‘Weefuge ng’Oyolekaganye n’Embeera Enzibu’
“Omuddu wa Mukama waffe talina kulwananga, wabula okubeeranga ow’ekisa eri bonna, . . . nga yeefuga ng’ayolekaganye n’embeera enzibu.”—2 TIMOSEEWO 2:24, NW.
1. Bwe tuba mu buweereza obw’Ekikristaayo, lwa- ki tutera okusanga abantu abatuddamu n’obukambwe?
WEEYISA otya ng’osanze abantu abatakwagala oba abatayagala bubaka bwo? Bwe yali ayogera ku nnaku ez’oluvannyuma, omutume Pawulo yagamba nti abantu bandibadde ‘bavumi, bawaayiriza, abateegendereza era nga bakambwe.’ (2 Timoseewo 3:1-5, 12) Abantu ng’abo oyinza okubasanga ng’oli mu buweereza bwo obw’ennimiro oba ku mirimu gyo emirala.
2. Byawandiikibwa ki ebiyinza okutuyamba okwogera obulungi n’abantu abatuddamu obubi?
2 Buli muntu akukambuwalira tekitegeeza nti aba tayagala mazima. Ebizibu eby’amaanyi biyinza okuleetera abantu okwogera obubi n’abalala. (Omubuulizi 7:7) Ate abamu bayinza okwogera obubi olw’okuba ye njogera ekozesebwa awaka oba ku mirimu gye bakolera. Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki abantu boogera bwe batyo, naye tekituwa bbeetu ng’Abakristaayo kwogera mu ngeri eyo. Twandyeyisizza tutya singa omuntu atuddamu bubi? Engero 19:11 wagamba bwe wati: “Okuteesa kw’omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala.” Ate Abaruumi 12:17, 18 watukubiriza: ‘Temukolanga muntu kibi olw’ekibi. Bwe kiba kiyinzika, mutabaganenga n’abantu bonna.’
3. Okuba ab’emirembe kikwatagana kitya n’obubaka bwe tubuulira?
3 Bwe tuba nga ddala twagala emirembe, kijja kweyolekera mu ngeri gye tukolaganamu n’abalala. Ate era kijja kweyolekera mu ebyo bye twogera, bye tukola, oboolyawo ne ku ndabika yaffe ey’oku maaso awamu n’eddoboozi lye tukozesa. (Engero 17:27) Bwe yali atuma abayigirizwa be okubuulira, Yesu yabagamba nti: “Bwe munaayingiranga mu nju, mugiramusenga. Enju bw’enesaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli.” (Matayo 10:12, 13) Obubaka bwe tubuulira mawulire malungi. Baibuli ebuyita “enjiri ey’emirembe,” “enjiri ey’ekisa kya Katonda,” era “enjiri eno ey’Obwakabaka.” (Abaefeso 6:15; Ebikolwa 20:24; Matayo 24:14) Ekiruubirirwa kyaffe si kwe kuwakana oba okulaga omuntu nti enzikiriza ye nkyamu, wabula kwe kumubuulira amawulire amalungi agali mu Kigambo kya Katonda.
4. Singa omuntu akugamba nti “Ssaagala” nga tonnamubuulira kikuleese wandimuzzeemu otya?
4 Nga nnyinimu tonnabaako na ky’omubuulira ayinza okukugamba nti: “Ssaagala.” Mu mbeera ng’eyo oyinza okumugamba: “Mbadde njagala kukusomerayo ekyawandiikibwa kimu kyokka mu Baibuli.” Ayinza okukukkiriza okukimusomera. Oluusi oyinza okumugamba: “Mbadde njagala kukubuulira ku kiseera lwe watalibaawo butali bwenkanya era ng’abantu bonna baagalana.” Singa era alaga nti tayagala, oyinza okugattako nti: “Oboolyawo, tuliddamu omulundi omulala.” Nnyinimu bw’aba takuzzeemu bulungi, kiba kitegeeza nti ‘tayagala’? K’abe ng’akuzzeemu atya, jjukira okubuulirira kwa Baibuli ‘okubeeranga ow’ekisa eri bonna, nga twefuga nga twolekaganye n’embeera enzibu.’—2 Timoseewo 2:24, NW.
Yayigganyanga Naye mu Butamanya
5, 6. Sawulo yayisa atya abagoberezi ba Yesu, era lwaki?
5 Mu kyasa ekyasooka, omusajja ayitibwa Sawulo yali amanyiddwa nnyo olw’okwogera obubi n’olw’ebikolwa eby’ettemu. Baibuli egamba nti yali ‘ayogera ebigambo eby’okukanga n’okutta abayigirizwa ba Mukama waffe.’ (Ebikolwa 9:1, 2) Oluvannyuma yakitegeera nti yalinga ‘muvumi era omuyigganya.’ (1 Timoseewo 1:13) Wadde ng’abamu ku b’eŋŋanda ze baali bafuuse Bakristaayo, yayogera bw’ati ku bagoberezi ba Kristo: ‘Olw’okuba nnali nnabakyawa, nnabayigganyanga ne mu bibuga ebirala.’ (Ebikolwa 23:16; 26:11; Abaruumi 16:7, 11) Tewali bukakafu bulaga nti abayigirizwa baagezaako okuwakana ne Sawulo bwe yali ng’abayigganya.
6 Lwaki Sawulo yayisa bw’atyo abagoberezi ba Yesu? Nga wayise emyaka yawandiika: ‘Nnabikolanga mu butamanya.’ (1 Timoseewo 1:13) Sawulo yali Mufalisaayo, eyayigirizibwa ‘mu mpisa z’amateeka ga bajjajja be.’ (Ebikolwa 22:3) Wadde nga Gamalyeri eyamusomesa yali mwetegefu okuwuliriza endowooza z’abalala, kabona omukulu Kayaafa, Sawulo gwe yakolagananga naye, yali tayagalira ddala kuwuliriza ndowooza z’abalala. Kayaafa ye yali awomye omutwe mu lukwe olw’okutta Yesu Kristo. (Matayo 26:3, 4, 63-66; Ebikolwa 5:34-39) Oluvannyuma lw’ekyo, Kayaafa yalagira abatume ba Yesu bakubibwe emiggo, era n’abagaana okuddamu okubuulira mu linnya lya Yesu. Kayaafa era ye yakubiriza Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya olwawozesa Suteefano n’alagira akubibwe amayinja. (Ebikolwa 5:27, 28, 40; 7:1-60) Sawulo yaliwo nga bakuba Suteefano amayinja, era Kayaafa yamuwa obuyinza okuyigganya n’okukwata abagoberezi ba Yesu abaali mu Ddamasiko. (Ebikolwa 8:1; 9:1, 2) Ng’akolera ku biragiro bya Kayaafa, Sawulo yalowooza nti ebikolwa bye byali biraga nti munyiikivu mu kuweereza Katonda, kyokka ekituufu kyali nti byali biraga nti teyalina kukkiriza. (Ebikolwa 22:3-5) N’ekyavaamu Sawulo yalemererwa okutegeera nti Yesu ye yali Masiya. Oluvannyuma, Sawulo yakitegeera nti bye yali akola byali bikyamu, Yesu eyali azuukidde bwe yamulabikira ng’agenda e Ddamasiko.—Ebikolwa 9:3-6.
7. Kiki ekyatuuka ku Sawulo oluvannyuma lw’okusisinkana Yesu ng’agenda e Ddamasiko?
7 Nga wayise akaseera, omuyigirizwa Ananiya yatumibwa okuwa Sawulo obujulirwa. Singa yali gwe, wandikkirizza okugenda ewa Sawulo? Wadde nga mu kusooka Ananiya yatya, yayogera ne Sawulo mu ngeri ennungi. Endowooza ya Sawulo yali ekyuse olw’ebyo Yesu bye yamugamba ng’agenda e Ddamasiko. (Ebikolwa 9:10-22) Okuva ku olwo, Sawulo yatandika okuyitibwa Pawulo, omuminsani omunyiikivu.
Yali Muteefu ate nga Muvumu
8. Yesu yayoleka atya endowooza ya Kitaawe eri aboonoonyi?
8 Yesu yali mulangirizi wa Bwakabaka omunyiikivu, omuteefu ate nga muvumu mu ngeri gye yakolaganangamu n’abantu. (Matayo 11:29) Yayoleka engeri za Kitaawe ow’omu ggulu, akubiriza ababi okukyusa amakubo gaabwe. (Isaaya 55:6, 7) Bwe yabeeranga n’aboonoonyi, Yesu yasiimanga enkyukakyuka ze baakolanga era yabazzangamu amaanyi. (Lukka 7:37-50; 19:2-10) Mu kifo ky’okusalira abalala omusango ng’asinziira ku ndabika yaabwe ey’okungulu, Yesu yakoppa ekisa kya Kitaawe n’obugumiikiriza ng’asuubira nti bajja kwenenya. (Abaruumi 2:4) Yakuwa ky’ayagala kiri nti abantu bonna beenenye batuuke okulokolebwa.—1 Timoseewo 2:3, 4.
9. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yatuukirizamu obunnabbi obuli mu Isaaya 42:1-4?
9 Ng’alaga engeri Yakuwa gye yali atwalamu Yesu Kristo, omuwandiisi w’enjiri ya Matayo yajuliza obunnabbi buno obugamba: “Laba mulenzi wange gwe nnalondamu; gwe njagala, ansanyusa emmeeme yange: ndimuteekako omwoyo gwange, alibuulira amawanga omusango. Taliyomba, so talireekaana; so tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo. Olumuli olwatifu talirumenya, so n’enfuuzi ezinyooka talizizikiza. Okutuusa lw’alisindika omusango okuwangula. N’erinnya lye amawanga galirisuubira.” (Matayo 12:17-21; Isaaya 42:1-4) Yesu teyeetaba mu nkaayana ng’obunnabbi obwo bwe bw’alaga. Ne bwe yalinga mu mbeera enzibu, yayogera amazima mu ngeri esikiriza abo abaali bagaagala.—Yokaana 7:32, 40, 45, 46.
10, 11. (a) Wadde ng’Abafalisaayo baawakanyanga nnyo Yesu, lwaki yabuulira abamu ku bo? (b) Yesu yakola ki bwe baamuwakanyanga, era kiki ky’ataakola?
10 Mu buweereza bwe, Yesu yayogeranga nnyo n’Abafalisaayo. Wadde ng’abamu baagezangako okumukwata ensobi, Yesu teyakitwala nti bonna baalina ebiruubirirwa ebikyamu. Ng’ekyokulabirako, Simooni Omufalisaayo eyateranga okuvumirira Yesu, yayagala okumanya ebisingawo ku Yesu era n’amuyita ku kijjulo. Yesu yakkiriza okumukyalira era n’awa abaaliwo ku kijjulo ekyo obujulirwa. (Lukka 7:36-50) Olulala, Omufalisaayo omwatiikirivu ayitibwa Nikoodemo yatuukirira Yesu ekiro. Yesu teyamunenya olw’okumutuukirira ekiro. Wabula yamubuulira engeri Katonda gye yayagalamu abantu n’atuuka n’okutuma omwana we asobole okulokola abo bonna abandimukkiririzzaamu. Ate era Yesu yayogera ku bukulu bw’okugondera enteekateeka ya Katonda. (Yokaana 3:1-21) Oluvannyuma Nikoodemo yawolereza Yesu ng’Abafalisaayo abalala bamwogerako eby’obulimba.—Yokaana 7:46-51.
11 Ku luuyi olulala Yesu yalabanga obunnanfuusi bw’abo abaali bagezaako okumukwata mu bigambo. Teyawakananga nabo ku bintu ebitaliimu. Kyokka bwe kyalinga kyetaagisa, yabaddangamu mu bufunze ng’abawa omusingi, ekyokulabirako oba ng’ajuliza ekyawandiikibwa. (Matayo 12:38-42; 15:1-9; 16:1-4) Oluusi bwe yalabanga tekyetaagisa, teyabaddangamu.—Makko 15:2-5; Lukka 22:67-70.
12. Ne bwe baamuleekaaniranga, Yesu yasobola atya okuyamba abantu?
12 Emirundi egimu, abo abaalingako emyoyo emibi baaleekaaniranga Yesu. Ekyo bwe kyabangawo, Yesu yeefuganga era n’akozesa amaanyi agaamuweebwa Katonda n’abagobako emyoyo egyo. (Makko 1:23-28; 5:2-8, 15) Singa abantu abamu batukambuwalira nga tuli mu buweereza bw’ennimiro, naffe tulina okwefuga era ne tubakwata bulungi era mu ngeri ey’amagezi.—Abakkolosaayi 4:6.
Okwefuga mu Maka
13. Lwaki abantu abamu oluusi baziyiza ow’omu maka atandise okusoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa?
13 Okusingira ddala abagoberezi ba Yesu kibeetaagisa okwefuga mu maka gaabwe. Omuntu bw’akkiriza amazima ga Baibuli aba ayagala n’ab’omu maka ge bakole kye kimu. Kyokka, nga Yesu bwe yagamba, ab’omu maka ge bayinza okumuziyiza. (Matayo 10:32-37; Yokaana 15:20, 21) Waliwo ensonga eziwerako eziyinza okubaviirako okumuziyiza. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Baibuli etukubiriza okuba abeesigwa, okuba ab’obuvunaanyizibwa, n’okuwa abalala ekitiibwa, era etukubiriza okuwa Omutonzi waffe ekitiibwa ekisingiridde. (Omubuulizi 12:1, 13; Ebikolwa 5:29) Omu ku b’omu maka ayinza okuwulira nti taweebwa kitiibwa kye mu bujjuvu olw’okuba tusinza Yakuwa. Mu mbeera ng’eyo, nga kyandibadde kya magezi okukoppa Yesu ne twefuga!—1 Peetero 2:21-23; 3:1, 2.
14-16. Kiki ekyaviirako abo abaali baziyiza ab’omu maka gaabwe okukola enkyukakyuka?
14 Bangi ku abo abaweereza Yakuwa leero bwe baatandika okuyiga Baibuli, munnaabwe mu bufumbo oba ow’omu maka omulala yabayigganyanga. Abo abaabayigganyanga bayinza okuba baawuliranga ebikyamu ebyogerwa ku Bajulirwa ba Yakuwa, oboolyawo ne balowooza nti ow’omu maka bw’afuuka Omujulirwa kiyinza okuleetawo obuzibu mu maka. Kiki ekyabaleetera okukyusa endowooza yaabwe? Emirundi mingi ekyokulabirako ekirungi kye baabateerawo kirina kinene kye kyabakolako. Olw’okuba oyo eyayiga amazima yakolera ku kubuulirira kwa Baibuli, kwe kugamba, nga tayosa kugenda mu nkuŋŋaana, nga yeenyigira mu buweereza bw’ennimiro, ng’atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe obw’omu maka era nga yeefuga nga bamwogeredde amafuukuule—abo abaali bamuziyiza baalekera awo.—1 Peetero 2:12.
15 Ate era oyo ayigganya ayinza okuba yagaana okuwuliriza Baibuli ky’egamba olw’amalala oba olw’obunyoomi. Omusajja omu mu Amereka eyagamba nti ayagala nnyo eggwanga lye bw’atyo bwe yali. Lumu, mukazi we bwe yali agenze ku lukuŋŋaana olunene, omusajja oyo yasibamu ebibye n’agenda. Olulala, yava awaka n’emmundu n’atiisatiisa nti agenda kwetta. Yeekwasanga nti eddiini ya mukazi we y’emuleetera okukola ebyo byonna. Kyokka, mukazi we yeeyongera okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli. Nga wayiseewo emyaka abiri, omusajja oyo yafuuka Omujulirwa. Mu Albania, omukazi omu yanyiiga olw’okuba muwala we yali asoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’abatizibwa. Emirundi 12 omukazi oyo yayuzayuza Baibuli za muwala we. Kyokka, lumu yabikkula Baibuli muwala we gye yali alese ku mmeeza. Mu butanwa yatuukira ku kyawandiikibwa ekiri mu Matayo 10:36, era n’akiraba nti ebigambo ebyo byali bimukwatako. Wadde kyali kityo, olw’okuba yali alumirirwa muwala we, yamuwerekerako ng’agenda okulinnya eryato eryali libatwala ku lukuŋŋaana olunene mu Italy ne Bajulirwa banne. Maama oyo bwe yalaba ng’Abajulirwa balagaŋŋana okwagala, nga bagwaŋŋana mu bifuba era nga basanyufu, kyamukwatako nnyo era ne kimuleetera okukyusa endowooza ye. Waayita ekiseera kitono n’atandika okuyiga Baibuli. Leero, naye afuba okuyamba abo abagezaako okumuziyiza.
16 Lumu, omwami omu eyali aswakidde ng’akutte ejjambiya yawondera mukyala we ng’agenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka ng’eno bw’amwogerera ebisongovu. Omukyala yamugamba nti: “Jjangu mu Kizimbe ky’Obwakabaka weerabireko.” Omusajja yakkiriza, era oluvannyuma lw’ekiseera yakulaakulana n’afuuka omukadde Omukristaayo.
17. Singa wabaawo embeera enzibu mu maka Amakristaayo, kubuulirira ki okw’omu Byawandiikibwa okuyinza okuyamba?
17 Ka kibe nti ab’omu maka gammwe bonna Bakristaayo, olw’obutali butuukirivu wayinza okubalukawo obutategeeragana ne kivaamu okuwanyisiganya ebigambo. Weetegereze nti Abakristaayo ab’omu Efeso eky’edda baakubirizibwa nti: “Okukaawa kwonna n’obusungu n’obukambwe n’okukaayana n’okuvuma bibavengako, awamu n’ettima lyonna.” (Abaefeso 4:31) Kirabika Abakristaayo ab’omu Efeso baali batwaliriziddwa enneeyisa y’abantu abaali babeetoolodde, obutali butuukirivu bwabwe, n’empisa zaabwe ez’edda. Kiki ekyandibayambye okukola enkyukakyuka? Baalina “okufuuka abaggya mu mwoyo ogw’ebirowoozo [byabwe].” (Abaefeso 4:23) Okusoma Ekigambo kya Katonda, okufumiitiriza ku ngeri gye kikwata ku bulamu bwabwe, okukuŋŋaana awamu ne Bakristaayo bannaabwe era n’okusaba, bye bandibayambye okwoleka ebibala by’omwoyo gwa Katonda. Kyandibayambye ‘okulagaŋŋana ekisa n’okusonyiwagana nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.’ (Abaefeso 4:32) Ka tube nga tuyisiddwa tutya, twetaaga okwefuga, okwoleka ekisa, n’okusonyiwa. Mu butuufu, ‘tetulina kukola muntu kibi olw’ekibi ky’aba atukoze.’ (Abaruumi 12:17, 18) Kye tulina okukola kwe kulaga okwagala okwa nnamaddala nga Katonda bw’akola.—1 Yokaana 4:8.
Okubuulirira Okukwata ku Bakristaayo Bonna
18. Lwaki okubuulirira okuli mu 2 Timoseewo 2:24 kwali kutuukirawo eri omukadde aweereza mu Efeso eky’edda, era kuyinza kutya okuganyula Abakristaayo bonna?
18 Okubuulirira ‘okw’okwefuga mu mbeera enzibu’ kukwata ku Bakristaayo bonna. (2 Timoseewo 2:24, NW) Kyokka, kwasooka kuweebwa Timoseewo, eyali aweereza ng’omukadde mu Efeso. Abamu ku abo abaali mu kibiina baali batumbula endowooza zaabwe era nga bayigiriza ebintu ebikyamu. Olw’okuba tebaategeera Mateeka ga Musa, baalemererwa okutegeera obukulu bw’okuba n’okukkiriza, okwagala, n’omuntu ow’omunda omulungi. Olw’okuba baalina amalala kyabaleetera obutakkaanya, ne balemererwa okutegeera enjigiriza za Kristo n’obukulu bw’okuweereza Katonda. Okusobola okukola ku buzibu obwo, Timoseewo yalina okunywerera ku mazima g’omu Byawandiikibwa era n’aba wa kisa ng’akolagana ne baganda be. Okufaananako abakadde b’omu kiseera kyaffe, yali akimanyi nti ekisibo tekyali kikye era nti yalina okukolagana n’abalala mu ngeri eyanditumbudde okwagala n’obumu obw’Ekikristaayo.—Abaefeso 4:1-3; 1 Timoseewo 1:3-11; 5:1, 2; 6:3-5.
19. Lwaki kikulu ffenna “okunoonya obuwombeefu”?
19 Katonda akubiriza abantu be “okunoonya obuwombeefu.” (Zeffaniya 2:3) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “obuwombeefu” kirina amakulu g’okugumiikiriza ng’okoleddwako ekibi era n’oteesasuza. Ka tusabe Yakuwa atuyambe okwefuga era tumukiikirire bulungi ne bwe kiba nti twolekaganye n’embeera enzibu.
Kiki ky’Oyize?
• Singa omuntu akukambuwalira, Byawandiikibwa ki ebiyinza okukuyamba?
• Lwaki Sawulo yeeyisa mu ngeri ey’obukambwe?
• Ekyokulabirako kya Yesu kituyamba kitya okukolagana obulungi n’abantu aba buli kika?
• Miganyulo ki egivaamu bwe tufuga enjogera yaffe mu maka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Wadde Sawulo yali amanyiddwa ng’omuntu omubi, Ananiya yayogera naye mu ngeri ey’ekisa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Omukristaayo bw’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, abo abamuyigganya bayinza okulekera awo