LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w04 8/1 lup. 13-17
  • ‘Ekiragiro kya Yakuwa’ Tekiremererwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Ekiragiro kya Yakuwa’ Tekiremererwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Amawanga Geegugunga
  • Kabaka Omuwanguzi Yakuwa gw’Alonze
  • Yakuwa Abaduulira
  • Kabaka Katonda gw’Alonze Atuuzibwa ku Ntebe
  • Ekiragiro kya Yakuwa eri Amawanga
  • “Munywegere Omwana”
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitundu Ekisooka eky’Ekitabo kya Zabbuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 8/1 lup. 13-17

‘Ekiragiro kya Yakuwa’ Tekiremererwa

“Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange . . . Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo.”​—ZABBULI 2:7, 8.

1. Njawulo ki eriwo wakati w’ekigendererwa kya Katonda n’eky’amawanga?

YAKUWA KATONDA alina ekigendererwa eri abantu n’ensi. N’amawanga nago galina ekigendererwa. Naye ekigendererwa kya Yakuwa kya njawulo nnyo ku ky’amawanga. Kino kiri bwe kityo olw’okuba Katonda agamba: “Eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.” Ekigendererwa kya Katonda kijja kutuukirira kubanga ayongera n’agamba: “Enkuba nga bw’ekka n’omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n’omuli eby’okulya; bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”​—Isaaya 55:9-11.

2, 3. Kiki ekiragibwa obulungi mu zabbuli ey’okubiri, naye bibuuzo ki ebijjawo?

2 Zabbuli ey’okubiri ekiraga bulungi nti ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku Kabaka we Masiya gw’alonze kijja kutuukirira. Omuwandiisi waayo, Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda, Katonda yamuluŋŋamya okulagula nti wandibaddewo ekiseera amawanga lwe gandibadde mu keegugungo. Abafuzi baago bandirwanyisiza Yakuwa Katonda n’Oyo gwe Yafukako Amafuta. Kyokka, omuwandiisi wa zabbuli yayimba bw’ati: “Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange . . . Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, n’ensonda z’ensi okubeera amatwale go.”​—Zabbuli. 2:7, 8.

3 ‘Ekiragiro kya Yakuwa’ kitegeeza ki eri amawanga? Kikwata kitya ku bantu bonna okutwalira awamu? Era ekiragiro ekyo kitegeeza ki eri abantu ba Katonda abasoma zabbuli ey’okubiri?

Amawanga Geegugunga

4. Ensonga enkulu eziri mu Zabbuli 2:1, 2 ze ziruwa?

4 Ng’ayogera ku bikolwa by’amawanga n’abafuzi baago, omuwandiisi wa Zabbuli agamba bw’ati: ‘Kiki ekigugumusizza ab’amawanga, n’abantu kiki ekibalowoozesezza ekintu ekitaliimu nsa? Bakabaka ab’ensi beeteeseteese, n’abafuga bateesezza okulwanyisa Yakuwa ne Masiya we.’​—Zabbuli 2:1, 2.a

5, 6. Amawanga ‘galowooza kintu ki ekitaliimu nsa’?

5 Kintu ki ‘ekitaliimu nsa’ amawanga ‘kye galowooza’? Mu kifo ky’okukkiriza Oyo Katonda gw’Afuseeko Amafuta​—Masiya oba Kristo​—amawanga ‘galowooza,’ ku kya kwongera mu maaso obufuzi bwago. Ebigambo bino ebiri mu zabbuli eyokubiri byatuukirizibwa ku kigero ekitono mu kyasa ekyasooka C.E., ab’obuyinza mu Bayudaaya ne mu Baruumi bwe beekobaana okutta Yesu Kristo, Kabaka, Katonda gw’Alonze. Kyokka, okutuukirizibwa kwabyo okukulu kwatandika mu 1914 Yesu bwe yafuulibwa Kabaka mu ggulu. Okuva mu kiseera ekyo, tewali nsi n’emu ekkiriza Kabaka, Katonda gw’ataddewo.

6 Omuwandiisi wa zabbuli yali ategeeza ki bwe yabuuza nti ‘lwaki amawanga galowooza ekintu ekitaliimu nsa’? Yali ategeeza nti ekigendererwa kyago tekigasa; era nti kijja kulemererwa. Tegasobola kuleetawo mirembe na bumu mu nsi. Wadde kiri kityo, gaziyiza obufuzi bwa Katonda. Mazima ddala, geegasse wamu okulwanyisa Oyo Ali Waggulu Ennyo n’Oyo gw’Afuseeko Amafuta. Nga kya busiru nnyo!

Kabaka Omuwanguzi Yakuwa gw’Alonze

7. Mu kusaba kwabwe, abagoberezi ba Yesu abaasooka baalaga nti Zabbuli 2:1, 2 yali eyogera ku ani?

7 Abagoberezi ba Yesu baalaga nti ebigambo ebiri mu Zabbuli 2:1, 2 byogera ku Yesu. Nga bayigganyizibwa olw’okukkiriza kwabwe, baasaba bwe bati: “[Yakuwa], ggwe eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebirimu byonna, ggwe eyayogerera ku bw’omwoyo omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi [o]mulenzi wo nti ab’amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, n’ebika birowoozezza ebitaliimu? Bakabaka b’ensi basimba ennyiriri, n’abakulu baakuŋŋaanira wamu ku Mukama ne Kristo we: kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku Mulenzi wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode [Antipa] ne Ponti[y]o Piraato wamu n’ab’amawanga n’ebika bya Isiraeri.” (Ebikolwa 4:24-27; Lukka 23:1-12)b Yee, mu kyasa ekyasooka olukwe lwakolebwa okutta Yesu omuweereza wa Katonda gwe yafukako amafuta. Kyokka, zabbuli eno yandituukiriziddwa ku kigero ekisingawo mu byasa eby’omu maaso.

8. Zabbuli 2:3 lukwata lutya ku mawanga agaliwo leero?

8 Isiraeri ey’edda bwe yabanga ne kabaka, gamba nga Dawudi, amawanga amakaafiiri era n’abafuzi geegatta wamu okulwanyisa Katonda n’oyo gw’afuseeko amafuta. Kiri kitya mu kiseera kyaffe? Amawanga agaliwo leero tegatuukiriza Yakuwa ne Masiya bye bageetaagisa. N’olwekyo, amawanga googerwako ng’agagamba: “Ka tumenyemenye enjegere zaabwe, tusuule wala emigwa gyabwe.” (Zabbuli 2:3) Abafuzi n’amawanga tebagondera mateeka agateekeddwawo Katonda n’Oyo gwe Yafukako Amafuta. Kya lwatu, amawanga ne bwe ganaafuba gatya okukutula enjegere ezo n’okusuula emigwa egyo gajja kulemererwa.

Yakuwa Abaduulira

9, 10. Lwaki Yakuwa aduulira amawanga?

9 Eky’okuba nti amawanga gaagala okwefuga gokka tekirina kye kikola ku Yakuwa. Zabbuli eyokubiri eyongera n’egamba: “Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira.” (Zabbuli 2:4) Katonda yeeyongera mu maaso okutuukiriza ekigendererwa kye nga gy’obeera abafuzi abo tebaliiwo. Abasekerera olw’okumunyooma era n’abaduulira. Ne bwe beewaana olw’ekyo kye bateekateeka okukola, Yakuwa ye alaba nti bagwanidde kusekererwa busekerezi. Abasekerera kubanga okuziyiza kwabwe tekujja kuvaamu kalungi konna.

10 Mu zabbuli endala, Dawudi ayogera bw’ati ku bantu n’amawanga: “Gwe, ai Mukama Katonda ow’eggye, Katonda wa Isiraeri, ogolokoke obuulirire amawanga gonna: tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. Bakomawo akawungeezi, bakaaba ng’embwa, beetooloola ekibuga. Laba, beebajjagala n’akamwa kaabwe: ebitala biri mu mimwa gyabwe: kubanga boogera nti ani awulira? Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; oliduulira amawanga gonna.” (Zabbuli 59:5-8) Yakuwa asekerera amawanga ageewaana, agali mu kavuyo era olw’obusirusiru bwago agagezaako okumulwanyisa.

11. Kiki ekibaawo amawanga bwe gagezaako okuziyiza ekigendererwa kya Katonda?

11 Ebigambo bya Zabbuli 2 bitukakasa nti Katonda asobola okugonjoola ekizibu kyonna. Tusobola okuba abakakafu nti atuukiriza ky’ayagala era tayinza kwabulira baweereza be abeesigwa. (Zabbuli 94:14) Kati olwo, kiki ekibaawo amawanga bwe gagezaako okuziyiza ekigendererwa kya Yakuwa? Okusinziira ku Zabbuli eno, Katonda ‘ajja kwogeza busungu gye bali,’ n’eddoboozi eriringa okubwatuka kwa laddu. Era, “mu kiruyi kye ekingi,” ekiringa okumyansa kwa laddu, ‘ajja kubateganya.’​—Zabbuli 2:5.

Kabaka Katonda gw’Alonze Atuuzibwa ku Ntebe

12. Zabbuli 2:6 eyogera ku bufuzi ki?

12 Yakuwa ky’addako okwogera okuyitira mu muwandiisi wa zabbuli nakyo kireetera amawanga okweraliikirira. Katonda alangirira bw’ati: “N[n]aateeka kabaka wange ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.” (Zabbuli 2:6) Olusozi Sayuuni lwali mu Yerusaalemi, Dawudi gye yatuuzibwa ku ntebe nga kabaka wa Isiraeri. Naye Masiya tajja kutuuzibwa ku ntebe mu kibuga ekyo oba mu kifo ekirala kyonna ku nsi. Mu butuufu, Yakuwa amaze okutuuza Yesu Kristo ku ntebe nga Kabaka gw’alonze era ng’ajja kufugira ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu.​—Okubikkulirwa 14:1.

13. Ndagaano ki Yakuwa gye yakola n’Omwana we?

13 Kati Kabaka Masiya ayogera. Agamba bw’ati: “Ka njogera ku kiragiro kya Yakuwa [amaze okukola endagaano y’Obwakabaka n’Omwana we]; ye [Yakuwa Katonda] aŋŋambye nti: Ggwe oli mwana wange; leero nkuzadde.” (Zabbuli 2:7, NW) Kristo yayogera ku ndagaano y’Obwakabaka bwe yagamba abatume be nti: “Mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze.”​—Lukka 22:28, 29.

14. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yesu agwanidde okubeera kabaka?

14 Nga bwe kyalagulwa mu Zabbuli 2:7, Yakuwa yakiraga nti Yesu Mwana We ng’abatizibwa era ne bwe yamuzuukiza mu bulamu obw’omwoyo. (Makko 1:9-11; Abaruumi 1:4; Abaebbulaniya 1:5; 5:5) Mazima ddala, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, ye Kabaka w’Obwakabaka obw’omu ggulu. (Yokaana 3:16) Okuva bwali mu lulyo olulangira olwa Kabaka Dawudi, tewaliiwo kubuusabuusa kwonna nti agwanidde okuba kabaka. (2 Samwiri 7:4-17; Matayo 1:6, 16) Okusinziira ku Zabbuli eno, Katonda agamba bw’ati Omwana we: “Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, n’ensonda ez’ensi okubeera amatwale go.”​—Zabbuli 2:8.

15. Lwaki Yesu asaba amawanga gamuweebwe ng’obusika?

15 Kabaka​—Omwana wa Katonda kennyini, y’addirira Yakuwa mu buyinza. Olw’okuba Yesu teyekkiriranya ng’agezesebwa, Yakuwa yakikakasa nti mwesigwa era nti mugolokofu. Ate era, Yesu y’agwanidde okuba omusika kubanga ye Mwana wa Katonda Omubereberye. Mazima ddala, Yesu Kristo “kye kifaananyi kya Katonda atalabika omubereberye w’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Kye yeetaaga okukola kwe kusaba Katonda ‘okumuwa amawanga okubeera obusika bwe, n’ensonda z’ensi okubeera amatwale ge.’ Yesu asaba obusika buno olw’okuba ‘asanyukira ebintu ebikwata ku baana b’abantu’ era ng’ayagala nnyo okukola ebyo Kitaawe ow’omu ggulu by’ayagala bikolebwe ku nsi ne ku lw’abantu.​—Engero 8:30, 31.

Ekiragiro kya Yakuwa eri Amawanga

16, 17. Okusinziira ku Zabbuli 2:9, kiki ekinaatuuka ku mawanga?

16 Okuva zabbuli eyokubiri bw’etuukirizibwa kati, mu kiseera ky’okubeerawo kwa Yesu Kristo okutalabika, kiki ekinaatuuka ku mawanga? Kabaka ono ajja kutuukiriza ekiragiro kya Katonda kino: ‘Oligamenya n’omuggo ogw’ekyuma; oligaasayasa ng’entamu ey’omubumbi.’​—Zabbuli 2:9.

17 Emiggo gya bakabaka ab’edda gyalinga gikiikirira obuyinza bwe baalina. Emiggo egimu gyabanga gya kyuma, ng’ogwo ogwogerwako mu zabbuli. Olulimi olw’akabonero olukozeseddwa wano lulaga nti kijja kwanguyira Kristo Kabaka okuzikiriza amawanga. Ekibya eky’ebbumba bwe kikubibwa omuggo ogw’ekyuma kyatikayatikira ddala.

18, 19. Abafuzi b’ensi beetaaga kukola ki okusobola okusiimibwa Katonda?

18 Abafuzi b’amawanga tebayinza kwewala kuzikirizibwa? Basobola okukwewala kubanga omuwandiisi wa Zabbuli abakubiriza bw’ati: “Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka: muyige, mmwe abasala omusango gw’ensi.” (Zabbuli 2:10) Bakabaka bakubirizibwa okussaayo omwoyo ku bigambo ebyo, n’okubeera n’amagezi. Balina okukitegeera nti enteekateeka zaabwe tezirina kalungi konna ke zijja kuleeta, bw’ozigeraageranya n’ekyo Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukolera abantu.

19 Okusobola okusiimibwa Katonda, bakabaka b’ensi balina okukyusa ekkubo lye bakutte. Bakubirizibwa ‘okuweereza Mukama n’okutya, era basanyuke n’okukankana.’ (Zabbuli 2:11) Kiba kitya singa bagoberera amagezi ago? Mu kifo ky’okwegugunga, bandibadde basanyuka olw’essuubi Kabaka ly’abateereddewo. Kyandibeetaagisizza obutaba ba malala mu bufuzi bwabwe. Ate era, bandikoze enkyukakyuka ezo mu bwangu ddala era bakitegeere nti obufuzi bwa Yakuwa tebwenkanika era nti amaanyi ga Katonda ne Masiya we gasingira wala nnyo aga bakabaka.

“Munywegere Omwana”

20, 21. Kitegeeza ki ‘okunywegera omwana’?

20 Kati Zabbuli 2 ekubiriza abafuzi b’amawanga mu ngeri ey’ekisa. Mu kifo ky’okwegatta awamu okumuziyiza, bakubirizibwa bwe bati: “Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu.” (Zabbuli 2:12a) Yakuwa, Mukama Afuga Byonna agwanidde okugonderwa bw’aba alina ekiragiro ky’awadde. Katonda bwe yatuuza Omwana we ku ntebe, abafuzi b’ensi bandibadde balekera awo ‘okulowooza ebintu ebitaliimu nsa.’ Bandibadde bakkiririzaawo Kabaka oyo era ne bamugondera mu bujjuvu.

21 Lwaki abafuzi b’ensi balina “okunywegera omwana”? Mu kiseera zabbuli eno we yawandiikirwa, okunywegera kaali kabonero akalaga omukwano, era kaakozesebwanga okwaniriza abagenyi awaka. Era okunywegera kabonero akooleka obwesigwa. (1 Samwiri 10:1) Mu lunyiriri luno olwa zabbuli eyokubiri, Katonda alagira amawanga okunywegera, oba okwaniriza Omwana we nga Kabaka gwe yafukako amafuta.

22. Abafuzi b’ensi bagwanidde kugondera kulabula ki?

22 Abo abagaana okukkiriza obuyinza bwa Kabaka Katonda gw’alonze, baba banyooma Yakuwa. Tebakkiriza bufuzi bwa Yakuwa Katonda obw’obutonde bwonna, amaanyi ge, era n’obuyinza bw’alina okulonda Kabaka asobola okufuga obulungi abantu. Abafuzi b’amawanga Katonda ajja kubazikiriza mbagirawo nga bagezaako okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe. “Obusungu bwe bulibuubuuka mangu,” oba bulijja mangu nnyo era nga tewali asobola kubuziyiza. Abafuzi b’amawanga bagwanidde okugondera okulabula kuno era n’okubaako kye bakolawo amangu ddala. Bwe banaakikola kijja kubaviiramu okufuna obulamu.

23. Abantu kinnoomu bandikozesezza batya akaseera akasigaddeyo?

23 Zabbuli eno efundikira bw’eti: ‘Balina essanyu abo abeeyuna Yakuwa.’ (Zabbuli 2:12b) Abantu kinnoomu era n’abafuzi kinnoomu ababadde bagezaako okutuukiriza enteekateeka zaabwe ez’okuleeta emirembe bakyalinawo akaseera okubaako kye bakolawo basobole okuwonawo. Bakyayinza okudda eri Yakuwa, asobola okubawa obukuumi wansi w’Obwakabaka bwe. Naye balina okukikola ng’Obwakabaka bwa Masiya tebunnazikkiriza mawanga agabuziyiza.

24. Tusobola tutya okuba n’obulamu obumatiza mu nsi eno ejjudde emitawaana?

24 Bwe tunyiikirira okusoma Ebyawandiikibwa n’okukolera ku kubuulirira kwe biwa, tusobola okuba n’obulamu obumatiza wadde nga tuli mu nsi ejjudde emitawaana. Bwe tussa mu nkola okubuulirira kw’Ebyawandiikibwa kireetera amaka gaffe okuba amasanyufu, obuteeraliikirira wadde okutya ng’abantu b’ensi. Bwe tugoberera obulagirizi bwa Baibuli, tuba bamativu nti tusanyusa Omutonzi waffe. Ng’oggyeko Omufuzi w’Obutonde Bwonna, tewali muntu n’omu asobola okutuwa ‘obulamu kati ne mu kiseera ekijja’ oluvannyuma lw’okuggya ku nsi abo bonna abaziyiza obufuzi bw’Obwakabaka bwe.​—1 Timoseewo 4:8.

25. Okuva ‘ekiragiro kya Yakuwa’ bwe kitalemererwa, kiki kye tusuubira okubaawo mu kiseera kyaffe?

25 ‘Ekiragiro kya Yakuwa’ tekiremererwa. Ng’Omutonzi waffe, Katonda amanyi ekisingayo okuba ekirungi eri abantu era ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eky’okuwa abantu abawulize eddembe, obumativu n’obukuumi obw’enkalakkalira wansi w’Obwakabaka bw’Omwana we omwagalwa. Ku bikwata ku kiseera kyaffe, Danyeri yawandiika bw’ati: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna . . . naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) Mazima ddala, kati kye kiseera ‘okunywegera Omwana’ era n’okuweereza Yakuwa, Mukama Afuga Byonna!

[Obugambo obuli wansi]

a Mu kusooka, Kabaka Dawudi ye yali ‘eyafukibwako amafuta,’ ate ‘bakabaka b’ensi’ be baali abafuzi Abafirisuuti abaakunga amagye gaabwe okumulwanyisa.

b Ebyawandiikibwa ebirala eby’Oluyonaani nabyo biraga nti Zabbuli eno eyokubiri eyogera ku Yesu, Katonda gwe Yafukako Amafuta. Kino kyeyoleka bulungi bw’ogeraageranya Zabbuli 2:7, Ebikolwa 13:32, 33 ne Abaebbulaniya 1:5; 5:5. Era laba Zabbuli 2:9 ne Okubikkulirwa 2:27.

Wandizzeemu Otya?

• Kintu ki ‘ekitaliimu nsa’ amawanga kye ‘galowooza’?

• Lwaki Yakuwa aduulira amawanga?

• Ekiragiro kya Katonda eri amawanga kye kiruwa?

• ‘Okunywegera omwana’ kitegeeza ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Abafuzi n’abantu ba Isiraeri beekobaana okulwanyisa Yesu Kristo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Kristo ateekeddwaawo nga Kabaka ku Lusozi Sayuuni olw’omu ggulu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza