ESSOMO 74
Yesu Afuuka Masiya
Yokaana yali amaze ekiseera ng’alangirira nti: ‘Waliwo ansinga agenda okujja.’ Yesu bwe yali nga wa myaka nga 30, yagenda e Ggaliraaya ku Mugga Yoludaani, Yokaana mwe yali abatiriza abantu. Yesu yagamba Yokaana amubatize, naye Yokaana n’amugamba nti: ‘Sisaana kukubatiza. Ggwe osaana okumbatiza.’ Yesu yagamba Yokaana nti: ‘Yakuwa ayagala ombatize.’ Bwe kityo baagenda mu Mugga Yoludaani, Yokaana n’annyika Yesu mu mazzi.
Yesu bwe yava mu mazzi, yasaba Katonda. Mu kiseera ekyo, eggulu lyabikkuka, era omwoyo gwa Katonda ne gumukkako nga gulinga ejjiba. Yakuwa yayogera ng’ayima mu ggulu n’agamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.”
Omwoyo gwa Yakuwa bwe gwakka ku Yesu, Yesu yafuuka Kristo, oba Masiya. Kati Yesu yali agenda kutandika okukola omulimu Yakuwa gwe yamutuma okukola ku nsi.
Amangu ddala ng’amaze okubatizibwa, Yesu yagenda mu ddungu n’amalayo ennaku 40. Bwe yava mu ddungu, yagenda n’alaba Yokaana. Yokaana bwe yalaba Yesu, yagamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Yokaana yali ayagala abantu bamanye nti Yesu ye Masiya. Omanyi ekyatuuka ku Yesu ng’ali mu ddungu? Tugenda kukiraba mu ssomo eriddako.
“Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: ‘Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.’”—Makko 1:11