Emitindo gy’Empisa n’Obwesigwa Biddiridde
Mu biseera bya Kabaka Henry I owa Bungereza (1100-1135), yaadi emu yali emanyiddwa “ng’obuwanvu okuva ku kasongezo k’ennyindo ya Kabaka okutuuka ku nkomerero y’olugalo lwe olusajja ng’agolodde omukono gwe.” Yaadi y’abantu ba Kabaka Henry yali ntuufu kwenkana wa? Engeri yokka ey’okukakasaamu ekyo, kyandibadde kyetaagisa okulaba Kabaka kennyini.
LEERO, ebipimo bisobola okunnyonnyolwa obulungi okusinziira ku mitindo egiriwo. Ng’ekyokulabirakko, mita eyinza okunnyonnyolwa ng’olugendo ekitangaala lwe kitambula mu bbanga ejjereere mu katikitiki kamu ng’ogabizzaamu 299,792,458.
Enkyukakyuka mu mitindo gy’okupima k’ebeere ntono etya, ereetawo okubuusabuusa. N’olw’ensonga eyo, okufuba okw’amaanyi kukolebwa okukuuma emitindo egyo. Ng’ekyokulabirako, mu Bungereza, ekikozesebwa okupima obuzito, lye jjinja erizitowa kilo emu nga lyakolebwa mu platinum ne iridium. Ejjinja eryo literekebwa mu kizimbe bannasayansi gye bakolera okunoonyereza kwabwe mu nsi eyo. Emikka emibi egiva mu bidduka n’ennyonyi eziyita waggulu w’ekizimbe ekyo, bireetera ejjinja eryo okweyongerako obuzito buli lunaku. Kyokka, ejjinja eryo lirina lineewaalyo eririfaananira ddala eritwalibwa ng’omutindo gw’ebipimo mu nsi yonna. Lino literekeddwa mu nsuwa ssatu ez’ebyuma nga buli emu ettudde mu ginnaayo, wansi mu ttaka mu Bufalansa awali ekitongole ekivunaanyizibwa ku bipimo. Naye era obuzito bw’ejjinja eryo bukyukakyuka olw’okwonoonebwa obuwuka obusirikitu obutayinza kulabibwa n’amaaso. Bwe kityo nno, bannasayansi abakola ku bipimo tebannavumbula mutindo gwa bipimo ogutayinza kukyukako.
Wadde ng’enkyukakyuka entonotono ziyinza okulabika ng’ezitali nkulu nnyo eri omuntu owa bulijjo, kyokka enkyukakyuka ey’amaanyi mu mutindo gw’ebipimo eyinza okuleetawo okubuzaabuzibwa. Mu Bungereza, okukyuka okuva ku kukozesa ebipimo bya laatiri ne awunzi, okutandika okukozesa kilo ne gulaamu kyaleetawo obutali bwesigwa. Abatunzi b’amaduuka abamu babbanga abantu be baaguzanga okuva abantu bwe baali tebategeera enkola eyo empya.
Emitindo gy’Amaka era n’Egy’Empisa
Kiba kitya bwe wabaawo enkyukakyuka mu mitindo gy’amaka era n’egy’empisa? Ebiva mu nkyukakyuka ng’ezo biyinza okuba eby’akabi ennyo. Lipoota ezifulumizibwa ezikwata ku kusasika kw’amaka, obugwenyufu, n’okutulugunya abaana okubunye wonna zeeraliikiriza abantu bangi. Era ziwa obukakafu nti tuli mu biseera emitindo gy’empisa mwe gidiridde ennyo. Amaka omuli omuzadde omu, abaana okukuzibwa abazadde abalya ebisiyaga, n’okusobya ku baana abato byonna biva mu bantu okwesamba empisa ennungi. Abantu bangi beeyongera okubeera “[a]beeyagala bokka, . . . abatayagala ba luganda, . . . abatayagala bulungi, . . . abaagala essanyu okusinga Katonda,” nga Baibuli bwe yalagula emyaka ng’enkumi bbiri egiyise.—2 Timoseewo 3:1-4.
Okuddirira mu mitindo gy’empisa kukwataganyizibwa n’obutali bwesigwa oba obutakola ekyo ekyali kisuubirwa. Gye buvuddeko awo, okuddirira mu mitindo egya waggulu ennyo egy’ekisawo kwayatuukirizibwa mu Hyde, ekibuga ekiri mu mambuka ga Bungereza. Abatuuze mu kitundu ekyo baali beesiga nnyo abasawo baabwe era nga babassaamu nnyo ekitiibwa. Naye eky’ennaku, abasawo bo tebaali beesigwa. Mu ngeri ki? Lipoota okuva mu kkooti yalaga nti omusawo omu yaviirako okufa kw’abakazi 15 be yali ajjanjaba. Ate era, poliisi yalina okuddamu okunoonyereza ku bantu abalala abasukka mu 130 abaafa nga bajjanjabibwa omusawo oyo. Obutali bwesigwa bw’omusawo oyo bwakakasibwa omusango bwe gwamuka mu vvi era n’asibibwa mu kkomera. Abakungu b’ekkomera babiri omusawo oyo b’ayinza okuba nga yabattira maama waabwe, baaweebwa emirimu emirala baleme okukuuma omusibe oyo eyali omubi ennyo. Tekyewuunyisa nti lipoota eyafulumira mu lupapula lw’amawulire The Daily Telegraph yayita omusawo oyo ‘Omusawo kattira.’
Okuva emitindo mu mbeera nnyingi ez’obulamu bwe gigenda gikyukakyuka era nga gyonooneka, ani gw’oyinza okwesigira ddala? Wa gy’oyinza okusanga emitindo egitakyukakyuka era nga giwagirwa omuntu alina obuyinza okuginywererako? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.