Ennyanjula yʼEkitundu 12
Yesu yayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu. Era yabayigiriza okusaba nti erinnya lya Katonda litukuzibwe, Obwakabaka bwe bujje, era by’ayagala bikolebwe ku nsi. Bw’oba oli muzadde, yamba omwana wo okumanya amakulu g’ebyo ebiri mu ssaala eyo. Yesu teyakkiriza Sitaani kumuleetera kujeemera Katonda. Yesu yalonda abatume be, era be baali omusingi ogw’abo abanaafugira awamu naye mu Bwakabaka. Yesu yawagira mu bujjuvu okusinza okw’amazima. Olw’okuba Yesu yali ayagala okuyamba abantu, yawonya abalwadde, yaliisa abalumwa enjala, era yazuukiza n’abafu. Ebyamagero ebyo byonna byalaga ebyo Obwakabaka bye bunaakolera abantu.