LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lff essomo 58
  • Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Engeri Amadiini ag’Obulimba Gye Galeeta Ekivume ku Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • ‘Ggwe Mwesigwa Wekka’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Weewale Okusinza okw’Obulimba!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Kiki Ekinaatuuka ku Madiini?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
Laba Ebirara
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 58
Essomo 58. Ab’omu maka agamu nga bayita ku bakyewaggula abayimiridde okumpi n’ekifo awali olukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa.

ESSOMO 58

Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa

Mu Kyapa
Mu Kyapa
Mu Kyapa

Abakristaayo ab’amazima bamalirivu obutakkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kubalemesa kuweereza Yakuwa. Tuli bakakafu nti naawe oli mumalirivu okuweereza Yakuwa. Yakuwa akutwala nti oli wa muwendo nnyo bw’oba omwesigwa gy’ali. (Soma 1 Ebyomumirembe 28:9.) Mbeera ki eziyinza okukifuula ekizibu gy’oli okuba omwesigwa eri Yakuwa, era kiki ekiyinza okukuyamba?

1. Abalala bayinza batya okugezaako okukulemesa okuba omwesigwa eri Yakuwa?

Abantu abamu bagezaako okutulemesa okuweereza Yakuwa. Baani abayinza okugezaako okukulemesa okuweereza Yakuwa? Abamu ku abo abaaliko abaweereza ba Yakuwa naye nga kati boogera eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa nga baagala okusaanyaawo okukkiriza kwaffe. Abantu abo bayitibwa bakyewaggula. Ate era, n’abakulembeze b’amadiini abamu boogera eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa okusobola okuleetera abantu abatali banywevu okuva mu mazima. Kiba kya kabi nnyo gye tuli okukubaganya ebirowoozo n’abantu abo, okusoma ebitabo byabwe, okugenda ku mikutu gyabwe egya Intaneeti ne tusoma bye baba bataddeyo, oba okulaba vidiyo zaabwe. Yesu bwe yali ayogera ku abo abagezaako okulemesa abalala okuweereza Yakuwa, yagamba nti: “Abo mubaleke. Be bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.”​—Matayo 15:14.

Watya singa omuntu gwe tumanyi asalawo nti takyayagala kubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa? Omuntu gwe twagala bw’ava ku Yakuwa, kituluma nnyo. Omuntu oyo ayinza okwagala tusigale nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye mu kifo ky’okuba abeesigwa eri Yakuwa. Okuba abeesigwa eri Yakuwa kye tulina okukulembeza. (Matayo 10:37) Eyo ye nsonga lwaki tugondera Yakuwa ne twewala okukolagana n’abantu ng’abo.​—Soma 1 Abakkolinso 5:11.

2. Ebyo bye tusalawo biraga bitya nti tuli beesigwa eri Yakuwa?

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera obutaba na kakwate konna n’eddiini ez’obulimba. Omulimu gwe tukola, ebibiina bye tulimu, oba ekintu ekirala kyonna kye twenyigiramu, tebirina kuba na kakwate konna n’eddiini ez’obulimba. Yakuwa atugamba nti: ‘Mufulume mu Babulooni Ekinene mmwe abantu bange.’​—Okubikkulirwa 18:2, 4.

YIGA EBISINGAWO

Manya engeri gy’oyinza obutakkiriza muntu yenna kukuleetera butaba mwesigwa eri Yakuwa. Ate era laba engeri gy’oyinza okulagamu nti oli mwesigwa eri Yakuwa ng’ova mu Babulooni Ekinene.

3. Weekuume abayigiriza ab’obulimba

Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuwulira abalala nga boogera bubi ku kibiina kya Yakuwa? Soma Engero 14:15, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki tetusaanidde kumala gakkiriza buli kimu kye tuba tuwulidde?

Soma 2 Yokaana 10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Bakyewaggula tusaanidde okukolagana nabo?

  • Ne bwe tuba nga tetukolagana butereevu na bakyewaggula, tuyinza kusanga wa enjigiriza zaabwe?

  • Olowooza Yakuwa awulira atya bw’atulaba nga tuwuliriza ebintu ebibi ebimwogerwako oba ebyogerwa ku kibiina kye?

4. Sigala ng’oli mwesigwa eri Katonda nga waliwo akoze ekibi eky’amaanyi

Bwe tukimanyaako nti waliwo omuntu mu kibiina akoze ekibi eky’amaanyi, kiki kye tusaanidde okukola? Lowooza ku musingi ogumu oguli mu mateeka Katonda ge yawa eggwanga lwa Isirayiri ery’edda. Soma Eby’Abaleevi 5:1.

Nga bwe kiragibwa mu kyawandiikibwa ekyo, bwe tukimanyaako nti waliwo akoze ekibi eky’amaanyi, tusaanidde okutegeeza abakadde. Naye ng’ekyo tetunnakikola, kiba kikolwa kya kisa okusooka okukubiriza omuntu oyo ye kennyini okubuulira abakadde ekibi kye yakoze. Bw’agaana okubabuulira, olw’okuba twagala okuba abeesigwa eri Yakuwa, ffe tubabuulira. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiraga kitya nti tulina okwagala okutajjulukuka . . .

  • eri Yakuwa?

  • eri omwonoonyi?

  • n’eri abalala mu kibiina?

Ebifaananyi: Ow’oluganda ng’ayamba ow’oluganda omulala akoze ekintu ekikyamu. 1. Ow’oluganda ng’asobeddwa olw’ekintu ky’alabye ku ssimu ye. 2. Ow’oluganda alaga ow’oluganda omulala ebiri ku ssimu ye, naye ow’oluganda oli agaana okumuwuliriza. 3. Ow’oluganda alaga abakadde babiri ebiri ku ssimu ye.

Bw’olaba nga mukkiriza munno alina ekizibu, muyambe!

5. Weewale okuba n’akakwate konna ne Babulooni Ekinene

Laba VIDIYO.

VIDIYO: Fuluma mu Babulooni Ekinene! (5:06)

Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Fuluma mu Babulooni Ekinene!’ Omuyizi wa Bayibuli ava awali omukulu w’eddini oluvannyuma lw’okuleka omulimu gw’abadde akola mu kkanisa.

Soma Lukka 4:8 ne Okubikkulirwa 18:4, 5, oluvannyuma oddemu ebibuuzo bino:

  • Erinnya lyange likyaliyo mu nkalala eziraga bammemba b’eddiini emu ey’obulimba?

  • Waliwo ekibiina oba ekitongole kye ndimu ekirina akakwate n’eddiini endala?

  • Omulimu gwe nkola gulina engeri gye guwagiramu eddiini ey’obulimba?

  • Waliwo embeera endala yonna enneetaagisa okweyawula ku ddiini ez’obulimba?

  • Ku bibuuzo ebyo bwe kubaako kye nzizeemu nti yee, nkyukakyuka ki ze nsaanidde okukola?

Bulijjo salawo mu ngeri ekusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, era eraga nti oli mwesigwa eri Yakuwa.

Mwannyinaffe ne mutabani we nga bava mu dduuka.

Kiki kye wandikoze singa osabibwa okubaako ky’owaayo okuwagira ekibiina ky’eddiini ekimu ekigabirizi ky’obuyambi?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Nnina okumanya ebyo bakyewaggula bye boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa nsobole okulwanirira amazima.”

  • Olowooza ekyo kiba kya magezi? Lwaki ogamba bw’otyo?

MU BUFUNZE

Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tulina okwewala okukolagana n’abo abatali beesigwa gy’ali. Ate era tulina obutaba na kakwate konna n’eddiini ez’obulimba.

Okwejjukanya

  • Lwaki tetusaanidde kulaba, kusoma, oba kuwuliriza bintu bya bakyewaggula?

  • Abo abatakyayagala kubeera Bajulirwa ba Yakuwa, tusaanidde kubatwala tutya?

  • Tuyinza tutya okufuluma mu Babulooni Ekinene nga Bayibuli bw’etugamba?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Manya ky’osaanidde okukola nga waliwo aboogera ebintu ebitali bituufu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

“Omanyi Byonna Ebizingirwamu?” (Omunaala gw’Omukuumi, Agusito 2018)

Oyinza otya okumanya ebibiina oba ebintu ebikolebwa, ebiwagira Babulooni Ekinene?

“Ba n’Eby’Okukola Bingi mu Nnaku Zino Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 2019, akatundu 16-18)

Biki abantu abamu bye bakola okugezaako okunafuya okukkiriza kwaffe?

Weekuume Obulimba (9:32)

Mu kitundu ekirina omutwe, “Nnali Nnoonya Katonda Okuviira Ddala mu Buto,” soma ku musajja omu eyali kabona mu ddiini y’Abashinto eyava mu ddiini eyo.

“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2011)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza