LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w02 10/1 lup. 27-32
  • Beera Muwulize ng’Enkomerero Egenda Esembera

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Beera Muwulize ng’Enkomerero Egenda Esembera
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Obwakabaka bwa Yesu Obwasooka
  • Baaweebwa Omukisa olw’Okugondera “Omuwanika” wa Katonda
  • Siiro Afuuka Kabaka w’Ensi Omutuufu
  • Kaakano Kye Kiseera ‘Okugondera Amawulire Amalungi’
  • Weewale Obuteefiirayo, Obugwenyufu n’Okwagala Ennyo Ebintu
  • Baasiimibwa olw’Obuwulize Bwabwe
  • Obuwulize—Ssomo Kkulu ery’Omu Buto?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Obuwulize Bwo Yakuwa Abutwala nga bwa Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Kristo Ayogera eri Ebibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Wulira Omwoyo Kye Gugamba!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 10/1 lup. 27-32

Beera Muwulize ng’Enkomerero Egenda Esembera

“Okutuusa Siiro lw’alijja; n’oyo abantu gwe banaawuliranga.”​—OLUBEREBERYE 49:10.

1. (a) Mu biseera eby’edda obuwulize eri Yakuwa bwazingiramu ki? (b) Yakobo yalagula ki ku bikwata ku buwulize?

OBUWULIZE eri Yakuwa bulijjo buzingiramu okubeera omuwulize eri ababaka be. Mu abo mwe muli bamalayika, abakulu b’ebika, abalamuzi, bakabona, bannabbi ne bakabaka. Entebe ya bakabaka ba Isiraeri kye yava eyitibwa entebe ya Yakuwa. (1 Ebyomumirembe 29:23) Kyokka, eky’ennaku, bangi ku bafuzi b’omu Isiraeri tebaagondera Katonda, bwe kityo ne beereetako bennyini emitawaana awamu n’abantu baabwe. Naye abo abaali abeesigwa, Yakuwa teyabaleka awo nga tebalina ssuubi lyonna; yababudaabuda ng’abasuubiza okussaawo Kabaka ow’emirembe gyonna, abatuukirivu gwe bandisanyukidde. (Isaaya 9:6, 7) Yakobo, omukulu w’ekika bwe yali ng’ali kumpi okufa, yalagula ku oyo eyandifuuse omufuzi mu biseera eby’omu maaso ng’agamba: “Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda, newakubadde omuggo gw’oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye, okutuusa Siiro lw’alijja; n’oyo abantu gwe banaawuliranga.”​—Olubereberye 49:10.

2. “Siiro” kitegeeza ki era okufuga kwe kwandizingiddemu baani?

2 “Siiro” kigambo kya Lwebbulaniya ekitegeeza “Ye Nnanyini.” Yee, Siiro yandisikidde obufuzi, ekikiikirirwa n’efumu, era n’obuyinza, ekikiikirirwa n’omugo gw’oyo afuga. Ate era, obufuzi bwe tebwandibaddemu bazzukulu ba Yakobo bokka, wabula “abantu” bonna. Kino kituukagana bulungi nnyo n’ekyo Yakuwa kye yasuubiza Ibulayimu: “Ezzadde lyo balirya omulyango ogw’abalabe baabwe. Era mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.” (Olubereberye 22:17, 18) Yakuwa yawa obukakafu obukwata ku “zadde” eryo mu 29 C.E. bwe yafuka omwoyo omutukuvu ku Yesu ow’e Nazaaleesi.​—Lukka 3:21-23, 34; Abaggalatiya 3:16.

Obwakabaka bwa Yesu Obwasooka

3. Bufuzi ki Yesu bwe yafuna ng’alinye mu ggulu?

3 Yesu bwe yalinnya mu ggulu, teyatandikirawo mangu ago okufuga abantu ku nsi. (Zabbuli 110:1) Kyokka, yafuna “obwakabaka” n’abantu abaamugondera. Omutume Pawulo yayogera ku bwakabaka obwo bwe yagamba: “[Katonda] eyatulokola [Abakristaayo abaafukibwako omwoyo] mu buyinza obw’ekizikiza, n’atutwala mu bwakabaka obw’Omwana we omwagalwa.” (Abakkolosaayi 1:13, italiki zaffe.) Okununulibwa kuno kwatandikira ku lunaku lwa Pentekoote mu 33 C.E., omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bagoberezi ba Yesu abeesigwa.​—Ebikolwa 2:1-4; 1 Peetero 2:9.

4. Mu ngeri ki abayigirizwa ba Yesu abaasooka gye baalagamu obuwulize bwabwe, era Yesu yaboogerako atya ng’ekibiina?

4 Nga “ababaka mu kifo kya Kristo,” abayigirizwa abaafukibwako amafuta baatandika okukuŋŋaanya abalala abandibadde ‘ab’ekika ekimu’ mu bwakabaka obwo obw’eby’omwoyo. (2 Abakkolinso 5:20; Abaefeso 2:19; Ebikolwa 1:8) Okugatta ku ekyo, abo baalina ‘okubeera obumu mu magezi ne mu kulowooza’ balyoke basobole okusiimibwa Kabaka waabwe Yesu Kristo. (1 Abakkolinso 1:10) Bonna wamu, baali ekibiina kya ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ oba eky’omuwanika omwesigwa.​—Matayo 24:45; Lukka 12:42.

Baaweebwa Omukisa olw’Okugondera “Omuwanika” wa Katonda

5. Okuva edda n’edda, Yakuwa ayigirizza atya abantu be?

5 Okuva edda n’edda, Yakuwa awadde abantu be ababayigiriza. Ng’ekyokulabirako, ng’Abayudaaya bakomyewo okuva e Babulooni, Ezera awamu n’abantu abalala abaalina ebisaanyizo, tebaasoma busomi Mateeka ga Katonda eri abantu, naye era ‘bannyonnyola’ amateeka ago, era ne ‘bateeka amakulu’ mu Kigambo kya Katonda.​—Nekkemiya 8:8.

6, 7. Ekibiina ky’omuddu omwesigwa kigabye kitya emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu okuyitira mu Kakiiko Akafuzi, era lwaki kirungi okugondera ekibiina ekyo?

6 Mu kyasa ekyasooka, bwe waabalukawo ensonga ekwata ku kukomolebwa mu 49 C.E., akakiiko akafuzi ak’ekibiina ky’omuddu akaaliwo mu kiseera ekyo, kaasaba Katonda kasobole okufuna obulagirizi ku nsonga eyo era ne katuuka ku kusalawo okwali kwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Bwe baamanyisa okusalawo kwabwe okuyitira mu bbaluwa, ebibiina byagoberera okusalawo okwo era ne bifuna emikisa gya Katonda mingi. (Ebikolwa 15:6-15, 22-29; 16:4, 5) Mu ngeri y’emu, ne mu kiseera kyaffe, omuddu omwesigwa okuyitira mu Kakiiko ke Akafuzi annyonnyodde bulungi ensonga enkulu ezikwata ku Bakristaayo obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, obutukuvu bw’omusaayi n’okukozesa amalagala ne taaba. (Isaaya 2:4; Ebikolwa 21:25; 2 Abakkolinso 7:1) Yakuwa yawa abantu be omukisa olw’okugondera Ekigambo kye n’omuddu omwesigwa.

7 Abantu ba Katonda bwe bagondera ekibiina ky’omuddu, baba bagondera Mukama waabwe, Yesu Kristo. Obuwulize ng’obwo bukulu nnyo n’okusingawo mu kiseera kino, kubanga obuyinza bwa Yesu bweyongedde okugaziwa, nga Yakobo bwe yalagula mu bunnabbi bwe.

Siiro Afuuka Kabaka w’Ensi Omutuufu

8. Ddi era mu ngeri ki obuyinza bwa Kristo gye bwagaziyizibwa?

8 Obunnabbi bwa Yakobo bwalaga nti Siiro yandifuze ‘abantu abawulize.’ Kya lwatu, obufuzi bwa Kristo tebwandizingiddemu Isiraeri ya mwoyo yokka. Bwandizingiddemu ki? Okubikkulirwa 11:15 luwa eky’okuddamu: ‘Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we; era anaaafuganga emirembe n’emirembe.’ Baibuli ekiraga nti Yesu yafuna obuyinza obwo ku nkomerero “y’ebiseera omusanvu” eby’obunnabbi, kwe kugamba ‘ebiro by’ab’amawanga ebigereke’​—ebyakoma mu 1914.a (Danyeri 4:16, 17; Lukka 21:24) Mu mwaka ogwo, ‘okubeerawo’ kwa Kristo nga Masiya era Kabaka atalabika kwatandika, wamu n’ekiseera kye ‘eky’okufugira wakati mu balabe be.’​—Matayo 24:3; Zabbuli 110:2.

9. Kiki Yesu kye yakola bwe yafuna Obwakabaka bwe, era ekyo kyakwata kitya ku bantu n’okusingira ddala abayigirizwa be?

9 Ekintu Yesu kye yasooka okukola ng’amaze okufuna obuyinza bw’obwakabaka, kwali kusuula “ku nsi” omujeemu asingayo obukulu​—Setaani awamu ne bamalayika be. Okuva olwo, emwoyo egyo emibi gireetedde abantu okubonaabona okutabangawo, wamu n’embeera ezikifuula ekizibu okugondera Yakuwa. (Okubikkulirwa 12:7-12; 2 Timoseewo 3:1-5) Mu butuufu, abo Setaani b’asinga okwagala okulwanyisa, be baweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta, “abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina okutegeeza kwa Yesu,” ne bannaabwe ‘ab’endiga endala.’​—Okubikkulirwa 12:17; Yokaana 10:16.

10. Kutuukirizibwa kwa bunnabbi ki okulaga nti Setaani tajja kutuuka ku buwanguzi ng’alwanyisa Abakristaayo ab’amazima?

10 Kyokka, Setaani ajja kulemererwa, kubanga luno “lunaku lwa Mukama,” era tewaliiwo kintu kyonna ekiyinza okulemesa Yesu ‘okumaliriza okuwangula kwe.’ (Okubikkulirwa 1:10; 6:2) Ng’ekyokulabirako, ajja kukakasa nti Abaisiraeri ab’omwoyo abasembayo ku abo 144,000, bassibwako akabonero. Era ajja kukuuma “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” (Okubikkulirwa 7:1-4, 9, 14-16) Kyokka, obutafaananako bannaabwe abaafukibwako amafuta, bano bo bajja kufugibwa obwakabaka bwa Katonda ku nsi. (Danyeri 7:13, 14) Okubeerawo kwabwe ku nsi leero, bukakafu obulaga nti ddala Siiro Mufuzi mu “bwakabaka bw’ensi.”​—Okubikkulirwa 11:15.

Kaakano Kye Kiseera ‘Okugondera Amawulire Amalungi’

11, 12. (a) Baani bokka abajja okuwonawo ku kuzikirizibwa kw’enteekateeka y’ebintu eriwo? (b) Abo abagoberera “omwoyo gw’ensi” baba na ngeri ki?

11 Bonna abaagala obulamu obutaggwaawo bateekwa okuyiga obuwulize, kubanga Baibuli ekiraga bulungi nti ‘abo abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi aga Mukama waffe Yesu,’ tebajja kuwonawo ku lunaku lwa Katonda olw’okuwoleramu eggwanga. (2 Abasessaloniika 1:8) Kyokka, embeera embi eriwo mu kiseera kino n’omwoyo gwayo ogw’okujeemera amateeka g’omu Baibuli n’emisingi gyayo, bikifuula kizibu okugondera amawulire amalungi.

12 Omwoyo guno ogw’okujeemera Katonda Baibuli eguyita “omwoyo gw’ensi.” (1 Abakkolinso 2:12) Bwe yali annyonnyola kye guyinza okukola ku bantu, omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo b’omu Efeso abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ng’agamba: “Bye mwatambulirangamu edda ng’emirembe egy’ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogukoza kaakano mu baana abatawulira; era naffe fenna be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw’omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n’ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw’obuzaaliranwa abaana b’obusungu, nga n’abalala.”​—Abaefeso 2:2, 3.

13. Abakristaayo basobola batya okuziyiza omwoyo gw’ensi, era birungi ki ebiyinza okuvaamu?

13 Ekirungi, Abakristaayo b’omu Efeso tebaasigala nga baddu b’omwoyo ogwo ogw’obujeemu. Wabula, baafuuka abaana ba Katonda abawulize nga bakkiriza omwoyo gwe era ne bafuna ebibala bwagwo ebirungi. (Abaggalatiya 5:22, 23) Mu ngeri y’emu leero, omwoyo gwa Katonda​—amaanyi agasingirayo ddala mu butonde bwonna, gayamba obukadde n’obukadde okubeera abawulize eri Yakuwa, ne kiba nti, basobola okubeera ‘n’essuubi ekakafu okutuukira ddala ku nkomerero.’​—Abaebbulaniya 6:11; Zekkaliya 4:6.

14. Yesu yategeeza atya Abakristaayo bonna abandibaddewo mu kiseera eky’enkomerero ebintu ebyandigezesezza obuwulize bwabwe?

14 Era mukijjukire nti tulina obuwagizi bwa Siiro obw’amaanyi ennyo. Siiro ono awamu ne Kitaawe, tebajja kuganya mulabe yenna, k’abe dayimooni oba muntu​—okugezesa obuwulize bwaffe okusukka ku ekyo kye tusobola okugumira. (1 Abakkolinso 10:13) Mu butuufu, okusobola okutuyamba mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo, Yesu yayogera ku bizibu bingi bye twandyolekaganye nabyo mu biseera bino eby’enkomerero. Ekyo yakikola okuyitira mu bbaluwa musanvu, ze yawa omutume Yokaana mu kwolesebwa. (Okubikkulirwa 1:10, 11) Awatali kubuusabuusa, zaalimu okubuulirira okulungi ennyo eri Abakristaayo mu kiseera ekyo, naye ng’okusingira ddala, zikwata ku “lunaku lwa Mukama,” olwatandika mu 1914. N’olwekyo, nga kituukirawo nnyo ffe okwekenneenya obubaka obwo!b

Weewale Obuteefiirayo, Obugwenyufu n’Okwagala Ennyo Ebintu

15. Lwaki tulina okwewala ebizibu ebyatuuka ku kibiina ky’e Efeso, era ekyo tuyinza kukikola tutya? (2 Peetero 1:5-8)

15 Ebbaluwa ya Yesu eyasooka yagiwandiikira ekibiina ky’e Efeso. Oluvannyuma lw’okwebaza ekibiina olw’obugumiikiriza bwakyo, Yesu yagamba: “Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw’olubereberye.” (Okubikkulirwa 2:1-4) Leero, Abakristaayo abamu abaali abanyiikivu ennyo baleseeyo okwagala okw’olubereberye kwe baalina eri Katonda. Okuddirira ng’okwo, kuyinza okwonoona enkolagana y’omuntu ne Katonda era embeera eyo eteekwa okukolebwako mu bwangu. Okwagala okwo kuyinza kutya okuddamu okunywezebwa? Okuyitira mu kusoma Baibuli obutayosa, okubeerawo mu nkuŋŋaana, okusaba n’okufumiitiriza. (1 Yokaana 5:3) Kituufu nti, ebyo byetaagisa ‘okufuba okw’amaanyi,’ naye nga ddala kusaanira. (2 Peetero 1:5-8) Singa weekebera mu bwesimbu n’okizuula nti okwagala kwo kuwoze, olwo nno, osaanidde okukola ku mbeera eyo amangu ddala nga bwe kisoboka, ng’ogoberera okubuulirira kwa Yesu: “Jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby’olubereberye.”​—Okubikkulirwa 2:5.

16. Mbeera ki ey’akabi mu by’omwoyo eyali mu kibiina ky’omu Perugamo ne Suwatira, era lwaki ebigambo Yesu bye yabagamba bitukwatako leero?

16 Abakristaayo ab’omu Perugamo ne Suwatira baasiimibwa olw’okubeera abagolokofu, abagumiikiriza era abanyiikivu. (Okubikkulirwa 2:12, 13, 18, 19) Naye, wadde kyali bwe kityo, baali batwaliriziddwa abantu abamu abaalina omwoyo omubi ogwa Balamu ne Yezeberi, abaayonoona Isiraeri ey’edda okuyitira mu bikolwa eby’obwenzi n’okusinza Baali. (Okubala 31:16; 1 Bassekabaka 16:30, 31; Okubikkulirwa 2:14, 16, 20-23) Naye ate kiri kitya mu kiseera kyaffe, mu “lunaku lwa Mukama waffe”? Ebikolwa ebibi ng’ebyo weebiri? Yee, kubanga obugwenyufu kye kintu ekisingira ddala okugobesa abantu ba Katonda mu kibiina. N’olwekyo, nga kikulu nnyo okwewala okubeera n’omuntu yenna asobola okwonoona empisa zo, k’abeere munda oba ebweru w’ekibiina! (1 Abakkolinso 5:9-11; 15:33) Abo abaagala okubeera abantu abawulize abanaafugibwa Siiro, basaanidde okwewala amasanyu agatazimba, ebitabo ebibi n’ebifaananyi eby’obugwenyufu ku Internet.​—Amosi 5:15; Matayo 5:28, 29.

17. Endowooza z’ab’omu Saadi ne Lawodikiya zaayawukana zitya n’eya Yesu ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo?

17 Ng’oggyeko abantu abatonotono, ekibiina ky’omu Saadi tekyafuna kusiimibwa kwonna. Kyalina “erinnya,” oba ekifaananyi eky’okubeera ekiramu, naye nga kyalina ebizibu mu by’omwoyo ne kiba nti eri Yesu kyali “kifu.” Kyagondera amawulire amalungi okutuukiriza obutuukiriza omukolo. Nga kyanenyezebwa nnyo! (Okubikkulirwa 3:1-3) Ekibiina ky’omu Lawodikiya nakyo kyali mu mbeera y’emu. Kyewaana olw’okuba ekigagga, nga kigamba, “Ndi mugagga,” naye nga eri Kristo, kyali ‘kinaku era ekisaasirwa era ekyavu era ekizibe ky’amaaso era ekiri obwereere.’​—Okubikkulirwa 3:14-17.

18. Omuntu ayinza atya okwewala okuddirira mu by’omwoyo?

18 Leero, abamu abaali Abakristaayo abeesigwa nabo bafuuse bajeemu. Oboolyawo bakkirizza omwoyo gw’ensi okubalemesa okutegeera obukulu bw’ebiseera bye balimu, mu ngeri eyo, ne baddirira mu kusoma Baibuli, okusaba, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ne mu buweereza bw’ennimiro. (2 Peetero 3:3, 4, 11, 12) Nga kikulu nnyo abalinga abo okugondera Kristo nga bakolerera eby’obugagga eby’omwoyo​—yee, nga ‘bagula ku Kristo zaabu eyalongoosebwa mu muliro’! (Okubikkulirwa 3:18) Obugagga ng’obwo obwa nnamaddala buzingiramu ‘okubeera omugagga mu bikolwa ebirungi, okubeera ow’ekisa era omugabi.’ Bwe tukolerera obugagga obwo obw’omuwendo, tuba ‘twetegekera ebiseera eby’omu maaso, tulyoke tunywezenga obulamu obwa nnamaddala.’​—1 Timoseewo 6:17-19.

Baasiimibwa olw’Obuwulize Bwabwe

19. Yesu yasiima atya Abakristaayo ab’omu Sumuna ne Firaderufiya, era yababuulirira atya?

19 Ebibiina by’omu Sumuna ne Firaderufiya byakulabirako birungi nnyo mu buwulize, kubanga ebbaluwa Yesu ze yabawandiikira tezaalimu kunenyezebwa kwonna. Eri abo ab’omu Sumuna yagamba: “Mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo (naye oli mugagga).” (Okubikkulirwa 2:9) Nga baali baawukana nnyo ku abo ab’omu Lawodikiya abeewaana olw’obugagga bw’eby’omu nsi bye baalina naye nga ddala baali baavu lunkupe! Kya lwatu nti, Omulyolyomi teyali musanyufu okulaba omuntu yenna ng’alaga obwesigwa n’obuwulize eri Kristo. N’olwekyo, Yesu yalabula: “Totya by’ogenda okubonaabona: laba, Omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.” (Okubikkulirwa 2:10) Mu ngeri y’emu, Yesu yasiima ab’omu kibiina ky’omu Firaderufiya ng’agamba: “[Wakwata] ekigambo kyange so teweegaana linnya lyange. Njija mangu: nyweza ky’olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo.”​—Okubikkulirwa 3:8, 11.

20. Obukadde n’obukadde bagoberedde batya ekigambo kya Yesu leero, era ekyo bakikoze nga bali mu mbeera ki?

20 Mu “Lunaku lwa Mukama waffe,” olwatandika mu 1914, ensigalira y’Abakristaayo abeesigwa ne bannaabwe ab’endiga endala, kati ababalibwa mu bukadde, nabo bakutte ekigambo kya Yesu nga banyiikirira obuweereza bwabwe era nga bakuuma obugolokofu bwabwe. Okufaananako baganda baabwe ab’omu kyasa ekyasooka, abamu babonyeebonye olw’okugondera Kristo, ne batuuka n’okusibibwa mu kkomera n’okutwalibwa mu nkambi z’abasibe. Abamu bagondedde ekigambo kya Yesu nga babeera ‘n’eriiso eriraba awamu,’ wadde nga beetooloddwa abagagga n’abantu ab’omululu. (Matayo 6:22, 23) Yee, mu buli mbeera yonna, Abakristaayo ab’amazima, beeyongera okusanyusa omutima gwa Yakuwa nga bamugondera.​—Engero 27:11.

21. (a) Mulimu ki ogw’eby’omwoyo ekibiina ky’omuddu gwe kijja okweyongera okutuukiriza? (b) Tuyinza tutya okulaga nti ddala twagala okugondera Siiro?

21 Nga tusemberera ekibonyoobonyo ekinene, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ mumalirivu obutekiriranya ku bikwata ku buwulize eri Mukama we, Kristo. Kino kizingiramu okutegekera ab’omu nnyumba ya Katonda emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. N’olwekyo, ka tweyongere okusiima entegeka ya Yakuwa eya teyokulase n’ebyo byonna by’etuwa. Mu ngeri eyo, tuba twoleka obuwulize bwaffe eri Siiro, ajja okuwa abawulize bonna obulamu obutaggwaawo.​—Matayo 24:45-47; 25:40; Yokaana 5:22-24.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okunnyonnyolebwa ebikwata ku “biseera omusanvu,” laba essuula 10 ey’akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka ku Bulamu Obutaggwaawo, akakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

b Okumanya ebisingawo ebikwata ku bbaluwa ezo omusanvu, laba ekitabo Revelation​—Its Grand Climax At Hand!, ekikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, okutandikira ku lupapula 33.

Ojjukira?

• Mulimu ki Yesu gwe yalina okukola ogwalagulwa Yakobo ng’ali kumpi okufa?

• Tusobola tutya okutegeera nti Yesu ye Siiro, era mwoyo ki gwe tusaanidde okwewala?

• Kubuulirira ki okutuukirawo mu kiseera kyaffe okusangibwa mu bbaluwa ezaawandiikirwa ebibiina omusanvu ebyogerwako mu Okubikkulirwa?

• Tusobola tutya okukoppa ab’omu kibiina ky’omu Sumuna ne Firaderufiya eby’edda?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]

Yakuwa awa omukisa abantu be olw’okugondera “omuwanika” omwesigwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Setaani akifuula kizibu gye tuli okugondera Katonda

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Okubeera n’enkolagana ennywevu ne Yakuwa kituyamba okubeera abawulize gy’ali

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza