Wandisazeewo Otya Ekituufu n’Ekikyamu?
ANI alina okussaawo emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu? Ekibuuzo ekyo kyabalukawo ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu. Okusinziira ku kitabo kya Baibuli eky’Olubereberye, ogumu ku miti Katonda gye yasimba mu lusuku Adeni, yaguyita “omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi.” (Olubereberye 2:9) Katonda yagaana abafumbo abaasooka okulya ku bibala by’omuti ogwo. Kyokka, Omulabe wa Katonda, Setaani Omulyolyomi, ye yagamba nti bwe bandiridde ku muti ogwo, amaaso gaabwe ‘gandizibuse’ era ‘bandibadde nga Katonda nga bamanyi obulungi n’obubi.’—Olubereberye 2:16, 17; 3:1, 5; Okubikkulirwa 12:9.
Adamu ne Kaawa baalina ekintu ekikulu eky’okusalawo, kwe kugamba, bandigoberedde mitindo gya Katonda nga basalawo ekirungi n’ekibi, oba egyabwe ku bwabwe? (Olubereberye 3:6) Baasalawo okujeemera Katonda era ne balya ku muti. Ekikolwa ekyo ekyali kirabika ng’ekitono kyayoleka ki? Bwe baajemera Katonda, baakyoleka nti bo n’abaana baabwe bandibadde bulungi bwe bandyeteereddewo emitindo egyabwe ku bwabwe egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Biki ebivuddemu abantu bwe bagezezzaako okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu?
Endowooza Ezaawukana
Oluvannyuma lw’okwekenneenya enjigiriza z’abafirosoofo ababadde abaatiikirivu mu byasa ebiyiseewo, ekitabo Encyclopædia Britannica kigamba nti, okuva mu biseera by’omufirosoofo Omuyonaani ayitibwa Socrates, okutuukira ddala mu kyasa ekya 20, wabaddewo “endowooza ezaawukana ku nsonga ezikwata ku kirungi era n’emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu.”
Mu kyasa eky’okutaano B.C.E., waaliwo ekibinja ky’Abayonaani abaayigirizanga nti ekituufu n’ekikyamu kisinziira ku ndowooza y’abasinga obungi. Omu ku bayigiriza abo yagamba: “Ekintu bwe kiba nga kikkirizibwa abantu b’omu kibuga ekimu, abatuuze baamu bakitwala nti kituufu. Okusinziira ku ndowooza eno, abantu bangi bayinza okulowooza nti ebikolwa ebimu ebikyamu tebiba bibi kasita kiba nti abasinga obungi mu kitundu kyabwe, oba ‘mu kibuga’ kyabwe baba babyenyigiramu.”
Ate ye Immanuel Kant omufirosoofo eyayatiikirira mu kyasa ekya 18, yayoleka endowooza ey’enjawulo. Akatabo Issues in Ethics kagamba bwe kati: “Immanuel Kant n’abo abaalina endowooza ng’eyiye, . . . bassa essira ku ddembe ly’omuntu ery’okwesalirawo.” Okusinziira ku ndowooza ya Kant, kyali eri buli muntu okwesalirawo obanga yenyigira mu bikolwa ebibi oba tabyenyigiramu. Teyandisazeewo ng’asinziira ku ndowooza y’abasinga obungi.
Twandisinzidde ku Ndowooza z’Abasinga Obungi?
Abantu abamu bayinza okulowooza nti kya busiru okubeera omwesigwa. Naye tekiba kya magezi kugendera ku ekyo abangi kye balowooza. Ng’ekyolubirako, singa wali obeera mu kitundu gye bakitwala nti kirungi okusaddaaka abaana, ekyo kyandifudde ekikolwa ekyo okuba ekituufu? (2 Bassekabaka 16:3) Ate watya singa wazaalibwa mu kitundu gye bakitwala nti si kibi okulya abantu? Ekyo kyanditegeezezza nti si kikyamu okulya abantu? Okuba nti ekikolwa ekimu kikolebwa abantu bangi, ku bwakyo tekikifuula kituufu. Edda ennyo, Baibuli yalabula ku mutego ogwo, bwe yagamba: “Togobereranga [bantu] bangi okukola obubi.”—Okuva 23:2.
Yesu Kristo yanokolayo ensonga endala eyandituyambye okwegendereza obutatwalirizibwa ndowooza z’abantu nga tusalawo ebikwata ku kituufu n’ekikyamu. Yayatuukiriza Setaani okuba ‘omufuzi w’ensi.’ (Yokaana 14:30; Lukka 4:6) Setaani yeeyambisa obuyinza bw’alina ‘okulimba ensi zonna.’ (Okubikkulirwa 12:9) N’olwekyo, bw’osalawo ekituufu n’ekikyamu ng’osinziira ku ndowooza z’abantu, wandyesanga nti ogoberera ndowooza ya Setaani ekwata ku mpisa, ate ng’ekyo kiba kya kabi nnyo.
Wandyesize Endowooza Yo?
Kati olwo buli muntu yandyesaliddewo ekituufu n’ekikyamu? Baibuli egamba: “Teweesigamanga ku kutegeera kwo.” (Engero 3:5) Lwaki kiri bwe kityo? Lwa kuba abantu bonna baasikira ekibi ekibaviirako okusalawo mu ngeri enkyamu. Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda, baafuna engeri ez’okwerowoozaako okuva eri kalinkwe Setaani era ne bamulonda okubeera kitaabwe mu by’omwoyo. N’ekyavaamu, baasikiza abaana baabwe engeri ez’ekibi, kwe kugamba, omutima omulimba ogulina obusobozi obw’okumanya ekituufu naye ate nga gwekubiira ku kukola ekikyamu.—Olubereberye 6:5; Abaruumi 5:12; 7:21-24.
Nga kyogera ku by’empisa, ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica kigamba bwe kiti: “Tekyewuunyisa nti wadde ng’abantu baba bamanyi ekituufu eky’okukola, basalawo okukola ekyo bo kye baagala. Okuyamba abantu ng’abo okukola ekituufu tekibadde kyangu.” Baibuli egamba bw’eti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya?” (Yeremiya 17:9) Wandyesize omuntu amanyiddwa ng’omulimba?
Kyo kituufu nti n’abo abatakkiririza mu Katonda basobola okuba n’empisa ennungi. Era, emirundi egisinga obungi, empisa ezo ziba zituukagana n’emisingi gya Baibuli egikwata ku mpisa. Wadde ng’abantu ng’abo bayinza okugamba nti Katonda taliiyo, ebyo bye bakola biraga nti basobola okwoleka engeri za Katonda. Kino kikakasa ekyo Baibuli ky’eyogerako nti abantu baatondebwa mu ‘kifaananyi kya Katonda.’ (Olubereberye 1:27; Ebikolwa 17:26-28) Omutume Pawulo yagamba: “Balaga omulimu gw’amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe.”—Abaruumi 2:15.
Kya lwatu nti omuntu asobola okumanya ekituufu naye ate n’atakikola. Kati olwo omuntu ayinza atya okukola ekituufu? Olw’okuba omutima gwe gukubiriza omuntu okubaako ky’akola, okukulaakulanya okwagala eri omuwandiisi wa Baibuli, Yakuwa Katonda, kijja kumuyamba okukola ekituufu.—Zabbuli 25:4, 5.
Okuba n’Obusobozi obw’Okukola Ekituufu
Ekintu ekisookera ddala mu kuyiga okwagala Katonda, kwe kutegeera nti amateeka ge gasaanira era ga muganyulo. Omutume Yokaana yagamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Ng’ekyokulabirako, Baibuli erimu amagezi agayinza okuyamba abavubuka okwewala okukozesa obubi omwenge, okwewala enjaga oba okwetaba nga tebannayingira bufumbo. Baibuli eyinza okuyamba abafumbo okugonjoola ebizibu eby’obutategeeragana, era eyinza okuwa abazadde obulagirizi mu kukuza abaana.a Singa gigobererwa, emisingi gya Baibuli egikwata ku mpisa gisobola okuganyula abakulu n’abato, ka babe nga bali mu mbeera ki, balina buyigirize ki, oba ba ggwanga ki.
Ng’emmere ennungi bw’ewa omuntu amaanyi n’asobola okukola emirimu, n’okusoma Ekigambo kya Katonda nakyo kisobozesa omuntu okukuuma emitindo gye. Yesu yageraageranya ekigambo kya Katonda ku mmere ewa obulamu. (Matayo 4:4) Era yagamba: “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala.” (Yokaana 4:34) Okulya emmere ey’eby’omwoyo kyasobozesa Yesu okwaŋŋanga ebikemo era n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—Lukka 4:1-13.
Okusooka, oyinza okukisanga nga kizibu okwesomesa Ekigambo kya Katonda era n’okutuukanya obulamu bwo n’emisingi gye. Naye jjukira nti bwe wali omuto, oyinza okuba nga wali toyagala bika ebimu eby’emmere eyandikugasizza. Okusobola okukula obulungi, kyali kikwetaagisa okuyiga okulya emmere ng’eyo ezimba. Mu ngeri y’emu, kiyinza okukutwalira ebiseera okutandika okwagala emitindo gya Katonda. Naye, singa onoonyiikira, ojja kutandika okugyagala era onywere mu by’omwoyo. (Zabbuli 34:8; 2 Timoseewo 3:15-17) Ojja kuyiga okwesiga Yakuwa era okubirizibwe ‘okukolanga obulungi.’—Zabbuli 37:3.
Kya lwatu, buli lunaku olina by’osalawo, ka bibe bikulu obanga si bikulu nnyo. N’olwekyo, Baibuli ekukubiriza bw’eti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Okuyiga okwesiga Yakuwa tekiggya kukuganyula kaakati lwokka naye era kijja kukuganyula emirembe gyonna, kubanga okugondera Yakuwa Katonda kituusa mu bulamu.—Matayo 7:13, 14.
[Obugambo obuli wansi]
a Okubuulirira okw’omuganyulo okwesigamiziddwa ku Baibuli kusangibwa mu bitabo Questions Young People Ask—Answers That Work ne Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka, ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ku lupapula 5]
Endowooza y’abangi eyinza okuba ng’ekubirizibwa emyoyo emibi egitalabika
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]
Mu byafaayo, abafirosoofo babadde n’endowooza ezaawukana ku nsonga ezikwata ku kituufu n’ekikyamu
SOCRATES
KANT
CONFUCIUS
[Ensibuko y’ebifaananyi]
Kant: Bigiddwa mu kitabo The Historian’s History of the World; Socrates: Bigiddwa mu kitabo A General History for Colleges and High Schools; Confucius: Sung Kyun Kwan University, Seoul, Korea