LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 10/1 lup. 3-4
  • Kikyasoboka Okubeera n’Okukkiriza Okwa Nnamaddala?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kikyasoboka Okubeera n’Okukkiriza Okwa Nnamaddala?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okukkiriza Okwa Nnamaddala
  • Okukkiriza Kuggwaawo
  • Kirage nti Okkiririza mu Bisuubizo bya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • “Twongere Okukkiriza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ddala Okkiririza mu Mawulire Amalungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Okukkiriza—Engeri Etuyamba Okuba Abanywevu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 10/1 lup. 3-4

Kikyasoboka Okubeera n’Okukkiriza Okwa Nnamaddala?

“Okukkiriza bwe bwesige obw’amaanyi mu kisa kya Katonda, ne kiba nti omuntu asobola n’okukusingako obulamu bwe.”​—MARTIN LUTHER, 1522.

“Ekiseera kye tulimu, abantu abasinga obungi tebalina kukkiriza era n’ebikolwa byabwe si bya Kikristaayo.”​—LUDOVIC KENNEDY, 1999.

ENDOWOOZA ezikwata ku kukkiriza zaawukana nnyo. Mu biseera eby’emabega, kyali kya bulijjo okukkiririza mu Katonda. Ennaku zino, mu nsi eno omuli okubonaabona n’ababuusabuusa, okukkiririza mu Katonda ne Baibuli, bigenze bikendeera.

Okukkiriza Okwa Nnamaddala

Eri bangi, “okukkiriza” kitegeeza kubeera bubeezi n’enzikiriza ey’eddiini oba okugoberera engeri emu ey’okusinza. Kyokka, okusinziira ku ngeri gye kikozesebwamu mu Baibuli, “okukkiriza” kitegeeza okwesigira ddala Katonda n’ebisuubizo bye. Ngeri eyawulawo omuyigirizwa wa Yesu Kristo.

Olumu, Yesu Kristo yayogera ku bwetaavu bw’okusaba ‘awatali kulekulira.’ Oluvannyuma yabuuza obanga okukkiriza okwa nnamaddala kwandibaddewo mu kiseera kyaffe, ng’agamba: “Naye omwana w’omuntu bw’alijja, aliraba okukkiriza [nga kuno] ku nsi?” Lwaki yabuuza ekibuuzo ekyo?​—Lukka 18:1, 8.

Okukkiriza Kuggwaawo

Ebintu bingi biyinza okuviirako abantu okuba nga tebakyalina kukkiriza. Mu byo, mulimu ebizibu n’ebigezo bye twolekagana nabyo buli lunaku. Ng’ekyokulabirako, profesa Micheal Goulder yali Faaza mu 1958 mu kibuga Manchester, eky’omu Bungereza, mu kiseera abazannyi bangi mu ttiimu y’omupiira eyitibwa Manchester United bwe baatokomokera mu kabenje k’ennyonnyi mu Munich, Bugirimaani. Mu programu ya ttivi eya BBC, omuweereza waayo Joan Bakewell yannyonnyola nti Goulder “yanakuwala nnyo olw’okuba yali talina ky’ayinza kukola okuyamba abantu abaali mu nnaku ey’amaanyi.” Ekimu ku byavaamu kyali nti “okukkiriza kwe yalina mu Katonda kwaggwaawo.” Goulder yalaga kye yali akkiriza bwe yagamba nti ‘Baibuli si kitabo kya Katonda ekitaliimu nsobi’, wabula, ‘kitabo kya muntu ekirimu ensobi, oboolyawo nga kirimu ebintu ebimu ebyaluŋŋamizibwa.’

Emirundi egimu okukkiriza kuggwaawo buggwi. Ekyo kye kyatuuka ku muwandiisi era omuweereza w’amawulire Ludovic Kennedy. Agamba nti okuva mu buto bwe ‘yalina okubuusabuusa ku bikwata ku kubeerawo kwa Katonda era okubuusabuusa okwo kweyongerera ddala.’ Kirabika nti tewaaliwo yali asobola kuddamu bibuuzo bye mu ngeri ematiza. Okukkiriza kwe kweyongera okunafuwa taata we bwe yafiira mu nnyanja. Essaala eri Katonda ‘okutukuuma okuva mu kabi ku nnyanja era ne ku balabe baffe’ tezaddibwamu, olw’okuba emmeeri y’abasaabaze kitaawe gye yali asaabaliramu yasaanyizibwawo emmeeri z’Abagirimaani ennwanyi mu kiseera kya Ssematalo II.​—Akatabo All in the Mind​—A farewell to God.

Ebyokulabirako ng’ebyo bitera okubaawo. Omutume Pawulo yagamba: “Okukkiriza si kwa bonna.” (2 Abasessaloniika 3:2) Ggwe olowooza otya? Kikyasoboka okukkiririza mu Katonda n’Ekigambo kye mu nsi eno erimu ababuusabuusa? Weekenneenye ekitundu ekiddako kye kyogera ku nsonga eno.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza