LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lff essomo 33
  • Ebyo Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebyo Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
Laba Ebirara
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 33
Essomo 33. Abantu nga bali mu nsi efuuliddwa olusuku lwa Katonda.

ESSOMO 33

Ebyo Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola

Mu Kyapa
Mu Kyapa
Mu Kyapa

Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga. Mangu ddala bujja kuleeta enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. Ka tulabeyo ebimu ku bintu Obwakabaka bwa Katonda bye bugenda okutukolera.

1. Obwakabaka bwa Katonda bunaaleeta butya emirembe n’obwenkanya ku nsi?

Ku lutalo Amagedoni, Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ajja kuzikiriza abantu ababi ne gavumenti z’abantu. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Mu kiseera ekyo, ebigambo bino ebiri mu Bayibuli bijja kutuukirizibwa mu bujjuvu: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo.” (Zabbuli 37:10) Mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kuleeta emirembe n’obwenkanya mu nsi yonna.​—Soma Isaaya 11:4.

2. Obulamu buliba butya nga Katonda by’ayagala bikolebwa ku nsi?

Ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga, abantu “abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Kuba akafaananyi ng’abantu abali ku nsi bonna batuukirivu, baagala Yakuwa, baagalana, tewali n’omu alwala, era nga bonna ba kubeerawo emirembe gyonna!

3. Biki Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola ng’abantu ababi bamaze okuzikirizibwa?

Oluvannyuma lw’ababi okuzikirizibwa, Yesu ajja kufuga nga Kabaka okumala emyaka 1,000. Mu kiseera ekyo, Yesu n’abo 144,000 abajja okufuga naye, bajja kuyamba abantu abanaabeera ku nsi okufuuka abatuukiridde. Ku nkomerero y’emyaka 1,000, ensi yonna ejja kuba erabika bulungi nnyo ng’efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Era abantu bonna bajja kuba basanyufu olw’okuba bajja kuba bagondera amateeka ga Yakuwa. Oluvannyuma Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka eri Kitaawe, Yakuwa. ‘Erinnya lya Yakuwa lijja kutukuzibwa’ ku kigero ekitabangawo. (Matayo 6:9, 10) Kijja kuba kyeyolese bulungi nti Yakuwa Mufuzi mulungi era nti afaayo ku abo b’afuga. Ekinaddirira, Yakuwa ajja kuzikiriza Sitaani ne badayimooni n’abo bonna abaliba basazeewo okujeemera obufuzi bwe. (Okubikkulirwa 20:7-10) Ebintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola bijja kubeerawo emirembe gyonna.

YIGA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kukozesa Obwakabaka bwe okutuukiriza ebyo byonna by’atusuubizza okuyitira mu Bayibuli.

4. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu

‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’ (Omubuulizi 8:9) Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe okumalawo obutali bwenkanya.

Soma Danyeri 2:44 ne 2 Abassessalonika 1:6-8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Kiki Yakuwa n’Omwana we Yesu kye bajja okukola obufuzi bw’abantu n’abo ababuwagira?

  • Ebyo by’oyize ku Yakuwa ne Yesu bikukakasa bitya nti ebyo bye bajja okukola bijja kuba bya bwenkanya?

Yesu ng’afuga ensi nga Kabaka ng’asinziira mu ggulu.

5. Yesu ye Kabaka asingayo obulungi

Nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kukolera abantu abanaabeera ku nsi ebintu ebirungi bingi. Ssaako VIDIYO olabe engeri Yesu gye yakiraga nti ayagala nnyo okuyamba abantu, era nti Katonda yamuwa obusobozi okubayamba.

VIDIYO: Yesu Yalaga Ebyo Obwakabaka bwa Katonda Bye Bujja Okukola (1:13)

Ebyo Yesu bye yakola ng’ali ku nsi bitulaga ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola. Ku ebyo ebiragiddwa wammanga, biruwa by’osinga okwesunga? Soma ebyawandiikibwa ebiweereddwa ebyogera ku bintu ebyo ebirungi.

YESU BWE YALI KU NSI . . .

NG’ASINZIIRA MU GGULU, YESU . . .

  • yalaga nti alina obuyinza ku maanyi g’obutonde.​—Makko 4:36-41.

  • ajja kuggyawo ebyonoona obutonde bw’ensi.​—Isaaya 35:1, 2.

  • yaliisa abantu nkumi na nkumi mu ngeri ey’ekyamagero.​—Matayo 14:17-21.

  • ajja kumalawo enjala mu nsi.​—Zabbuli 72:16.

  • yawonya abalwadde.​—Lukka 18:35-43.

  • ajja kusobozesa abantu okuba abalamu obulungi.​—Isaaya 33:24.

  • yazuukiza abafu.​—Lukka 8:49-55.

  • ajja kuggyawo okufa.​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

6. Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda

Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza mu bujjuvu ekigendererwa Yakuwa kye yalina ng’atonda abantu. Abantu bajja kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Ssaako VIDIYO olabe engeri Yakuwa gy’akozesaamu Omwana we Yesu, okutuukiriza ekigendererwa kye.

VIDIYO: Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi (4:38)

Soma Zabbuli 145:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Okukimanya nti Yakuwa ajja ‘kuwa buli kiramu bye kyagala,’ kikuleetera kuwulira otya?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Ffenna bwe tukolera awamu, tusobola okumalawo ebizibu ebiri mu nsi.”

  • Bizibu ki Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okumalawo, gavumenti z’abantu bye zitasobola kumalawo?

MU BUFUNZE

Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. Bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda, omujja okuba abantu abalungi era abajja okusinza Yakuwa emirembe gyonna.

Okwejjukanya

  • Obwakabaka bwa Katonda bunaatukuza butya erinnya lya Yakuwa?

  • Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza ebyo byonna Katonda bye yatusuubiza mu Bayibuli?

  • Ku bintu byonna ebirungi Katonda by’ajja okutukolera ng’Obwakabaka bwe tutandise okufuga ensi, kiruwa ky’osinga okwesunga?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Manya Amagedoni kye kitegeeza.

“Olutalo Amagedoni kye Ki?” (Kiri ku mukutu)

Manya ebijja okubaawo mu kiseera Yesu kye yayita “ekibonyoobonyo ekinene.”—Matayo 24:21.

“Ekibonyoobonyo Ekinene Kye Ki?” (Kiri ku mukutu)

Laba engeri ab’omu maka gye bayinza okufumiitiriza ku ngeri obulamu gye bulibeeramu mu nsi empya.

Weerabe ng’Oli mu Lusuku lwa Katonda (1:50)

Mu kitundu “Nnalina Ebibuuzo Bingi Ebyali Bimbobbya Omutwe,” laba engeri omusajja omu eyali awakanya gavumenti gye yafuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye yali yeebuuza.

“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Watchtower, Jjanwali 1, 2012)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza