LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb19 Agusito lup. 8
  • Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Laba Ebirala
  • Oli Mwetegefu Okuyamba?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Bonna Baanirizibwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Beseri Kye Ki?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Agusito lup. 8
Mwannyinaffe akola mu ffumbiro ku Beseri

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Emirimu Emirungi Egitayinza Kwerabirwa

Abaweereza ba Yakuwa bonna basobola okubaako ebintu ebirungi bye bakola mu buweereza obutukuvu ebitasoboka kwerabirwa. Okufaananako omuzadde ayagala abaana be era atayinza kwerabira bintu birungi bye baba bakoze, Yakuwa tayinza kwerabira mulimu gwaffe n’okwagala kwe tulaga erinnya lye. (Mat 6:20; Beb 6:10) Kyo kituufu nti obusobozi bwaffe n’embeera zaffe byawukana. Naye bwe tufuba okukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa, tufuna essanyu. (Bag 6:4; Bak 3:23) Okumala emyaka mingi, baganda baffe ne bannyinaffe bangi baweerezza ku Beseri. Oli mwetegefu okwewaayo okuweereza ku Beseri? Bw’oba nga tosobola, osobola okukubiriza ow’oluganda omulala okuweereza ku Beseri oba okuyamba ow’oluganda aweereza ku Beseri okusigala mu buweereza obwo?

MULABE VIDIYO, EBISAANYIZO BY’OLINA OKUTUUKIRIZA OKUSOBOLA OKUWEEREZA KU BESERI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki ekisaanidde okukukubiriza okuweereza ku Beseri?

  • Mikisa ki abamu gye bafunye olw’okuweereza ku Beseri?

  • Bisaanyizo ki by’olina okutuukiriza okusobola okuweereza ku Beseri?

  • Oyinza otya okusaba okuweereza ku Beseri?

Abeseri basatu balina omulimu gwe bakolera ku kompyuta; ow’oluganda ateeka ebitabo mu bookisi; ow’oluganda akola omulimu gw’okubajja ku Beseri

Ebisaanyizo by’Okuweereza ku Beseri

  • Olina okuba n’okwagala okw’amaanyi eri Yakuwa n’ekibiina kye

  • Olina okuba ng’ogoberera emitindo gya Yakuwa egy’empisa era ng’olina omuntu ow’omunda omuyonjo

  • Olina okuba nga weekolako era ng’oyambala mu ngeri esaana

  • Eby’okwesanyusaamu by’olondawo birina okuba nga bisaana

  • Olina okuba wakati w’emyaka 19 ne 35

  • Olina okuba ng’oli mulamu bulungi mu birowoozo ne mu mubiri

  • Ng’osobola okusoma, okuwandiika, n’okwogera olulimi olukozesebwa ku Beseri

  • Olina okuba omwetegefu okuweereza ku Beseri waakiri omwaka gumu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza