LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • lff essomo 23 obutundu 1-6
  • Okubatizibwa—Kiruubirirwa Kirungi Nnyo!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okubatizibwa—Kiruubirirwa Kirungi Nnyo!
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Omuntu Okufuuka Omukristaayo Aba Alina Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okutegeera Amakulu g’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Otuuse Okubatizibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Okubatizibwa n’Enkolagana Yo ne Katonda
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Laba Ebirara
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 23 obutundu 1-6
Essomo 23. Omukazi abatizibwa ng’annyikibwa mu mazzi, n’afuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

ESSOMO 23

Okubatizibwa​—Kiruubirirwa Kirungi Nnyo!

Mu Kyapa
Mu Kyapa
Mu Kyapa

Yesu yagamba nti abagoberezi be balina okubatizibwa. (Soma Matayo 28:19, 20.) Naye okubatizibwa kye ki? Era kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo?

1. Okubatizibwa kye ki?

Ekigambo “okubatiza” kiva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “okunnyika” mu mazzi. Yesu bwe yali abatizibwa, yannyikibwa mu Mugga Yoludaani era oluvannyuma ‘n’ava mu mazzi.’ (Makko 1:9, 10) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo ab’amazima bwe baba babatizibwa bannyikibwa mu mazzi.

2. Okubatizibwa kulaga ki?

Omuntu bw’abatizibwa, akiraga nti yamala okwewaayo eri Yakuwa Katonda. Omuntu yeewaayo atya eri Katonda? Nga tannaba kubatizibwa, atuukirira Yakuwa mu kusaba n’amugamba nti ayagala okumuweereza emirembe gyonna. Mu ssaala eyo, asuubiza nti ajja kusinza Yakuwa yekka era nti ajja kukulembeza okukola Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwe. “Alekera awo okwetwala yekka,” n’asalawo okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza n’okukoppa ekyokulabirako kye. (Matayo 16:24) Omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa, kimuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era kimuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza banne.

3. Omuntu ayinza atya okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?

Osobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa ng’oyiga ebikwata ku Yakuwa era nga weeyongera okunyweza okukkiriza kwo. (Soma Abebbulaniya 11:6.) Bwe weeyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa era n’okunyweza okukkiriza kwo, weeyongera okumwagala. Ekyo kikuleetera okwagala okubuulira abalala ebimukwatako era n’okugoberera emitindo gye. (2 Timoseewo 4:2; 1 Yokaana 5:3) Omuntu bw’atandika “okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa okusobola okumusanyusiza ddala,” aba asobola okusalawo okwewaayo gy’ali era n’abatizibwa.​—Abakkolosaayi 1:9, 10.a

YIGA EBISINGAWO

Laba bye tusobola okuyigira ku kubatizibwa kwa Yesu era n’ebyo omuntu by’alina okukola okusobola okutuuka ku ddaala eryo ekkulu ennyo.

4. Bye tuyigira ku kubatizibwa kwa Yesu

Soma Matayo 3:13-17 omanye ebisingawo ebikwata ku kubatizibwa kwa Yesu. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Yesu yabatizibwa akyali muwere?

  • Yabatizibwa atya? Yamansirwako bumansirwa mazzi?

Yesu bwe yamala okubatizibwa yatandika okukola omulimu omukulu ennyo Katonda gwe yamutuma okukola ku nsi. Soma Lukka 3:21-23 ne Yokaana 6:38, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Yesu bwe yamala okubatizibwa, mulimu ki gwe yakulembeza mu bulamu bwe?

5. Osobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa

Bw’olowooza ku kwewaayo n’okubatizibwa, mu kusooka kiyinza okulabika ng’ekizibu ennyo. Kyokka osobola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo okutuusa lw’owulira nti osobola okusalawo ku nsonga eyo enkulu ennyo. Okusobola okulaba abantu abamu abaasalawo okukola bwe batyo, laba VIDIYO.

VIDIYO: Okufuna Enkolagana Ennungi ne Yakuwa (1:11)

Soma Yokaana 17:3 ne Yakobo 1:5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?

A. Omukazi yeewaayo eri Yakuwa ng’ayitira mu kusaba. B. Omukazi y’omu abatizibwa ng’annyikibwa mu mazzi n’afuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.
  1. Twewaayo eri Yakuwa nga tumugamba nti twagala okumuweereza emirembe gyonna

  2. Bwe tubatizibwa, tuba tulaga mu lujjudde nti twamala okwewaayo eri Katonda

6. Omuntu bw’abatizibwa afuuka omu ku bantu ba Yakuwa

Bwe tubatizibwa, twegatta ku bantu ba Yakuwa abali obumu mu nsi yonna. Abajulirwa ba Yakuwa bonna ababatize, ka babe nga babeera wa oba nga baakulira mu mbeera za ngeri ki, bakkiririza mu bintu bye bimu era bagoberera emitindo gy’empisa gye gimu. Soma Zabbuli 25:14 ne 1 Peetero 2:17, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Omuntu bw’abatizibwa kikwata kitya ku nkolagana gy’alina ne Yakuwa era n’abaweereza ba Yakuwa abalala?

Ebifaananyi: Mwannyinaffe eyabatizibwa awulira essanyu bw’alowooza ku nkolagana ennungi gy’alina n’abalala mu kibiina. 1. Yeeyabiza muganda we. 2. Ayambako mwannyinaffe akaddiye okutambula. 3. Aliirako wamu ne mikwano gye ab’emyaka egy’enjawulo. 4. Abuulira omusajja ng’ali wamu n’omubuulizi omulala. 5. Yeekuba ekifaananyi ng’ali wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala ku lukuŋŋaana olunene.

ABAMU BAGAMBA NTI: “Sinnatuuka kubatizibwa.”

  • Bwe kiba nti bw’otyo bw’owulira, olowooza kikulu okweteerawo ekiruubirirwa eky’okubatizibwa?

MU BUFUNZE

Yesu yayigiriza nti omuntu okuba Omukristaayo alina okubatizibwa. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, omuntu aba alina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa, okutambuliza obulamu bwe ku mitindo gye, era n’okwewaayo gy’ali.

Okwejjukanya

  • Okubatizibwa kye ki, era lwaki kukulu nnyo?

  • Kakwate ki akaliwo wakati w’okwewaayo n’okubatizibwa?

  • Bintu ki omuntu by’alina okukola okusobola okutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba okubatizibwa kye kutegeeza ne kye kutategeeza.

“Okubatizibwa Kye Ki?” (Kiri ku mukutu)

Laba ebyo ebisobola okuyamba omuntu okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa.

“Okwagala Yakuwa n’Okusiima by’Akukolera Kijja Kukuleetera Okubatizibwa” (Omunaala gw’Omukuumi, Maaki 2020)

Soma olabe ekyaleetera omusajja omu okubatizibwa.

Baali Baagala Nneekakasize Obanga Bye Nnali Njiga Ge Mazima (Omunaala gw’Omukuumi, Febwali 1, 2013)

Laba ensonga lwaki okubatizibwa kiruubirirwa kirungi nnyo era n’engeri gy’oyinza okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa.

“Nsaanidde Okubatizibwa?” (Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 2, essuula 37)

a Omuntu bw’aba nga yabatizibwa mu ddiini endala, kiba kimwetaagisa okuddamu okubatizibwa. Lwaki? Kubanga eddiini eyo teyigiriza mazima agali mu Bayibuli.​—Laba Ebikolwa 19:1-5 n’Essomo 13.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza