Kirisoboka Okufuna Obukuumi Obwa Nnamaddala?
ANI atasanyuka kulaba baana nga bazannya ne bazadde baabwe? Abaana bawulira essanyu era baba n’obukuumi bwe babeera ne bazadde baabwe ababafaako. Kyokka, abaana bangi tebatera kufuna ssanyu ng’eryo. Mu kifo ky’ekyo, abaana abamu baba beeraliikirivu olw’okuba tebalina wa kusula. Abaana ng’abo awamu n’abantu abalala abatalina bukuumi basobola okubeera n’essuubi?
Wadde kiyinza okulabika ng’awatali ssuubi lyonna mu biseera eby’omu maaso, Ekigambo kya Katonda kituwa essuubi. Nnabbi Isaaya yagamba nti ekiseera kirituuka buli muntu n’abeera n’obukuumi. Yawandiika: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya.”—Isaaya 65:21, 22.
Naye essuubi eryo lyesigika? Bulijjo ekintu bwe kiba “kisuubirwa” tekitegeeza nti kijja kubaawo. Ng’ekyokulabirako, mu Brazil, batera okukozesa ebigambo bino: “Essuubi kye kintu ekisembayo okufa.” Ekyo kitegeeza nti abantu bangi basigala nga balina essuubi wadde ng’essuubi eryo teririna kintu kikakafu kwe lyesigamiziddwa. Kyokka, lyo essuubi Katonda omulamu ly’atuwa lya njawulo. Omutume Pawulo yawandiika: ‘Buli alikkiriza Katonda talikwatibwa nsonyi.’ (Abaruumi 10:11) Obunnabbi bwa Baibuli obutuukiriziddwa butuwa obukakafu nti n’obunnabbi bwa Yakuwa Katonda obulala obutannatuukirizibwa bujja kutuukirira. Ebisuubizo ebyo bwe binaatuukirira, embeera eziviirako abaana okusula ku nguudo zijja kuba tezikyaliwo.
Ne leero, okubuulirira okuli mu Baibuli kuyinza okuyamba abo abatalina ssuubi okulongoosa embeera y’obulamu bwabwe ne basobola okufuna obukuumi obwa nnamaddala. Ekyo kisoboka kitya? Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo, bajja kukuyamba okufuna eky’okuddamu ku kibuuzo kino.