Apuli
Lwakusatu, Apuli 1
Kitange ayagala buli muntu ategeera Omwana n’amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo.—Yok. 6:40.
Okusobola okuganyulwa mu mubiri n’omusaayi gwa Yesu, tulina okukkiririza mu kinunulo. (Bef. 1:7) Ab’endiga endala tebalina kulya ku mugaati n’envinnyo ebiba ku mukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe ogukwatibwa buli mwaka. (Yok. 10:16) Naye balya ku mmere ey’obulamu mu ngeri ey’akabonero. Ekyo bakikola nga bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu Kristo ne mu bintu eby’ekitalo by’esobozesa okubaawo. (Yok. 6:53) Ate abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo bakyoleka nti bali mu ndagaano empya era nti balina essuubi ery’okufuga mu Bwakabaka obw’omu ggulu. N’olwekyo, ka tube nga twafukibwako amafuta oba nga tuli ba ndiga ndala, tulina okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. w24.12 13 ¶14, 16
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 12) Matayo 26:1-5, 14-16; Lukka 22:1-6
OLUNAKU LW’EKIJJUKIZO
Oluvannyuma lw’enjuba okugwa
Lwakuna, Apuli 2
Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.—Luk. 12:32.
Ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe, Yesu yawa abatume be omugaati ogutaali muzimbulukuse era n’agamba nti gwali gukiikirira omubiri gwe. Oluvannyuma yabawa envinnyo era n’abagamba nti yali ekiikirira ‘omusaayi ogw’endagaano.’ (Mak. 14:22-25; Luk. 22:20; 1 Kol. 11:24) Endagaano empya ekolebwa na ‘b’annyumba ya Isirayiri ow’omwoyo’ abajja okufuga mu “Bwakabaka bwa Katonda.” (Beb. 8:6, 10; 9:15) Ebyo Yesu bye yayogera ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe byali bikwata ku ‘b’ekisibo ekitono.’ Abatume be abeesigwa abaali naye ku mukolo ogwo be baasooka okuba mu kisibo ekitono. Bano be bajja okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. w24.12 11 ¶9-10
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 13) Matayo 26:17-19; Makko 14:12-16; Lukka 22:7-13 (Ebyaliwo oluvannyuma lw’enjuba okugwa: Nisaani 14) Yokaana 13:1-5; 14:1-3
Lwakutaano, Apuli 3
Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.—Yok. 3:16.
Yesu yaliibwamu olukwe, yakwatibwa, yavumibwa, yawaayirizibwa, yasalirwa ogw’okufa, era yatulugunyizibwa. Abasirikale baamutwala we yali agenda okuttirwa ne bamukomerera ku muti. Bwe yali ayita mu bulumi obwo obw’amaanyi, waliwo omulala eyali awulira obulumi obw’amaanyi n’okusingawo, ng’ono ye Yakuwa Katonda. Yakuwa yalina obuyinza n’obusobozi okuyamba Omwana we obutayita mu bulumi obwo, naye teyakikola. Yakuwa ayagala nnyo Omwana we, naye lwaki yamuleka okuyita mu bulumi obw’amaanyi bwe butyo? Kubanga ayagala nnyo abantu. Ssaddaaka ya Yesu bwe bukakafu obusingayo okulaga nti Yakuwa akwagala nnyo Yeefiiriza nnyo era yayita mu bulumi obusingayo okuba obw’amaanyi okusobola okukununula mu kibi n’okufa. (1 Yok. 4:9, 10) Mazima ddala, ayagala okuyamba buli omu ku ffe okulwanyisa ekibi n’okukiwangula! w24.08 6 ¶13-14
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 14) Yokaana 19:1-42
Lwamukaaga, Apuli 4
Kristo yabonaabona ku lwammwe.—1 Peet. 2:21.
Tusobola okweyongera okutegeera okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli, singa tufumiitiriza ku ekyo kye yeefiiriza okusobola okuwaayo ekinunulo. Sitaani yagamba nti tewali muweereza wa Yakuwa asobola kusigala nga mwesigwa singa aba ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo. Okusobola okulaga nti ekyo Sitaani kye yayogera kya bulimba, Yakuwa yaleka Omwana we okubonaabona nga tannattibwa. (Yob. 2:1-5) Yakuwa yali alaba ng’abakulembeze b’eddiini bavuma Yesu, ng’abasirikale bamukuba kibooko, era ng’akomererwa ku muti. Ate era yalaba ng’Omwana we gw’ayagala ennyo afiira mu bulumi obw’amaanyi. (Mat. 27:28-31, 39) Yakuwa yalina obusobozi okulemesa ebyo byonna okutuuka ku Mwana we. (Mat. 27:42, 43) Naye singa ekyo Yakuwa yakikola, tewandibaddewo kinunulo kiweebwayo era tetwandibadde na ssuubi lyonna. N’olwekyo Yakuwa yaleka omwana we okubonaabona ennyo okutuusa lwe yassa ogw’enkomerero. w25.01 22 ¶7
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 15) Matayo 27:62-66 (Ebyaliwo oluvannyuma lw’enjuba okugwa: Nisaani 16) Yokaana 20:1
Ssande, Apuli 5
Baamulaba okumala ennaku 40.—Bik. 1:3.
Olunaku lwa Nisaani 16, omwaka gwa 33 E.E.; abayigirizwa ba Yesu balina obulumi bungi era bali mu kutya kwa maanyi. Babiri ku bo bava mu Yerusaalemi ne batambula okugenda mu Emawo. Bwe baba batambula, wabaawo omuntu ajja n’abeegattako. Abayigirizwa abo bamunyumiza ebintu ebibi ennyo ebyatuuse ku Yesu. Omusajja oyo atandika okubabuulira ebintu bye batagenda kwerabira. “Ng’atandikira ku ebyo ebyawandiikibwa Musa ne bannabbi bonna,” abannyonnyola ensonga lwaki Masiya yalina okubonaabona era n’okufa. Bwe batuuka mu Emawo, bakitegeera nti omusajja oyo ye Yesu eyazuukidde! (Luk. 24:13-35) Yesu yalabikira abayigirizwa be emirundi egiwerako mu nnaku 40 ze yasembayo okubeera ku nsi. Mu kiseera ekyo, yazzaamu amaanyi abayigirizwa be abaali mu nnaku era abaali batidde. Baafuna essanyu lingi era baafuna obuvumu okubuulira n’okuyigiriza abantu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. w24.10 12 ¶1-3
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 16) Yokaana 20:2-18
Bbalaza, Apuli 6
Mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo.—Yud. 20.
Omwana agenda akula mpolampola era tassaamu kufuba kwonna. Naye okukula mu by’omwoyo kyetaagisa okufuba. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina ky’e Kkolinso bakkiriza amawulire amalungi, baabatizibwa, baafuna omwoyo omutukuvu, era baaganyulwa mu bulagirizi omutume Pawulo bwe yabawanga. (Bik. 18:8-11) Kyokka wadde nga waali wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lw’okubatizibwa, bangi ku bo baali tebannakula mu by’omwoyo. (1 Kol. 3:2) Okusobola okuba Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, tulina okuba nga twagala okukula mu by’omwoyo. Abo abaagala okusigala mu ‘butamanya,’ kwe kugamba, abataagala kukula mu by’omwoyo, tebasobola kufuuka Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo. (Nge. 1:22) Tetwagala kubeera ng’abantu abakulu abeewala obuvunaanyizibwa era buli kiseera abaagala bazadde baabwe babe nga be babasalirawo. Mu kifo kyekyo, twagala okukola kyonna kye tusobola okukula mu by’omwoyo. Bw’oba ng’okyakula mu by’omwoyo, saba Yakuwa ‘akwagazise’ okukula era akuyambe ng’ofuba okukula.—Baf. 2:13. w24.04 4 ¶9-10
Lwakubiri, Apuli 7
Yakuwa . . . tayagala muntu yenna kuzikirizibwa.—2 Peet. 3:9.
Yakuwa atubuulira endowooza gy’alina ku kusalira abantu omusango. (Ezk. 33:11) Yakuwa tasobola kuzikiriza muntu awatali ssuubi lya kuzuukira, okuggyako nga ddala omuntu oyo kimugwanidde. Musaasizi nnyo, era ayoleka obusaasizi buli lwe kiba kyetaagisa. Kiki kye tumanyi ku bantu abatajja kuzuukizibwa? Bantu batono abagwa mu kiti ekyo Bayibuli b’eyogerako. Yesu yakiraga nti Yuda Isukalyoti tajja kuzuukira. (Mak. 14:21; laba ne Yokaana 17:12.) Yuda yali akimanyi bulungi nti ekyo kye yali akola kyali kikyamu mu maaso ga Yakuwa ne mu maaso g’Omwana we, naye n’akikola. (Laba Makko 3:29.) Mu ngeri y’emu, Yesu yagamba nti abamu ku bakulembeze b’eddiini abaali bamuziyiza bandifudde awatali ssuubi lya kuzuukira. (Mat. 23:33) Ate omutume Pawulo yagamba nti bakyewaggula abateenenya tebandizuukiziddwa.—Beb. 6:4-8; 10:29. w24.05 4 ¶10-11
Lwakusatu, Apuli 8
Yakuwa akuuma abeesigwa.—Zab. 31:23.
Bwe tusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, Sitaani tasobola kutukolako kabi ka lubeerera. (1 Yok. 3:8) Mu nsi empya, Yakuwa ajja kweyongera okukuuma mikwano gye abeesigwa babe nga tebasobola kutuukibwako kabi mu by’omwoyo era babe nga tebasobola kufa. (Kub. 21:4) Mazima ddala nkizo ya kitalo nnyo okubeera abagenyi mu weema ya Yakuwa. Tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye, era enkolagana eyo esobola okuba ey’olubeerera. (Ezk. 37:27) Bwe tuba nga twagala okweyongera okubeera abagenyi ba Yakuwa tusaanidde kweyisa tutya? Omuntu bw’akuyita okugenda okumukyalira ewuwe, kya lwatu nti wandyagadde okumanya ebyo by’akusuubiramu. Mu ngeri y’emu, twagala okumanya ebyo Yakuwa by’asuubira mu abo abaagala okweyongera okubeera abagenyi be. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okukola kyonna kye tusobola “okumusanyusiza ddala.” (Bak. 1:10) Bulijjo tusaanidde okujjukiranga ekyo ky’ali, era ne tumuwa ekitiibwa ky’agwanidde okuweebwa. Bwe tumuwa ekitiibwa ekimugwanira kituyamba okwewala okukola ebintu ebimunyiiza. Bulijjo twagala ‘okuba abeetoowaze nga tutambula ne Katonda waffe!’—Mi. 6:8. w24.06 4 ¶8-9
Lwakuna, Apuli 9
Yawolereza aboonoonyi.—Is. 53:12.
Yakuwa yagamba Ibulayimu okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. Ekyo kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Ibulayimu. Wadde kiri kityo, yakkiriza okukola ekyo Yakuwa kye yamugamba. Bwe yali anaatera okutta mutabani we, Yakuwa yamugaana okukikola. Ekyo kituyamba okutegeera ekyo Yakuwa kye yali agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. Yali agenda kuwaayo Omwana we gw’ayagala ennyo nga ssaddaaka. Mazima ddala Yakuwa ayagala nnyo abantu. (Lub. 22:1-18) Yakuwa bwe yawa Abayisirayiri Amateeka, yabagamba okuwangayo ssaddaaka okusobola okutangirira ebibi byabwe. (Leev. 4:27-29; 17:11) Ssaddaaka ezo zaali zisonga ku ssaddaaka esingawo, eyandibadde eggirawo ddala ekibi. Katonda yaluŋŋamya bannabbi okuwandiika ku zzadde eryasuubizibwa. Ezzadde eryo yandibadde Mwana wa Katonda ow’enjawulo eyandibadde abonyaabonyezebwa, era nattibwa okusobola okulokola abantu okuva mu kibi n’okufa, era nga mu bantu abo naawe mw’oli!—Is. 53:1-12. w24.08 4 ¶7-8
Lwakutaano, Apuli 10
Amateeka go nga ngaagala nnyo! Ngafumiitirizaako okuzibya obudde.—Zab. 119:97.
Bw’oba ng’osoma Bayibuli, fuba okulowooza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’osoma. Weebuuze, ‘Bye nsoma nnyinza ntya okubikolerako kati oba nnyinza ntya okubikolerako mu kiseera eky’omu maaso?’ Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti osomye 1 Abassessalonika 5:17, 18. Oluvannyuma lw’okusoma ennyiriri ezo, oyinza okusiriikiriramu n’ofumiitiriza ku mirundi emeka gy’osaba era n’engeri gy’osabamu. Oba oyinza okusalawo okufumiitiriza ku bintu Katonda by’akukoledde by’osiima ennyo. Oboolyawo oyinza okulondayo ebintu bisatu by’oneebaza Yakuwa. Ne bw’omala eddakiika ntono ng’ofumiitiriza ku ebyo by’oyiga mu Bayibuli, kijja kukuyamba okutegeera Ekigambo kya Katonda n’okukikolerako. Bw’okola bw’otyo buli lunaku ng’osoma Bayibuli, ojja kusobola okukola ebyo Katonda by’ayagala. w24.09 4-5 ¶9-10
Lwamukaaga, Apuli 11
Mwekuume muleme okufiirwa ebintu bye twateganira, wabula mufune empeera enzijuvu.—2 Yok. 8.
Yakuwa yatutonda nga tufuna essanyu lingi mu kugaba okusinga lye tufuna mu kuweebwa. Tuwulira bulungi nnyo bwe tubaako kye tukolera bakkiriza bannaffe. Era tusanyuka bwe bakyoleka nti basiimye. Naye omuntu k’abe ng’akyolese nti asiimye oba nedda, tusobola okuba abasanyufu olw’okukola ekintu ekituufu. Tokyerabiranga nti ka kibe ki ky’owa abalala, “Yakuwa asobola okukuwa ekisingawo ennyo ku ekyo.” (2 Byom. 25:9) Bulijjo Yakuwa ajja kukuwanga bingi okusinga ebyo by’ogaba! Era empeera Yakuwa gy’agaba y’esingirayo ddala obulungi. N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okweyongera okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu omugabi. w24.09 31 ¶20-21
Ssande, Apuli 12
Ai Yakuwa Katonda wange, nkutendereza n’omutima gwange gwonna. Nja kugulumizanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.—Zab. 86:12.
Yakuwa musaasizi. (Zab. 103:13; Is. 49:15) Atulumirirwa; bwe tuba mu bulumi naye aba alumwa. (Zek. 2:8) Atuyamba okumumanya tusobole okuba mikwano gye. (Zab. 25:14; Bik. 17:27) Ate era mwetoowaze; “akutama n’atunuulira eggulu n’ensi, n’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu.” (Zab. 113:6, 7) Mazima ddala olw’ensonga ezo ze tulabye, twagala okugulumiza Katonda waffe ow’ekitiibwa. Tuwa Yakuwa ekitiibwa olw’okuba twagala abalala nabo bamumanye. Abantu bangi tebamanyi mazima gakwata ku Yakuwa. Lwaki? Kubanga Sitaani ayogedde ebintu eby’obulimba ku Yakuwa era bangi bakkiriza obulimba obwo. (2 Kol. 4:4) Sitaani aleetedde abantu bangi okulowooza nti Yakuwa wa ttima, tabafaako, era nti okubonaabona okusinga obungi okuliwo mu nsi y’akuleeta. Naye ffe tumanyi amazima agakwata ku Yakuwa. Twagala abalala bamanye ekyo ky’ali nabo basobole okumuwa ekitiibwa.—Is. 43:10. w25.01 3 ¶6-7
Bbalaza, Apuli 13
Sitaani alimbalimba ensi yonna.—Kub. 12:9.
Mu kyasa ekyasooka, wadde nga Yesu Omwana wa Katonda eyali atuukiridde yakola ebyamagero, Sitaani yakozesa abantu abamu okumwogerako eby’obulimba. Ng’ekyokulabirako, abakulembeze b’eddiini baagamba abantu nti Yesu yali agoba emyoyo emibi ng’akozesa amaanyi agaamuweebwa ‘omufuzi wa badayimooni.’ (Mak. 3:22) Yesu bwe yali awozesebwa, abakulembeze b’eddiini baamulumiriza nti yali muvvoozi era baakuma omuliro mu bantu ne basaba nti attibwe. (Mat. 27:20) Oluvannyuma abagoberezi ba Kristo bwe baali babuulira amawulire amalungi, abo abaali babaziyiza baasiga “omutima omubi mu b’amawanga” okuyigganya Abakristaayo abo. (Bik. 14:2, 19) Nga gwogera ku Ebikolwa 14:2, Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 1, 1998, gwagamba nti: ‘Ng’oggyeeko okugaana obubaka, Abayudaaya abaali baziyiza Abakristaayo baakola kaweefube ow’okwonoona erinnya lyabwe, nga bagezaako okuleetera ab’Amawanga okubakyawa.’ Ne leero, Sitaani ‘akyalimbalimba ensi yonna.’ w24.04 11 ¶15-16
Lwakubiri, Apuli 14
Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?—Lub. 18:25.
Omuntu okuba nti ajja kufuna obulamu obutaggwaawo tekisinziira ku ddi lw’afa. Yakuwa mulamuzi atuukiridde, era alamula abantu mu bwenkanya ne mu butuukirivu. (Zab. 33:4, 5) Tuli bakakafu nti “Omulamuzi w’ensi yonna” ajja kukola ekituufu. Ate era kituukirawo okugamba nti omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo tekisinziira ku kitundu ki gy’abeera. N’olwekyo tetuyinza kugamba nti obukadde n’obukadde bw’abantu ababeera mu bitundu gye batafunanga kakisa kubuulirwa mawulire ag’Obwakabaka Yakuwa ajja kubalamula nti ‘mbuzi.’ (Mat. 25:46) Omulamuzi w’ensi yonna omutuukirivu alumirirwa nnyo abantu abo n’okusinga ffe bwe tubalumirirwa. Tetumanyi biki Yakuwa by’anaakola mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Oboolyawo abamu ku bantu abo bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa, okumukkiririzaamu, n’okudda ku ludda lwe bw’anaaba yeetukuza mu maaso g’amawanga gonna.—Ezk. 38:16. w24.05 12 ¶14-15
Lwakusatu, Apuli 15
Mwagalanenga.—Yok. 15:12.
Abantu ba Yakuwa baagala nnyo okuyambagana. (2 Kol. 8:4) Naye oluusi ekyo kyetaagisa obuvumu. Ng’ekyokulabirako, olutalo bwe lubalukawo, abakadde bakiraba nti bakkiriza bannaabwe beetaaga okuzzibwamu amaanyi, okuyambibwa, okubafunira Bayibuli n’ebitabo eby’esigamiziddwa ku Bayibuli, awamu n’ebintu ebirala bye beetaaga. Olw’okuba abakadde baagala nnyo bakkiriza bannaabwe, bassa obulamu bwabwe mu kabi okusobola okubafunira bye baba beetaaga. Mu mbeera ng’ezo, kikulu nnyo okusigala nga tuli bumu. Kolera ku bulagirizi obuva eri ofiisi y’ettabi. (Beb. 13:17) Buli luvannyuma lwa kiseera, abakadde basaanidde okwekenneenya obulagirizi obukwata ku ngeri y’okweteekerateekeramu obutyabaga, era n’ekyo ekirina okukolebwa nga waguddewo akatyabaga. (1 Kol. 14:33, 40) Beera muvumu naye weegendereze. (Nge. 22:3) Kozesa amagezi. Tomala gassa bulamu bwo mu kabi. Weesige Yakuwa. Asobola okukuyamba n’obaako by’okolera bakkiriza banno nga totuukiddwako kabi. w24.07 4 ¶8; 5 ¶11
Lwakuna, Apuli 16
Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa, . . . era amatu ge gaawulira okuwanjaga kwange.—Zab. 18:6.
Kabaka Dawudi yali amanyi Yakuwa era yamwesiganga. Kabaka Sawulo n’abalala bwe baali bamunoonya okumutta, Dawudi yasaba Yakuwa amuyambe. Oluvannyuma lwa Katonda okuddamu essaala ze era n’amununula, Dawudi yagamba nti: “Yakuwa mulamu!” (Zab. 18:46) Dawudi okwogera ebigambo ebyo, yali talaga bulazi nti Katonda gy’ali. Ekitabo ekimu kigamba nti Dawudi yali akyoleka nti yali yeesiga Yakuwa “nga Katonda omulamu bulijjo abaawo okuyamba abantu be.” Dawudi yali ekimanyi nti Katonda we yali alaba bye yali ayitamu era nti yali mwetegefu okumuyamba. Ekyo kyamuyamba okuba omumalirivu okumuweerezanga n’okumutendereza. (Zab. 18:28, 29, 49) Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa ye Katonda omulamu, kisobola okutuyamba okumuweereza n’obunyiikivu. Tuba tusobola okugumira ebizibu era tuba bamalirivu okweyongera okumuweereza n’obwesigwa. Ate era tuba bamalirivu okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye. w24.06 20-21 ¶3-4
Lwakutaano, Apuli 17
Tewabangawo omuntu n’omu abawabya mu ngeri yonna.—2 Bas. 2:3.
Kiki kye tuyigira ku bigambo omutume Pawulo bye yawandiikira Abassessalonika? Bwe tuwulira ekintu ekitakwatagana n’ebyo bye twayiga mu Bayibuli oba bwe wabaawo ekintu ekitwogerwako ekyewuunyisa ennyo, twetaaga okukozesa amagezi. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Soviet Union, lumu abalabe baffe balina ebbaluwa gye baawandiika ng’erabika ng’evudde ku kitebe kyaffe ekikulu era ne bagisaasaanya mu b’oluganda. Ebbaluwa eyo yali ekubiriza abamu ku b’oluganda okutandikawo ekibiina ekirala ekitali wansi w’ekibiina kya Yakuwa. Ebyali mu bbaluwa eyo byalabika ng’ebituufu. Naye ab’oluganda abeesigwa tebaabuzaabuzibwa. Baakiraba nti obubaka obwali mu bbaluwa eyo bwali tebukwatagana n’ebyo bye baali bayigiriziddwa. Leero abalabe baffe oluusi bakozesa Intaneeti n’emikutu emigattabantu okugezaako okutubuzaabuza n’okuleetawo enjawukana mu ffe. Mu kifo ky’okuleka ‘endowooza yaffe okutabulwatabulwa amangu,’ tusaanidde okwewala obulimba obwo nga twekenneenya ebyo bye tusoma oba bye tuwulira okulaba obanga bikwatagana n’amazima ge twayigirizibwa.—2 Bas. 2:2; 1 Yok. 4:1. w24.07 12 ¶14-15
Lwamukaaga, Apuli 18
Omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina omuyambi.—1 Yok. 2:1.
Ekintu ekisinga obukulu mu ebyo omuntu by’ayinza okusalawo, kwe kwewaayo eri Yakuwa n’afuuka omu ku b’omu maka ge. Yakuwa ayagala buli muntu asalewo okumuweereza. Lwaki? Ayagala babeere mikwano gye era babeerewo emirembe gyonna. (Ma. 30:19, 20; Bag. 6:7, 8) Kyokka Yakuwa talina muntu n’omu gw’awaliriza kumuweereza. Aleka buli muntu okwesalirawo eky’okukola. Watya singa Omukristaayo omubatize amenya etteeka lya Katonda, n’akola ekibi eky’amaanyi? Bw’ateenenya aba alina okuggibwa mu kibiina. (1 Kol. 5:13) Naye era Yakuwa aba asuubira nti omwonoonyi oyo ajja kudda gy’ali. Mu butuufu, emu ku nsonga lwaki Yakuwa yawaayo ekinunulo, kwe kusonyiwa aboonoonyi abeenenyezza. Katonda waffe atwagala akubiriza aboonoonyi okwenyenya.—Zek. 1:3; Bar. 2:4; Yak. 4:8. w24.08 14 ¶1-2
Ssande, Apuli 19
Omutima gwo bwe gunaabanga ogw’amagezi, omutima gwange gunaasanyukanga.—Nge. 23:15.
Omutume Yokaana we yawandiikira ebbaluwa ye ey’okusatu waaliwo abaali basaasaanya enjigiriza ez’obulimba era nga baleetawo enjawukana mu kibiina. Kyokka waaliwo abalala abaali bakyeyongera ‘okutambulira mu mazima.’ Baali bagondera Yakuwa era nga ‘bagoberera ebiragiro bye.’ (2 Yok. 4, 6) Abakristaayo abo abeesigwa baaleetera Yokaana ne Yakuwa essanyu. (Nge. 27:11) Kiki kye tuyiga? Okuba abeesigwa eri Yakuwa kireeta essanyu. (1 Yok. 5:3) Ng’ekyokulabirako, tufuna essanyu okukimanya nti tusanyusa Yakuwa. Asanyuka bw’alaba nga twewala okutwalirizibwa ebikemo era nga tukkiriza amazima. Ne bamalayika mu ggulu basanyuka. (Luk. 15:10) Naffe tuba basanyufu bwe tulaba bakkiriza bannaffe nga basigadde beesigwa. (2 Bas. 1:4) Ate era ensi ya Sitaani bw’eneemala okuzikirizibwa, tujja kuba basanyufu okukimanya nti twasigala tuli beesigwa eri Yakuwa. w24.11 12 ¶17-18
Bbalaza, Apuli 20
Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, wabula anoonye ebigasa abalala.—1 Kol. 10:24.
Osaanidde kutwala bbanga lyenkana wa nga weetegereza omuntu gw’oyagala? Bw’otuukirira amangu omuntu n’omugamba nti omwagala, ayinza okukutwala nti oyanguyiriza okusalawo nga tosoose kwetegereza. (Nge. 29:20) Ku luuyi olulala, bw’otwala ekiseera ekiwanvu ennyo nga weetegereza omuntu, ayinza okukitwala nti tosalawo, naddala singa akitegeera nti olabika omwegwanyiza. (Mub. 11:4) Kijjukire nti bw’oba nga tonnatuukirira muntu kumugamba nti omwagala, tosaanidde kukitwala nti mu buli ngeri ojja kumuwasa. Naye osaanidde okuba omukakafu nti otuuse okuwasa era nti omuntu gw’obadde weetegereza yandiba nga ye mutuufu ow’okuwasa. Watya singa okitegeera nti waliwo akwegwanyiza? Singa owulira nti tewandyagadde kutandika kwogerezeganya na muntu oyo, ekyo gezaako okukyoleka mu bikolwa byo. Tekiba kikolwa kya kisa okuleetera omuntu okulowooza nti oyinza okuba omwetegefu okutandika okwogerezeganya naye ate ng’ekituufu kiri nti toli mwetegefu.—Bef. 4:25. w24.05 22-23 ¶9-10
Lwakubiri, Apuli 21
Nja kukomawo mbatwale gye ndi.—Yok. 14:3.
Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa bokka be bajja okutwalibwa okufugira wamu ne Yesu mu ggulu. Abo abatasigala nga bali bulindaala mu by’omwoyo tebajja kubalibwa mu abo “abalonde.” (Mat. 24:31) Ate era, abaweereza ba Yakuwa bonna ka babe nga balina ssuubi ki, balina okussaayo omwoyo ku kulabula Yesu kwe yawa basigale nga bali bulindaala era nga beesigwa. Olw’okuba tumanyi bulungi Yakuwa, twesiga ebyo by’asalawo. Bw’asalawo okufuka amafuta ku bamu ku Bakristaayo mu kiseera kino, ekyo tekitweraliikiriza. Tujjukira ekyo Yesu kye yayogera ku bakozi abajja okukola mu nnimiro y’emizabbibu ku ssaawa ey’ekkumi n’emu. (Mat. 20:1-16) Abo abaayitibwa okujja okukola mu nnimiro y’emizabbibu ng’obudde bugenze, baafuna empeera y’emu n’abo abaakeera okukola. Mu ngeri y’emu, abaafukibwako amafuta ka babe nga balondeddwa ddi, bajja kufuna empeera ey’omu ggulu bwe banaasigala nga beesigwa. w24.09 24 ¶15-17
Lwakusatu, Apuli 22
Kristo yabonaabona ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.—1 Peet. 2:21.
Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku ngeri y’okugumiramu obutali bwenkanya. Lowooza ku ngeri ab’eŋŋanda ze n’abantu abalala gye baamuyisaamu. Ab’eŋŋanda ze abaali batamukkiririzaamu baagamba nti yali agudde eddalu, abakulembeze b’eddiini baagamba nti yali akolagana ne badayimooni, ate abasirikale Abaruumi baamujerega, ne bamutulugunya, era oluvannyuma ne bamutta. (Mak. 3:21, 22; 14:55; 15:16-20, 35-37) Kyokka Yesu yagumira obutali bwenkanya obwo bwonna, era teyeesasuza. Kiki kye tumuyigirako? (1 Peet. 2:21-23) Yesu yatulekera ekyokulabirako ekirungi ennyo kye tusaanidde okukoppa nga tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Yali amanyi ddi lwe yalina okusirika ne lwe yalina okwogera. (Mat. 26:62-64) Ebiseera ebimu abalala bwe baamwogerangako ebintu eby’obulimba, yasalawo obutabaako ky’ayogera. (Mat. 11:19) Bwe yasalangawo okubaako kyayogera teyavumanga abo abaali bamuyigganya era teyabatiisatiisa. w24.11 4-5 ¶9-10
Lwakuna, Apuli 23
Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.—1 Tim. 1:15.
Kuba akafaananyi ng’owadde omuntu gw’oyagala ekirabo eky’omuwendo ennyo era kye yeetaaga. Kiyinza okukuyisa obubi singa omuntu oyo akwata ekirabo ekyo n’akitereka mu kibookisi era n’ataddamu wadde okukirowoozaako! Ku luuyi olulala, owulira bulungi singa omuntu oyo akozesa ekirabo ekyo era n’akwebaza. Ekyokulabirako ekyo kikwatagana kitya n’ekirabo eky’ekinunulo Yakuwa kye yatuwa? Yakuwa yawaayo Omwana we okutufiirira. Ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo bwe tukiraga nti tusiima ekirabo ekyo eky’omuwendo n’okwagala kwe yatulaga okwamuleetera okukiwaayo! (Yok. 3:16; Bar. 5:7, 8) Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tuyinza okulekera awo okutwala ekinunulo nti kirabo kya muwendo nnyo. Mu ngeri eyo tuba ng’abakiterese mu kibookisi. Okusobola kwewala ekyo okubaawo, tulina bulijjo okufumiitiriza ku ekyo Katonda ne Kristo kye baatukolera. w25.01 26 ¶1-2
Lwakutaano, Apuli 24
Ebintu bino bifumiitirizengako; byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.—1 Tim. 4:15.
Ow’oluganda okusobola kufuuka omukadde, talina kuba nga yaakafuuka mukkiriza. Wadde nga tekikwetaagisa kuba ng’omaze emyaka mingi ng’obatiziddwa, weetaaga ekiseera okufuuka Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo. Okufaananako Yesu, olina okuba omwetoowaze era omugumiikiriza nga bw’olindirira Yakuwa okukuwa obuvunaanyizibwa mu kibiina. (Mat. 20:23; Baf. 2:5-8) Osobola okukiraga nti oli “mwesigwa” ng’onywerera ku Yakuwa ne ku mitindo gye egy’obutuukirivu era ng’okolera ku bulagirizi bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Ebyawandiikibwa bikyoleka bulungi nti abalabirizi balina okuba nga basobola okuyigiriza. Ekyo kitegeeza nti oteekeddwa okuba ng’oli mwogezi mulungi nnyo? Nedda. Wadde ng’abakadde bangi si boogezi balungi, bayigiriza bulungi nga bali mu kubuulira era bakozesa bulungi Ebyawandiikibwa okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi. w24.11 23-24 ¶14-15
Lwamukaaga, Apuli 25
Njagala ebiragiro byo okusinga zzaabu, okusinga zzaabu omulungi.—Zab. 119:127.
Bw’osanga ekintu ky’otategeera bulungi mu Bayibuli, nnoonyereza. Oluvannyuma ekyo ky’ozudde kifumiitirizeeko olunaku lwonna era fumiitiriza ku ekyo kye kikuyigiriza ku Yakuwa, ku Mwana we, era ne ku kwagala kwe bakulaga. (Zab. 119:97, n’obugambo obuli wansi) Toggwaamu maanyi singa emirundi egimu bw’oba weesomesa oba ng’oliko ky’onoonyereza tozuulayo kintu kipya oba ekintu ekikukwatako ennyo. Oyinza okugeraageranyizibwa ku muntu anoonya zzaabu. Abantu abanoonya zzaabu bayinza okumala essaawa nnyingi oba ennaku nnyingi nga tebannazuulayo wadde akatole akatono aka zzaabu. Naye bagenda mu maaso n’okunoonya kuba bamanyi nti buli katole aka zzaabu kaba ka muwendo nnyo. Ebintu ebipya bye tuyiga mu Bayibuli bya muwendo nnyo n’okusinga zzaabu! (Nge. 8:10) N’olwekyo, ba mugumiikiriza era nywerera ku nteekateeka yo ey’okusoma Bayibuli.—Zab. 1:2. w25.01 25 ¶14-15
Ssande, Apuli 26
Nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.—Bak. 3:13.
Yakuwa atusuubira okusonyiwa abo abakola ebintu ebitulumya. (Zab. 86:5; Luk. 17:4; Bef. 4:32) Tuyinza okuwulira obulumi obw’amaanyi olw’ekyo omuntu ky’aba ayogedde oba ky’aba akoze, nnaddala bw’aba nga mukwano gwaffe ow’oku lusegere oba omu ku b’eŋŋanda zaffe. (Zab. 55:12-14) Oluusi obulumi obwo buyinza okuba obw’amaanyi ennyo nga tuwulira ng’abafumitiddwa akaso. (Nge. 12:18) Tuyinza okugezaako okubuzibiikiriza, naye okukola ekyo kiba ng’okufumitibwa akaso ne tukaleka mu kiwundu. Mu ngeri y’emu, okugezaako okuzibiikiriza obulumi tekisobola kubumalawo. Omuntu bw’akola ekintu ekitulumya, okusookera ddala tuyinza okuwulira obusungu. Bayibuli eraga nti kisoboka okuwulira obusungu. Kyokka etulabula obutasigala nga tusunguwadde. (Zab. 4:4; Bef. 4:26) Lwaki? Kubanga ekyo kye tukolawo olw’obusungu emirundi mingi tekiba kirungi. (Yak. 1:20) Kijjukire nti omuntu bw’akola ekintu ekitulumya kiyinza obuteebeereka kusunguwala, naye ffe tusalawo obanga tunaasigala tusunguwadde oba nedda. w25.02 15 ¶4-6
Bbalaza, Apuli 27
Amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.—Mub. 7:12.
Yesu yagera olugero olulaga nti kya busirusiru omuntu okweterekera ssente naye nga si “mugagga mu maaso ga Katonda.” (Luk. 12:16-21) Tewali n’omu ku ffe amanyi kinaamutuukako nkya. (Nge. 23:4, 5; Yak. 4:13-15) Ate era Yesu yagamba nti abo bonna abaagala okufuuka abagoberezi be balina okuba abeetegefu okufiirwa ebintu byabwe. (Luk. 14:33) Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali babeera mu Buyudaaya. Baafiirwa ebintu byabwe naye ne basigala nga basanyufu. (Beb. 10:34) Mu kiseera kyaffe, bakkiriza bannaffe bangi bafiiriddwa ssente, emirimu, oba ebintu byabwe olw’okugaana okubaako oludda lwe bawagira mu by’obufuzi. (Kub. 13:16, 17) Lwaki babadde beetegefu okukkiriza okufiirwa ebintu ebyo? Beesiga ekisuubizo kya Yakuwa kino ekigamba nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Beb. 13:5) N’olwekyo, wadde nga tukola kyonna ekisoboka okuterekawo ssente ezinaatuyamba nga tukaddiye, twesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba singa tutuukibwako ekizibu kye tubadde tutasuubira. w25.03 29 ¶13-14
Lwakubiri, Apuli 28
Kaakano nga bwe tulese enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo, ka tufube okukula, tuleme kuddamu kuzimba musingi nate.—Beb. 6:1.
Yakuwa tatusuubira kukula mu by’omwoyo ku lwaffe. Abakadde baatendekebwa okutuyamba okufuuka ‘abantu abakulu’ mu by’omwoyo tusobole okutuuka ku “kigero eky’obukulu bwa Kristo.” (Bef. 4:11-13) Yakuwa era atuwa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okuba ‘n’endowooza ya Kristo.’ (1 Kol. 2:14-16) Ate era Yakuwa yawandiisa ebitabo by’Enjiri ebina okutuyamba okumanya engeri Yesu gye yalowoozangamu, gye yayogerangamu, n’engeri gye yeeyisangamu ng’ali wano ku nsi. Bwe tufuba okuba n’endowooza ng’eya Kristo era ne tweyisa nga ye, tusobola okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Naye okusobola okukula mu by’omwoyo, tetulina kukoma ku kumanya “enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo” zokka. w24.04 4-5 ¶11-12
Lwakusatu, Apuli 29
Obusobozi bw’okulowooza obulungi bunaakukuumanga n’okutegeera kunaakukuumanga.—Nge. 2:11.
Buli lunaku tubaako ebintu bye tusalawo. Ebimu byangu, gamba ng’okusalawo kye tunaalya oba ddi lwe tuneebaka. Ebirala si byangu kusalawo. Biyinza okuba nga bikwata ku bulamu bwaffe, ku ssanyu lyaffe, ku baagalwa baffe, oba ku kusinza kwaffe. Twagala okusalawo mu ngeri etuganyula ffe awamu n’ab’omu maka gaffe. Naye okusingira ddala twagala okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. (Bar. 12:1, 2) Ekintu ekikulu ky’osaanidde okukola okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi, kwe kumanya ebizingirwa mu ekyo ky’oyagala okusalawo. Lwaki ekyo kikulu? Lowooza ku mulwadde agenda ew’omusawo ng’alina obulwadde obw’amaanyi. Omusawo asobola okusalawo okumuwa obujjanjabi nga tasoose kumwekebejja oba okubaako ebibuuzo by’amubuuza? Kya lwatu nedda. Okufaananako omusawo oyo, ojja kusalawo mu ngeri ey’amagezi singa osooka kumanya byonna ebizingirwa mu nsonga. w25.01 14 ¶1-3
Lwakuna, Apuli 30
Yakuwa . . . akusonyiye. Tojja kufa.—2 Sam. 12:13.
Kiki kye tumanyi ku busaasizi bwa Yakuwa? Akyolese atya nti “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa”? (2 Peet. 3:9) Lowooza ku ngeri gye yasaasiramu abamu ku bantu abaakola ebibi eby’amaanyi ennyo. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi ennyo, omwali okwenda n’okutta. Kyokka olw’okuba yeenenya, Yakuwa yamusaasira n’amusonyiwa. (2 Sam. 12:1-12) Kabaka Manase yakola ebintu ebibi ennyo ekiseera ekisinga obunene eky’obulamu bwe. Wadde kyali kityo, bwe yeenenya Yakuwa yamusaasira n’amusonyiwa. (2 Byom. 33:9-16) Ebyokulabirako ebyo bituyamba okukiraba nti Yakuwa alaga abantu obusaasizi buli lw’alaba nti ddala kyetaagisa. Abantu ng’abo Yakuwa ajja kubazuukiza olw’okuba baakitegeera nti baali bakoze ebintu ebibi ennyo era ne beenenya. w24.05 4 ¶12