakitwala nti kikulu okwambala engoye ezisaanira ye Katonda agitwala nga nsonga nkulu nnyo.
Emikisa Egiva mu Kuba Omwesigwa
18, 19. Mikisa ki egiva mu kubeera abeesigwa?
18 Abakristaayo ab’amazima boogerwako “ng’abawanika abalungi ab’ekisa kya Katonda ekitali kimu.” N’olwekyo Katonda y’abawa amaanyi mu buweereza bwabwe. (1 Peetero 4:10, 11) Kyokka, ng’abawanika tulina bye tutereseddwa ebitali byaffe, kwe kugamba, ebigambo eby’ekisa kya Katonda ekitatusaanira, nga mw’otwalidde n’obuweereza bwaffe. Okusobola okuba abawanika abalungi, kyetaagisa okwesigama ku amaanyi Katonda g’atuwa, “amaanyi amangi ennyo.” (2 Abakkolinso 4:7) Nga tufuna okutendekebwa kwa maanyi nnyo okutuyamba okugumiikiriza buli kizibu kye tuyinza okwolekagana nakyo!
19 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa.” (Zabbuli 31:23) Ka tumalirire okubeera abeesigwa, nga tuli bakakafu nti Yakuwa ye ‘Mulokozi w’abantu bonna, n’okusingira ddala abo abakkiriza.’—1 Timoseewo 4:10.
Ojjukira?
• Lwaki twandibadde beesigwa ne mu ‘bintu ebitono ennyo’?
• Tuyinza tutya okuba abeesigwa bwe kituuka ku by’essente?
ku mirimu?
ku buweereza?
ku butaba kitundu kya nsi?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Aba omwesigwa mu kintu ekitono, ne mu kinene aba mwesigwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
‘Beera mwesigwa mu bintu byonna’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Engeri ennungi ey’okulagamu nti tuli beesigwa, kwe kweteekerateekera obulungi obuweereza bw’ennimiro
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Yambala era weekoleko mu ngeri esaanira