LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 1/1/05 lup. 4-7
  • Yesu Kristo Tusaanidde Kumujjukira Tutya?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yesu Kristo Tusaanidde Kumujjukira Tutya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Emitwe emitono
  • Ekiseera eky’Okusuubuliramu n’Okugyagulizaamu
  • Omwana Atuzaaliddwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 1/1/05 lup. 4-7

Yesu Kristo Tusaanidde Kumujjukira Tutya?

Yesu Kristo “ddala ddala y’omu ku bantu abatutumufu abaali babaddewo.”​—“The World Book Encyclopedia.”

BULIJJO abantu abatutumufu bajjukirwa olw’ebyo bye baakola. Kati olwo, lwaki abantu bangi bajjukira kuzaalibwa kwa Yesu so si ebyo bye yakola? Abantu bangi mu Kristendomu, bajjukira ebyaliwo ku kuzaalibwa kwa Yesu. Naye, bameka abajjukira bye yayigiriza mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi era ne babikolerako?

Kyo kituufu nti okuzaalibwa kwa Yesu kwali kukulu nnyo, naye abayigirizwa be abaasooka essira baasinga kulissa ku ebyo bye yayigiriza ne bye yakola. Mu butuufu Katonda teyayagala kuzaalibwa kwa Kristo kutwalibwe ng’ekikulu okusinga ebyo bye yandikoze mu bulamu bwe ng’akuze. Kyokka, Ssekukkulu abantu gye bataddeko essira okusinga ebyo Kristo bye yakola.

Waliwo ekibuuzo ekirala ekijjawo ekikwata ku ngeri Ssekukkulu gy’ekuzibwamu. Singa Yesu akomawo leero ku nsi, kiki ky’ayinza okulowooza ku ngeri ebiseera bya Ssekukkulu gye bifuuliddwa eby’eby’obusuubuzi? Emyaka enkumi bbiri emabega Yesu bwe yagenda mu yeekaalu e Yerusaalemi mu kiseera ky’emikolo gy’eddiini y’Ekiyudaaya, n’asangamu abaali basuubuliramu, yabanyiigira nnyo era n’abagamba nti: “Muggyeewo ebintu bino muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi.” (Yokaana 2:13-16) Kya lwatu, Yesu teyasiima kugattika bya busuubuzi na bya kusinza.

Mu Spain, Abakatoliki bangi abeesimbu si basanyufu olw’okugattika eby’obusuubuzi ne Ssekukkulu. Kyokka ate, bw’olowooza ku nsibuko ya Ssekukkulu ekyo kiba tekyewuunyisa. Munnamawulire ayitibwa Juan Arias agamba: “Abo abali mu nzikiriza y’Ekikristaayo abagamba nti Ssekukkulu gufuuse mukolo gwa kikaafiiri, era nti mu kifo ky’okusinza, abantu beemalira ku masanyu na kulya, tebamanyi bumanya nti bingi ku ebyo ebikolebwa mu kukuza Ssekukkulu . . . byabanga ku mikolo gya kikaafiiri egy’okusinza enjuba egyabanga mu Rooma.”​—El País, Ddesemba 24, 2001.

Mu myaka egiyise, bannamawulire bangi mu Spain bagambye nti eby’obusuubuzi n’ebintu ebirala bingi ebikolebwa ku Ssekukkulu bya kikaafiiri. Ku bikwata ku nnaku z’omwezi Ssekukkulu lw’ekuzibwa, ekitabo Enciclopedia de la Religión Católica kigamba: “Kelezia y’e Rooma yasalawo okukuza Ssekukkulu ku lunaku luno kubanga yayagala Ssekukkulu edde mu kifo ky’emikolo egy’ekikaafiiri egyabangawo. . . . Tukimanyi nti mu Ddesemba nga 25 abakaafiiri ab’omu Rooma baakuzanga amazaalibwa g’enjuba.”

Ekitabo ekiyitibwa Enciclopedia Hispánica nakyo kigamba nti: “Nga Ddesemba 25, olunaku kwe bakuliza Ssekukkulu, si lwe lunaku lwennyini Yesu kwe yazaalibwa, wabula lwali lunaku abakaafiiri kwe baakulizanga amazaalibwa g’enjuba mu Rooma. Kyokka, oluvannyuma olunaku luno lwafuulibwa olw’Ekikristaayo.” Abaruumi baakuzanga batya olunaku enjuba lwe yaddangamu okulabika ng’ekiseera ky’obutiti kiweddeko? Baalukuzanga nga balya, nga banywa, era nga bawanyisiganya ebirabo. Okuva abakulembeze b’eddiini bwe baali tebaagala kuwera lunaku luno, baasalawo okulufuula olunaku olw’okujjukirirangako amazaalibwa ga Yesu mu kifo ky’amazaalibwa g’enjuba.

Ku ntandikwa y’ekyasa ekyokusatu n’ekyokuna, kyali kizibu okukomya emikolo egyali gikwataganyizibwa n’okusinza enjuba. Augustine “Omutuukirivu” Omukatoliki (354-430 C.E.) yakubiriza bakkiriza banne obutakuza Ddesemba 25 mu ngeri eyeefaanaanyirizaako n’eyo abakaafiiri gye baakuzangamu okuzaalibwa kw’enjuba. Naye n’okutuusa leero, obulombolombo bw’Abaruumi obukwata ku kusinza enjuba bukyagobererwa.

Ekiseera eky’Okusuubuliramu n’Okugyagulizaamu

Ebyasa by’emyaka bwe bizze biyitawo, ebintu ebitali bimu bifudde ekiseera kya Ssekukkulu okuba ekiseera ekisingayo okuba ekirungi okukoleramu eby’obusuubuzi n’okugyagulizaamu. Ate era, obulombolombo obwalinga ku mikolo egyabangawo mu biseera by’obutiti naddala mu Bulaaya, mpolampola bwagenda buyigizibwa mu mikolo egyakwatibwanga mu Rooma.a Okugatta ku ekyo, mu kyasa ekya 20, abasuubuzi baawagiranga omukolo gwonna ogwali gusobola okuvaamu amagoba amangi.

Biki ebivuddemu? Essira liteekeddwa ku mazaalibwa ga Kristo so si ku makulu ga kuzaalibwa kwe. Ebiseera ebisinga obungi Kristo tayogerwanako nga bakuza Ssekukkulu. Olupapula lw’amawulire olw’omu Spain oluyitibwa El País lwagamba nti: “[Ssekukkulu] mukolo ogujjumbirwa amaka mangi mu nsi yonna, era buli muntu agukwata nga bwaba alabye.”

Ebigambo ebyo biraga engeri abantu gye batunuuliramu olunaku luno mu Spain ne mu mawanga amalala okwetooloola ensi. Wadde ng’abantu beeyongera okusaasaanya sente mpitirivu ku bikujjuko bya Ssekukkulu, ebikwata ku Kristo bagenda babyerabira. N’ekivuddemu, ebintu ebikolebwa ku Ssekukkulu kati bifaananira ddala n’ebyo ebyakolebwanga mu biseera by’Abaruumi​—wabaawo ebinyumu, okulya n’okunywa, n’okuwanyisiganya ebirabo.

Omwana Atuzaaliddwa

Bwe kiba nti Ssekukkulu terina nnyo kakwate ne Kristo, olwo Abakristaayo basaanidde kujjukira batya okuzaalibwa kwe n’ebikwata ku bulamu bwe? Emyaka nga lusanvu nga Yesu tannazaalibwa, Isaaya yalagula nti: “Omwana atuzaaliddwa ffe omwana ow’obulenzi aweereddwa ffe; n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye.” (Isaaya 9:6) Lwaki Isaaya yagamba nti okuzaalibwa kwa Yesu n’ebyo bye yandikoze byali bikulu? Kyali bwe kityo lwa kuba Yesu yandifuuse omufuzi omukulu ennyo. Yandimanyiddwa nga Omukulu ow’Emirembe era okufuga kwe okw’emirembe tekwandikomye. Ate era, obufuzi bwa Yesu bwandibadde bwa ‘bwenkanya era bwa butuukirivu.’​—Isaaya 9:7.

Malayika Gabulyeri yayogera ebigambo ebifaananako n’ebya Isaaya bwe yategeeza Malyamu ebikwata ku kuzaalibwa kwa Yesu. Yagamba: “Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n’emirembe, so Obwakabaka we tebuliggwaawo.” (Lukka 1:32, 33) Kya lwatu nti, okuzaalibwa kwa Yesu kwali kukulu nnyo olw’okuba kwali kukwataganyizibwa n’omulimu gwe yandikoze nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Obufuzi bwa Kristo busobola okukuganyula ggwe n’abaagalwa bo awamu n’abantu bonna. Mu butuufu, bamalayika baalaga nti okuzaalibwa kwe kwandireese ‘emirembe mu nsi n’eri abantu Katonda baasiima.’​—Lukka 2:14.

Ddala ani atandyagadde kuba mu nsi erimu emirembe n’obwenkanya? Kya lwatu, okusobola okufuna emirembe obufuzi bwa Kristo gye bulireeta, kitwetaagisa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era n’okukola by’ayagala. Yesu yagamba nti ekintu ky’olina okusooka okukola okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda kwe kuyiga ebimukwatako n’ebikwata ku Kristo. Yesu yagamba nti: “Buno bwe bulamu obutagwaawo okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.”​—Yokaana 17:3.

Bwe tutegeera obulungi ebikwata ku Yesu, tujja kumanya engeri gy’ayagala tumujjukiremu. Yandyagadde tumujjukire nga tulya, nga tunywa, oba nga tuwanyisiganya ebirabo, ku lunaku lwe lumu abakaafiiri kwe bajjukiriranga amazaalibwa g’enjuba? Ekyo tekiba kya magezi. Ekiro ekyakeesa olunaku lwe yafa, Yesu yategeeza abayigirizwa be kye yali ayagala. “Alina ebiragiro byange, n’abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga.”​—Yokaana 14:21.

Abajulirwa ba Yakuwa basomye Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebibayambye okutegeera Katonda ne Yesu bye baagala. Bajja kusanyuka okukuyamba okutegeera ebiragiro ebyo osobole okujjukira Yesu mu ngeri entuufu.

[Obugambo obuli wansi]

a Emiti egikozesebwa ku Ssekukkulu n’ekifaananyi kya Father Christmas bye bimu ku bulombolombo obwo.

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6, 7]

Baibuli Egaana Omuntu Okwesanyusaamu oba Okugaba Ebirabo?

Okugaba Ebirabo

Baibuli tegaana kugaba birabo, kubanga ne Yakuwa kennyini ayogerwako ng’omugabi wa buli “kirabo kirungi.” (Yakobo 1:17) Yesu yalaga nti abazadde abaagala abaana baabwe, bandibawadde ebirabo. (Lukka 11:11-13) Mikwano gya Yobu n’ab’eŋŋanda ze baamuweereza ebirabo nga bamukulisa obulwadde. (Yobu 42:11) Okugaba ebirabo ng’okwo tekwetaagisanga muntu kumala kutuuka ku nnaku za bijaguzo. Wabula omuntu yagabiranga omulala ekirabo buli lwe yabanga ayagadde.​—2 Abakkolinso 9:7.

Okukuŋŋaana ng’Amaka

Ab’eŋŋanda bwe bakuŋŋanako awamu kireetawo obumu, naddala singa baba tebakyabeera wamu. Yesu n’abayigirizwa be baagenda ku mbaga e Kaana, era awatali kubuusabuusa omukolo ogwo gwaliko ab’eŋŋanda n’ab’emikwano bangi. (Yokaana 2:1-10) Mu kyokulabirako kya Yesu eky’omwana omujaajaamya, taata yakolera omwana we eyali azaaye akabaga okwali ab’eŋŋanda, ennyimba awamu n’amazina.​—Lukka 15:21-25.

Okulya Ekijjulo

Emirundi mingi Baibuli eyogera ku biseera abaweereza ba Katonda lwe baaliranga awamu ekijjulo ng’amaka, n’ab’emikwano oba ne bakkiriza bannaabwe. Bamalayika bwe bakyalira Ibulayimu, yabategekera ekijjulo okwali ennyama, amata, omuzigo, n’emigaati. (Olubereberye 18:6-8) Sulemaani yagamba nti okulya n’okunywa n’okusanyuka birabo ebiva eri Katonda.​—Omubuulizi 3:13; 8:15.

Kya lwatu, Katonda ayagala tulye emmere ennungi nga tuli wamu n’ab’emikwano era n’ab’eŋŋanda zaffe, era tagaana bantu kugabira balala birabo. Kino tusobola okukikola ekiseera kyonna mu mwaka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza