LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 4/1 lup. 18
  • Buyindi—“Obumu mu Bantu ab’Enjawulo”

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Buyindi—“Obumu mu Bantu ab’Enjawulo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Laba Ebirala
  • Oli Mwetegefu Okuyamba?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Bonna Baanirizibwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Beseri Kye Ki?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 4/1 lup. 18

Abalangirizi b’Obwakabaka Bawa Lipoota

Buyindi​—“Obumu mu Bantu ab’Enjawulo”

“OBUMU mu Bantu ab’Enjawulo” ŋŋombo eŋŋanzi ekozesebwa okwogera ku bumu mu bantu ab’enjawulo mu ggwanga lya Buyindi. Okubeera obumu mu nsi eno ennene ennyo erimu enjawulo ey’amaanyi mu mpisa, ennimi, eddiini, amawanga, ennyambala n’emmere si kyangu. Kyokka, obumu ng’obwo bulabibwa ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa mu Buyindi, wadde nga bannakyewa ababeerayo era abakolerayo bava mu bitundu bingi eby’enjawulo eby’ensi eyo era nga boogera ennimi ez’enjawulo.

• Ka tumanye ebikwata ku Rajrani​—omukazi omuto okuva mu Punjab, mu bukiika kkono obw’ebuggwanjuba bwa Buyindi. Rajrani ng’ali ku ssomero, omu ku bayizi banne yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Omuwala ono omuto yagezaako okuyamba Rajrani okumanya ebisingawo mu Baibuli. Okuva muyizi munne bwe yali amanyi Olungereza olutono era nga The Watchtower kaali tekafunika mu Lupunjabi mu kiseera ekyo, yasaba Rajrani okumuyamba okuvvuunula ebyali mu kamagazini. Rajrani bye yasoma mu The Watchtower byamusikiriza nnyo ne kiba nti wadde bazadde be baali bamuziyiza, yakulaakulana n’atuuka n’okuwaayo obulamu bwe eri Yakuwa Katonda. Ng’aweereza ku Beseri ya Buyindi leero, akola ekintu kye kimu ekyaggula amaaso ge eri amazima. Avvuunula ebitabo by’Ekikristaayo mu Lupunjabi!

• Era lowooza ku Bijoe, ava mu kitundu ekirala mu Buyindi​—mu ssaza ly’e Kerala eriri mu bukiika ddyo obw’omu bugwanjuba. Bijoe yagobebwa mu ssomero lya haaya olw’obuteenyigira mu mikolo gy’eggwanga. Oluvannyuma lw’omusango ogwali mu kkooti okumala akabanga era ogwaviirako okusinza okulongoofu okutuuka ku buwanguzi, Bijoe yaddayo mu ssomero.a Era yeeyongerayo mu ttendekero ery’obuyigirize obwa waggulu. Kyokka, obugwenyufu obwali mu ttendekero eryo bwalumiriza omuntu we ow’omunda, n’olwekyo, yava mu ttendekero eryo mu kisanja ekisooka. Kati oluvannyuma lw’emyaka kkumi mu Beseri, awulira nti aganyuddwa nnyo mu kubeera mu maka ga Beseri omuli abantu ab’enjawulo naye nga bali bumu, okusinga lwe yandiganyuddwa ng’aluubirira obuyigirize obwa waggulu.

• Norma ne Lily basukka mu myaka 70 egy’obukulu era babadde bannamwandu okumala emyaka mingi. Buli omu amaze emyaka egisukka mu 40 mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Lily abadde akolera mu ttabi okumala emyaka nga 20 ng’omuvvuunuzi w’olulimi Olutamiru. Norma yajja mu Beseri emyaka 13 egiyise oluvannyuma lw’okufiirwa bbaawe. Ng’oggyeko okubeera ebyokulabirako ebirungi eby’abakozi abanyiikivu, balina kinene kye bakoze mu kuleetawo obumu mu maka ga Beseri gonna. Baagala okukyaza abagenyi, era baagala okubeera awamu n’abato mu maka ga Beseri, nga babategeeza ku ssanyu lye bafunye mu myaka emingi gye bamaze mu bulamu bw’Ekikristaayo. N’abato babaaniriza mu bisenge byabwe era ne babayamba buli we kiba kyetaagisa. Mazima ddala byakulabirako birungi nnyo!

Oluvannyuma lw’okuvvuunuka enjawukana ezireeta entalo n’obutakkaanya mu bifo bingi, bannakyewa bano bakolera wamu okuweereza abalala mu maka ga Beseri agali obumu mu Buyindi.​—Zabbuli 133:1.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba The Watchtower aka Noovemba 1, 1987, olupapula 21.

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Background: Mountain High Maps® Copyright © 1997 Digital Wisdom, Inc.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza