LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w00 9/1 lup. 3-5
  • Omanyi Okulinda?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Omanyi Okulinda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Obulamu Bwaffe Okukendeera
  • Okuyiga Okulinda
  • Obugumiikiriza Bujja Kusasulwa
  • Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Laga Endowooza ey’Okulinda!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Sigala ng’Oli Musanyufu ng’Olindirira Yakuwa n’Obugumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Oli Mwetegefu Okulindirira Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 9/1 lup. 3-5

Omanyi Okulinda?

OYINZA okuteebereza ebiseera abantu bye bamala buli mwaka nga balinda? Balinda mu nnyiriri mu dduuka oba ku kyuma ky’amafuta. Balinda okubaweereza mu wooteeri. Balinda okulaba omusawo. Balindirira bbaasi n’eggaali z’omukka. Yee, ekiseera kinene eky’obulamu bw’omuntu akimala ng’alindirira ebintu okubaawo. Okusinziira ku mbalirira emu, Abagirimaani bafiirwa essaawa obuwumbi 4.7 buli mwaka nga balinda mu kwesiba kw’ebidduuka! Omuntu omu yabalirira nti kino ky’enkanankana ekiseera abantu 7,000 kye basuubirwa okuwangaala.

Okulinda kuyinza okumalamu amaanyi. Ennaku zino, kirabika tewali biseera bimala okukola ebintu byonna, era okulowooza ku bintu ebyo ebirala bye twandibadde tukola kiyinza okufuula okulinda ekintu ekigezesa. Omuwandiisi omu ayitibwa Alexander Rose lumu yagamba: “Kimu kya kubiri eky’ennaku ebaawo mu bulamu eva mu kulinda.”

Benjamin Franklin, omukungu okuva mu Amereka yakitegeera nti okulinda kuyinza okuba okw’ebeeyi. Emyaka egisukka mu 250 emabega, yagamba: “Ebiseera ze ssente.” Eyo y’ensonga lwaki bizineesi zinoonya engeri y’okwewala okwonoona ebiseera nga bakola. Ebintu bingi bwe bikolebwa mu kiseera ekitono kitegeeza amagoba agasingawo. Bizineesi eziweereza abantu obutereevu zigezaako okukikola mu bwangu​—emmere efumbibwa mu bwangu n’ebirala​—kubanga bamanyi nti okusanyusa kasitoma kitwaliramu okukendeeza ku biseera bye bamala nga balinda.

Obulamu Bwaffe Okukendeera

Ralph Waldo Emerson, omuwandiisi w’ebitontome ow’omu kyasa 19 okuva mu Amereka lumu yagamba: “Ng’obulamu bw’omuntu bungi bwonoonebwa mu kulinda!” Gye buvuddeko awo, omuwandiisi Lance Morrow, yayogera ku kukoowa n’okutawanyizibwa olw’okulinda. Naye era yayogera ku “nnaku ey’amaanyi ey’okulinda.” Yeruwa? “Okumanya nti ekintu ky’omuwendo ennyo, ebiseera, akatundu akatono ak’obulamu bw’omuntu, bibbibwa, obutaddayo kulabika.” Kya nnaku, naye kituufu. Ebiseera by’ofiirwa olw’okulindirira obifiirwa emirembe gyonna.

Kya lwatu, singa obulamu tebwali bumpi nnyo, okulinda kwandibadde tekweraliikiriza. Naye obulamu bumpi. Enkumi n’enkumi z’emyaka egiyise, omuwandiisi wa Zabbuli z’omu Baibuli yagamba: “Ennaku z’emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; naye amalala gaabwe kwe kutegana n’okunakuwala kwereere; kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.” (Zabbuli 90:10) Wonna wonna we tubeera era ka tubeere ani, obulamu bwaffe​—ennaku, essaawa, eddakiika ebitulindiridde nga tuzaaliddwa​—biriko ekkomo. Kyokka, tetuyinza kwewala mbeera mwe tukakibwa okwonoona ebimu ku biseera ebyo eby’omuwendo nga tulindirira ebintu okubaawo oba abantu.

Okuyiga Okulinda

Bangi ku ffe tubaddeko mu mmotoka ng’omugoba waayo agezaako okuyisa emmotoka emuli mu maaso. Emirundi mingi tewabaawo bwetaavu​—omugoba w’emmotoka eyo taba na kulagaana kwonna okukulu okw’amangu. Wadde kiba kityo, tayinza kukkiriza mugoba wa mmotoka mulala kukugira sipiidi ye. Obutaba mugumiikiriza kyoleka nti tannayiga kulinda. Okuyiga? Yee, okuyiga okulinda kye kintu ekiteekwa okuyigibwa. Tewali n’omu azaalibwa ng’amanyi okulinda. Abaana baba baagala okufiibwako amangu ng’enjala ebaluma oba nga tebawulira bulungi. Bwe beeyongera okukula bategeera nti emirundi egimu balina okulindirira kye baagala. Mazima ddala, okuva okulinda bwe kuli ekintu ekiteewalika mu bulamu, bw’omanya okulinda n’obugumiikiriza nga kyetaagisa, kiraga nti oli muntu akuze mu by’omwoyo.

Kya lwatu, waliwo embeera ezimu ng’oyinza okutegeera lwaki omuntu si mugumiikiriza. Omwami omuto atwala mukyala we mu bwangu mu ddwaliro kubanga atuuse okuzaala ayinza obutaba mugumiikiriza bwe wabaawo ekintu kyonna ekimulwisa. Bamalayika abakubiriza Lutti okuva mu Sodomu tebaali beetegefu kulinda nga Lutti alonzalonza. Okuzikirizibwa kwali kunaatera okutuuka, era obulamu bwa Lutti n’ab’omu maka ge bwali mu kabi. (Olubereberye 19:15, 16) Kyokka, mu mbeera ezisinga obungi, obulamu tebuba mu kabi abantu bwe bawalirizibwa okulinda. Mu mbeera ezo, ebintu byandibadde birungi okusingawo singa buli omu ayiga okulinda​—ne bwe kiba nti okulinda kwava ku muntu omulala obutakola bulungi oba okuba nga tafaayo. Ate era, kyandibadde kyanguko okugumiikiriza singa buli omu ayiga okukozesa mu ngeri ey’omuganyulo ebiseera by’amala ng’alinda. Akasanduuko akali ku lupapula 5 kalimu ebirowoozo ku ngeri gy’oyinza okufuulamu okulinda okugumiikirizika era okw’omuganyulo.

Tekiyinza kubuusibwa maaso nti obutabeera mugumiikiriza kyoleka amalala, endowooza nti oli mukulu nnyo okukuumibwa ng’olinda. Eri yenna alina endowooza ng’eyo, ebigambo ebiddirira okuva mu Baibuli biggwanidde okwekenneenyezebwa: “Alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw’amalala.” (Omubuulizi 7:8) Okwekulumbaza, oba amalala ngeri mbi nnyo era olugero lwa Baibuli lugamba: “Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama.” (Engero 16:5) N’olwekyo, okuyiga okugumiikiriza​—okuyiga okulinda​—kiyinza okutwetaagisa okwekebera n’okwekkaanya enkolagana gye tulina n’abantu abatwetoolodde.

Obugumiikiriza Bujja Kusasulwa

Bulijjo tusanga okulinda nga kwanguko singa tuba bamativu nti kye tulindirira kigwanira era nti mu nkomerero kijja kujja. Ku nsonga eno, kirungi okufumiitiriza ku nsonga nti abasinza ba Katonda bonna abeesimbu balindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bye eby’ekitalo ebiri mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, tugambibwa bwe tuti mu Zabbuli eyaluŋŋamizibwa Katonda: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” Omutume Yokaana yayogera ku kisuubizo kino bwe yagamba: “Akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (Zabbuli 37:29; 1 Yokaana 2:17) Kya lwatu, singa tusobola okubeerawo emirembe gyonna, okulinda tekwandibadde kizibu kya maanyi. Naye kati tetusobola kubeerawo mirembe gyonna. Kya magezi okwogera ku bulamu obutaggwaawo?

Nga tonnaddamu, kiteeberezeemu nti Katonda yatonda bazadde baffe abaasooka nga balina essuubi ery’okubaawo emirembe gyonna. Bwe baayonoona ne balyoka bafiirwa essuubi eryo, bo bennyini n’abaana baabwe​—nga naffe mwe tuli. Kyokka, oluvannyuma lw’ekibi kyabwe, Katonda yalangirira ekigendererwa kye eky’okuggyawo ebyava mu bujeemu bwabwe. Yasuubiza okujja kwa “ezzadde,” eyali Yesu Kristo.​—Olubereberye 3:15; Abaruumi 5:18.

Obanga ffe abantu kinnoomu tunaaganyulwa mu kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bye, kiri eri ffe okusalawo. Kijja kwetaagisa obugumiikiriza okukola ekyo. Okusobola okuyiga okugumiikiriza mu ngeri eno, Baibuli etukubiriza okufumiitiriza ku kyokulabirako ky’omulimi. Asiga ensigo ze era n’alinda n’obugumiikiriza​—nga akola kyonna ky’asobola okukuuma ebirime bye​—okutuusa ekiseera ky’amakungula. Olwo nno, obugumiikiriza ne busasulwa, era n’alaba ebibala by’okufuba kwe. (Yakobo 5:7) Omutume Pawulo ayogera ku kyokulabirako ekirala eky’obugumiikiriza. Atujjukiza abasajja n’abakazi ab’edda ab’esigwa. Baali beesunga okutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda, naye baalina okulindirira ekiseera kya Katonda ekigereke. Pawulo atukubiriza okukoppa bano, “olw’okukkiriza n’okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.”​—Abaebbulaniya 6:11, 12.

Yee, okulinda kintu ekiteewalika mu bulamu. Naye tekiteekwa kubeera nsibuko ya nnaku buli kiseera. Eri abo abalinda okutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda, kiyinza okuba ensibuko y’essanyu. Bayinza okukozesa ebiseera bye bamala nga balinda okukulaakulanya enkolagana ennungi ne Katonda era n’okwenyigira mu bikolwa ebyoleka okukkiriza kwabwe. Era okuyitira mu kusaba, okuyiga, n’okufumiitiriza, bayinza okuba n’obwesige nti buli kintu Katonda ky’asuubiza kijja kutuukirira mu kiseera kye ekigereke.

[Akasanduuko/​Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

KEENDEEZA KU BULUMI BW’OKULINDA!

Teekateeka nga bukyali! Bw’omanya nti ojja kulinda, weeteeketeeke okusoma, okuwandiika, okutunga, okuluka, oba okukola ekintu kyonna ekirala eky’omuganyulo.

Kozesa ebiseera okufumiitiriza, ekintu ekizibu ennyo mu nsi yaffe erimu eby’okukola ebingi.

Beera n’eby’okusoma okumpi n’essiimu by’oyinza okukozesa singa oba olina okulinda; mu ddakiika ttaano oba kkumi, oyinza okusoma empapula eziwerako.

Bw’olinda ng’oli mu kibiina ky’abantu, kozesa omukisa, bwe kiba kisaanira, okutandika emboozi n’abalala era n’okukubaganya nabo ebirowoozo mu ngeri ezimba.

Beera n’akatabo ak’okuwandiikamu oba eky’okusoma kyonna mu mmotoka yo, by’oyinza okukozesa mu biseera eby’okulinda.

Zibiriza, kkakkana, oba saba.

OKULINDA OKW’OMUGANYULO OKUSINGIRA DDALA KYESIGAMYE KU NDOWOOZA YO N’OKUTEEKATEEKA NGA BUKYALI.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza