LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w02 4/1 lup. 32
  • Ekyaliwo Ekisingira Ddala Obukulu mu Byafaayo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ekyaliwo Ekisingira Ddala Obukulu mu Byafaayo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 4/1 lup. 32

Ekyaliwo Ekisingira Ddala Obukulu mu Byafaayo

KWALI kufa kwa Yesu Kristo. Lwaki kwali kukulu nnyo? Waliwo ensonga eziwerako.

Obwesigwa bwa Yesu okutuukira ddala ku kufa bwawa obukakafu nti omuntu asobola okubeera omwesigwa eri Katonda.

Okufa kwa Kristo kwawa abamu omukisa ogw’okufugira awamu naye mu ggulu. Era kuwadde abalala bangi omukisa ogw’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.

Akawungeezi akaasembayo nga tannaba kufa, Yesu yakozesa omugaati ogutaliimu kizimbulukusa n’enviinyo emmyufu ng’obubonero obukiikirira ssaddaaka ye ey’okwagala. Era yagamba abayigirizwa be: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Lukka 22:19) Onojjukira ekyaliwo ekyo ekikulu ennyo?

Abajulirwa ba Yakuwa bakwaniriza n’essanyu obeegattako nga bajjukira okufa kwa Yesu. Omwaka guno, omukolo ogwo gujja kubaawo ku Lwakuna nga Maaki 28, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Oyinza okugenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekikuli okumpi. Buuza Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo ekiseera kyennyini n’ekifo awanaabeera omukolo ogwo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza