LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 3/1 lup. 32
  • Okulwanyisa Obwavu Lutalo Olutayinza Kuwangulwa?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okulwanyisa Obwavu Lutalo Olutayinza Kuwangulwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 3/1 lup. 32

Okulwanyisa Obwavu Lutalo Olutayinza Kuwangulwa?

ABALAMBUZI abakyalira Ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu New York City, balaba mu Kisenge ky’Olukiiko lw’Eby’Enfuna n’Ensonga z’Abantu, emidumu waggulu mu siiringi. Abalambuza annyonnyola: “Siiringi ‘etannaggwa’ kabonero akatujjukiza nti emirimu gy’eby’enfuna n’ensonga z’abantu mu Kibiina ky’Amawanga Amagatte tegiggwaawo; buli kiseera wajja kubaawo ekintu ekiyinza okukolebwa okulongoosa embeera z’abantu mu nsi.”

Wadde Olukiiko lumalirivu okutumbula omutindo ogwa waggulu ogw’embeera z’abantu bonna, omulimu gulabika nga teguyinza kuggwa. Mu kiseera ky’obuweereza bwa Yesu Kristo ku nsi mu kyasa ekyasooka C.E., yagamba: “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi.” (Lukka 4:18, NW) “Amawulire amalungi” ge yalangirira ge galuwa? Bwe bwali obubaka obukwata ku Bwakabaka, Yakuwa Katonda, afuuka ‘ekigo ky’abaavu mu nnaku yaabwe,’ bw’ajja okuteekawo nga Yesu Kristo ye Kabaka. Obwakabaka obwo bunaatuukiriza ki? Isaaya yalagula: “Mukama ow’eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey’ebya ssava, embaga ey’omwenge omuka, ey’ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey’omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi. Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n’ekivume eky’abantu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.”​—Isaaya 25:4-6, 8.

Wandyagadde okumanya ebisingawo ku ngeri Obwakabaka bwa Katonda gye ‘bunaalongoosaamu embeera z’abantu mu nsi,’ waleme okubaawo yenna ali mu bwetaavu? Laba wammanga omanye engeri omusomesa alina ebisaanyizo gy’ayinza okukukyaliramu akulage ebisingawo Baibuli by’eyogera ku nsonga ng’ezo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza