Ekiseera Katonda by’Ayagala Lwe Binaakolebwa ku Nsi
YESU bwe yagamba abayigirizwa be okusaba nti, “By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu,” yali ayogera ku kintu ky’amanyi obulungi, olw’okuba yaliko mu ggulu ne Kitaawe. (Matayo 6:10; Yokaana 1:18; 3:13; 8:42) Nga Yesu tannajja ku nsi, waaliwo ekiseera nga buli kimu ekyali kikolebwa mu ggulu ne ku nsi kituukagana ne Katonda by’ayagala. Ekyo kyali kiseera kya ssanyu nnyo.—Engero 8:27-31.
Ebitonde bya Katonda ebyasooka byali bya mwoyo, kwe kugamba, ‘bamalayika be abazira, ab’amaanyi, era abatuukiriza ekigambo kye.’ Baali era bakyali “baweereza be, abakola by’ayagala.” (Zabbuli 103:20, 21) Bamalayika baalina eddembe ery’okwogera n’okwesalirawo? Yee baalirina. Era ne mu kutondebwa kw’ensi, ‘abaana ba Katonda baayogerera waggulu olw’essanyu.’ (Yobu 38:7) Okwoleka essanyu kyalaga nti baasiima Katonda olw’ebyo bye yali ateeseteese, era ne batuukanya bye bakola n’ebyo Katonda by’ayagala.
Nga Katonda amaze okutonda ensi, yagiteekateeka esobole okutuulwamu abantu era mu nkomerero yatonda omusajja n’omukazi abaasooka. (Olubereberye, essuula 1) Kino nakyo kyali kigwanira okusiimibwa? Ebigambo ebyaluŋŋamizibwa bigamba: “Katonda n’alaba buli ky’akoze; era, laba [nga] kirungi nnyo,” yee nga kituukiridde.—Olubereberye 1:31.
Kiki Katonda kye yali ayagaliza bazadde baffe abaasooka n’abaana baabwe? Okusinzira ku Olubereberye 1:28, yali abaagaliza birungi byereere: “Katonda n’abawa omukisa: Katonda n’abagamba nti: Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” Okusobola okukola omulimu guno ogw’ekitalo, kyali kyetaagisa bazadde baffe abaasooka era n’abaana baabwe okubeera abalamu emirembe gyonna. Tewaali wa kubaawo kabi, butali bwenkanya, nnaku, oba okufa.
Mu kiseera ekyo Katonda by’ayagala byali bikolebwa mu ggulu ne ku nsi. Abo abaakola Katonda by’ayagala baafuna essanyu lingi nnyo. Naye kiki ekyasoba?
Nga tekisuubirwa, waabalukawo ekizibu ekyaviirako Katonda okusoomoozebwa. Kyokka, ekizibu ekyo kyali kisobola okugonjoolebwa. Wadde nga kyali kityo, okusoomooza okwo kwaleetawo ennaku n’obulumi ebyandireetedde abantu okubuzaabuzibwa ku bikwata ku kigendererwa kya Katonda eri abantu. Ffenna embeera eno etuyisizza bubi. Katonda yasoomoozebwa atya?
Ekigendererwa kya Katonda mu Kiseera eky’Obujeemu
Omu ku “baana ba Katonda” ab’omwoyo yalaba nti asobola okugootanya ekigendererwa kya Katonda, mu ngeri eyo ye aganyulwe. Ekitonde kino eky’omwoyo gye kyakoma okulowooza ku kiruubirirwa ekyo, gye kyakoma n’okusikiriza era n’okulabika nti kisoboka okutuukibwako. (Yakobo 1:14, 15) Ekitonde kino kiyinza okuba ky’alowooza nti singa kireetera abantu ababiri abaasooka okukiwuliriza mu kifo ky’okuwuliriza Katonda, awo Katonda yandibadde awalirizibwa okukkiriza okuvuganyizibwa. Kiyinza n’okuba ky’alowooza nti Katonda teyandibazikirizza, okuva bwe kyanditegeezezza nti ekigendererwa kye kigudde butaka. Mu kifo ky’okubazikiriza, Yakuwa Katonda yandikyusizza bukyusa mu kigendererwa kye, n’akkiriza obuyinza bw’ekitonde kino abantu be yatonda gwe bandibadde bagondera. Nga kituukirawo, ekitonde kino ekijeemu oluvannyuma kyayitibwa Setaani, kwe kugamba, “Omuziyiza.”—Yobu 1:6.
Ng’akolera ku kwegomba kwe, Setaani yatuukirira omukazi. Yamukubiriza okusuula omuguluka ebyo Katonda bye yali ayagala abe nga yeemalirira. Yamugamba: ‘Okufa temulifa naye muliba nga Katonda nga mumanyi ekirungi n’ekibi.’ (Olubereberye 3:1-5) Eri omukazi, ebigambo ebyo byalabika ng’ebimuwa eddembe, era n’alowooza nti bwe yandibikkirizza yandibadde mu bulamu obusingako obulungi. Oluvannyuma, yasendasenda bbaawe okumwegattako.—Olubereberye 3:6.
Ekyo Katonda si kye yali ayagaliza Adamu ne Kaawa. Naye bo kye baali baagala. Era kyandibaleetedde emitawaana. Katonda yali amaze okubagamba nti obujeemu bwandibaviiriddemu okufa. (Olubereberye 3:3) Tebaatondebwa kwefuga awatali bulagirizi bwa Katonda. (Yeremiya 10:23) Okugatta ku ekyo, bandibadde tebakyali batuukirivu, era n’abaana be bandizadde tebandibadde batuukirivu era bandibadde nga bafa. (Abaruumi 5:12) Setaani yali tasobola kukyusa mbeera eyo.
Ebyo ebyaliwo byaleetera Katonda okukyusa ekigendererwa kye eri abantu n’ensi? Nedda. (Isaaya 55:9-11) Naye byaleetawo ensonga ezaali zeetaaga okugonjoolebwa: Omuntu asobola “okuba nga Katonda, ng’amanyi ekirungi n’ekibi,” nga Setaani bwe yagamba? Mu ngeri endala, singa tubeera n’ekiseera ekimala tuyinza okwesalirawo kinnoomu ekituufu n’ekikyamu, ekiganyula oba eky’akabi, mu buli mbeera ya bulamu bwaffe? Ddala Katonda agwanidde okugonderwa mu bujjuvu olw’okuba engeri gy’afugamu y’esingayo obulungi? Tusaanidde okukola by’ayagala mu bujjuvu? Wandizzeemu otya ebibuuzo bino?
Waaliwo engeri emu yokka ey’okugonjoolamu ensonga zino nga bamalayika n’abantu balaba: Kwe kuleka abo abaali baagala obwetwaze okwefuga awatali bulagirizi bwa Katonda. Okubazikiriza tekwandigonjodde nsonga eyajjawo. Okuleka abantu okubeerawo ku lwabwe okumala ekiseera kyandigonjodde ensonga kubanga ebyandivuddemu byandyeyolese bulungi eri buli omu. Katonda yakiraga nti ensonga yandizikutte mu ngeri eno bwe yagamba omukazi nti yali wa kuzaala abaana. Bwe kityo amaka gaatandika. Eyo ye nsonga lwaki weetuli leero!—Olubereberye 3:16, 20.
Kyokka, kino kyali tekitegeeza nti, Katonda yandirese abantu era n’ekitonde kino eky’omwoyo ekijeemu okukola kyonna kye bandyagadde. Katonda teyeggyako buyinza, wadde okuva ku kigendererwa kye. (Zabbuli 83:18) Ekyo yakiraga bulungi bwe yayogera ku kuzikiriza oyo eyatandikawo obujeemu era n’okumalawo emitawaana gyonna egyaleetebwawo omujeemu ono. (Olubereberye 3:15) N’olwekyo, okuva ku ntandikwa, olulyo lw’omuntu lwasuubizibwa okufuna obuweerero.
Kyokka, bazadde baffe abaasooka beekutula ku bufuzi bwa Katonda era n’abaana be bandizadde. Okusobola okuziyiza ebibi ebyandivudde mu kusalawo kwabwe kyandibadde kyetaagisa Katonda okubakaka okukola by’ayagala. Ekyo kyandibadde kitegeeza nti tabalese kwefuga ku lwabwe.
Kya lwatu, abantu abamu bandironzeewo obufuzi bwa Katonda. Banditegedde ekyo Katonda ky’abeetaagisa okukola era ne bafuba okukikola. (Zabbuli 143:10) Wadde kyandibadde kityo, bandifunye ebizibu okuva abantu bwe bandibadde nga bakyefuga awatali bulagirizi bwa Katonda.
Ebyava mu kuleka omuntu okwesalirawo ku lulwe byeyoleka mangu mu byafaayo by’omuntu. Kayini, omugulanda mu maka agaasooka yatta muganda we Abeeri kubanga “ebikolwa bye [Kayini] byali bibi, n’ebya muganda we bituukirivu.” (1 Yokaana 3:12) Kino Katonda si kye yali ayagala, kubanga yali alabudde Kayini era oluvannyuma yamubonereza. (Olubereberye 4:3-12) Okufaananako Setaani, Kayini yasalawo okukola nga bw’ayagala era bwe kityo “yava eri omubi.” Era n’abalala baakola kye kimu.
Ng’abantu bamaze emyaka egisukka mu 1,500 ku nsi, ‘ensi yayonooneka mu maaso ga Katonda, era n’ejjula ettemu.’ (Olubereberye 6:11) Waali weetaaga okubaawo ekikolebwa ensi ereme okwonoonekera ddala. Katonda alina kye yakolawo ng’aleeta Amataba ku nsi yonna, kyokka n’awonyawo amaka agamu, kwe kugamba, Nuuwa, mukyala we, ne batabani be, era ne bakyala baabwe. (Olubereberye 7:1) Ffenna tuli bazzukulu baabwe.
Okuva mu kiseera ekyo, Katonda awadde obulagirizi abo abaagala okumanya by’ayagala. Yaluŋŋamya abasajja abeesigwa okuwandiika obubaka bwe, busobole okuyamba oyo yenna eyandyagadde obulagirizi bwe. Obubaka obwo buli mu Baibuli. (2 Timoseewo 3:16) Olw’okwagala, yakkiriza abantu abeesigwa okufuuka mikwano gye. (Isaaya 41:8) Era yabawa amaanyi ge beetaaga okusobola okugumiikiriza embeera enzibu abantu ze bazze bayitamu mu nkumi n’enkumi z’emyaka ng’abantu beefuga awatali bulagirizi bwa Katonda. (Zabbuli 46:1; Abafiripi 4:13) Nga tuli basanyufu nnyo olw’obuyambi buno bwonna!
‘By’Oyagala Bikolebwe’—Mu Bujjuvu
Katonda by’akoze okutuuka mu kiseera kino si bye byokka by’anaakolera abantu. Omutume Peetero yawandiika: “Nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe bu[li]tuula.” (2 Peetero 3:13) Olulimi luno olw’akabonero lwogera ku gavumenti empya n’abantu abanaafugibwa gavumenti eyo.
Ng’akozesa ebigambo ebitegeerekeka obulungi, nnabbi Danyeri yawandiika: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, . . . naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) Obunnabbi buno bulaga nti enteekateeka eno eriwo ejja kuggibwawo, era mu kifo kyayo waddewo Obwakabaka, oba gavumenti, ya Katonda. Gano nga mawulire malungi nnyo! Entalo n’okwerowoozaako ebiviiriddeko ensi okujjula ettemu era ebiyinza okugireetera okwonoonekera ddala bijja kwerabirwa.
Ebintu bino binaabaawo ddi? Abayigirizwa ba Yesu baamubuuza: ‘Ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’ak’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu?’ Ng’awa akamu ku bubonero obwo, Yesu yagamba: “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:3, 14, NW.
Kimanyiddwa bulungi nti omulimu guno ogw’okubuulira gukolebwa mu nsi yonna. Oboolyawo olabye nga gukolebwa mu kitundu kyo. Mu kitabo kye These Also Believe, Profesa Charles S. Braden yawandiika: “Abajulirwa ba Yakuwa babuulidde kumpi mu nsi yonna. . . . Tewali kibiina kya ddiini kirala mu nsi kiraze bunyikiivu na bumalirivu mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka nga Abajulirwa ba Yakuwa.” Abajulirwa babuulira amawulire amalungi mu nsi ezisuuka mu 230 mu nnimi nga 400. Omulimu guno ogwalagulwa tegukolebwangako ku kigero nga kino. Obwo bwe bumu ku bujulizi obulaga nti ekiseera kigenda kisembera Obwakabaka bwa Katonda budde mu kifo kya gavumenti z’abantu.
Obwakabaka Yesu bwe yagamba nti bwandibuuliddwa bwebwo bwe tusaba mu ssaala ya Mukama waffe: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Yee, Obwakabaka obwo Katonda bwajja okukozesa okutuukiriza ebyo by’ayagala, n’ekigendererwa kye eri ensi n’abantu.
Ekyo kitegeeza ki? Okubikkulirwa 21:3, 4 ka zituddemu: “Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaaberanga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli ziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” Mu kiseera ekyo, Katonda by’ayagala bijja kukolebwa mu bujjuvu ku nsi era ne mu ggulu.a Tewandyagadde kubeerawo mu kiseera ekyo?
[Obugambo obuli wansi]
a Bw’oba nga wandyagadde okumanya ebisigawo ku Bwakabaka bwa Katonda, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu kyo oba wandiika ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 2 olwa magazini eno.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Okwefuga awatali bulagirizi bwa Katonda kyaleeta emitawaana