Baibuli Ekitabo eky’Okugoberera mu Bulamu
“EKIGAMBO kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri . . . era [kisobola] okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Abaebbulaniya 4:12) Enyinnyonnyola eno ey’ekyo Ekigambo kya Katonda kye kiyinza okukola eraga nti Baibuli si kitabo butabo ekirungi.
“Obubaka obukirimu bukulu nnyo eri obulamu bwaffe ng’okussa,” bw’atyo munnaddiini omu bwe yakiteeka. Awo n’alyoka agattako: “Bw’olowooza ku ngeri gye twetaagamu okuwonyezebwa leero era n’osoma Baibuli ng’olina endowooza eyo, kivaamu ebirungi eby’ekitalo.” Okufaananako ettabaaza eyaka ennyo, Baibuli etangaaza ku bizibu bingi ebiriwo mu bulamu leero.—Zabbuli 119:105.
Mazima ddala, amagezi agali mu Baibuli galina amaanyi okukyusa endowooza yaffe, okutuyamba okugonjoola ebizibu byaffe, okulongoosa omutindo gw’obulamu bwaffe, era n’okutusobozesa okwaŋŋanga embeera ze tutayinza kukyusa. Ekisingawo n’obukulu, Baibuli etusobozesa okumanya n’okwagala Katonda.
Ekitabo Ekiwa Ekigendererwa
Eyawandiisa Baibuli, Yakuwa Katonda, ‘amanyi amakubo gaffe gonna.’ Amanyi ebikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri, enneewulira ez’omunda n’eby’omwoyo okutusinga. (Zabbuli 139:1-3) Atuwa obulagirizi ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu. (Mikka 6:8) Kya magezi okufuba okutegeera obulagirizi obwo era n’okuyiga okubugoberera. Alina essanyu omuntu ‘asanyukira amateeka ga Yakuwa,’ bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba. “Buli kyakola akiweerwako omukisa.” (Zabbuli 1:1-3) Mazima ddala twetaaga okwekenneenya ekisuubizibwa ekyo.
Maurice, eyawummula emirimu gy’obusomesa, bulijjo yakkirizanga nti Baibuli yali yamuganyulo ku bikwata ku byafaayo n’okuyiga. Kyokka, yali abuusabuusa nti yaluŋŋamizibwa Katonda. Oluvannyuma lw’okuwuliriza ensonga lwaki Katonda yawa abantu Ekigambo kye ekiri mu buwandiike, Maurice yeekenneenya obunnabbi bwa Baibuli obutali bumu. Ng’akyali muvubuka, yali asomye ebyafaayo eby’edda, literature, sayansi, n’ebikwata ku nsi n’obulamu obugiriko. Akkiriza nti yeenyumiriza nnyo mu magezi ge n’alemererwa okulaba ebyokulabirako ebingi ebiraga obutuufu bwa Baibuli. “Nnali n’enyigidde mu kuluubirira eby’obugagga n’eby’amasanyu mu bulamu. Eky’ennaku, n’asigala nga simanyi ebisanyusa n’amazima ebiri mu kitabo ekisingirayo ddala obulungi ekyali kiwandiikiddwa.”
Kati ng’atemera mu myaka 70, Maurice, ayogera bw’ati n’essanyu ku bikwata ku Yesu okulabikira omutume Tomasi: “Omukono gwange gukutte mu ‘kiwundu ekitiiriika omusaayi’ n’ekimalirawo ddala okubuusabuusa kwonna mu birowoozo byange nti Baibuli ge mazima.” (Yokaana 20:24-29) Ng’omutume Pawulo bwe yayogera, Baibuli eyanika ebiruubirirwa ebiri mu mutima, era n’ewa obulamu amakulu. Mazima ddala kitabo eky’okugoberera mu bulamu.
Etunyweza mu Bulamu Omuli Ebizibu
Baibuli era ewa obulagirizi obuyamba abantu okuvvuunuka emize emibi. Danyeri yasobola okuvvuunuka omuze ogw’okunywa sigala, awamu n’okulekayo okwenyigira mu binyumu n’okutamiira. (Abaruumi 13:13; 2 Abakkolinso 7:1; Abaggalatiya 5:19-21) Okusobola okuvvuunuka emize ng’egyo “[n’]okwambala omuntu omuggya” kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. (Abaefeso 4:22-24) “Kwali kusoomooza kwa maanyi,” bw’atyo Danyeri bw’agamba “kubanga tetutuukiridde.” Wadde kyali kityo, yatuuka ku buwanguzi. Kati Danyeri asoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, era kimusobozesa okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.
Bwe yali akula, Danyeri yali assaamu nnyo Baibuli ekitiibwa—wadde yali tagisomangako—era yasabanga Katonda buli kiro. Kyokka, waaliwo ekyali kimubulako. Teyalina ssanyu. Wajjawo enkyukakyuka ey’amaanyi bwe yalaba erinnya lya Katonda mu Baibuli omulundi ogusooka. (Okuva 6:3; Zabbuli 83:18) Oluvannyuma lw’ekyo, yakozesanga erinnya Yakuwa bwe yasabanga, era okusaba kwe kweyongera okwoleka enkolagana ey’oku lusegere. “Yakuwa yafuuka omuntu asingayo okubeera ow’oku lusegere gy’endi, era akyali mukwano gwange asingayo okubeera ow’oku lusegere.”
Nga tannaba kuyiga bikwata ku Baibuli, Danyeri teyalina ssuubi ku bikwata ku biseera eby’omu maaso. “Tekyetaagisa kubeera mugezi nnyo okumanya ekigenda mu maaso mu nsi,” bw’atyo bw’agamba. “Nnalina okutya, era ne ngezaako okubaako ne bye nkola bingi okutya kunve mu birowoozo.” Awo nnayiga nti Katonda ajja kusobozesa bonna okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya ku nsi erongooseddwa, abantu abawulize gye balifunira emirembe n’essanyu eby’olubeerera. (Zabbuli 37:10, 11; Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 21:3, 4) Kati Danyeri alina essuubi ekakafu. Okunywezebwa kwe yafuna okuva mu Baibuli kumusobozesa okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku bulamu.
Eyamba mu Kuvvuunuka Ebizibu mu Nneewulira ez’Omunda
George yalina emyaka musanvu maama we we yafiira. Yatyanga nnyo okwebaka ekiro, nga tamanyi obanga anaazuukuka enkeera. Oluvannyuma yasoma Yesu kye yayogera ku kufa n’okuzuukira: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lya Yesu] ne bavaamu.” Era yakwatibwako nnyo ebigambo bya Yesu: “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde aliba mulamu.” (Yokaana 5:28, 29; 11:25) Ebirowoozo ng’ebyo byali bya magezi era nga bibudaabuda. “Amazima gano,” bw’atyo George bw’agamba, “tegasikiriza ndowooza ya muntu kyokka naye era gatuuka ku mutima.”
Danyeri, eyayogeddwako emabega naye yalina okutya. Maama we yali tayinza kumukuza ku lulwe, n’olwekyo, yasindikibwa okubeera mu bifo erabirirwa abo abatalina buyambi. Buli kiseera yawulira nga tayala mu bantu era yeegomba nnyo obukuumi obubeera mu maka omuli okwagala. Mu nkomerero, yazuula kye yali anoonya okuyitira mu kuyiga Baibuli. Danyeri yatandika okukolagana n’ekibiina Ekikristaayo eky’Abajulirwa ba Yakuwa era n’afuuka ekitundu ky’amaka ag’eby’omwoyo, gye yasiimibwa ennyo era n’alagibwa okwagala. Mazima ddala, Baibuli ya muganyulo era ekola ku byetaago eby’enneewulira ez’omunda.
Jjukira nti, Yakuwa alaba ekiri mu mutima gwaffe era amanyi kye tunoonya. Katonda “apima emitima,” era awa buli omu “ng’amakubo ge bwe gali.”—Engero 21:2; Yeremiya 17:10.
Okubuulirira okw’Omuganyulo Okukwata ku Bulamu bw’Amaka
Baibuli ewa okubuulirira okuganyula okukwata ku nkolagana z’abantu. George agamba: “Obukuubagano oba obutategeeragana ze zimu ku mbeera ezisingayo obuzibu mu bulamu.” Azikolako atya? “Singa manya nti nnina obutategeeragana n’omuntu, ngoberera okubuulirira okuli mu Matayo 5:23, 24: ‘Tabagana ne muganda wo.’ Eky’okuba nti nsobola okwogera ku butategeeragana obwo kivaamu ebibala. Mpulira emirembe gya Katonda Baibuli gy’eyogerako. Okubuulirira okwo kukola. Kwa muganyulo nnyo.”—Abafiripi 4:6, 7.
Omwami n’omukyala bwe batakkiriziganya, beetaaga ‘okubeeranga abangu okuwulira, balwengawo okwogera, balwengawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Amagezi ng’ago galongoosa empuliziganya. George agattako: “Bwe ngoberera okubuulirira okw’okwagala n’okuyisa mukyala wange nga bwe nandyagadde bampise, ndaba ebirungi ebivaamu. Kimwanguyira okunteekamu ekitiibwa.” (Abaefeso 5:28-33) Yee, Baibuli etuyigiriza engeri y’okumanyamu n’okukola ku butali butuukirivu bwaffe era n’engeri y’okwaŋŋangamu obw’abalala.
Okubuulirira Okuganyula Ekiseera Kyonna
Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Ng’ebigambo ebyo byangu nnyo okutegeera ate nga bya makulu nnyo!
Baibuli etusobozesa okukola enkyukakyuka ennungi. Esobozesa abaagala Katonda okutuukanya obulamu bwabwe n’ekyo ky’ayagala era n’okufuna essanyu mu ‘kutambulira mu mateeka ga Yakuwa.’ (Zabbuli 119:1) Ka tubeere mu mbeera ki, Baibuli erimu obulagirizi n’okubuulirira bye twetaaga. (Isaaya 48:17, 18) Gisome buli lunaku, fumiitiriza ku by’osoma, era biteeke mu nkola. Kijja kukuuma ebirowoozo byo nga birungi era nga biri ku bintu ebirongoofu era ebizimba. (Abafiripi 4:8, 9) Ojja kuyiga si kubeerawo n’okunyumirwa obulamu kyokka naye era n’okwagala Omutonzi w’obulamu.
Ng’ogoberera ekkubo ng’eryo, Baibuli ejja kubeera gy’oli—nga bw’eri eri enkumi n’enkumi z’abalala—si kitabo butabo ekirungi. Mazima ddala ejja kubeera ekitabo eky’okugoberera mu bulamu!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Baibuli eyinza okunyweza obumalirivu bwo obw’okuvvuunuka emize egy’akabi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Baibuli ekuyigiriza engeri y’okusembereramu Katonda