Yiga era Oyigirize n’Abalala Emitindo gy’Empisa egy’Ekikristaayo
“Ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka?”—ABARUUMI 2:21.
1, 2. Lwaki wandyagadde okuyiga Baibuli?
OLINA ensonga nnyingi lwaki wandiyize Ekigambo kya Katonda. Awatali kubuusabuusa, oyagala okumanya ebikirimu—ebikwata ku bantu, ebintu ebyaliwo, ebifo, n’ebintu ebirala. Oyagala okumanya engeri amazima gye gaawukanamu ku bulimba obuli mu madiini, gamba ng’enjigiriza ey’Obusatu oba ey’omuliro ogutazikira. (Yokaana 8:32) Era wandyagadde okutegeera Yakuwa mu ngeri esingayo osobole okumukoppa n’okweyisa obulungi mu maaso ge.—1 Bassekabaka 15:4, 5.
2 Ensonga endala enkulu lwaki wandiyize Ekigambo kya Katonda, kwe kufuna obusobozi bw’okuyigiriza abalala—abaagalwa bo, abo b’omanyi era n’abo b’otamanyi. Ekyo Omukristaayo ow’amazima ky’asaanidde okukola. Yesu yagamba abayigirizwa be: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.”—Matayo 28:19, 20.
3, 4. Lwaki kikulu okuyigiriza nga Yesu bwe yalagira?
3 Kirungi nnyo okuyiga Baibuli ng’olina ekigendererwa eky’okuyigiriza abalala era ekyo kiyinza okukuviirako okufuna essanyu ery’olubeerera. Okuva edda n’edda, okusomesa gubadde mulimu ogussibwamu ekitiibwa. Ekitabo ekimu ekiyitibwa Encarta Encyclopedia kigamba: “Mu Bayudaaya, abantu abakuze mu myaka bangi baatwalanga abasomesa okuba abantu abayamba abalala okufuna obulokozi era baakubirizanga abaana baabwe okuwa abasomesa ekitiibwa ekisinga ku ekyo kye baawanga bazadde baabwe.” Naddala kikulu nnyo eri Abakristaayo okusooka okweyigiriza bokka Baibuli, oluvannyuma ne balyoka bayigiriza abalala.
4 “Omulimu ogusinga okukolebwa abantu abangi gwe gw’obusomesa. Abantu ng’obukadde 48 mu nsi yonna, basomesa.” (The World Book Encyclopedia). Omusomesa aba n’obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana era by’abayigiriza birina kinene kye bibakolako okumalira ddala emyaka mingi. Naye singa ogondera ekiragiro kya Yesu eky’okuyigiriza abalala, ebivaamu biyinza okubakwatako ennyo n’okusingawo; bijja kukwata ku biseera byabwe eby’omu maaso. Omutume Pawulo kino yakiggumiza bwe yakubiriza Timoseewo: “Weekuumenga wekka n’okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw’okola bw’otyo, olyerokola wekka era n’abo abakuwulira.” (1 Timoseewo 4:16) Yee, okuyigiriza kwo kukwataganyizibwa n’obulokozi.
5. Lwaki okuyigiriza okw’Ekikristaayo kukulu nnyo okusinga okulala kwonna?
5 Okweyigiriza ate n’oyigiriza n’abalala, kiragiro okuva eri Omufuzi asingirayo ddala ow’obutonde bwonna. Ekyo ku bwakyo, kifuula omulimu guno ogw’okuyigiriza okuba omukulu ennyo okusinga omulala gwonna ogukolebwa mu nsi, ka gube ogwo ogw’okuyigiriza amasomo agasookerwako, okuyigiriza abalala okufuna obumanyirivu mu mirimu gyabwe oba n’okukuguka mu by’ekisawo. Omulimu gw’Abakristaayo ogw’okuyigiriza gusobozesa omuyizi kennyini okukoppa Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, era n’okuyigiriza abalala okukola ekintu kye kimu.—Yokaana 15:10.
Lwaki Osaanidde Okweyigiriza?
6, 7. (a) Lwaki tuteekwa okusooka okweyigiriza? (b) Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baalemererwa batya okubeera abayigiriza?
6 Lwaki kigambibwa nti tuteekwa okusooka okweyigiriza? Tetusobola kuyigiriza balala mu ngeri ennungi okuggyako nga tusoose kweyigiriza. Ensonga eno Pawulo yagiggumiza mu bigambo ebyali eby’amakulu eri Abayudaaya mu kiseera ekyo ate era nga bikyali bya makulu nnyo eri Abakristaayo leero. Pawulo yabuuza: “Ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka? [A]buulira obutabbanga, obba? [A]yogera obutayendanga, oyenda? [A]kyawa ebifaananyi, obba eby’omu biggwa [“yeekaalu,” NW]? [E]yeenyumiririza mu mateeka, olw’okusobya amateeka oswaza Katonda?”—Abaruumi 2:21-23.
7 Ng’akozesa ebibuuzo, Pawulo yayogera ku bintu bibiri ebibi ebyayogerwako mu Mateeka Ekkumi: Tobbanga, ne toyendanga. (Okuva 20:14, 15) Abayudaaya abamu ab’omu kiseera kya Pawulo beenyumiriza mu kuba nti baalina Amateeka ga Katonda. ‘Baayigirizibwa Amateeka era ne bakakasibwa nti baali bakulembeze b’abazibe b’amaaso era nti baali ekitangaala eri abo abaali mu kizikiza, wamu n’okuyigiriza abaana abato.’ (Abaruumi 2:17-20) Kyokka, abamu baali bannanfuusi kubanga babbanga oba baayendanga mu nkukutu. Ekyo kyali kiweebuula Amateeka era kyali tekiweesa kitiibwa Oyo ali mu ggulu Eyagassaawo. Oyinza okukiraba nti ddala tebaalina bisaanyizo bya kuyigiriza balala; mazima ddala bo bennyini baali tebeeyigiriza.
8. Abayudaaya abamu ab’omu kiseera kya Pawulo bayinza okuba nga ‘babbanga batya eby’omu yeekaalu’?
8 Pawulo yayogera ku kubba eby’omu yeekaalu. Ekyo ddala Abayudaaya abamu kye baakola? Kiki Pawulo kye yalina mu birowoozo? Olw’okuba tewaliwo kalonda yenna akwata ku kyawandiikibwa kino, tetuyinza kubeera bakakafu ku ngeri Abayudaaya abamu gye ‘babbamu eby’omu yeekaalu.’ Omuwandiisi omu eyawandiika ebikwata ku kibuga Efeso, yagamba nti banne ba Pawulo ‘tebabbanga bintu bya mu yeekaalu,’ ekyo nga kiraga nti abantu abamu baali balowooza nti Abayudaaya be baali bakola ekyo. (Ebikolwa 19:29-37) Kyandiba nti Abayudaaya abamu baali bakozesa oba nga batunda ebintu ebyavanga mu yeekaalu z’abakaafiiri ebyali binyagiddwa abalwanyi abazira oba bannaddiini bannalukalala? Okusinziira ku Tteeka lya Katonda, zaabu ne feeza ebikoleddwamu ebifaananyi ebyole byali bya kuzikirizibwa so si kukozesebwa. (Ekyamateeka 7:25)a N’olwekyo, Pawulo ayinza okuba nga yali ayogera ku Bayudaaya abaabuusa amaaso ekiragiro kya Katonda ne bakozesa oba ne batunda ebintu ebyalinga biggiddwa mu yeekaalu z’abakaafiiri.
9. Bintu ki ebibi ebyakolebwanga mu yeekaalu y’omu Yerusaalemi ebiyinza okufaananyirizibwa n’okubba eby’omu yeekaalu?
9 Ku luuyi olulala, Josephus yayogera ku kintu eky’obuswavu ekyali mu Rooma ekyakolebwa Abayudaaya bana nga bakulemberwa omuyigiriza w’Amateeka. Abayudaaya abo baasendasenda omukyala Omuruumi, eyali kati akkiririza mu njigiriza z’Ekiyudaaya, okubawa zaabu n’ebintu ebirala eby’omuwendo mbu biweebweyo mu yeekaalu e Yerusaalemi. Bwe baamala okubimuggyako, bo bennyini be baabikozesa—okwo kwali kubba eby’omu yeekaalu.b Abalala baali babba eby’omu yeekaalu nga bawaayo ssaddaaka ezitaali nnungi era nga basuubulira mu luggya lwa yeekaalu, mu ngeri eyo ne bafuula yeekaalu “empuku y’abanyazi.”—Matayo 21:12, 13; Malaki 1:12-14; 3:8, 9.
Yigiriza Abalala Emitindo gy’Empisa egy’Ekikristaayo
10. Nsonga ki enkulu eri mu bigambo bya Pawulo ebiri mu Abaruumi 2:21-23 gye tutalina kubuusa maaso?
10 Ka bibe bikolwa ki Pawulo bye yayogerako mu kyasa ekyasooka gamba ng’okubba, okwenda n’okunyaga eby’omu yeekaalu, ka tuleme kubuusa maaso nsonga nkulu gye yali ayogerako. Yabuuza: “Kale ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka?” Kiba kirungi okukitegeera nti ebyokulabirako Pawulo bye yaggyayo byali bikwata ku mpisa. Wano omutume essira teyalissa ku njigiriza za Baibuli oba ku byafaayo. Okweyigiriza era n’okuyigiriza abalala Pawulo bye yayogerako, byali bikwata ku mitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo.
11. Lwaki wandisizzaayo omwoyo ku mitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo ng’oyiga Baibuli?
11 Bwe tuba ab’okussa mu nkola eky’okuyiga ekiri mu Abaruumi 2:21-23 tuba tulina okuyiga emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo okuva mu Kigambo kya Katonda, okweyisa mu ngeri etuukagana n’ebyo bye tuyiga, ate era n’okuyigiriza abalala okukola kye kimu. N’olwekyo, bw’oba ng’oyiga Baibuli, weetegereze nnyo ebyo ebiraga emitindo gya Yakuwa, okwesigamiziddwa emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo. Fumiitiriza ku kubuulirirwa n’eby’okuyiga by’osanga mu Baibuli. Era ssa mu nkola by’oyiga. Okusobola okukola ekyo, kikwetaagisa okubeera n’obuvumu era n’obumalirivu. Kyangu abantu abatatuukiridde okutandika okwekwasa obusongasonga, nga bagamba nti embeera ezimu zeetaagisa okusuula omuguluka emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo. Oboolyawo Abayudaaya, Pawulo be yayogerako baalina endowooza ng’eyo era nga baalina n’ekigendererwa eky’okubuzaabuza abalala. Kyokka, ebigambo bya Pawulo biraga nti emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo tegirina kusuulibwa muguluka okusinziira ku ekyo omuntu ye ky’aba asazeewo okukola.
12. Empisa ennungi oba embi ziwa kifaananyi ki ku Yakuwa Katonda, era lwaki kya muganyulo okutegeera ensonga eno?
12 Omutume yaggumiza ensonga enkulu lwaki twandiyize Baibuli era ne tussa mu nkola emitindo gy’empisa gye tusangamu. Empisa z’Abayudaaya embi zaavumisa Yakuwa: ‘Gwe eyeenyumiririza mu Mateeka ga Katonda, ate omuswaza ng’ogamenya? Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b’amawanga ku lwammwe.’ (Abaruumi 2:23, 24) Era ne leero bwe kiri, nti singa tusuula omuguluka emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo, tuba tunyooma Oyo Eyagissaawo. Kyokka, singa tunywerera ku mitindo gya Katonda, kimuweesa ekitiibwa. (Isaaya 52:5; Ezeekyeri 36:20) Ekyo bw’okimanya, kiyinza okukunyweza n’oba mumalirivu obutabuusa maaso mitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo ng‘oyolekaganye n’ebikemo oba embeera endala eziyinza okukuleetera okweraliikirira. Ate era, ebigambo bya Pawulo bituyigiriza ekintu ekirala. Ng’oggyeko okumanya nti enneeyisa yo kennyini erina ekifaananyi ky’ewa ku Katonda, bw’oba oyigiriza abalala, bayambe okutegeera nti engeri gye bakozesaamu emitindo gy’empisa gye bayiga erina ekifaananyi ky’ewa ku Yakuwa. Emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo tegikuleetera kufuna ssanyu n’obukuumi mu bulamu kyokka, naye era giwa ekifaananyi ekirungi ku Oyo eyagissaawo era atukubiriza okubeera n’empisa ennungi.—Zabbuli 74:10; Yakobo 3:17.
13. (a) Baibuli etuyamba etya ku nsonga ezikwata ku mpisa? (b) Waayo ensonga enkulu eziri mu kubuulirira okuli mu 1 Abassesaloniika 4:3-7.
13 Era, empisa ennungi zirina kye zikola ku bantu abalala. Ekyo oyinza okukirabira mu byokulabirako ebiri mu Kigambo kya Katonda ebiraga omugaso oguli mu kussa mu nkola emitindo egyo egy’empisa era n’akabi akava mu kugisuula omuguluka. (Olubereberye 39:1-9, 21; Yoswa 7:1-25) Era oyinza okufunamu okubuulirira okulungi okukwata ku mpisa nga kuno: ‘Kubanga ekyo Katonda ky’ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi; buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n’ekitiibwa, si mu mululu ogw’okwegomba, era ng’amawanga agatamanyi Katonda; alemenga okuyingirira eddembe lya muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu.’—1 Abasessaloniika 4:3-7.
14. Kiki ky’oyinza okwebuuza ku kubuulirirwa okuli mu 1 Abassesaloniika 4:3-7?
14 Kumpi buli muntu asobola okulaba nti okusinziira ku kyawandiikibwa kino, obwenzi bumenya emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo. Naye oyinza okutegeera ekyawandiikibwa kino mu ngeri esingawo. Ebyawandiikibwa ebimu bituleetera okuyiga n’okufumiitiriza ne tusobola okubitegeera obulungi. Ng’ekyokulabirako, oyinza okufumiitiriza ku ekyo Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti omuntu eyeenyigira mu bwenzi aba ‘ayingiridde eddembe lya muganda we era n’amusobyako mu kigambo ekyo.’ Ddembe ki wano eryogerwako, era okutegeera obulungi ekyawandiikibwa kino kinaakusobozesa kitya okugoberera emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo? Ebiva mu kunoonyereza ng’okwo biyinza bitya okukusobozesa okuyigiriza abalala n’okubayamba okuwa Katonda ekitiibwa?
Yiga Osobole Okuyigiriza Abalala
15. Bintu ki by’oyinza okukozesa nga weeyigiriza?
15 Abajulirwa ba Yakuwa balina eby’okukozesa nga banoonyereza ku bibuuzo oba ku nsonga ezijjawo nga bayiga oba nga bayigiriza abalala. Eky’okukozesa ekimu ekiri mu nnimi ennyingi ye Watch Tower Publications Index. Bw’oba ng’osobola okugifuna, oyinza okugikozesa okuzuula ebintu by’oyagala okutegeera okuva mu bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa ebyesigamiziddwa ku Baibuli. Oyinza okunoonyereza ng’okozesa omutwe oba olukalala lw’ennyiriri z’omu Baibuli. Eky’okukozesa ekirala Abajulirwa ba Yakuwa kye balina ekiri mu nnimi abantu abangi ze basinga okwogera, ye Watchtower Library. Programu eno eya kompyuta eri ku disiki, eriko ebitabo bingi nnyo. Programu eno esobozesa omuntu okunoonyereza ku mitwe emikulu ne ku ngeri ebyawandiikibwa gye binnyonnyolebwamu. Eby’okukozesa bino byombi bw’oba ng’obirina, bikozese buli lw’oba oyiga Ekigambo kya Katonda, kikusobozese okukiyigiriza abalala.
16, 17. (a) Wa w’oyinza okusanga ebinnyonnyola eddembe eryogerwako mu 1 Abassesaloniika 4:6? (b) Obwenzi buyinza butya okuyingirira eddembe ly’abalala?
16 Ka tukozese ekyokulabirako ekyogeddwako waggulu, 1 Abassesaloniika 4:3-7. Wazzeewo ekibuuzo ekikwata ku ddembe. Ddembe ly’ani? Era eddembe eryo liyinza litya okuyingirirwa? Ng’okozesa eby’okukozesa ebyogeddwako waggulu, oboolyawo oyinza okufuna bingi ebyogerwa ku nnyiriri zino, era ne ku ddembe Pawulo lye yayogerako. Ebyogerwa ku nsonga eyo oyinza okubisoma mu kitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, empapula 863-4; akatabo Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?, olupapula 145; ne The Watchtower aka Noovemba 15, 1989, olupapula 31.
17 Mu kuyiga kwo, ojja kulaba nti ebitabo ebyo biraga obutuufu bw’ebigambo bya Pawulo. Omuntu omwenzi ayonoona mu maaso ga Katonda era ayinza n’okufuna endwadde. (1 Abakkolinso 6:18, 19; Abaebbulaniya 13:4) Omusajja eyenyigira mu bukaba ayingirira eddembe ly’omukazi oyo gw’aba yeetabye naye mu ngeri nnyingi. Amulemesa okuba n’empisa ennungi era n’omuntu ow’omunda omulungi. Omukazi oyo bw’aba nga si mufumbo, ayingirira eddembe lye ery’okuyingira obufumbo nga mbeerera era n’ery’omusajja anaamuwasa obutamusanga nga mbeerera. Omukazi aleetera bazadde be ne bbaawe okulumwa, singa abeera mufumbo. Omusajja oyo omugwenyufu avumisa ab’omu maka ge. Bw’aba ng’ali mu kibiina Ekikristaayo, akireetako ekivume.—1 Abakkolinso 5:1.
18. Oyinza otya okuganyulwa bw’oyiga ebikwata ku mitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo?
18 Ebinnyonnyoddwa ku ddembe tebikuyamba okutegeera obulungi amakulu agali mu kyawandiikibwa ekyo? Mazima ddala, okuyiga okw’engeri eyo kuba kwa muganyulo nnyo. Bw’okola bw’otyo, oba weeyigiriza wekka. Weeyongera okutegeera obutuufu bw’obubaka obuli mu kigambo kya Katonda. Era weeyongera okubeera omumalirivu okunywerera ku mitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo ka kibe kikemo ki ekiba kizzeewo. Era lowooza ku ngeri gy’oyinza okubeeramu omusomesa asingawo obulungi! Ng’ekyokulabirako, bw’oba oyigiriza abalala amazima agali mu Baibuli, oyinza okubayamba okutegeera 1 Abassesaloniika 4:3-7, wamu n‘okweyongera okutegeera n’okusiima emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo. Mu ngeri eyo, okuyiga kwo kuyinza okukuyamba era n’okuyamba abalala bangi, okuwa Katonda ekitiibwa. Wano twogedde ku kyakulabirako kimu kyokka, okuva mu bbaluwa ya Pawulo eri Abassesaloniika. Naye waliwo ensonga endala nnyingi ezikwata ku mitindo gy’empisa ez’Ekikristaayo, era n’ebyokulabirako ebirala bingi nnyo okuva mu Baibuli, awamu n’okubuulirira kw’oyinza okuyigako, okussa mu nkola, n’okuyigiriza abalala.
19. Lwaki kikulu nnyo ggwe okunywerera ku mitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo?
19 Tewaliiwo kubuusabuusa kwonna ku miganyulo egiri mu kugoberera emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo. Yakobo 3:17 wagamba “amagezi agava waggulu,” eri Yakuwa Katonda kennyini, “okusooka malongoofu.” Ekyo kitegeeza nti twandigoberedde emitindo gya Katonda egy’empisa. Mazima ddala, Yakuwa yeetaaza abo abamukiikirira mu kuyigiriza abalala Baibuli okubeera ekyokulabirako ekirungi mu kubeera “ab’empisa ennungi.” (1 Timoseewo 4:12, NW) Engeri y’obulamu ey’abayigirizwa abaasooka nga Pawulo ne Timoseewo, ewa obukakafu nti ddala baali ba mpisa nnungi era tebeenyigira mu bikolwa bya bugwenyufu, Pawulo n’atuuka n’okuwandiika bw’ati: “Obwenzi n’obugwagwa bwonna n’okwegomba n’okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu; newakubadde eby’ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby’obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana.”—Abaefeso 5:3, 4.
20, 21. Lwaki okkiriziganya n’ebyo omutume Yokaana bye yawandiika ebiri mu 1 Yokaana 5:3?
20 Wadde ng’emitindo gy’empisa egiri mu Kigambo kya Katonda gitegeerekeka bulungi era nga gituukira ddala ku nsonga, si mizibu kutuukiriza. Kino omutume Yokaana eyaweereza emyaka mingi okusinga abatume abalala bonna yakirinako obukakafu. Ng’asinziira ku ebyo bye yali alabye okumala emyaka mingi, yali akimanyi nti emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo tegyali gya kabi. Wabula, gyali mirungi era nga gya muganyulo. Kino Yokaana yakiggumiza bwe yawandiika: “Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yokaana 5:3.
21 Kyokka, weetegereze nti, omutume Yokaana teyagamba nti okugondera emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo kye kisingayo obulungi kubanga kituwonya okufuna ebizibu era n’ebintu ebirala ebibi. Yayoleka endowooza entuufu ekwata ku buwulize eri Katonda ng’asooka okugamba nti, kiba kikolwa kya kwagala eri Yakuwa Katonda, era eba nkizo ya maanyi nnyo okulaga okwagala kwaffe gy’ali. Mazima ddala okweyigiriza oba okuyigiriza abalala okwagala Katonda, kitwetaagisa okukkiriza n’okussa mu nkola emitindo gye egy’empisa. Yee, kitegeeza okweyigiriza era n’okuyigiriza abalala emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo.
[Obugambo obuli wansi]
a Wadde nga yagamba nti Abayudaaya baali tebanyooma bintu bitukuvu, Josephus yaddamu okwogera bw’ati ku tteeka lya Katonda: “Tewabaawo avvoola bakatonda abantu abalala be basinza, wadde okunyaga yeekaalu zaabwe, oba okutwala eby’obugagga ebiweereddwayo mu linnya lya katonda omulala.” (Italiki zaffe.)—Ekitabo Jewish Antiquities, Book 4, essuula 8, akatundu 10.
b Ekitabo 18 ekiyitibwa Jewish Antiquities essuula 3, akatundu 5.
Ojjukira?
• Lwaki tusaanidde okweyigiriza nga tetunnaba kuyigiriza balala?
• Engeri gye tweyisaamu, eyinza kuwa kifaananyi ki ku Yakuwa?
• Omukaba ayinza kuyingirira ddembe ly’ani?
• Omaliridde kukola ki ku bikwata ku mitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
“Ebiragiro bye tebizitowa”