LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • bhs lup. 3-7
  • Katonda Atwagaliza Bulamu bwa Ngeri Ki?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Katonda Atwagaliza Bulamu bwa Ngeri Ki?
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Somera mu Baibuli Ky’Eyigiriza
  • Emitwe emitono
  • BAYIBULI EYIGIRIZA NTI KATONDA AJJA KUKOLA EBINTU BINO:
  • GANYULWA MU EBYO BAYIBULI BY’EYIGIRIZA
Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
bhs lup. 3-7

Katonda Atwagaliza Bulamu Bwa Ngeri Ki?

BW’OSOMA empapula z’amawulire, bw’olaba ttivi, oba bw’owuliriza rediyo, olaba era owulira ebintu bingi ebikwata ku bikolwa eby’ettemu, entalo, n’ebikolwa eby’obutujju! Oboolyawo naawe olina ebizibu gamba ng’obulwadde, oba oyinza okuba ng’olina ennaku olw’okufiirwa omuntu wo.

Ab’omu maka agamu bawuliriza amawulire ku rediyo

Oyinza okuba nga weebuuza nti:

  • Kino Katonda kye yanjagaliza nze n’ab’omu maka gange?

  • Kiki ekiyinza okunnyamba okwaŋŋanga ebizibu bye nnina?

  • Ekiseera kirituuka ne wabaawo emirembe egya nnamaddala ku nsi?

Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri ematiza.

BAYIBULI EYIGIRIZA NTI KATONDA AJJA KUKOLA EBINTU BINO:

  • Obulumi, okukaddiwa, n’okufa bijja kuggwaawo.​—Okubikkulirwa 21:4

  • “Omulema alibuuka ng’empeewo.”​—Isaaya 35:6

  • “Amaaso ga bamuzibe galizibuka.”​—Isaaya 35:5

  • Abafu bajja kuzuukizibwa.​—Yokaana 5:28, 29

  • Tewali n’omu ajja kuddamu kulwala.​—Isaaya 33:24

  • Buli muntu ajja kuba n’emmere emumala.​—Zabbuli 72:16

Abakadde badda buto, abalema babuuka, abafu bazuukira, abalwadde ne bamuzibe bawonyezebwa

GANYULWA MU EBYO BAYIBULI BY’EYIGIRIZA

Omujulirwa wa Yakuwa ayigiriza omusajja Bayibuli

Kyangu okulowooza nti ebintu by’osomye ku mpapula ezivuddeko ez’akatabo kano birooto bulooto. Naye Katonda asuubizza okukola ebintu ebyo mu kiseera ekitali kya wala, era Bayibuli etunnyonnyola engeri gy’ajja okukikolamu.

Ate era Bayibuli etubuulira ekisobola okutuyamba okuba abasanyufu n’okuba n’obulamu obulungi mu kiseera kino. Kati lowooza ku bintu ebikweraliikiriza. Biyinza okuba nga bizingiramu obwavu, ebizibu by’omu maka, obulwadde, oba okufiirwa omuntu wo. Bayibuli esobola okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebyo, era esobola okuddamu ebibuuzo nga bino:

  • Lwaki tubonaabona?

  • Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebizibu bye tulina?

  • Amaka gaffe gasobola gatya okubaamu essanyu?

  • Bwe tufa tulaga wa?

  • Tuliddamu okulaba abantu baffe abaatufaako?

  • Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Katonda ajja kutuukiriza byonna by’asuubizza?

Eky’okuba nti osoma akatabo kano kiraga nti oyagala okumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Akatabo kano kajja kukuyamba. Weetegereze nti wansi ku buli lupapula waliwo ebibuuzo ebikwata ku buli katundu, era ebibuuzo ebyo bijja kukuyamba okutegeera obulungi Bayibuli. Abantu bukadde na bukadde banyumirwa okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Tusuubira nti naawe ojja kunyumirwa. Tukwagaliza emikisa gya Katonda ng’oyiga ebyo ebiri mu Bayibuli!

MANYA BAYIBULI YO

Bayibuli erimu ebitabo 66. Buli kitabo kirimu essuula n’ennyiriri. Kino kiyamba omuntu okuzuula olunyiriri lw’aba anoonya. Ekyawandiikibwa bwe kijulizibwa mu katabo kano, ennamba eddirira erinnya ly’ekitabo y’eba essuula, ate ennamba eddako lwe luba olunyiriri. Ng’ekyokulabirako, “2 Timoseewo 3:16,” kitegeeza ebbaluwa ey’okubiri eri Timoseewo, essuula 3, olunyiriri 16.

Bw’onookeberanga Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano, ojja kuyiga mangu okubikkula Bayibuli. Ate era tukukubiriza okutandika okusoma Bayibuli buli lunaku. Bw’onoosomanga wakati w’essuula essatu n’ettaano buli lunaku, ojja kumalako Bayibuli yonna mu mwaka gumu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza