Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ekibiina Ekikristaayo kitwala kitya obuluvu?
Ekigambo kya Katonda kigamba nti abantu abaweereza Katonda tebateekwa kuba batamiivu oba baluvu. N’olwekyo, ekibiina Ekikristaayo kitwala abaluvu mu ngeri y’emu nga bwe kitwala abatamiivu. Omutamiivu n’omuluvu tebakkirizibwa mu kibiina Ekikristaayo.
Engero 23:20, 21 wagamba: “Tobanga ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge; mu abo abeevuubiika ennyama: kubanga omutamiivu n’omuluvu balituuka mu bwavu: n’okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina.” Mu Ekyamateeka 21:20, tusoma ku muntu ‘ow’emputtu era omujeemu,’ eyali agwanidde okuttibwa nga bwe kyali kiragiddwa mu Mateeka ga Musa. Okusinziira ku lunyiriri olwo, omuntu oyo eyali omujeemu era ateenenya yali amanyiddwa ‘ng‘omuluvu’ era ‘omutamiivu.’ Kya lwatu nti mu Isiraeri ey’edda, abo abaali baagala okuweereza Katonda, baali tebateekwa kubeera baluvu.
Kati olwo, omuluvu y’ani, era Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani bimwogerako bitya? Omuluvu “ye muntu alina omuze ogw’okululunkana, okuvaabira eby’okulya era n’okwekatankira eby’okunywa.” N’olwekyo, obuluvu ngeri emu ey’okubeera ow’omululu, era ekigambo kya Katonda kitugamba nti ‘ab’omululu’ tebajja kusikira Bwakabaka bwa Katonda. (1 Abakkolinso 6:9, 10; Abafiripi 3:18, 19; 1 Peetero 4:3) Okwongereza ku ekyo, omutume Pawulo bwe yalabula Abakristaayo ku kwewala ‘ebikolwa eby’omubiri,’ yayogera ku ‘butamiivu, ebinyumu, n’ebiri ng’ebyo.’ (Abaggalatiya 5:19-21) Okulya ekisukkiridde kutera kubeera ku binyumu. Awatali kubuusabuusa, Pawulo bwe yayogera nti “n’ebiri ng’ebyo,” yazingiramu n’obuluvu. Okufaananako ‘ebikolwa eby’omubiri’ ebirala, Omukristaayo amanyiddwa ng’omuluvu era nga si mwetegefu kukyusa mpisa ye, alina okugobwa mu kibiina.—1 Abakkolinso 5:11, 13.a
Wadde ng’Ekigambo kya Katonda kiteeka omutamiivu mu ttuluba lye limu n’omuluvu, kyangu okutegeera omutamiivu okusinga okutegeera omuluvu. Obubonero obulaga nti omuntu atamidde bulabika mangu. Naye ate, kizibu nnyo okutegeera ddi omuntu lw’afuuka omuluvu kubanga obuluvu tebuyinza kutegeererwa ku ndabika y’omuntu ey’okungulu. N’olwekyo, kyetaagisa abakadde okwegendereza era n’okukozesa amagezi nga bakola ku nsonga eno ey’obuluvu.
Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’agejjulukuka, kayinza okuba akabonero akalaga nti omuntu oyo muluvu, naye, si kye kitegeeza buli kiseera. Omuntu ayinza okugejjulukuka olw’obulwadde. Oluusi okugejjulukukaa kiyinza okuba eky’ensikirano. Tulina okukijjukira nti omuntu okugejjulukuka kyeyolekera ku mubiri ng’ate obuluvu bwo bweyolekera ku ndowooza omuntu gy’aba nayo ku by’okulya. Okugejjulukuka kinnyonnyolwa ng’okubeera n’amasavu agasukiridde mu mubiri, ng’ate obuluvu kwe kuvaabira eby’okulya oba okwekatankira eby’okunywa. N’olwekyo, obunene bw’omuntu si bwe businziirwako okugamba nti muluvu, wabula endowooza gy’alina ku by’okulya. Omuntu ayinza okuba n’obunene obw’ekigero oba nga mutono nnyo, naye ate nga muluvu. Ate era, obunene obutwalibwa okuba ng’obusaanidde bwawukana mu buli kifo.
Bubonero ki obulaga nti omuntu muluvu? Omuntu omuluvu alemererwa okwefuga, era avaabira eby’okulya okutuusa lw’aba nga takyewulira bulungi oba n’alwala. Olw’okuba tasobola kwefuga, kiba kiraga nti tafaayo ku kivume ky’aleeta ku Yakuwa ne ku bantu Be. (1 Abakkolinso 10:31) Ku luuyi olulala, omuntu alya ennyo olw’olumu, tayinza kutwalibwa kuba “muluvu.” (Abaefeso 5:5, NW) Wadde kiri kityo, okusinziira ku Abaggalatiya 6:1, Omukristaayo ng’oyo aba yeetaaga okuyambibwa. Pawulo agamba: “Ab’oluganda, omuntu bw’alabibwanga ng’ayonoonye, mmwe ab’omwoyo mumulongoosenga ali bw’atyo mu mwoyo gw’obuwombeefu.”
Lwaki okubuulirira kwa Baibuli okukwata ku buluvu kukulu nnyo leero? Kubanga Yesu yalabula bw’ati ku bikwata ku nnaku zaffe: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika.” (Lukka 21:34, 35) Okwewala obuluvu ngeri emu enkulu esobola okutuyamba okwesamba ebintu ebisobola okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo.
Mpisa ya Kikristaayo okukola ebintu mu ngeri esaanira. (1 Timoseewo 3:2, 11) N’olwekyo, Yakuwa ajja kuyamba abo bonna abassa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli okukwata ku kulya n’okunywa mu ngeri esaanidde.—Abaebbulaniya 4:16.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower aka Maayi 1, 1986.