Ddiini Ki gy’Osaanidde Okulondawo?
‘EDDIINI zonna makubo bukubo ag’enjawulo nga gonna gagenda mu kifo kimu. Anti era waliwo Katonda omu yekka, si bwe kiri?’ Endowooza eyo eri mu bantu bangi abagamba nti wadde nga kikulu omuntu okuba n’eddiini, si kikulu ddiini ki gy’asalawo okubeeramu.
Bw’oba tofumiitirizza nnyo, endowooza eyo eyinza okulabika ng’entuufu, okuva bwe kiri nti waliwo Katonda omu yekka, Omuyinza w’Ebintu Byonna. (Isaaya 44:6; Yokaana 17:3; 1 Abakkolinso 8:5, 6) Kyokka, tetuyinza kubuusa maaso obutali bumu obuli mu madiini mangi agagamba nti gaweereza Katonda ow’amazima. Gaawukana nnyo mu bintu bye gakola, mu nzikiriza zaago, mu njigiriza zaago ne mu bye geetaaza abagoberezi baago. Enjawukana ezo za maanyi nnyo ne kiba nti abali mu ddiini emu bakisanga nga kizibu nnyo okutegeera oba okukkiriza eddiini endala by’eyigiriza.
Ku luuyi olulala, Yesu yagamba: “Katonda gwe Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Bwe tuba tusinza Katonda mu mazima tusobola okuba n’endowooza ezikontana ezikwata ku Katonda ky’ali, ku bigendererwa bye, era n’engeri gy’ayagala asinzibwemu? Kiba kya magezi okulowooza nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna tafaayo ku ngeri ki gye tumusinzaamu?
Abakristaayo ab’Amazima mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka oluusi baabanga n’endowooza ezaawukana ku bintu ebimu. Ng’ekyokulabirako, ng’ayogera ku abo abaali mu Kkolinso, omutume Pawulo yagamba: “Nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab’omu nnyumba ya Kuloowe, ng’eriyo ennyombo mu mmwe. Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; nange wa Apolo; nange wa Keefa; nange wa Kristo.”—1 Abakkolinso 1:11, 12.
Enjawukana ezo Pawulo yazitwala ng’ezitaali za maanyi? Buli omu yali agoberera kkubo lye era nga lisobola okumutuusa mu bulokozi? N’akatono! Pawulo yababuulirira: “Mbeegayirira ab’oluganda, olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna okwogeranga obumu, so okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mugattirwenga ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu.”—1 Abakkolinso 1:10.
Kya lwatu, abantu tebasobola kuwalirizibwa kuba bumu mu kukkiriza. Obumu obwo babufuna nga buli omu yeekenneenya ku lulwe ensonga ekwatibwako era ne bagitegeera mu ngeri y’emu bonna. N’olwekyo, okweyigiriza Ekigambo kya Katonda era n’okwagala okussa mu nkola bye kigamba, bye bisobozesa abantu okutuuka mu bumu Pawulo bwe yayogerako. Obumu ng’obwo waliwo ababutuuseeko? Nga bwe tumaze okulaba, okuva edda Katonda abadde akolagana n’abantu be nga bali wamu ng’ekibiina. Kisoboka okuzuula ekibiina ekyo leero?
Emiganyulo Egiva mu Kukolagana n’Ekibiina Ekisiimibwa Katonda
Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli yabuuza: “Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani?” Mazima ddala ekyo kibuuzo kikulu nnyo ekireetera omuntu okulowooza. Dawudi yawa eky’okuddamu: “Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, era ayogera eby’amazima mu mutima gwe.” (Zabbuli 15:1, 2) Okutegeera obulungi Baibuli kijja kusobozesa omuntu okuzuula eddiini etuukiriza ebisaanyizo bya Katonda ebyo. Ate era omuntu bw’akolagana n’ekibiina ekyo, aganyulwa nnyo olw’okubeera awamu n’abantu abasinza Katonda mu bumu era ne mu “mwoyo n’amazima.”
Abajulirwa ba Yakuwa bakiraze nti ne mu nsi ey’akakyo kano eyeeyawuddeyawudde kisoboka okuba n’obumu mu nzikiriza ne mu nneeyisa. Mu kibiina kyabwe mulimu abantu bangi ab’amawanga ag’enjawulo era abaava mu madiini ag’enjawulo. Abajulirwa abamu baali babuusabuusa obanga Katonda gy’ali oba baali tebamukkiririzaamu. Ate abalala eby’eddiini baali tebabirowoozzaako. Abantu abalina obumu obutali mu ddiini ndala yonna mu nsi leero, baava mu madiini ag’enjawulo oba baalina endowooza ezifaanana bwe zityo.
Ensibuko y’obumu obwo kye Kigambo kya Katonda, Baibuli. Kya lwatu, Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti tebayinza kukaka balala kubaako kye bakola. Naye basiima enkizo gye balina ey’okukubiriza abalala okuyiga Baibuli basobole okweyambisa ky’egamba nga basalawo ensonga ezikwata ku kusinza. Mu ngeri eyo, abalala bangi basobola okufuna emiganyulo egiva mu kusinza Katonda “mu mwoyo n’amazima.”
Kyangu nnyo leero okutwalirizibwa era n’okusikirizibwa ebintu eby’akabi. N’olwekyo kikulu nnyo okulonda emikwano emirungi. Baibuli egamba nti: ‘Atambula n’abantu ab’amagezi, naye anaabanga n’amagezi’ era nti “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (Engero 13:20; 1 Abakkolinso 15:33) Kya bukuumi okukolagana n’abantu abasinza Katonda mu ngeri entuufu. N’olwekyo, Baibuli etujjukiza: “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.” (Abaebbulaniya 10:24, 25) Nga guba muganyulo gwa maanyi nnyo ab’emikwano aba nnamaddala n’ab’oluganda mu by’omwoyo, bwe bayambagana okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Katonda!
Ekintu ekyo Ottmar asobodde okukikakasa. Wadde nga yazaalibwa mu maka Mukatoliki mu Bugirimaani, ng’akyali mwana muto yalekera awo okugenda mu ekkereziya. Agamba: “Buli lwe nnagendanga mu ekkereziya, nnavangayo nga sirina kintu kyonna eky’omuganyulo kye njizeeyo.” Wadde kyali kityo, yali akyakkiririza mu Katonda. Oluvannyuma yasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa era n’asobola okukakasa nti be baweereza ba Katonda ab’amazima. Yategeera obukulu bw’okukolagana nabo. Kati agamba: “Olw’okuba ndi mu kibiina kino ekibunye ensi yonna, nnina emirembe mu mutima ne mu birowoozo. Nnyambibwa okufuna okumanya okutuufu okuva mu Baibuli. Ekyo nkitwala nga kya muwendo nnyo.”
Okukubiriza Abo Abanoonya
Abantu ab’endowooza emu abakolera awamu ng’ekibiina basobola okutuukiriza obulungi kye baba bakola okusinga abo abakola ebintu nga buli omu akola ku bubwe yekka. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba bw’ati abayigirizwa be ng’anaatera okugenda: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’omwana n’omwoyo omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira.” (Matayo 28:19, 20) Omulimu ogwo gwandisobodde gutya okutuukirizibwa obulungi singa tewaaliwo bulagirizi oba ekibiina? Omuntu omu yandisobodde atya okugondera ekiragiro ekyo eky’omu Byawandiikibwa singa yali wa kuweereza Katonda ku bubwe yekka?
Omwaka oguwedde, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna baagaba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebiwerera ddala 91,933,280 awamu ne magazini 697,603,247, mu ngeri eyo, ne basobola okutuusa obubaka obuva mu Kigambo kya Katonda ku bukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi 235. Obwo nga bukakafu bwa maanyi obulaga nti abantu abali obumu ng’ekibiina ekitegekeddwa obulungi basobola okutuukiriza ebintu bingi nnyo okusinga omuntu ali yekka!
Ng’oggyeko okugaba ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Baibuli ku bwereere nga babayamba okutegeera Katonda by’abeetaaza. Omwaka oguwedde baayigiriza Baibuli abantu 5,726,509 buli wiiki. Kino kisobozesezza abantu okufuna okumanya kwe beetaaga okusobola okwesalirawo ebikwata ku nsonga ez’okusinza. Okubirizibwa okuyiga Katonda by’akwetaagisa nga bwe biri mu Baibuli. Mu ngeri eyo, ojja kusobola okwesalirawo.—Abaefeso 4:13; Abafiripi 1:9; 1 Timoseewo 6:20; 2 Peetero 3:18.
Bw’oba oyagala okusanyusa Katonda, olina okubeera mu kibiina ky’eddiini, naye si ddiini yonna. Kyokka, ng’olondawo eddiini gy’olina okubeeramu, olina kwesigama ku kumanya okutuufu okuli mu Baibuli, so si ku kuteebereza buteebereza oba ku ebyo by’oba owulidde obuwulizi ku balala. (Engero 16:25) Yiga eddiini ey’amazima by’ekwetaagisa okutuukiriza. Bigeraageranye n’ebyo by’okkiririzaamu. Oluvannyuma, salawo ng’osinziira ku ekyo.—Ekyamateeka 30:19.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu mu nsi etali bumu