LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w04 9/1 lup. 3-4
  • Okunoonya Essanyu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okunoonya Essanyu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Essanyu Tulinoonya mu Bintu Ebituufu?
  • Balina Essanyu Abo Abaweereza “Katonda Omusanyufu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Ekkubo Erireeta Essanyu
    Zuukuka!—2018
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 9/1 lup. 3-4

Okunoonya Essanyu

EMYAKA mitono egiyise, abantu b’omu Bufalansa, Bugirimaani, Bungereza ne Amerika baabuuzibwa, “Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna essanyu?” Ku abo abaabuuzibwa, abantu 89 ku buli 100 baagamba nti okuba n’obulamu obulungi; abantu 79 ku buli 100 baagamba nti okuba n’obufumbo obulungi; abantu 62 ku buli 100 baagamba nti okuzaala abaana; ate abantu 51 ku buli 100 baagamba nti okuba n’omulimu omulungi. Wadde nga waliwo enjogera emanyiddwa obulungi nti ssente tezireeta ssanyu, abantu 47 ku buli 100 baddamu ekibuuzo ekiri waggulu nti ze zireeta essanyu. Ebiriwo biraga ki?

Okusooka, ka twekenneenye endowooza abantu gye balina nti ssente zireeta essanyu. Okunoonyereza okwakolebwa ku bantu kikumi abasingayo obugagga mu Amerika kwalaga nti tebaali basanyufu okusinga ku bantu aba bulijjo. Ate era, wadde ng’obugagga bw’abantu bangi mu Amerika kumpi bukubisaamu emirundi ebiri okusinga bwe baalina emyaka asatu egiyise, abasawo bakizudde nti kino tekibongeddeko ssanyu. Mu butuufu, alipoota emu egamba nti: “Mu myaka asatu egiyise abantu beeyongedde bweyongezi okwennyamira. Omuwendo gw’abavubuka abetta gukubisaamu emirundi esatu. Obufumbo obusasika bukubisaamu emirundi ebiri.” Mu nsi nga 50, abakugu abaali banoonyereza okulaba obanga ssente ddala zireeta essanyu baakizuula nti si bwe kiri.

Eky’okubiri, ddala okuba n’obulamu obulungi, obufumbo obulungi, n’omulimu omulungi bisobola okuleeta essanyu? Bwe kiba nti ebintu ebyo bye byetaagisa okusobola okufuna essanyu, kati olwo tugambe nti obukadde n’obukadde bw’abantu abatalina bulamu bulungi n’abo bonna abatalina bufumbo bulungi si basanyufu? Ate kiri kitya eri abafumbo abatalina baana, era n’abantu bonna abatalina mirimu mirungi? Abantu abo bonna tebalina ssanyu? Abo abatwalibwa okuba n’essanyu olw’okuba balina obulamu obulungi n’obufumbo obulungi, essanyu lyabwe lyandibaweddeko singa embeera yaabwe ekyuka?

Essanyu Tulinoonya mu Bintu Ebituufu?

Buli omu ayagala okuba omusanyufu. Ekyo tekyewuunyisa kubanga Omutonzi waffe ayogerwako nga “Katonda omusanyufu,” era nga twakolebwa mu kifaananyi kye. (1 Timoseewo 1:11, NW; Olubereberye 1:26, 27) N’olwekyo, kya mu butonde abantu okunoonya essanyu. Wadde kiri bwe kityo, essanyu lisobola okuggwaawo.

Naye, kyandiba nti abamu bafuba ekiteetaagisa okunoonya essanyu? Eric Hoffer omukugu mu mbeera z’abantu bwatyo bwe yalowooza. Yagamba: “Okunoonya essanyu kye kimu ku bintu ebituviirako obutaba na ssanyu.” Naddala bwe kityo bwe kiba singa tunoonya essanyu mu bintu ebikyamu. Bwe tunoonya essanyu mu bintu ebikyamu, kijja kutuleetera okwejjusa. Okugezaako okufuna obugagga; ettutumu oba okumanyibwa; okuluubirira obuyinza, oba okwerowoozaako ffekka tekijja kutuviiramu ssanyu. Tekyewuunyisa nti abamu bagoberera endowooza y’omuwandiisi omu eyagamba: “Singa tulekera awo okunoonya essanyu twandibadde basanyufu”!

Mu kunoonyereza okwayogeddwako waggulu, abantu 40 ku buli 100 baagamba nti essanyu liva mu kukolera abalala ebirungi n’okubayamba. Ate era abantu 25 ku buli 100 bo baakikkaatiriza nti okuba n’okukkiriza n’eddiini birina kinene nnyo kye bikola mu kufuna essanyu. N’olwekyo, twetaaga okumanya ekiviirako okuba n’essanyu erya nnamaddala. Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okutegeera ensonga eno.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]

Bangi balowooza nti ssente, obulamu bw’amaka obulungi, oba omulimu omulungi ye nsibuko y’essanyu. Naawe bw’otyo bw’olowooza?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza