LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w01 2/1 lup. 16-17
  • Abajulirwa ba Yakuwa Beeyongera mu Maaso nga Banywevu mu Kutegeera!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Abajulirwa ba Yakuwa Beeyongera mu Maaso nga Banywevu mu Kutegeera!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okuwangula Obusamize nga Bakozesa Amazima ga Baibuli mu Haiti
  • Obunyiikivu mu Kifo Ekinene Ennyo eky’Okubuuliramu mu Korea
  • Okutuukana n’Okukulaakulana mu Mexico
  • Obugolokofu mu Butabanguko bw’Omu Sierra Leone
  • Enteekateeka ey’Amaanyi ey’Okuzimba mu South Africa
  • Omulembe Omuppya ogw’Abajulirwa mu Ukraine
  • Ebintu Ebirala Ebibuguumiriza Ebyali mu Programu
  • Biki Ebikolebwa ku Ofiisi Zaffe ez’Amatabi?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Bali Bumu mu Kwagala Alipoota y’Olukunŋŋaana Olwa Buli Mwaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 2/1 lup. 16-17

Abajulirwa ba Yakuwa Beeyongera mu Maaso nga Banywevu mu Kutegeera!

Lipoota y’Olukuŋŋaana Olwa Buli Mwaka

MU NNAKU zino omuli okwekengera n’okubuusabuusa, Abajulirwa ba Yakuwa ba njawulo ng’Abakristaayo abanywevu mu kutegeera. Kino kyannyonnyolebwa bulungi ku lukuŋŋaana olwa buli mwaka olwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, olwali mu Assembly Hall ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu Jersey City, mu New Jersey, ku Lw’Omukaaga, nga Okitobba 7, 2000.a

Mu bigambo bye ebyaggulawo, ssentebe, John E. Barr, ow’oku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, yagamba: “Mu buwumbi n’obuwumbi bw’abantu abali mu nsi, ffe tumanyi era ffe tukkiriza nti Omwana wa Yakuwa omwagalwa, Kristo Yesu, kati atuuziddwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu, ng’afuga wakati mu balabe be.” Obujulizi obulaga obunywevu ng’obwo mu kutegeera bwaweebwa mu lipoota mukaaga ezibuguumiriza eziva mu bitundu ebitali bimu eby’ensi.

Okuwangula Obusamize nga Bakozesa Amazima ga Baibuli mu Haiti

Obusamize bucaase nnyo mu Haiti. “Emirundi egisinga,” bw’atyo John Norman, omutabaganya w’Akakiiko k’Ettabi bwe yagamba, “abantu benyigira mu busamize okufuna obukuumi.” Omusamize omu yafuna okubuusabuusa bwe yakutukako okugulu mu kabenje. ‘Kino kyandintuuseeko kitya singa nnali nkuumibwa emyoyo,’ bw’atyo bwe yeebuuza. Okufaananako abalala bangi, omusajja ono Abajulirwa ba Yakuwa baamuyigiriza amazima era n’ayambibwa okwekutula ku busamize. Nga Apuli 19, 2000 abaaliwo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Kristo mu Haiti baakubisaamu emirundi ena ababuulizi b’Obwakabaka, ne kiraga nti wajja kweyongera okubaayo okukulaakulana.

Obunyiikivu mu Kifo Ekinene Ennyo eky’Okubuuliramu mu Korea

Mu Korea, Abajulirwa ba Yakuwa 40 ku buli kikumi, bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. N’eggye lino ery’amaanyi ery’abalangirizi,” bw’atyo Milton Hamilton, omutabaganya w’Akakiiko k’Ettabi bwe yagamba, “ekitundu kyaffe eky’okubuuliramu omuli abantu abasukka mu bukadde 47 kibuulirwamu omulundi gumu buli mwezi.” Okukulaakulana mu bibiina ebikozesa olulimi olwa bakiggala kwa maanyi nnyo. Mu circuit emu ekozesa olulimi lwa bakiggala, abantu 800 bayigirizibwa Baibuli awaka. Kino kitegeeza nti okutwalira awamu, buli mubuulizi alina omuntu omu gw’ayigiriza. Eky’ennaku, ab’oluganda abato bakyali mu makomera olw’obutabaako ludda lwe beekubiddeko mu by’obufuzi. Kyokka, Abakristaayo bano abeesigwa bayisibwa bulungi, era batera okuweebwa emirimu egyetaagisa obwesigwa.

Okutuukana n’Okukulaakulana mu Mexico

Entikko y’ababuulizi b’Obwakabaka 533,665 benyigira mu buweereza mu Mexico mu Agusito 2000. Abantu abakubisa mu abo emirundi esatu be baaliwo ku Kijjukizo. “Ekiruubirirwa kyaffe omwaka guno kwe kuzimba Kingdom Hall endala 240,” bw’atyo Robert Tracy, omutabaganya w’Akakiiko k’Ettabi bwe yagamba. “Wadde kiri kityo,” yagattako, “twetaaga endala nnyingi.”

Abavubuka mu Bajulirwa ba Yakuwa mu Mexico bassaawo ekyokulabirako ekirungi. Ku bikwata ku muvubuka omu, kabona Omukatuliki yagamba: “Nnandyagadde okubeera n’omuvubuka afaanana ng’oyo mu bagoberezi bange. Nneesimisa nnyo abantu bano olw’obumalirivu bwabwe n’okukozesa Baibuli mu ngeri ey’amagezi. Banyweredde ku Katonda, wadde nga kitadde obulamu bwabwe mu kabi.”

Obugolokofu mu Butabanguko bw’Omu Sierra Leone

Okuva mu Apuli 1991, olutalo olw’omunda bwe lwabalukawo mu Sierra Leone, enkumi n’enkumi z’abantu battiddwa, batuusiddwako ebisago, oba balemaziddwa. “Entalo n’ebizibu birina kinene nnyo kye bikoze ku bantu,” bw’atyo Bill Cowan, omutabaganya w’Akakiiko k’Ettabi bwe yagamba. “Bangi abaali batafaayo ku bubaka bwaffe kati baagala okuwuliriza. Kya bulijjo abantu okujja mu Kingdom Hall zaffe nga tewali abayise ne babaawo omulundi ogusooka mu lukuŋŋaana. Abantu batera okuyimiriza ab’oluganda ku nguudo ne babasaba okubayigiriza Baibuli.” Wadde ng’ensi eyo ekyalimu obutabanguko, omulimu gw’okubuulira Obwakabaka guvaamu ebibala mu Sierra Leone.

Enteekateeka ey’Amaanyi ey’Okuzimba mu South Africa

Kampegaano, waliwo obwetaavu bw’enkumi n’enkumi za Kingdom Hall mu kitundu ekitwalibwa ofiisi y’ettabi mu South Africa. Ebikumi n’ebikumi bya Kingdom Hall zizimbiddwa. “Mu kifo ky’okukuŋŋaanira mu kasiisira oba wansi w’omuti, nga bwe kyali emabega, baganda baffe basobola okukuŋŋaanira mu bifo ebirungi omuli aw’okutuula awasaanira,” bw’atyo John Kikot ow’oku Kakiiko k’Ettabi bwe yagamba. “Wadde nga Kingdom Hall zino zizimbibwa mu ngeri nnyangu, emirundi mingi ze zisingayo okulabika obulungi mu kitundu. Mu bitundu ebimu, kizuuliddwa nti oluvannyuma lw’okuzimba Kingdom Hall, abantu mu kibiina beeyongera ne bakubisaamu emirundi ebiri omwaka oguddirira.”

Omulembe Omuppya ogw’Abajulirwa mu Ukraine

Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2000, ensi eno yalimu entikko y’ababuulizi 112,720. Abasukka mu 50,000 ku bano, bayize amazima g’omu Baibuli mu myaka etaano egiyise. “Mazima ddala, Yakuwa ayimusizzaawo omulembe omuppya ogw’Abajulirwa ab’okulangirira erinnya lye!” bw’atyo John Didur, omutabaganya w’Akakiiko k’Ettabi bwe yagamba. “Mu myaka ebiri egiyise,” yagattako, “tugabye magazini ezisukka mu bukadde 50, ez’enkanankana n’abantu abali mu nsi eno. Buli mwezi, okutwalira awamu, tufuna amabaluwa lukumi okuva eri abantu abaagala okumanya ebisingawo.”

Ebintu Ebirala Ebibuguumiriza Ebyali mu Programu

Daniel Sydlik, ow’oku Kakiiko Akafuzi, yawa emboozi ebuguumiriza. Ekitundu “Engeri Akakiiko Akafuzi Gye Kaawukanamu ku Kibiina Eky’Omu Mateeka,” ekiri mu magazini eno, kyesigamiziddwa ku byali mu mboozi eyo.

Theodore Jaracz ow’oku Kakiiko Akafuzi yawa emboozi ebuguumiriza eyalina omutwe “Abalabirizi n’Abaweereza Balondebwa mu Nkola ya Teyokulase.” Ekimu ku bitundu ebiri mu magazini eno kyesigamye ku mutwe guno.

Olukuŋŋaana olwa buli mwaka era lwalimu emboozi ebuguumiriza ekwata ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2001 eyaweebwa David Splane, ow’oku Kakiiko Akafuzi. Okusinziira ku bigambo by’omutume Pawulo kiri: “Muyimirire mu bujjuvu nga muli banywevu mu kutegeera Katonda by’ayagala.” (Abakkolosaayi 4:12, NW) Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bamalirivu okukola ekyo nga babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna.​—Matayo 24:14.

[Obugambo obuli wansi]

a Programu yaweerezebwa ku ssimu mu bifo ebitali bimu, ne kisobozesa abantu 13,082 okugiwuliriza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza