Obukadde Tebuyinza Kukulemesa Kuyiga
KSENIYA yazaalibwa mu 1897. Yazaala abaana ab’obuwala 3 n’omulenzi omu, era yafuna abazzukulu 15 n’abazzukulu bannakabirye 25. Obulamu bwe bwonna yakola ebyo bazadde be bye baamuyigiriza. Wadde nga yagenda mu kibuga Moscow ng’omunoonyi w’obubudamo olw’olutalo olwali lutaagudde ensi yeewaabwe eyitibwa Abkhaz eri wakati w’oguyanja Black Sea ne Caucasus, yali mumativu n’ebyo bye yali atuuseeko mu bulamu bwe, n’okusingira ddala eddiini ye.
Mu 1993, Meri, muwala wa Kseniya yafuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Meri yatandika okubuulira Kseniya ebikwata ku Yakuwa Katonda ne Baibuli, naye Kseniya yali tayagala kubiwuliriza. Buli kiseera Kseniya yagambanga muwala we nti, “Nkaddiye nnyo, era sikyasobola kuyiga bintu bippya.”
Wadde kyali bwe kityo, muwala we Meri; mukyala wa muzzukulu we, Londa; ne bazzukulu be bannakabirye, Nana ne Zaza, nabo abaali bafuuse Abajulirwa ba Yakuwa, beeyongera okumubuulira ebikwata ku Baibuli. Lumu akawungeezi mu 1999, baasomera Kseniya ekyawandiikibwa ekyamutuuka ku mutima. Kyalimu ebigambo Yesu bye yategeeza abatume be abeesigwa bwe yali atandikawo omukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. (Lukka 22:19, 20) Akawungeezi ako kennyini Kseniya ng’aweza emyaka egy’obukulu 102, yasalawo okutandika okuyiga Baibuli.
Kseniya agamba: “Kati nga mpeza emyaka 102 egy’obukulu, lwe nsobodde okukitegeera nti obulamu bulina ekigendererwa. Kati nkimanyi nti tewali kisinga kuweereza Yakuwa, Katonda waffe omulungi ennyo era ow’okwagala okungi. Nkyategeera bulungi era ndi mulamu. Nsobola okusoma nga sitaddeeko na galubindi era nsobola okukubaganya ebirowoozo n’ab’omu maka gange.”
Nga Noovemba 5, 2000, Kseniya yabatizibwa. Agamba: “Kati mpaddeyo obulamu bwange eri Yakuwa okumuweereza n’okwagala. Ngaba magazini ne tulakiti nga ntudde mu kifo bbaasi we ziyimirira ekiri okumpi n’amaka gange. Ab’eŋŋanda zange batera okujja okunkyalira, era mba musanyufu okubabuulira amazima agakwata ku Yakuwa.”
Kseniya alindirira ekiseera ekyo ‘omubiri gwe lwe guliba omuggya okusinga ogw’omwana omuto.’ (Yobu 33:25) Bwe kiba nti omuntu akaddiye bw’atyo asobola okuyiga okuva mu Baibuli nti obulamu bulina ekigendererwa, ate kiri kitya eri ggwe?