LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w03 7/1 lup. 12-17
  • Noonyereza Ebirungi mu Balala

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Noonyereza Ebirungi mu Balala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Mu Kubuulira n’Okufuula Abayigirizwa
  • Mu Maka
  • Mu Kibiina Ekikristaayo
  • Okunoonyereza Ebirungi mu Bonna
  • Obulungi—Tuyinza Tutya Okubukulaakulanya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Weeyongere Okwoleka Obulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • “Mbeegayiridde, Muwulire Ekirooto Kino”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • ‘Obulungi Bwe nga Busuffu!’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
w03 7/1 lup. 12-17

Noonyereza Ebirungi mu Balala

“Onjijukiranga ai Katonda wange, okunkolanga obulungi.”​—NEKKEMIYA 13:31.

1. Yakuwa akolera atya bonna ebirungi?

OLUVANNYUMA lw’ennaku nnyingi ng’obudde bwa kikome, omusana gwaka. Kino kireetera abantu essanyu era bawulira bulungi. Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu ng’omusana gwememula, ekire ky’enkuba kireeta essanyu ­n’obuweerero. Omutonzi waffe ow’okwagala Yakuwa, yatonda ensi n’agiteekamu ekirabo kino eky’embeera y’obudde. Yesu yayogera ku kisa kya Katonda bwe yayigiriza nti: “Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya, mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu kubanga enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Matayo 5:43-45) Yee, Yakuwa akolera bonna ebirungi. ­Abaweereza be basaanidde okufuba okumukoppa nga batunuulira ebirungi mu balala.

2. (a) Yakuwa asinziira ku ki okukola obulungi? (b) Yakuwa yeetegereza ki ku bikwata ku ngeri gye tutwalamu obulungi bwe?

2 Yakuwa asinziira ku ki okukola obulungi? Okuva Adamu lwe yayonoona, Yakuwa talekangayo kutunuulira birungi mu bantu. (Zabbuli 130:3, 4) Ekigendererwa kye kwe kukomyawo abantu abawulize mu Lusuku lwe. (Abaefeso 1:9, 10) Olw’ekisa kye, twafuna essuubi ery’okusumululwa okuva mu kibi n’obutali butuukirivu okuyitira mu zzadde eryasuubizibwa. (Olubereberye 3:15; Abaruumi 5:12, 15) Okukkiriza enteekateeka y’ekinunulo, kitusobozesa okubeera abatuukiridde. Kaakano Yakuwa yeetegereza buli omu ku ffe, era ng’ekimu ku ebyo by’atunuulira ky’ekyo kye tukolawo olw’ekisa kye. (1 Yokaana 3:16) Yeetegereza buli kimu kye tukola okulaga nti tusiima obulungi bwe. “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye,” bw’atyo Pawulo bwe yawandiika.​—Abaebbulaniya 6:10.

3. Kibuuzo ki kye twetaaga okwekenneenya?

3 Kati olwo, tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu kunoonya ebirungi mu balala? Ka twekenneenye eby’okuddamu mu kibuuzo kino nga tulowooza ku mbeera za mirundi ena mu bulamu: (1) obuweereza obw’Ekikristaayo, (2) amaka, (3) ekibiina, era (4) n’enkolagana yaffe n’abalala.

Mu Kubuulira n’Okufuula Abayigirizwa

4. Mu ngeri ki okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo gye kiri okunoonya ebirungi mu balala?

4 “Ennimiro ye nsi,” bw’atyo Yesu bwe yaddamu abayigirizwa be nga bamubuuzizza ebikwata ku makulu g’olugero lw’eŋŋaano ennungi n’eŋŋaano ey’omu nsiko. Ng’abayigirizwa ba Kristo leero, tulaga ng’ekyo tukitegeera bulungi nga twenyigira mu buweereza bwaffe. (Matayo 13:36-38; 28:19, 20) Obuweereza bwaffe obw’omu nnimiro buzingiramu okulangirira mu lujudde okukkiriza kwaffe. Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa bulungi olw’okubuulira nnyumba ku nnyumba ne ku nguudo, kikakasa nti tufubye okunoonya abo abasaanira obubaka bw’Obwakabaka. Mu butuufu, Yesu yalagira: “Buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw’ali asaana.”​—Matayo 10:11; Ebikolwa 17:17; 20:20.

5, 6. Lwaki tunyiikira okuddamu okukyalira abantu mu maka gaabwe?

5 Bwe tukyalira abantu, twetegereza engeri gye batwalamu obubaka bwaffe. Oluusi tusanga omuntu mu maka n’atuwuliriza, kyokka ate omulala mu maka ge gamu n’atugamba nti “Tetwagala,” bwe kityo okukyala kwaffe ne kukoma awo. Nga tusaalirwa nnyo okuba nti omuntu oyo omu atuziyiza oba atayagala alemesa omuntu omulala! Kati olwo, kiki kye tusobola okukola okweyongera okunoonya ebirungi mu bonna?

6 Okuddamu okukyalira amaka ago nga tubuulira mu kitundu ekyo, kiyinza okutuwa omukisa okwogerako n’omuntu oyo eyatuziyiza ku lukyala olwasooka. Okujjukira ekyo ekyaliwo ku lukyala olwo, kituyamba okwetegeka obulungi. Eyatuziyiza ayinza okuba yakikola nga talina biruubirirwa bibi, ng’alowooza nti yali ateekwa okuyamba munne aleme kuwulira bubaka bw’Obwakabaka. Oboolyawo waliwo ebintu ebitali bituufu bye yatuwulirako ne bimuleetera okuba n’endowooza eyo. Naye ekyo tekyanditugaanye kweyongera kubuulira mawulire malungi ag’Obwakabaka mu maka ago, mu ngeri ey’amagezi, ne tugezaako okumalawo endowooza enkyamu gye yatulinako. Twagala okuyamba abantu bonna okutegeerera ddala amazima agakwata ku Katonda. Oboolyawo Yakuwa ajja kusembeza omuntu oyo gy’ali.​—Yokaana 6:44; 1 Timoseewo 2:4.

7. Kiki ekiyinza okutuyamba okubeera n’endowooza ennungi nga tutuukirira abantu?

7 Yesu bye yagamba abagoberezi be biraga nti ne mu maka musobola okubaamu okuyigganyizibwa. Yagamba: “N[n]ajja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we.” Ate era yagattako: “Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Matayo 10:35, 36) Kyokka, embeera n’endowooza z’abantu bikyuka. Obulwadde obujja embagirawo, okufiirwa omwagalwa, obutyabaga, okweraliikirira, n’ebizibu ebirala bingi birina kye bikola ku ngeri abantu gye batwalamu obubaka bwe tubabuulira. Bwe tuba n’endowooza nti abantu be tubuulira tebajja kuwuliriza, ddala tuba tubanoonyamu ebirungi? Lwaki tetuddamu okubakyalira omulundi omulala mu maka gaabwe nga tuli basanyufu? Ku luno tuyinza okusanga nga balina endowooza ya njawulo. Oluusi, si ekyo kyokka kye twogera, naye n’engeri yennyini gye tukyogeramu eyinza okusikiriza abalala okutuwuliriza obulungi. Okusaba Yakuwa nga tetunnaba kutandika kubuulira, mazima ddala kijja kutuyamba okubeera n’endowooza ennungi, era tujja kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu ngeri esikiriza bonna.​—Abakkolosaayi 4:6; 1 Abasessaloniika 5:17.

8. Kiki ekiyinza okuvaamu Abakristaayo bwe banoonya ebirungi mu b’eŋŋanda abatali bakkiriza?

8 Ebibiina ebimu birimu bangi abaweereza ­Yakuwa nga bava mu maka ge gamu. Emirundi mingi ekiba kyasikiriza abato okwagala era n’okukyusa emitima gyabwe bwe bunyiikivu bw’omu ku b’eŋŋanda zaabwe eyalina enkolagana ennungi n’ab’omu maka era nga yeeyisa bulungi mu bufumbo. Okugoberera okubuulirira kw’omutume Peetero kuyambye abakyala bangi Abakristaayo okuwangula babbaabwe “awatali kigambo.”​—1 Peetero 3:1, 2.

Mu Maka

9, 10. Yakobo ne Yusufu baanoonya batya ebirungi mu b’omu maka gaabwe?

9 Enkolagana ey’oku lusegere mu maka ye mbeera endala mwe tuyinza okunoonyereza ebirungi mu balala. Lowooza ku ky’okuyiga ekiri mu ngeri Yakobo gye ­yakolaganamu ne batabani be. Mu Olubereberye essuula 37, olunyiriri 3 ne 4, Baibuli eraga nti Yakobo yali asinga kwagala Yusufu. Baganda ba Yusufu baamukwatirwa obuggya ne batuuka n’okwekobaana okumutta. Kyokka, ­weetegereze endowooza Yakobo ne Yusufu gye baalina oluvannyuma mu bulamu bwabwe. Bombi baanoonyereza ebirungi mu b’omu maka gaabwe.

10 Yusufu bwe yali aweereza ng’omukungu alabirira eby’okugaba emmere mu nsi y’e Misiri eyali eguddemu enjala, yayaniriza bulungi baganda be. Wadde nga teyeemanyisizaawo gye bali, Yusufu yakakasa nti balabirirwa bulungi era nti bafuna emmere ey’okutwala eka eri kitaabwe eyali akaddiye. Yee, newakubadde nga baganda be baali bamuyisizza bubi, ye yakola kyonna ky’asobola okubayamba. (Olubereberye 41:53–42:8; 45:23) Mu ngeri y’emu, bwe yali anaatera okufa, Yakobo yategeeza abaana be mu ngeri ey’obunnabbi emikisa gye baali bagenda okufuna. Newakubadde ng’ebikolwa byabwe ebikyamu byabaviirako obutafuna nkizo ezimu, tewali n’omu ataafuna busika mu nsi. (Olubereberye 49:3-28) Nga Yakobo yalaga okwagala okutaddirira!

11, 12. (a) Kyakulabirako ki eky’obunnabbi ekiggumiza obukulu bw’okunoonya ebirungi mu balala mu maka? (b) Kiki kye tuyiga mu kyokulabirako kya taata mu lugero lwa Yesu olw’omwana omujaajaamya?

11 Obugumiikiriza bwa Yakuwa mu ngeri gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isiraeri eritaalina kukkiriza, bwongera okutulaga engeri gy’anoonyerezaamu ebirungi mu bantu be. Yakuwa yakozesa ekyokulabirako ky’embeera y’amaka ga nnabbi Koseya, okulaga okwagala kwe okutaddirira. Gomeri, mukazi wa Koseya, yayenda enfunda n’enfunda. Wadde kyali kityo, Yakuwa yalagira Koseya: “Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe, era omwenzi, era nga Mukama bw’ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala ebitole by’ezabbibu enkalu.” (Koseya 3:1) Lwaki yamulagira okukola bw’atyo? Yakuwa yali amanyi nti mu ggwanga eryali lisudde amakubo ge omuguluka, mwandibaddemu abantu abandisiimye obugumiikiriza bwe. Koseya yalangirira: “Oluvannyuma, abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe, era balijja eri Mukama nga batya n’eri obulungi bwe mu nnaku ez’oluvannyuma.” (Koseya 3:5) Mazima ddala, kino kyakulabirako kirungi kye tulina okufumiitirizaako bwe tuba twolekaganye n’ebizibu mu maka. Bwe weeyongera okunoonya ebirungi mu balala, ojja kuba otaddewo ekyokulabirako eky’obugumiikiriza.

12 Olugero lwa Yesu olw’omwana omujaajaamya lwongera okutulaga engeri gye tusobola okunoonya ebirungi mu b’omu maka gaffe. Omulenzi omuto yaddayo ewaabwe oluvannyuma lw’okuleka obulamu obutaalina makulu. Kitaawe yamuyisa mu ngeri ey’obusaasizi. Kitaawe yakolawo ki mutabani we omukulu eyali tavanga waka bwe yeemulugunya? Yamugamba: “Mwana wange, ggwe bulijjo ng’oli wamu nange, era byonna ebyange bye bibyo.” Ebigambo ebyo byali tebivumirira buvumirizi, wabula byali byoleka okwagala. Yayongera n’amugamba nti: “Okujaguza n’okusanyuka kwa nsonga, kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde, era yali azaaye, azaawuse.” Mu ngeri y’emu, naffe tusobola okunoonyanga ebirungi mu balala.​—Lukka 15:11-32.

Mu Kibiina Ekikristaayo

13, 14. Ngeri ki emu mwe tuyinza okuteeka mu nkola etteeka ekkulu ennyo ery’okwagala mu kibiina Ekikristaayo?

13 Ng’Abakristaayo, tuluubirira okutuukiriza etteeka ekkulu ennyo ery’okwagala. (Yakobo 2:1-9) Kyo kituufu nti tuyinza okukolagana obulungi ne bannaffe mu kibiina abalina embeera y’eby’enfuna eyawukana ku yaffe. Naye, tulina be tutakolagana nabo nga tusinziira ku langi, eggwanga, oba ku ddiini gye twalimu emabega? Bwe kiba bwe kityo, tusobola tutya okussa mu nkola okubuulirira kwa Yakobo?

14 Bwe twaniriza obulungi abo bonna abajja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kiwa obukakafu nti tufaayo ku balala. Bwe twogerako n’abappya abajja mu Kizimbe ky’Obwakabaka, kibaleetera okuggwaamu ekiwuggwe n’okwetya. Mazima ddala, abamu bwe baba baakasooka okujja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, batera okugamba: “Buli muntu yandaga okwagala. Kyalinga buli omu eyali ammanyi. Nnawulira bulungi nnyo.”

15. Abato mu kibiina bayinza batya okufaayo ku bakulu?

15 Mu bibiina ebimu, abavubuka abamu bayinza okukola obukuukuulu munda oba wabweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka, nga beewala okunyumyamu n’abantu abakulu oluvannyuma lw’olukuŋŋaana. Kiki ekyandikoleddwa okumalawo embeera eno? Kya lwatu, eddaala erisooka be bazadde okutendeka abaana baabwe awaka, nga babayamba okweteekerateekera enkuŋŋaana. (Engero 22:6) Bayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa okufuna ebitabo byonna ebinaakozesebwa mu lukuŋŋaana buli omu asobole okuba nabyo nga mugenze mu lukuŋŋaana. Abazadde era basobola okukubiriza abaana baabwe okunyumyako n’abantu abakulu era n’abalina obunafu obw’amaanyi mu mubiri mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Okubaako n’ekintu ekizimba kye boogerako n’abali ng’abo kireetera abaana essanyu.

16, 17. Mu kibiina, abakulu basobola batya okunoonya ebirungi mu bato?

16 Baganda baffe ne bannyinaffe abakulu mu kibiina, basaanidde okufaayo ku bato. (Abafiripi 2:4) Bayinza okwogerako n’abato mu ngeri ezzaamu amaanyi. Emirundi mingi wabaawo ensonga enkulu ennyo eziba zoogeddwako mu lukuŋŋaana. Abato bayinza okubuuzibwa obanga olukuŋŋaana lubanyumidde era oba nga waliwo ensonga enkulu ze basiimye ennyo ze bayinza okuteeka mu nkola. Ng’abamu ku abo abali mu kibiina, abato bandibadde basiimibwa olw’okussaayo omwoyo era ne beebazibwa olw’ebyo bye baddamu mu lukuŋŋaana oba ekitundu kyonna kye baba beenyigiddemu mu programu. Engeri abato gye bakolaganamu n’abakulu mu kibiina era n’engeri gye bakolamu emirimu awaka, biraga nti bayinza okutuukiriza obuvunaanyizibwa obusingawo oluvannyuma mu bulamu bwabwe.​—Lukka 16:10.

17 Nga bakkiriza obuvunaanyizibwa obubaweebwa, abato abamu bakulaakulana ne batuuka ku ssa embeera yaabwe ey’eby’omwoyo w’ebasobozesa okufuna obuvunaanyizibwa obusingawo. Era bwe babeera n’eby’okukola kiyinza okubayamba okwewala enneeyisa embi. (2 Timoseewo 2:22) Obuvunaanyizibwa ng’obwo buyinza okuyamba ‘okugezesa’ ab’oluganda mu kibiina abaluubirira okukola ng’abaweereza. (1 Timoseewo 3:10) Bwe benyigira mu nkuŋŋaana era ne banyiikirira obuweereza n’okulaga omwoyo gw’okufaayo eri bonna mu kibiina, kisobozesa abakadde okutegeera obusobozi bwabwe bwe baba baagala okubawa obuvunaanyizibwa obulala.

Okunoonyereza Ebirungi mu Bonna

18. Kabi ki akalina okwewalibwa mu kusala emisango, era lwaki?

18 “Okusosola mu bantu bw’osala emisango si kirungi,” bwe watyo Engero 24:23 bwe wagamba. Amagezi agava waggulu geetaagisa abakadde okwewala okusosola bwe baba balina ensonga ze bakolako mu kibiina. Yakobo yagamba: “Amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.” (Yakobo 3:17) Kya lwatu, bwe baba banoonya ebirungi mu balala, abakadde beetaaga okukakasa nti enkolagana yaabwe n’abalala, oba enneewulira gye balina tebaleetera kugwa lubege mu ngeri gye bakola ku nsonga z’ekibiina. Asafu, omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda, asala emisango mu bakatonda [abantu abasala emisango]. Mulituusa wa okusala emisango egitali gya nsonga, n’okusalirizanga ababi?” (Zabbuli 82:1, 2) N’olwekyo, abakadde Abakristaayo beewalira ddala okugwa olubege bwe baba bakola ku nsonga ezizingiramu mikwano gyabwe oba ab’eŋŋanda zaabwe. Mu ngeri eno bakuuma obumu bw’ekibiina era ne kisobozesa omwoyo gwa Yakuwa okukikoleramu.​—1 Abasessaloniika 5:23.

19. Tusobola tutya okunoonyereza ebirungi mu balala?

19 Nga tunoonyereza ebirungi mu baganda baffe ne bannyinaffe, tufumiitiriza ku ndowooza Pawulo gye yalina bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Ssessaloniika. Yagamba: “Twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye tulagira era munaabikolanga.” (2 Abasessaloniika 3:4) Kijja kutwanguyira okubuusa amaaso ensobi z’abalala bwe tunaaba tubanoonyamu ebirungi. Tujja kunoonyereza ebyo bye tuyinza okusiima mu baganda baffe, twewalire ddala omwoyo gw’okunoonyereza mu balala ensobi. Pawulo yawandiika: ‘Ekigwanira abawanika, ye muntu okulabikanga nga mwesigwa.’ (1 Abakkolinso 4:2) Obwesigwa bw’abawanika mu kibiina era n’obwa baganda baffe ne bannyinaffe Abakristaayo butuleetera okubaagala ennyo. Bwe kityo, tweyongera okuba n’enkolagana ennungi nabo, era ne kinyweza omukwano gwaffe ­ogw’Ekikristaayo. Tufuna endowooza ng’eyo Pawulo gye yalina ku b’oluganda mu kiseera kye. ‘Bakozi bannaffe olw’Obwakabaka bwa Katonda’ era ‘batuzzaamu amaanyi.’ (Abakkolosaayi 4:11) Mu ngeri eyo twoleka endowooza ya Yakuwa.

20. Abo abanoonya ebirungi mu balala banaafuna mikisa ki?

20 Mazima ddala, tusaba nga Nekkemiya: “Onjijukiranga ai Katonda wange okunkola obulungi.” (Nekkemiya 13:31) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa anoonyereza ebirungi mu bantu! (1 Bassekabaka 14:13) Naffe ka tukole bwe tutyo nga tukolagana n’abalala. Okukola ekyo kituwa essuubi ery’obulokozi era n’ery’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya enaatera okutuuka.​—Zabbuli 130:3-8.

Wandizzeemu Otya?

• Yakuwa asinziira ku ki okukolera bonna ebirungi?

• Tusobola tutya okunoonya ebirungi mu balala

• mu buweereza bwaffe?

• mu maka gaffe?

• mu kibiina kyaffe?

• nga tukolagana n’abantu bonna?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Wadde nga baganda be baali baamukyawa, Yusufu yabanoonyamu ebirungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Okuziyizibwa tekutugaana kugezaako kuyamba balala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Wadde ng’enneeyisa yaabwe ey’emabega teyali nnungi, tewali n’omu ku batabani ba Yakobo ataafuna mikisa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Yaniriza bonna mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza