Obulamu Bwo n’Essente—Kiki ky’Olondawo?
Oboolyawo wali owuliddeko nga boogera ku banyazi abaasonga emmundu mu oyo gwe banyaga nga bamugamba: ‘Obulamu bwo n’essente—kiki ky’olondawo?’ Ennaku zino, ebigambo ebyo biwulirwa nnyo naddala eri abo ababeera mu nsi ezaakulaakulana edda. Ku luno, abanyazi si be boogera ebigambo ebyo. Wabula, abantu be batadde essira ku kufuna essente n’eby’obugagga ebingi.
ESSIRA eryo lireeseewo ensonga endala n’okweraliikirira mu bantu. Twandikomye wa mu kunoonya eby’obugagga? Tuyinza okubeera abamativu n’ebintu ebitono? Kyandiba ng’abantu beefiiriza “obulamu obwa nnamaddala” olw’okwagala okufuna eby’obugagga? Essente ze zisobozesa okufuna obulamu obw’essanyu?
Omulugube gw’Essente
Mu kwegomba kwonna abantu kwe balina, ka kube nga kusaanira oba nedda, okwagala essente kwe kukyakutte ekifo ekisooka. Obutafaananako omulugube ogw’okwetaba n’ogw’okulya emmere, gwo ogw’essente gwa lubeerera era tegukoma. Okukaddiwa tekuleetera mulugube ogwo kukoma. Mu mbeera nnyingi, okukula mu myaka kuyinza okuleetera omuntu okweyongera okwagala ennyo essente era n’okweraliikirira ebizikwatako.
Omulugube gw’essente gulabika nga gweyongera. Omuzannyi omukulu mu firimu emu eŋŋanzi yagamba: “Omulugube guyamba. Omulugube guganyula.” Wadde nga bangi baayogera ku myaka gya 1980 ng’Omulembe gw’Omulugube, ebyo ebyaliwo ng’emyaka egyo teginnaba oba oluvannyuma lwagyo biraga nti engeri abantu gye batwalamu essente tekyuse nnyo.
Oboolyawo ekippya kiri nti abantu bangi balina engeri ez’enjawulo ez’okukkusaamu embagirawo okwegomba kwabwe okw’okufuna eby’obugagga ebisingawo. Kirabika nti abantu bangi mu nsi bamala ebiseera byabwe ebisinga obungi nga banoonya eby’obugagga ebisingawo. Oboolyawo naawe okkiriza nti okufuna ebintu n’okusaasaanya essente bifuuse ebintu ebikulu mu bulamu bwa kakyo kano.
Naye abantu bafunye essanyu erisingawo olw’okukola ekyo? Ng’addamu ekibuuzo ekyo, Kabaka Sulemaani eyali omugezi era omugagga, yawandiika bw’ati emyaka 3,000 egiyise: “Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n’oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga: era n’ekyo butaliimu.” (Omubuulizi 5:10) Okunoonyereza okukwata ku mbeera z’abantu okw’ennaku zino nakwo kuzudde ebifaananako bwe bityo.
Essente n’Essanyu
Ekimu ku byewuunyisa ebizuuliddwa ku mbeera z’abantu kiri nti okweyongera okufuna essente n’eby’obugagga, tekwongera ku ssanyu n’okumatira. Abanoonyereza bangi kye bazudde kiri nti omuntu bw’agaggawala ekimala, okumatira n’essanyu by’aba nabyo, tebisinziira ku bya bugagga by’aba alina.
N’olwekyo, okunoonya eby’obugagga n’essente okutaliiko kkomo kuleetedde bangi okwebuuza, ‘Kirabika nti tusanyukira buli kintu ekippya kye tugula; naye lwaki oluvannyuma lw’okubifuna, ebintu ebyo tebituleetera kumatira kusingawo?’
Mu kitabo kye Happy People, Jonathan Freedman agamba: “Oluvannyuma lw’okufuna essente entonotono, essente ezo z’oba nazo zikola kitono nnyo mu kuleetawo essanyu. N’abo abatali baavu, essanyu lye bafuna olw’essente liba ttono nnyo.” Bangi bakizudde nti ekikulu mu kufuna essanyu kinnoomu kwe kufuna eby’obugagga eby’omwoyo, ebiruubirirwa eby’amakulu mu bulamu, n’okuba n’emitindo gy’empisa egy’okugoberera. N’ekirala ekikulu, kwe kubeera n’enkolagana ennungi n’abalala awamu n’okwewala obunyoolagano obuyinza okutuleetera obutafuna ssanyu.
Bangi bakiraba nti emitawaana mingi mu bantu gisibuse ku kugezaako okukozesa eby’obugagga okugonjoola ebizibu eby’enneewulira ez’omunda. Abakugu abamu mu mbeera z’abantu bagamba nti abantu basuubira kitono mu bulamu era si bamativu. Era bakizudde nti abantu b’omu nsi engagga beeyongera okwebuuza ku basawo ekigendererwa ky’obulamu oba okukinoonya okuva mu basamize n’obubiina bw’eddiini. Kino kiraga nti eby’obugagga tebiyinza kuyamba kufuna makulu mu bulamu.
Essente Kye Zisobola Okukola ne Kye Zitasobola
Kya lwatu, waliwo essente bye zisobola okukola. Zisobola okugula ennyumba ennungi, engoye ennungi, n’ebibajje ebitemagana. Era zisobola okuleetera abalala okukwesiimisa, oba okukuwaanawaana, era ne zikusobozesa n’okufuna ab’emikwano abeetegefu okukuyamba okumala akaseera akatono. Kyokka, ebyo ssente bye zisobola okukola. Ebintu bye twetaaga ennyo mu bulamu, ng’ow’omukwano ogwa nnamaddala, emirembe mu birowoozo, n’okubudaabudibwa nga twolekanye n’okufa, essente tezisobola kubigula. Ate eri abo abaagala enkolagana ennungi n’Omutonzi, essente tezisobola kugula kusiimibwa kwa Katonda.
Kabaka Sulemaani eyalina ebintu byonna ebirungi essente bye zaali zisobola okugula mu kiseera kye, yakitegeera nti okwesiga eby’obugagga tekiyinza kuleeta ssanyu lya lubeerera. (Omubuulizi 5:12-15) Oyinza okufiirwa ssente zo olw’okulemererwa kwa banka oba olw’okulinya kw’emiwendo gy’ebintu. Ebizimbe n’eby’obugagga ebirala biyinza okwonoonebwa embuyaga ez’amaanyi. Wadde nga insuwalensi ziyinza okusasulirako ebimu ku bintu ebyonooneddwa, ekyo tekiyinza kumalawo bulumi mu nneewulira ey’omunda. Emigabo giyinza okufuuka egitagasa olw’embeera y’eby’enfuna okwonooneka. N’omulimu ogusasula obulungi, oyinza okuba nagwo leero, enkya n’ogufiirwa.
Kati olwo, tusobola tutya okuba n’endowooza entuufu ekwata ku ssente? Essente oba eby’obugagga byandibadde na kifo ki mu bulamu bwaffe? Tukusaba weeyongere okwekenneenya ensonga eno mu kitundu ekiddako olabe engeri gye tuyinza okufunamu ekintu eky’omuwendo ennyo—“obulamu obwa nnamaddala.”
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]
Eby’obugagga tebireeta ssanyu lya lubeerera