Sanyuka olw’Okumanya Ebikwata ku Yakuwa
“Balina omukisa [“essanyu,” “NW”] abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.”—Lukka 11:28.
1. Yakuwa yatandika ddi okubaako by’ategeeza abantu?
YAKUWA ayagala nnyo abantu era ayagala babeere bulungi. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti alina by’abategeeza. Ekyo kyatandikira mu lusuku Adeni. Okusinziira ku Olubereberye 3:8, lumu “mu kiseera eky’empewo,” Adamu ne Kaawa “ba[a]wulira eddoboozi lya Mukama Katonda.” Abamu bagamba nti kino kitegeeza nti Yakuwa yayogeranga ne Adamu mu kiseera ekyo, oboolyawo buli lunaku. Mu buli ngeri, Baibuli ekiraga bulungi nti Katonda teyakoma ku kuwa muntu eyasooka biragiro kyokka, naye era yamuyigiriza bye yali yeetaaga asobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.—Olubereberye 1:28-30.
2. Abafumbo abaasooka baayabulira batya obulagirizi bwa Yakuwa, era biki ebyavaamu?
2 Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa obulamu, obuyinza ku nsolo ne ku nsi yonna. Kyokka, yabakugira ekintu kimu kyokka. Tebaali ba kulya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi. Bwe balimbibwa Setaani, Adamu ne Kaawa baajeemera ekiragiro kya Katonda. (Olubereberye 2:16, 17; 3:1-6) Baasalawo okukola nga bwe baagala, nga beesalirawo ekirungi n’ekibi. Mu kukola ekyo, baayabulira obulagirizi bw’Omutonzi waabwe ow’okwagala. Ebyavaamu byali bya kabi eri bo bennyini era n’ezzadde lyabwe. Adamu ne Kaawa baakaddiwa era ne bafa nga tebalina ssuubi lya kuzuukira. Bazzukulu baabwe baasikira ekibi n’okufa.—Abaruumi 5:12.
3. Lwaki Yakuwa yalabula Kayini era Kayini yatwala atya okulabula okwo?
3 Wadde nga waaliwo obujeemu mu Adeni, Yakuwa, yeeyongera okutegeeza ebitonde bye by’ayagala. Kayini, omwana wa Adamu ne Kaawa omuggulanda, yali mu kabi ak’okutwalirizibwa ekibi. Yakuwa yamulabula nti yali ayolekedde akabi era n’amuwa amagezi ‘okukolanga obulungi.’ Kayini yagaana okubuulirira kuno okw’okwagala era n’atemula muganda we. (Olubereberye 4:3-8) Bwe kityo, abantu abasatu abaasooka ku nsi baagaana obulagirizi bw’oyo eyabawa obulamu, era ayigiriza abantu be basobole okuganyulwa bo bennyini. (Isaaya 48:17) Nga kino kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Yakuwa!
Yakuwa Ategeeza Abasajja Abeesigwa ab’Edda Ebimukwatako
4. Ku bikwata ku bazzukulu ba Adamu, Yakuwa yali mukakafu ku ki, era ng’alina ensonga eyo mu birowoozo, yawa ssuubi ki?
4 Wadde nga yalina ensonga ennungi okulekera awo okutegeeza abantu by’ayagala, ekyo Yakuwa si kye yakola. Yali mukakafu nti abamu ku bazzukulu ba Adamu bandigoberedde obulagirizi Bwe. Ng’ekyokulabirako, ng’asalira Adamu ne Kaawa omusango, Yakuwa yalagula okujja ‘kw’ezzadde’ eryandirwanyisizza Omusota, Setaani Omulyolyomi. Mu nkomerero, Setaani yandibetenteddwa omutwe. (Olubereberye 3:15) Obunnabbi buno bwali bubaka bwa ssanyu eri “abawulira ekigambo kya Katonda ne bakyekuuma.”—Lukka 11:28.
5, 6. Yakuwa yakolagana atya n’abantu be ng’ekyasa ekyasooka tekinnatuuka, era kino kyabaganyula kitya?
5 Yakuwa yategeeza abasajja ab’edda abeesigwa nga Nuuwa, Ibulayimu, Isaaka, Yakobo ne Yobu by’ayagala. (Olubereberye 6:13; Okuva 33:1; Yobu 38:1-3) Oluvannyuma, okuyitira mu Musa, yassaawo amateeka ag’okugobererwa eggwanga lya Isiraeri. Amateeka ga Musa gaabaganyula mu ngeri nnyingi. Olw’okugondera amateeka ago, Isiraeri yayawulibwawo okuva ku mawanga amalala gonna ng’abantu ba Katonda eb’enjawulo. Katonda yakakasa Abaisiraeri nti singa bagondera Amateeka ago, yandibawadde emikisa mu by’omubiri ne mu by’omwoyo, n’abafuula bakabaka era bakabona, eggwanga ettukuvu. Era Amateeka gaalimu ebikwata ku by’endya n’eby’obuyonjo, ekintu ekyatumbula obulamu obulungi. Kyokka era, Yakuwa yalabula ku bibi ebyandivudde mu bujeemu.—Okuva 19:5, 6; Ekyamateeka 28:1-68.
6 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ebitabo ebirala ebyaluŋŋamizibwa byagattibwa ku Byawandiikibwa. Ebimu byali bikwata ku byafaayo era nga byogera ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’amawanga. Ebirala byali bitontome nga binnyonnyola bulungi engeri ze. Ebirala byali bya bunnabbi nga biragula ku kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye mu biseera eby’omu maaso. Abasajja ab’edda abeesigwa baasoma era ne bagoberera ebiwandiiko ebyo ebyaluŋŋamizibwa. Omu ku bo yawandiika: “Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, n’omusana eri ekkubo lyange.” (Zabbuli 119:105) Yakuwa yayigiriza era n’awa ekitangaala abo abaali baagala okuwuliriza.
Ekitangaala Kyeyongera Okwaka
7. Wadde Yesu yakolanga ebyamagero, okusingira ddala yamanyibwa lwa kukola ki, era lwaki?
7 Ekyasa ekyasooka we kyatuukira, ebibiina by’eddiini y’Ekiyudaaya byali bigatisse obulombolombo n’Amateeka. Amateeka gaakozesebwa mu ngeri enkyamu, era mu kifo ky’okubeera ensibuko y’ekitangaala, gaafuuka mazibu olw’obulombolombo obwo. (Matayo 23:2-4) Kyokka, mu 29 C.E., Yesu yajja nga Masiya. Ekigendererwa kye tekyali kuwaayo bulamu bwe ku lwa abantu kyokka, naye era ‘n’okuwa obujulirwa ku mazima.’ Wadde yakolanga ebyamagero, okusingira ddala yamanyibwa nga ‘Omuyigiriza.’ Okuyigiriza kwe kwali nga ekitangaala ekyaka mu kizikiza eky’eby’omwoyo ekyali kibuutikidde ebirowoozo by’abantu. Yesu kennyini yagamba: “Nze kitangaala ky’ensi.”—Yokaana 8:12, NW; 11:28; 18:37.
8. Bitabo ki ebyaluŋŋamizibwa ebyawandiikibwa mu kyasa ekyasooka C.E., era byaganyula bitya Abakristaayo abaasooka?
8 Oluvannyuma ebitabo by’Enjiri bina ebikwata ku bulamu bwa Yesu, ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, ekikwata ku byafaayo by’okusaasaana kw’Obukristaayo oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, nabyo byagattibwako. Era waliwo ebbaluwa ezaaluŋŋamizibwa ezaawandiikibwa abayigirizwa ba Yesu, awamu n’ekitabo ky’obunnabbi eky’Okubikkulirwa. Ebiwandiiko bino, awamu n’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, byakola Baibuli ennambirira. Nga balina ebitabo bino ebyaluŋŋamizibwa, Abakristaayo baasobola ‘okutegeerera ddala obugazi, n’obuwanvu n’obugulumivu n’okukka wansi’ okwa amazima. (Abaefeso 3:14-18) Baali basobola okubeera ‘n’endowooza ya Kristo.’ (1 Abakkolinso 2:16) Wadde kyali kityo, Abakristaayo abo abaasooka tebaategeera mu bujjuvu byonna ebikwata ku Bigendererwa bya Yakuwa. Omutume Pawulo yawandiikira bakkiriza banne: ‘Kaakano bye tulaba mu ndabirwamu tebirabika bulungi.’ (1 Abakkolinso 13:12) Endabirwamu ng’eyo teyandiraze kalonda yenna. Baali bakyalinda okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda mu biseera eby’omu maaso.
9. Kitangaala ki ekibaddewo mu “nnaku ez’oluvannyuma”?
9 Leero, tuli mu kiseera ekiyitibwa ‘ennaku ez’oluvannyuma,’ ezirimu “ebiro eby’okulaba ennaku.” (2 Timoseewo 3:1) Nnabbi Danyeri yalagula nti mu kiseera kino ‘okumanya okw’amazima kulyeyongera.’ (Danyeri 12:4) Bwe kityo, Yakuwa, Ategeeza abalala by’ayagala, ayambye ab’emitima emyesigwa okutegeera amakulu g’Ekigambo kye. Abantu bangi kati bakitegeera nti Kristo Yesu yatuuzibwa ku ntebe mu ggulu mu 1914. Era bamanyi nti mangu ddala ajja kukomya obubi era afuule ensi olusuku lwa Katonda. Ensonga eno enkulu ebuulirwa mu nsi yonna.—Matayo 24:14.
10. Ebyasa bwe bizze biyitawo, abantu bakozeewo ki ku kubuulirira kwa Yakuwa?
10 Yee, ng’ebiseera bwe bizze biyitawo Yakuwa ategeezezza by’ayagala n’ekigendererwa kye eri abantu ku nsi. Baibuli eyogera ku bantu bangi abaawuliriza, abaagoberera okubuulirirwa kwa Katonda, era ne baweebwa omukisa. Era eyogera ku balala abaagaana okubuulirira kwa Katonda okw’okwagala, ne bagoberera ekkubo lya Adamu ne Kaawa ekkyamu. Yesu yayogera ku mbeera eno bwe yayogera ku makubo abiri ag’akabonero. Erimu lituusa mu kuzikirizibwa. Eryo ly’eggazi era ligobererwa abantu bangi abagaana Ekigambo kya Katonda. Ekkubo eddala lituusa mu bulamu obutaggwaawo. Wadde lya kanyigo, lye kkubo omuli abantu abatono abakkiriza Baibuli, Ekigambo kya Katonda, era ne bagigoberera.—Matayo 7:13, 14.
Okusiima Ekyo Kye Tulina
11. Bwe tutegeera era ne tukkiriza Baibuli, obwo buba bujulizi obulaga ki?
11 Oli mu abo abalonzeewo ekkubo erituusa mu bulamu? Bwe kiba bwe kityo, awatali kubuusabuusa wandyagadde okulisigalako. Kino oyinza kukikola otya? Fumiitiriza bulijjo ku mikisa gy’ofunye mu bulamu bwo olw’okumanya amazima ga Baibuli. Okuba nti olina ky’okozeewo ng’owulidde amawulire amalungi bujulizi obulaga nti ofunye emikisa gya Katonda. Yesu kino yakiraga bwe yasaba Kitaawe bw’ati: “Nkwebaza, Kitange Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab’amagezi n’abakabakaba n’obibikkulira abaana abato.” (Matayo 11:25) Abavubi n’abawooza baafuna amakulu g’ebyo Yesu bye yayigiriza, ng’ate bo abakulembeze b’amadiini abayivu tebaagafuna. Yesu yeeyongera n’agamba: ‘Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamusika.’ (Yokaana 6:44) Bw’oba oyize Baibuli, n’okkiriza by’eyigiriza, era n’obigoberera, obwo bujulizi obulaga nti Yakuwa akusise. Ekyo kireeta essanyu.
12. Mu ngeri ki Baibuli gy’etuwaamu ekitangaala.
12 Ekigambo kya Katonda kirimu amazima era kiwa ekitangaala. Abo abagoberera okumanya kwa Baibuli bafuna eddembe okuva ku bulombolombo, enjigiriza ez’obulimba, n’obutamanya obubuutikidde obukadde n’obukadde bw’abantu. Ng’ekyokulabirako, okumanya amazima agakwata ku mbeera y’abafu kitusobozesezza obutatya nti abafu bayinza okutukolako akabi oba nti abaagalwa baffe babonaabona. (Ezeekyeri 18:4) Okumanya amazima agakwata ku bamalayika ababi kituyamba okwewala obusamize. Enjigiriza y’okuzuukira ezzaamu amaanyi abo abafiiriddwa abaagalwa baabwe. (Yokaana 11:25) Obunnabbi bwa Baibuli butulaga ekiseera kye tulimu era ne butuyamba okuba n’obwesige mu bisuubizo bya Katonda eby’omu biseera eby’omu maaso. Era bunyweza essuubi lyaffe ery’okuba abalamu emirembe gyonna.
13. Tuganyulwa tutya bwe tugoberera Ekigambo kya Katonda?
13 Emisingi egiri mu Baibuli gituyigiriza okweyisa mu ngeri etuleetera emiganyulo. Ng’ekyokulabirako, tuyiga okwewala ebikolwa ebyonoona emibiri gyaffe, ng’okukozesa taaba n’okwekamirira amalagala. Twewala okukozesa obubi ebitamiiza. (2 Abakkolinso 7:1) Okugoberera amateeka ga Katonda agakwata ku mpisa bukuumi eri endwadde ez’obukaba. (1 Abakkolinso 6:18) Bwe tugoberera okubuulirira kwa Katonda okw’okwewala okwagala ennyo essente, okwawukana kw’abo abaluubirira okufuna obugagga, tufuna emirembe mu birowoozo. (1 Timoseewo 6:10) Oganyuddwa mu ngeri ki olw’okugoberera Ekigambo kya Katonda mu bulamu bwo?
14. Omwoyo omutukuvu gutukolera ki mu bulamu bwaffe?
14 Bwe tugoberera Ekigambo kya Katonda, tufuna omwoyo gwe omutukuvu. Tukulaakulanya engeri za Kristo ezisikiriza, ng’ekisa n’obusaasizi. (Abaefeso 4:24, 32) Era omwoyo gwa Katonda gutuleetera okwoleka ebibala byagwo ng’okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, n’okwefuga. (Abaggalatiya 5:22, 23) Engeri zino zireetawo enkolagana ennungi n’abalala, nga mw’otwalidde n’ab’omu maka gaffe. Tufuna amaanyi agatuyamba okwolekagana n’ebizibu n’obuvumu. Olaba engeri omwoyo omutukuvu gye gukuyambyemu okuganyulwa mu bulamu bwo?
15. Tuganyulwa tutya bwe tutuukanya obulamu bwaffe ne Katonda by’ayagala?
15 Nga tutuukanya obulamu bwaffe ne Katonda by’ayagala, tunyweza enkolagana yaffe naye. Tweyongera okuba abakakafu nti amanyi ebitukwatako era atwagala. Tutegeera nti Yakuwa atuyamba bwe tulaba ebyo by’atukolera mu biseera ebizibu. (Zabbuli 18:18) Tukitegeera nti awuliriza okusaba kwaffe. (Zabbuli 65:2) Tutandika okwesiga obulagirizi bwe nga tuli bakakafu nti bujja kutuganyula. Era tulina essuubi ery’ekitalo nti mu kiseera ekituufu Katonda ajja kusobozesa abantu abeesigwa okubeera abatuukirivu era abawe n’ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. (Abaruumi 6:23) Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.” (Yakobo 4:8) Naawe okizudde nti enkolagana yo ne Yakuwa yeeyongedde okunywera bw’omusemberedde?
Amazima ga Baibuli ga Muwendo Nnyo
16. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakola nkyukakyuka ki?
16 Pawulo yajjukiza Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kyasa ekyasooka nti, abamu ku bo baaliko abakaba, abenzi, abalyi b’ebisiyaga, ababbi, ab’omululu, abatamiivu, abavumi, era abanyazi. (1 Abakkolinso 6:9-11) Amazima ga Baibuli gaabaleetera okukola enkyukakyuka ez’amaanyi; ne ‘banaazibwa.’ Gezaako okuteebereza obulamu bwo bwe bwandibadde singa wali toyize mazima g’omu Baibuli. Mazima ddala, amazima ga muwendo nnyo. Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa atutegeeza by’ayagala!
17. Abajulirwa ba Yakuwa baliisiddwa batya mu by’omwoyo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
17 Ate era, lowooza ku ssanyu lye tulina olw’oluganda lwaffe olw’ebika eby’enjawulo. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu, nga mw’otwalidde Baibuli, magazini, n’ebitabo ebirala mu nnimi nnyingi nnyo. (Matayo 24:45-47) Mu nkuŋŋaana z’ekibiina ezaaliwo mu mwaka 2000, Abajulirwa ba Yakuwa beekenneenya ebintu ebikulu okuva mu bitabo munaana eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Baafumiitiriza ku bulamu bw’abantu 40 aboogerwako mu kitabo Insight on the Scriptures. Baasoma kumpi kimu kya kuna eky’ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived, era ne basoma kumpi ekitabo kyonna ekya Pay Attention to Daniel’s Prophecy! Ng’oggyeko ebitundu 52 ebiyigibwa mu Omunaala gw’Omukuumi buli mwaka, baasoma ebitundu ebirala 36 okuva mu katabo ke kamu. Okugatta ku ekyo, abantu ba Yakuwa baaliisibwa okuva mu butabo 12 obwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka n’emboozi za bonna eza buli wiiki ezikwata ku mitwe gya Baibuli egy’enjawulo. Nga tuyize ebintu bingi nnyo eby’eby’omwoyo!
18. Tuyambibwa tutya okuyitira mu kibiina Ekikristaayo?
18 Okwetooloola ensi yonna, ebibiina by’abantu ebisukka mu 91,000 bituwagira era ne bituzzaamu amaanyi okuyitira mu nkuŋŋaana. Era tufuna obuwagizi bwa Bakristaayo bannaffe abakuze mu by’omwoyo abeetegefu okutuyamba mu by’omwoyo. (Abaefeso 4:11-13) Yee, tuganyuddwa nnyo olw’okuyiga amazima. Kya ssanyu nnyo okumanya n’okuweereza Yakuwa. Ng’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bituufu nnyo: “Balina essanyu abantu abalina Katonda waabwe nga ye Yakuwa!”—Zabbuli 144:15, NW.
Ojjukira?
• Yakuwa yategeeza baani by’ayagala ng’Obukristaayo tebunnabaawo?
• Ekitangaala eky’eby’omwoyo kyeyongera kitya okwaka mu kyasa ekyasooka, era ne mu biseera byaffe?
• Miganyulo ki egiva mu kugoberera okumanya okukwata ku Yakuwa?
• Lwaki tusanyuka olw’okumanya ebikwata ku Katonda?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]
Yakuwa yategeeza Musa, Nuuwa, ne Ibulayimu by’ayagala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Mu kiseera kyaffe, Yakuwa atangaazizza ku Kigambo kye
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Lowooza ku mikisa gye tufuna okuyitira mu luganda lwaffe olw’ebika eby’enjawulo!