ESSUULA 12
Okuwagira Omulimu gw’Obwakabaka mu Kitundu Kyaffe ne mu Nsi Yonna
ABAJULIRWA ba Yakuwa babuulidde amawulire amalungi ‘okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.’ Ekyo kituukiriza obunnabbi obukwata ku nnaku ez’enkomerero. (Bik. 1:8; Mat. 24:14) Okusobola okubunyisa amawulire amalungi, bakozesa ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe. Bakulembeza Obwakabaka, era bakakafu nti Yakuwa alabirira abo abakolera awamu naye. (Mat. 6:25-34; 1 Kol. 3:5-9) Ebivuddemu biraga nti Yakuwa asiima bye bakola era nti abawadde omukisa.
OKUWAGIRA OMULIMU GW’OBWAKABAKA MU NSI YONNA
2 Abantu abamu bwe balaba engeri gye tukolamu omulimu gw’okubuulira era ne bakitegeera nti Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola tubiwa abantu ku bwereere, bayinza okwebuuza nti: “Ekyo kisoboka kitya?” Kyo kituufu nti okukuba Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola kitwala ssente nnyingi. Okuzimba n’okuddaabiriza amaka ga Beseri, era n’okuddukanya emirimu egikolebwayo nakyo kitwala ssente nnyingi. Okugatta ku ebyo, abalabirizi b’ebitundu, abaminsani, bapayoniya ab’enjawulo, n’ab’oluganda abalala abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna baweebwayo ssente entonotono zibayambe mu buweereza bwabwe. Ebyo byonna biraga nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gutwala ssente nnyingi ddala. Ssente ezo zonna ziva wa?
3 Abantu bangi abasiima omulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakola mu nsi yonna bawaayo ssente okuwagira omulimu ogwo. Kyokka omulimu ogwo gusinga kuwagirwa Bajulirwa ba Yakuwa bennyini, era ssente ze baba bawaddeyo ziweerezebwa ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu mu nsi yaabwe. Booleka omwoyo ng’ogw’abaweereza ba Katonda ab’edda abaawagira omulimu gw’okuzimba ebizimbe bye baasinzizangamu Yakuwa. (Kuv. 35:20-29; 1 Byom. 29:9) Abamu bakola ebiraamo ebiraga nti bwe babanga bafudde ettaka lyabwe oba ebizimbe byabwe biweebwe ekibiina kya Yakuwa. Ate ebirabo ebirala bitera kuba ssente ensaamusaamu eziweebwayo abantu kinnoomu, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa kinnakimu, oba ebibiina byonna ebiri mu kitundu (circuit). Ebyo byonna ebiba biweereddwayo bisobozesa omulimu gw’okubuulira okugenda mu maaso.
Abajulirwa ba Yakuwa bagitwala nga nkizo ya maanyi okukozesa ssente zaabwe n’ebintu byabwe ebirala okuwagira omulimu gw’okubuulira
4 Abajulirwa ba Yakuwa bagitwala nga nkizo ya maanyi okukozesa ssente zaabwe n’ebintu byabwe ebirala okuwagira omulimu gw’okubuulira. Yesu n’abayigirizwa be baalina akasanduuko mwe baaterekanga ssente ze baakozesanga. (Yok. 13:29) Ate era Bayibuli eraga nti waaliwo abakazi abaaweerezanga Yesu n’abayigirizwa be. (Mak. 15:40, 41; Luk. 8:3) Omutume Pawulo yakkirizanga ebintu ebyamuweebwanga abo abaabanga baagala okuwagira omulimu gw’okubuulira n’okumuwagira mu buweereza bwe. (Baf. 4:14-16; 1 Bas. 2:9) Abajulirwa ba Yakuwa nabo baweereza n’obunyiikivu era bawaayo n’omutima gwabwe gwonna. Ekyo kisobozesa abantu ab’emitima emirungi mu nsi yonna okufuna “amazzi ag’obulamu ku bwereere.”—Kub. 22:17.
OKUKOLA KU BYETAAGO BY’EKIBIINA
5 Ssente ezikola ku byetaago by’ebibiina nazo ziweebwayo kyeyagalire. Tetusolooza ssente, tetusalira bantu ssente za kuwaayo, era tetusabiriza ssente. Mu bifo Abajulirwa ba Yakuwa gye bakuŋŋaanira wabaayo obusanduuko omuteekebwa ssente, kisobozese buli muntu okuwaayo ‘nga bw’aba amaliridde mu mutima gwe.’—2 Kol. 9:7.
6 Ssente eziweebwayo zikozesebwa okusasulira byonna ebiba byetaagisa ku Kizimbe ky’Obwakabaka awamu n’okukiyonja era n’okukiddaabiriza. Kyokka, akakiiko k’abakadde kayinza okusalawo nti ssente ezimu ziweerezebwe ku ofiisi y’ettabi zikozesebwe okuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Bwe baba tebannasalawo kuziweereza, basooka kuyisa kiteeso mu kibiina. Mu ngeri eyo, ebibiina bingi buli mwezi biwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okubuulira. Ab’oluganda bonna mu kibiina bwe bafuba okuwaayo ssente okukola ku byetaago by’ekibiina, kiba tekyetaagisa kuyisa birango buli kiseera okubajjukiza okuwaayo.
ENGERI SSENTE EZIWEEBWAYO GYE ZITEREKEBWAMU
7 Buli luvannyuma lwa lukuŋŋaana, ab’oluganda babiri baggya mu busanduuko ssente eziba ziweereddwayo era ne bawandiika omuwendo gwazo. (2 Bassek. 12:9, 10; 2 Kol. 8:20) Akakiiko k’abakadde kabaako enteekateeka gye kakola ssente ezo ne ziterekebwa bulungi okutuusa lwe ziweerezebwa ku ofiisi y’ettabi oba okutuusa lwe ziba nga zeetaagibwa okukola ku byetaago by’ekibiina. Buli mwezi, ow’oluganda akola ku mbalirira y’ekibiina ajjuza foomu eraga ekibiina bwe kiba kiyimiridde mu by’ensimbi, era ebiriko ne bisomebwa eri ekibiina. Ate era buli luvannyuma lwa myezi esatu, akwanaganya akakiiko k’abakadde akola enteekateeka ne wabaawo okubalirira ebitabo by’ekibiina.
ENSAASAANYA Y’EKITUNDU (CIRCUIT)
8 Ssente ezisaasaanyizibwa okuddukanya olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu awamu n’ensaasaanya endala ez’ekitundu ziva mu ezo eziweebwayo ebibiina ebiri mu kitundu ekyo. Mu kifo awaba olukuŋŋaana olunene wateekebwawo obusanduuko, ab’oluganda basobole okuwaayo kyeyagalire. Ate era okusobola okukola ku nsaasaanya endala eziba zeetaagisa, ebibiina bisobola okuwaayo ssente ne mu biseera ebirala.
9 Ebibiina ebiri mu kitundu, birina okuba nga bisobola okukola ku nsaasaanya yonna eba yeetaagisa mu kitundu era ssente eziba zisusseemu ziweebwayo eri omulimu gw’ensi yonna. Bwe kiba nti mu nsawo y’ekitundu temuli ssente zimala kusasulira ebikozeseddwa mu lukuŋŋaana, oba ezinaakozesebwa ku lukuŋŋaana oluddako, omulabirizi w’ekitundu asobola okusalawo nti ebibiina bitegeezebwe bisobole okubaako kye biwaayo. Akakiiko k’abakadde mu buli kibiina kakubaganya ebirowoozo ku nsonga eyo okulaba ssente ekibiina ze kisobola okuwaayo. Oluvannyuma abakadde bayisa ekiteeso mu kibiina.
10 Bwe wabaawo ensonga ekwata ku ssente eyeetaagisa abakadde abali mu kitundu okugitunulamu, olukuŋŋaana lw’abakadde abali mu kitundu lutuula ku lunaku olubaako olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu. Ng’oggyeeko ebintu ebya bulijjo ebiba birina okugulibwa oba okusasulirwa ku buli lukuŋŋaana olunene, bwe wabaawo ebintu ebirala ebyetaagisa, abakadde basooka kuteesa ne bakkiriziganya ne biryoka bigulibwa. Ssente eziba zigenda okusaasaanyizibwa ku bintu ng’ebyo zirina okussibwa mu buwandiike era ne zitegeezebwa abakadde, nga tezinnagibwa mu nsawo y’ekitundu.
11 Enteekateeka ekolebwa buli luvannyuma lwa kiseera ebitabo by’embalirira y’ekitundu ne bikeberebwa.
OKUYAMBA ABAAVU
12 Ssente ezimu ezaabanga mu kasanduuko Yesu n’abayigirizwa be mwe baaterekanga ssente zaakozesebwanga okuyamba abaavu. (Mak. 14:3-5; Yok. 13:29) Abakristaayo bakyalina obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abaavu, kubanga Yesu yagamba nti: “Abaavu mubeera nabo bulijjo.” (Mak. 14:7) Obuvunaanyizibwa obwo Abajulirwa ba Yakuwa babutuukiriza batya leero?
13 Oluusi ab’oluganda abamu mu kibiina baba beetaaga obuyambi olw’obulwadde, obukadde, oba olw’embeera endala eziteebereka. Ab’omu maka gaabwe, ab’eŋŋanda zaabwe, oba abalala ababa bamanyi ku mbeera yaabwe bayinza okubayamba. Ekyo kituukagana n’ebigambo by’omutume Yokaana ebigamba nti: “Omuntu yenna aba n’eby’obugagga eby’omu nsi eno, n’alaba muganda we ng’ali mu bwetaavu, kyokka n’atamusaasira, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda? Abaana abato, tulemenga okwagala mu bigambo oba mu lulimi, wabula mu bikolwa ne mu mazima.” (1 Yok. 3:17, 18; 2 Bas. 3:6-12) Okusinza Katonda mu ngeri entuufu kizingiramu okuyamba baganda baffe abali mu bwetaavu.—Yak. 1:27; 2:14-17.
14 Mu 1 Timoseewo 5:3-21, omutume Pawulo yannyonnyola engeri abo abali mu bwetaavu gye bayinza okuyambibwa. Buli Mukristaayo alina obuvunaanyizibwa obw’okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge. Abakaddiye oba abateesobola basaanidde kulabirirwa baana baabwe, bazzukulu baabwe, oba ab’eŋŋanda zaabwe abalala. Oluusi wabaawo ebitongole bya gavumenti oba ebitongole ebirala ebiyamba abantu ng’abo, era ng’ab’eŋŋanda zaabwe oba abantu abalala basobola okubayambako okufuna obuyambi ng’obwo. Naye ate mu mbeera ezimu, kiba kyetaagisa ekibiina okuyamba ab’oluganda abali mu bwetaavu abaludde nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ab’oluganda ng’abo bwe baba nga tebalina ba ŋŋanda zaabwe abasobola okubayamba, ate nga tebafuna buyambi bumala kuva mu gavumenti, akakiiko k’abakadde kayinza okukola enteekateeka ekibiina kibayambe. Abakristaayo bagitwala nga nkizo okuyamba abali mu bwetaavu.
15 Ab’oluganda abamu bali mu bwetaavu olw’okuyigganyizibwa, entalo, musisi, amataba, enjala, oba olw’embeera endala eziriwo mu nnaku zino ez’enkomerero. (Mat. 24:7-9) Ab’oluganda abali mu bibiina ebiri mu kitundu ekirimu ebizibu ng’ebyo bayinza okuba nga tebasobola kuyambagana. N’olw’ensonga eyo, Akakiiko Akafuzi kakola enteekateeka ne bafuna obuyambi okuva eri ab’oluganda abali mu bitundu ebirala. Ekyo kifaananako n’ekyo ekyaliwo mu kyasa ekyasooka, ab’oluganda ab’omu Asiya Omutono bwe baawa baganda baabwe ab’omu Buyudaaya emmere mu kiseera eky’enjala. (1 Kol. 16:1-4; 2 Kol. 9:1-5) Bwe tubakoppa, tuba tukiraga nti twagala baganda baffe era nti tuli bayigirizwa ba Yesu Kristo ab’amazima.—Yok. 13:35.
EBITABO
16 Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola biyamba nnyo mu kubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Emirundi egisinga akakiiko k’abakadde kalonda omuweereza okukola ku bitabo. Ab’oluganda abakola ku bitabo obuvunaanyizibwa obwo babutwala nga bukulu nnyo. Bafaayo nnyo okumanya omuwendo gw’ebitabo ebiri mu kibiina, ne kibasobozese okulagiriza ebitabo ekibiina bye kyetaaga.
17 Abakristaayo abeewaddeyo eri Yakuwa, tukimanyi nti ebiseera byaffe, amagezi gaffe, obusobozi bwaffe, ebitone byaffe, n’eby’obugagga byaffe byonna awamu n’obulamu bwaffe birabo okuva eri Yakuwa ebirina okukozesebwa mu kumuweereza. (Luk. 17:10; 1 Kol. 4:7) Bwe tukozesa eby’omuwendo byonna bye tulina mu ngeri eyo, kiba kiraga nti twagala nnyo Yakuwa, era Yakuwa asiima nnyo kyonna kye tuwaayo okulaga nti tumwemaliddeko. (Nge. 3:9; Mak. 14:3-9; Luk. 21:1-4; Bak. 3:23, 24) Yesu yagamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Mat. 10:8) Bwe tukozesa obulamu bwaffe n’ebintu bye tulina okuweereza Yakuwa, tufuna essanyu lingi.—Bik. 20:35.