Okunoonya Gavumenti Ennungi
“Olw’okuba amawanga tegakyemalirira, kireeseewo ebizibu bingi mu nsi yonna ne kiba nti eggwanga kinnalimu terisobola kwegonjoolera bizibu byalyo. Okuggyako nga waliwo okukolera awamu, tetusobola kugonjoola bizibu olulyo lw’omuntu lwe byolekaganye nabyo.”—Ghulam Umar, ow’omu Pakistaani, eyeekenneenya eby’obufuzi.
LEERO waliwo ebintu bingi mu nsi ebitategeerekeka. Wadde ng’ensi erimu eby’obugagga bingi, bangi bafaabiina bufaabiinyi okweyimirizaawo. Omulembe guno ogwa kompyuta gwe gwandibadde gusinga okubaamu abantu abalina obuyigirize n’amagezi eby’ekika ekya waggulu, kyokka bangi bakisanga nga kizibu nnyo okufuna omulimu ogw’enkalakkalira. Wadde nga kirabika nti abantu balina eddembe okusinga bwe kyali kibadde, bukadde na bukadde bali mu kutya era beeraliikirira olw’obutamanya kiyinza kutuuka ku bulamu bwabwe. Wadde nga gye tubeera wayinza okubaayo eby’okukola bingi ebisikiriza, naye obulyi bw’enguzi n’obumenyi bw’amateeka ebicaase wonna bireetedde bangi okuggwaamu essuubi.
Ebizibu abantu bye boolekaganye nabyo mu nsi bingi nnyo ne kiba nti tewali ggwanga lyonna oba amawanga ageegasse awamu agasobola okubigonjoola. N’olwekyo, abantu bangi bagamba nti emirembe n’obutebenkevu okusobola okubaawo, amawanga gonna gateekwa okwegatta gakole gavumenti emu. Ng’ekyokulabirako, Albert Einstein yali yaleeta dda ekirowoozo kino. Mu 1946, yagamba bw’ati: “Ndi mukakafu nti abantu abasinga obungi mu nsi bandyagadde okubeera mu mirembe n’obutebenkevu. . . . Emirembe abantu gye baagala giyinza okufunika singa wateekebwawo gavumenti emu efuga ensi yonna.”
Wadde nga kati wayiseewo emyaka egisukka mu 50, ekyo tekinnaba kutuukibwako. Nga kiraga ebizibu ebiri mu kyasa ekya 21, ekitundu ekimu mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa Le Monde olw’omu Paris, Bufalansa, kyagamba bwe kiti: “Ekyetaagisa kwe kuteekawo gavumenti ey’ensi yonna ng’erina ekitongole ekiramuzi, enkola ey’obufuzi, n’amateeka agagisobozesa okubaako ky’ekola mu bwangu ddala wonna mu nsi awaba wabaluse okutta okw’ekikungo. Ekyetaagisa kwe kukkiriza ekirowoozo ekyo, olwo ng’ensi yonna ebeera wansi wa gavumenti emu.” Ani alina obuyinza n’obusobozi, okukakasa nti olulyo lw’omuntu luba n’ebiseera eby’omu maaso eby’emirembe?
Ekibiina ky’Amawanga Amagatte Kye Kinaasobola Okukola Ekyo?
Bangi basuubira nti Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kye kisobola okuleetawo emirembe mu nsi yonna. Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ye gavumenti esobola okuleetawo emirembe egya nnamaddala n’obutebenkevu mu nsi yonna? Awatali kubuusabuusa, waliwo bingi ebyogerwa bannabyabufuzi ebibuguumiriza era nga biwa essuubi. Ng’ekyokulabirako, mu ‘Kuwera kwakyo okw’Olwasa’ okwaliwo mu 2000, Olukiiko lw’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte lwalangirira bwe luti: “Tujja kukola kyonna ekisoboka okutaasa abantu baffe ekibambulira ky’entalo ezisaanyizzaawo abantu abasukka mu bukadde 5 mu myaka mitono egiyise, ka kibe nti olutalo lunaaba munda mu ggwanga oba wakati w’amawanga.” Okuweera ng’okwo kuleetedde Ekibiina ky’Amawanga Amagatte okutenderezebwa abantu bangi era n’okufuna ekirabo kya Nobel eky’emirembe eky’omwaka 2001. Nga katendereza ekibiina ekyo, akakiiko k’omu Norway akakola ku kugaba ebirabo bya Nobel kaagamba: “Ekkubo lyokka erinaatusobozesa okufuna emirembe mu nsi yonna ky’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte.”
Wadde kiri kityo, ddala Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekyatandikibwawo mu 1945, kyeraze okuba gavumenti esobola okuleeta emirembe egya nnamaddala mu nsi yonna? Eky’okuddamu kiri nti nedda, kubanga amawanga agakirimu ageefaako gokka era agaagala okufuna ettutumu, galemesezza ebigendererwa byakyo okutuukirizibwa. Omukuŋŋaanya omu ow’olupapula lw’amawulire yagamba nti, okutwalira awamu abantu batwala Ekibiina ky’Amawanga Amagatte okuba “ekintu ekikozesebwa okulaga endowooza abantu gye balina mu nsi yonna.” Era n’agattako nti “mu nteekateeka yaakyo mulimu ebintu bingi ebikubaganyiziddwako ebirowoozo okumala emyaka mingi kyokka nga tebinnaba kutuukirizibwa.” Ekyebuuzibwa kiri nti: Ddala walibaawo ekiseera amawanga lwe galyegatta?
Baibuli egamba nti obumu ng’obwo buli kumpi okubaawo. Naye kino kinaabaawo kitya? Era gavumenti ki eneesobozesa kino okubaawo? Okusobola okufuna eky’okuddamu, tukusaba osome ekitundu ekiddako.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Einstein yaleeta dda ekirowoozo eky’ensi yonna okubeera ne gavumenti emu
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Einstein: U.S. National Archives photo