LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 3/1 lup. 31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Laba Ebirala
  • Omukugu mu Kuyiiya Programu za Kompyuta Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye
    Zuukuka!—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 3/1 lup. 31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abakristaayo ab’amazima banditunuulidde batya ekikolwa ekicaase eky’abantu okuwa abalala kopi za programu za kompyuta?

Mu bukyamu abamu bayinza okuwolereza ekikolwa kino nga bajuliza ebigambo bya Yesu: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” Kya lwatu, Yesu yali tayogera ku kugaba kopi ez’obwerere ez’ebitabo oba programu za kompyuta ezitakkirizibwa kukolebwamu kopi, era ng’enkozesa yaazo efugibwa amateeka. Yali ategeeza okuwa ng’ekitundu ky’obuweereza. Yesu yagamba abatume abaali bagenda mu bibuga n’ebyalo ebitali bimu nti baali ba kubuulira Obwakabaka, okuwonya abalwadde, n’okugoba dayimooni. Mu kifo ky’okusaba ssente olw’ekyo, abatume baali ba ‘kuwa buwa.’​—Matayo 10:7, 8.

Ng’omuwendo gwa komputya ez’abantu kinnoomu n’eza bizineesi gugenda gweyongera, abantu bangi beetaaga programu za kompyuta. Zino ziba zirina okugulibwa. Kyo kituufu nti waliwo abantu abawandiika programu ne bazigaba awatali kusasula era ne bagamba nti ziyinza okukolebwamu kopi ne ziweebwa abalala. Naye programu za kompyuta ezisinga obungi zitundibwa. Ka zibe nga za kukozesebwa muntu awaka oba mu bya bizineesi, abakozesa programu za kompyuta basuubirwa okuzigula, okuzisasulira. Singa omuntu atwala oba afuna kopi ya programu awatali kugisasulira, ekyo kyandibadde kimenya amateeka, nga bwe kiri eri okukubisaamu ebitabo kopi, wadde nga bigabibwa ku bwereere.

Programu za kompyuta (nga mw’otwalidde n’emizannyo) ezisinga obungi zibaako layisensi ezizifuga, nga nnanyiniyo oba agikozesa yeetaagibwa okugoberera amateeka agagifuga. Layisensi nnyingi ng’ezo zigamba nti omuntu omu yekka y’ayinza okuteeka programu ku kompyuta n’okugikozesa​—emirundi egisinga ng’agiteeka ku kompyuta emu, k’ebeere ey’eka, ekozesebwa mu bizineesi oba ku ssomero. Layisensi ezimu zigamba nti akozesa programu ayinza okuba ne kopi eyiye naye nga tasaanidde kukoleramu balala kopi. Singa nnanyini programu ayagala okugaba programu ye yonna (nga mw’otwalidde layisensi n’ebiwandiiko ebigikwatako), ayinza okukikola. Kyokka, awo aba takyalina bwannannyini okugikozesa. Layisensi ziba za njawulo, n’olwekyo omuntu agula oba aweebwa programu asaanidde okuzuula layisensi eyo ky’egamba.

Amawanga mangi gagoberera endagaano ezitakkiriza kukolamu kopi okusobola okukuuma programu za kompyuta era gakwasisa amateeka ago agatakkiriza kukolamu kopi. Ng’ekyokulabirako, The New York Times aka Jjanwali 14, 2000, kaagamba nti “abaserikale b’omu Bugirimaani ne Denmark baakwata ekibinja ky’abantu abaali babba programu za kompyuta” nga bazikolamu kopi era ne bazigaba awamu n’emizannyo gya kompyuta era nga n’ezimu bazitunda ku Internet.

Ekibiina Ekikristaayo kirina ndowooza ki ku nsonga eno? Yesu yagamba: “Ebya Kayisaali mu [bi] wenga Kayisaali, n’ebya Katonda mu [bi] wenga Katonda.” (Makko 12:17) Ekyo kyetaagisa Abakristaayo okugondera amateeka g’ensi agatakontana n’amateeka ga Katonda. Ku bikwata ku gavumenti, omutume Pawulo yawandiika: “Buli mmeeme egonderenga ab’obuyinza abafuga . . . Oyo aziyiza ab’obuyinza aba awakanya enteekateeka ya Katonda; abo abagiwakanya bajja kusalirwa omusango.”​—Abaruumi 13:1, 2, NW.

Abakadde mu kibiina Ekikristaayo tebavunaanyizibwa kukebera kompyuta z’abalala, gy’obera nti balina olukusa okukwasisa amateeka agatakkiriza kukolamu kopi. Naye bakkiriza era bayigiriza nti Abakristaayo basaanidde okwewala okutwala ekitali kyabwe era n’okugezaako okugondera amateeka. Ekyo kikuuma Abakristaayo obutabonerezebwa ng’abamenyi b’amateeka, era kibasobozesa okubeera n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda. Pawulo yawandiika: “N’olwekyo waliwo ensonga ebawaliriza okubeera abawulize, si olw’okutya okubonerezebwa kyokka naye era olw’omuntu wammwe ow’omunda.” (Abaruumi 13:5, NW) Mu ngeri y’emu, Pawulo yalaga Abakristaayo ab’amazima kye baagala mu bigambo bino: “Tukakasa nti tulina omuntu ow’omunda omulungi, nga twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—Abaebbulaniya 13:18, NW.

[Akasanduuko akali ku lupapula 31]

Bizineesi ezimu n’amasomero bigula layisensi ezikkiriza programu okukozesebwa abantu bangi era eziwa omuwendo gw’abantu abakkirizibwa okukozesa programu. Mu 1995, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byakubaganya ebirowoozo ku kitundu ekyalimu okubuulirira kuno:

“Kampuni ezisinga obungi eziteekateeka era ne zitunda programu za kompyuta, tezikkiriza zikolebwemu kopi, era zigaba layisensi eraga engeri programu gye ziyinza okukozesebwa mu ngeri ekkirizibwa mu mateeka. Layisensi etera okugamba nti nnanyiniyo tayinza kuwa balala kopi za programu; mu butuufu, amateeka ag’ensi yonna agatakkiriza kukolamu kopi galaga nti kimenya amateeka okukola ekyo. . . . Kampuni ezimu ennene zitunda kompyuta ezimaze okuteekebwamu programu eziriko layisensi. Kyokka, kampuni ezimu ezitunda kompyuta tezigaba layisensi kubanga programu ze bateeka ku kompyuta ziba zikoppoloddwa mu ngeri emenya amateeka, nga kitegeeza nti agigula aba amenya amateeka ng’akozesa programu ezo. Nga kikwatagana na kino, Abakristaayo basaanidde okwewala okukozesa ebintu ebitakkirizibwa kukoppololwa (ng’ebitabo bya Sosayate) era ebikoleddwamu kopi awatali kufuna lukusa kuva eri bannyini byo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza