LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • od sul. 7 lup. 59-70
  • Enkuŋŋaana ‘Ezitukubiriza Okwagalana n’Okukola Ebirungi’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enkuŋŋaana ‘Ezitukubiriza Okwagalana n’Okukola Ebirungi’
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • ENKUŊŊAANA Z’EKIBIINA
  • OLUKUŊŊAANA OLUBAAWO KU WIIKENDI
  • OLUKUŊŊAANA OLUBAAWO WAKATI MU WIIKI
  • ENKUŊŊAANA Z’OKUGENDA OKUBUULIRA
  • ENTEEKATEEKA Z’ENKUŊŊAANA EZ’EBIBIINA EBIPYA OBA EBIRIMU ABABUULIZI ABATONO
  • ENKUŊŊAANA ENNENE EZ’OLUNAKU OLUMU
  • ENKUŊŊAANA ENNENE EZ’ENNAKU ESSATU
  • EKY’EKIRO KYA MUKAMA WAFFE
  • Oyanirizibwa n’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Ganyulwa mu Nkuŋŋaana z’Okugenda mu Nnimiro
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Olina ky’Okola Okulaba Nti Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo Zizimba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Laba Ebirara
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 7 lup. 59-70

ESSUULA 7

Enkuŋŋaana ‘Ezitukubiriza Okwagalana n’Okukola Ebirungi’

OKUMALA ebyasa bingi, abantu ba Yakuwa babaddenga bakuŋŋaana wamu mu ngeri entegeke obulungi. Mu Isirayiri, abasajja bonna baagendanga e Yerusaalemi ku mbaga enkulu essatu. (Ma. 16:16) Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo baakuŋŋaananga wamu, ng’emirundi egisinga obungi bakuŋŋaanira mu maka ga Bakristaayo bannaabwe. (Fir. 1, 2) Naffe leero tuba n’enkuŋŋaana ennene n’entono. Lwaki abaweereza ba Katonda bakuŋŋaana wamu? Ensonga enkulu eri nti okukuŋŋaana awamu kikulu nnyo mu kusinza okw’amazima.​—Zab. 95:6; Bak. 3:16.

2 Ate era enkuŋŋaana ziganyula abo abazibeeramu. Yakuwa yagamba bw’ati Abayisirayiri ku bikwata ku mbaga ey’ensiisira: “Okuŋŋaanyanga abantu, abasajja n’abakazi n’abaana n’omugwira ali mu bibuga byo, bawulirize era bayige ebikwata ku Yakuwa Katonda wammwe era bamutye era bafube okukwatanga ebigambo byonna eby’Amateeka gano.” (Ma. 31:12) N’olwekyo, ensonga endala enkulu etuleetera okukuŋŋaana awamu kwe ‘kuyigirizibwa Yakuwa.’ (Is. 54:13) Ate era enkuŋŋaana zituwa akakisa okumanyagana, okuzziŋŋanamu amaanyi, n’okunywezebwa mu by’omwoyo.

ENKUŊŊAANA Z’EKIBIINA

3 Abayigirizwa abaali bakuŋŋaanye awamu oluvannyuma lwa Pentekooti 33 E.E., bassaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baabayigiriza, era “buli lunaku baakuŋŋaaniranga mu yeekaalu nga bonna bassa kimu.” (Bik. 2:42, 46) Oluvannyuma lw’ekiseera, Abakristaayo bwe baakuŋŋaananga awamu okusinza, baasomanga Ebyawandiikibwa, nga mw’otwalidde n’amabaluwa agaawandiikibwa abatume n’Abakristaayo abalala. (1 Kol. 1:1, 2; Bak. 4:16; 1 Bas. 1:1; Yak. 1:1) Ate era baasabiranga wamu. (Bik. 4:24-29; 20:36) Ebiseera ebimu, baategeezebwanga engeri omulimu gw’okubuulira gye gwali gutambulamu mu bitundu ebirala. (Bik. 11:5-18; 14:27, 28) Beekenneenyanga enjigiriza za Bayibuli n’engeri obunnabbi gye bwabanga butuukiriziddwamu. Baaweebwanga obulagirizi ku ngeri gye baali basaanidde okweyisaamu era ne ku ngeri gye baali bayinza okwemalira ku Katonda. Ate era, bonna baakubirizibwanga okubuulira n’obunyiikivu.​—Bar. 10:9, 10; 1 Kol. 11:23-26; 15:58; Bef. 5:1-33.

Mu nnaku zino enzibu ennyo ez’enkomerero, twetaaga okukuŋŋaana awamu obutayosa tusobole okuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo

4 Mu kiseera kino, naffe tugoberera enkola y’emu. Tukolera ku bulagirizi obuli mu Abebbulaniya 10:24, 25, awagamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne . . . , nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” Mu nnaku zino enzibu ennyo ez’enkomerero, twetaaga okukuŋŋaana awamu obutayosa tusobole okuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo era n’okusigala nga tuli beesigwa. (Bar. 1:11, 12) Wadde ng’abantu abatwetoolodde beeyisa bubi nnyo, enkuŋŋaana zituyamba okwewala ebikolwa ebyoleka obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi. (Baf. 2:15, 16; Tit. 2:12-14) Mazima ddala, okubeera n’abantu ba Yakuwa kisinga okubeera awantu awalala wonna! (Zab. 84:10) Ate era okwekenneenya Ekigambo kya Katonda n’okukikubaganyaako ebirowoozo kirimu emiganyulo mingi nnyo. Ka twetegereze enkuŋŋaana ez’enjawulo ezituganyula.

OLUKUŊŊAANA OLUBAAWO KU WIIKENDI

5 Ekitundu ekisooka eky’olukuŋŋaana olubaawo ku wiikendi kuba kwogera kwa bonna, okusingira ddala okuba kutegekeddwa okuganyula abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abo ababa bazze omulundi ogusooka. Okwogera kwa bonna kuyamba abapya n’ababuulizi mu kibiina okunywera mu by’omwoyo.​—Bik. 18:4; 19:9, 10.

6 Yesu Kristo, abatume be, n’abayigirizwa be abalala baabanga n’enkuŋŋaana ezifaananako n’ezo abantu ba Yakuwa ze baba nazo leero. Awatali kubuusabuusa, Yesu yali mwogezi mulungi nnyo. Abamu ku bantu abaamuwuliriza ng’ayogera baagamba nti: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” (Yok. 7:46) Yesu yayogeranga ng’omuntu alina obuyinza, era yawuniikirizanga abaamuwulirizanga. (Mat. 7:28, 29) Abo abaakolera ku bye yayigiriza baaganyulwa nnyo. (Mat. 13:16, 17) Abatume baakoppa Yesu. Mu Ebikolwa by’Abatume 2:14-36, tusoma ku ebyo omutume Peetero bye yayogera ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E. Bye yayogera byakwata ku bantu bangi nnyo ne bafuuka bakkiriza. Nga wayiseewo ekiseera, omutume Pawulo yayogera eri abantu mu Asene, era abamu ku baali bamuwuliriza baafuuka bakkiriza.​—Bik. 17:22-34.

7 Ne leero abantu bangi nnyo baganyulwa mu kwogera kwa bonna okubaawo mu bibiina buli wiiki, ne ku nkuŋŋaana ennene. Ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana ezo bituyamba okujjukira enjigiriza z’Ekikristaayo era n’okweyongera okuba abanyiikivu mu mirimu gy’Obwakabaka. Bwe tuyita abantu okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe, kibayamba okuyiga enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako.

8 Ensonga ezoogerwako mu kwogera kwa bonna zikwata ku bintu ebitali bimu. Wabaawo ezikwata ku njigiriza za Bayibuli n’obunnabbi, ku maka n’obufumbo, ku bavubuka, ne ku ngeri Abakristaayo gye basaanidde okweyisaamu. Endala zikwata ku bintu ebyewuunyisa Yakuwa bye yatonda. Ate endala zikwata ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi, obuvumu, n’obwesigwa, era n’engeri gye tuyinza okubakoppamu.

9 Okusobola okuganyulwa mu kwogera kwa bonna, kitwetaagisa okussaayo ennyo omwoyo, okubikkula ebyawandiikibwa omwogezi by’ajuliza, n’okugoberera mu Bayibuli zaffe ng’abisoma era ng’abinnyonnyola. (Luk. 8:18) Bwe tutegeera obulungi omwogezi by’aba annyonnyola, tuba tujja kusobola okubikolerako.​—1 Bas. 5:21.

10 Bwe wabaawo abasobola okuwa emboozi ya bonna, ekibiina kiba n’emboozi ya bonna buli wiiki. Ekibiina kisobola n’okufuna aboogezi okuva mu bibiina ebikiriraanye. Naye bwe kiba nga si kyangu kufuna boogezi, abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina bafuba okulaba nti ekibiina kifuna emboozi ya bonna buli lwe kiba kisoboka.

11 Ekitundu eky’okubiri eky’olukuŋŋaana olubaawo ku wiikendi kuba kusoma Omunaala gw’Omukuumi, era nga kuno kuba kukubaganya birowoozo ku bitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogusomebwa mu kibiina. Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu ng’ayitira mu Omunaala gw’Omukuumi.

12 Emirundi egisinga, ebitundu eby’okusoma ebiba mu Omunaala gw’Omukuumi biba bitulaga engeri gye tuyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli. Bituyamba okwewala ‘omwoyo gw’ensi’ n’ebikolwa ebibi. (1 Kol. 2:12) Ate era mu Omunaala gw’Omukuumi mufulumiramu ebitundu ebituyamba okwongera okutegeera enjigiriza za Bayibuli n’obunnabbi, ne kitusobozesa okutegeera obulungi amazima, n’okusigala nga tutambulira mu kkubo ly’abatuukirivu. (Zab. 97:11; Nge. 4:18) Okubeerawo mu lukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi n’okulwenyigiramu kitusobozesa okweyongera okuba abasanyufu olw’essuubi lye tulina ery’okubeera mu nsi empya. (Bar. 12:12; 2 Peet. 3:13) Okubeerako awamu ne Bakristaayo bannaffe kituyamba okukulaakulanya ekibala eky’omwoyo n’okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. (Bag. 5:22, 23) Tweyongera okunywera mu by’omwoyo ne tusobola okugumira okugezesebwa era ne tuba ‘n’omusingi omulungi’ ogunaatusobozesa ‘okunyweza obulamu obwa nnamaddala.’​—1 Tim. 6:19; 1 Peet. 1:6, 7.

13 Tuyinza tutya okuganyulwa mu lukuŋŋaana olwo mu bujjuvu? Ekitundu ekinaasomebwa tusaanidde okukitegeka nga bukyali. Tuyinza okukitegeka nga tuli ffekka oba okukitegekera awamu ng’amaka. Kiba kirungi ne tukebera ebyawandiikibwa ebijuliziddwa, ate bwe tuba mu nkuŋŋaana ne tuddamu ebibuuzo mu bigambo byaffe. Awo bye tuba tusomye biba bijja kutuuka ku mitima gyaffe. Abalala baganyulwa bwe bawulira bye tuddamu, era naffe tuganyulwa nnyo bwe tuwuliriza n’obwegendereza ng’abalala baddamu.

OLUKUŊŊAANA OLUBAAWO WAKATI MU WIIKI

14 Buli wiiki, ebibiina biba n’olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. Olukuŋŋaana olwo lubaamu ebitundu bisatu ebituyamba okuba ‘n’ebisaanyizo’ byonna ebyetaagisa okuweereza Katonda. (2 Kol. 3:5, 6) Enteekateeka y’olukuŋŋaana olwo ebeera mu katabo akayitibwa Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe akafulumizibwa buli mwezi. Akatabo ako kabaamu ne bye tuyinza okwogera nga tubuulira.

15 Ekitundu ekisooka eky’olukuŋŋaana olwo ekiyitibwa Ekigambo kya Katonda kya Bugagga, kituyamba okutegeera obulungi ebintu eby’enjawulo ebyogerwako mu Bayibuli, awamu n’engeri gye tuyinza okubikolerako. Ekitundu kino kibaamu emboozi, okusoma ekitundu mu Bayibuli, era n’okukubaganya ebirowoozo ku ssuula eziba zisomeddwa mu Bayibuli wiiki eyo. Akatabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kabaamu ebifaananyi n’ebibuuzo ebituyamba okutegeera obulungi bye tuba tusomye mu Bayibuli. Okwekenneenya Bayibuli mu ngeri eyo kituganyula mu bulamu bwaffe ne mu buweereza, ne kitusobozesa ‘okuba n’obusobozi, era n’okuba ne byonna bye twetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.’​—2 Tim. 3:16, 17.

16 Ekitundu eky’okubiri eky’olukuŋŋaana olwo ekiyitibwa Buulira n’Obunyiikivu, kiwa buli omu akakisa okwegezaamu okubuulira era kituyamba okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu ne gye tuyigirizaamu. Ng’oggyeeko ebyokulabirako abayizi bye balaga, ekitundu kino kibaamu ne vidiyo eziraga engeri y’okubuuliramu. Ekitundu kino kituyamba okuba ‘n’olulimi lw’abo abaayigirizibwa, ne tuba nga tusobola okumanya bwe tuyinza okuddamu oyo akooye nga tukozesa ebigambo ebituufu.’​—Is. 50:4.

17 Ekitundu eky’okusatu ekiyitibwa Obulamu bw’Ekikristaayo, kikwata ku ngeri gye tuyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwaffe. (Zab. 119:105) Ekimu ku bintu ebiba mu kitundu kino eky’olukuŋŋaana, kwe Kuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. Okufaananako olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi, Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina kubaamu okukubaganya ebirowoozo.

18 Buli mwezi akatabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe bwe kaba kaakatuuka mu kibiina, akwanaganya akakiiko k’abakadde, oba omukadde omulala amuyambako, yeekenneenya ebikalimu era n’alonda abanaakubiriza ebitundu eby’enjawulo. Buli wiiki omukadde ayigiriza obulungi aba yalondebwa akakiiko k’abakadde, akola nga ssentebe w’olukuŋŋaana. Obuvunaanyizibwa bwa ssentebe buzingiramu okukakasa nti olukuŋŋaana lutandika era ne luggwera mu budde, awamu n’okwebaza era n’okuwabula abayizi.

19 Bwe tufuba okwetegekera Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo, ne tulubeeramu, era ne tulwenyigiramu, tweyongera okutegeera Ebyawandiikibwa n’emisingi gya Bayibuli, era tufuna obuvumu n’obumanyirivu ebituyamba mu buweereza. Abo ababeerawo mu nkuŋŋaana nga si Bajulirwa ba Yakuwa nabo baganyulwa mu kubeerako awamu n’ab’oluganda, ne mu ebyo ebikubaganyizibwako ebirowoozo. Bwe tuba twetegekera olukuŋŋaana luno n’enkuŋŋaana endala, tuyinza okukozesa Watchtower Library, JW Library®, LAYIBULALE ERI KU MUKUTU GWAFFE™, n’etterekero ly’ebitabo eriri mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Etterekero eryo libaamu ebitabo byaffe eby’enjawulo, gamba nga, Watch Tower Publications Index, Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, ne concordance. Ate era libaamu enkuluze, enkyusa za Bayibuli ez’enjawulo, n’ebitabo ebirala ebiyamba mu kunoonyereza. Omuntu yenna asobola okukozesa etterekero eryo ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde.

ENKUŊŊAANA Z’OKUGENDA OKUBUULIRA

20 Ababuulizi baba n’enkuŋŋaana ez’okugenda okubuulira mu biseera eby’enjawulo wakati mu wiiki ne ku wiikendi. Enkuŋŋaana zino zitera kubeera mu maka ga ba luganda oba mu bifo ebirala ebisaana. Enkuŋŋaana zino zisobola n’okubeera ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Ekibiina bwe kiba n’ebibinja by’obuweereza mu bifo eby’enjawulo, ababuulizi kibanguyira okugenda mu lukuŋŋaana lw’okubuulira. Kiba kyangu okugabanyaamu ababuulizi ne batuuka mangu mu kitundu gye banaabuulira. Ate n’omulabirizi w’ekibinja kimwanguyira okuyamba ababuulizi abali mu kibinja kye. Wadde nga kya muganyulo ebibinja eby’enjawulo okukuŋŋaanira mu bifo eby’enjawulo, oluusi kiyinza okwetaagisa ebibinja ebiwerako okukuŋŋaanira awamu. Ng’ekyokulabirako, bwe wabaawo ababuulizi batono ababuulira wakati mu wiiki, kiyinza okuba eky’omuganyulo okugatta ebibinja ebimu oba okugamba ababuulizi bonna okukuŋŋaanira ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba awalala wonna awasaana. Ekyo kisobozesa ababuulizi okufuna be babuulira nabo. Ate era mu biseera eby’ennaku enkulu, ababuulizi basobola okukuŋŋaanira ku Kizimbe ky’Obwakabaka ne bagenda okubuulira. Ekibiina kiyinza n’okusalawo okubeeranga n’olukuŋŋaana olw’awamu olw’okugenda okubuulira oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi.

21 Omulabirizi w’ekibinja y’akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Oluusi n’oluusi, ayinza okusaba ow’oluganda amuyambako, oba ow’oluganda omulala alina ebisaanyizo, okukubiriza olukuŋŋaana olwo. Akubiriza asaanidde okuyamba ababuulizi okumanya ennyanjula etuukirawo gye bayinza okukozesa. Ababuulizi bwe bamala okutegeezebwa be banaabuulira nabo era ne gye banaabuulira, olukuŋŋaana lufundikirwa n’okusaba. Ebyo nga biwedde, amangu ddala ababuulizi bagenda mu kitundu kye bagenda okubuuliramu. Enkuŋŋaana ng’ezo zitwala wakati w’eddakiika ttaano ne musanvu, naye tezisaanidde na kuweza ddakiika ezo singa zibaawo ng’olukuŋŋaana lw’ekibiina lwakaggwa. Ebyogerwako birina okuba nga bizzaamu amaanyi era nga biyamba ababuulizi okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe. Ababuulizi abapya oba ababuulizi abayinza okuba nga beetaaga okutendekebwa, basobola okubuulira n’ababuulizi abalina obumanyirivu.

ENTEEKATEEKA Z’ENKUŊŊAANA EZ’EBIBIINA EBIPYA OBA EBIRIMU ABABUULIZI ABATONO

22 Abayigirizwa bwe bagenda beeyongera obungi, n’ebibiina nabyo byeyongera obungi. Omulabirizi w’ekitundu y’atera okuwandiikira ofiisi y’ettabi ebbaluwa esaba okutandikawo ekibiina ekipya. Kyokka oluusi ekibinja bwe kiba n’ababuulizi abatono, kiyinza okweyongera okulabirirwa ekibiina ekikiri okumpi.

23 Oluusi ebibiina ebimu bibaamu bannyinaffe bokka. Bwe kiba bwe kityo, mwannyinaffe aba agenda okukulembera ekibiina mu kusaba oba okukubiriza enkuŋŋaana asiba ekitambaala ku mutwe ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba. (1 Kol. 11:3-16) Ebiseera ebisinga aba atudde, ng’atunudde eri abawuliriza. Bannyinaffe teboogera butereevu eri ekibiina, wabula basoma busomi ebyo ebiba bituweereddwa ekibiina ne babyogerako, oba bayinza okubikubaganyaako ebirowoozo n’abalala, oba okulaga ekyokulabirako. Ofiisi y’ettabi eronda omu ku bannyinaffe abali mu kibiina ekyo okukubirizanga enkuŋŋaana n’okukola ku mabaluwa agava oba agagenda ku ofiisi y’ettabi. Oluvannyuma lw’ekiseera bwe wabaawo abasajja ababatize abatuukiriza ebisaanyizo, baweebwa obuvunaanyizibwa obwo.

ENKUŊŊAANA ENNENE EZ’OLUNAKU OLUMU

24 Buli mwaka, ebibiina ebiri mu kitundu kye kimu (circuit), biba n’enkuŋŋaana ennene bbiri ez’olunaku olumu. Enkuŋŋaana ezo zituleetera essanyu era zitusobozesa okulaga baganda baffe okwagala era ‘n’okugaziwa mu mitima gyaffe’. (2 Kol. 6:11-13) Okusinziira ku bwetaavu obubaawo, ekibiina kya Yakuwa kitegeka emboozi ezeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, ssaako n’ebitundu ebirala ebiba mu nkuŋŋaana ezo, gamba ng’ebyokulabirako, okwewuunaganya, n’okubuuza ebibuuzo. Abo bonna ababaawo mu nkuŋŋaana ezo baganyulwa nnyo. Mu nkuŋŋaana ezo abayigirizwa abapya babatizibwa okusobola okukiraga nti beewaayo eri Yakuwa.

ENKUŊŊAANA ENNENE EZ’ENNAKU ESSATU

25 Omulundi gumu buli mwaka, wabaawo olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu, era nga luno lubaamu ebibiina okuva mu bitundu ebiwerako. Ofiisi z’Amatabi ezirina ebibiina ebitono mu kitundu kye zirabirira ziyinza okusalawo ebibiina ebyo byonna bikuŋŋaanire mu kifo kimu. Mu nsi ezimu, enteekateeka z’enkuŋŋaana zino ziyinza okukyukamuko okusinziira ku mbeera ebaayo oba okusinziira ku bulagirizi okuva ku kitebe ekikulu. Buli luvannyuma lwa kiseera, mu nsi ezimu ebaayo enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna oba enkuŋŋaana ennene ez’enjawulo, era zitera okubaamu Abajulirwa ba Yakuwa bangi nnyo okuva mu nsi ez’enjawulo. Abantu bangi bategedde ebikwata ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka olwa kaweefube akolebwa okuyita abantu ku nkuŋŋaana zino.

26 Eri abantu ba Yakuwa, enkuŋŋaana ennene kiba kiseera kya ssanyu era kya kusinziza wamu. Mu nkuŋŋaana ezo, tufuna ekitangaala eky’eby’omwoyo ekigenda kyeyongerayongera. Ku nkuŋŋaana ennene ezimu, ebitabo ebipya bifulumizibwa. Ebimu biba bya kukozesa nga twesomesa kinnoomu, ebirala biba bya kukozesebwa mu kibiina, ate ebirala biba bya kukozesebwa mu kubuulira. Ate era ku nkuŋŋaana ezo ennene wabaawo n’okubatiza. Enkuŋŋaana ezo zituyamba nnyo okukula mu by’omwoyo, era ku nkuŋŋaana ezo abantu abalala basobola okukiraba nti abantu ba Yakuwa okuva mu mawanga ag’enjawulo baagalana nnyo ng’ab’oluganda, era ng’ako ke kabonero akaawulawo abayigirizwa ba Yesu Kristo ab’amazima.​—Yok. 13:35.

27 Bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene, kituyamba okweyongera okukola Yakuwa by’ayagala. Ate era kituyamba obutatwalirizibwa bintu bya mu nsi eno ebisobola okunafuya okukkiriza kwaffe. Enkuŋŋaana ezo zonna ziweesa Yakuwa ekitiibwa n’ettendo. (Zab. 35:18; Nge. 14:28) Tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’okututeerawo enkuŋŋaana ng’ezo ezituzzaamu amaanyi mu by’omwoyo mu nnaku zino ez’enkomerero.

EKY’EKIRO KYA MUKAMA WAFFE

28 Omulundi gumu buli mwaka, ku lunaku Yesu Kristo lwe yafiirako, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bakwata omukolo ogw’okujjukira okufa kwe oguyitibwa eky’Ekiro kya Mukama Waffe. (1 Kol. 11:20, 23, 24) Eri abantu ba Yakuwa, olwo lwe lukuŋŋaana olusinga obukulu mu mwaka, kubanga Yesu yatulagira okujjukiranga okufa kwe.​—Luk. 22:19.

29 Omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Kristo gubaawo ku lunaku lwe lumu Okuyitako okwogerako mu Bayibuli lwe kwabeererangawo. (Kuv. 12:2, 6; Mat. 26:17, 20, 26) Omulundi gumu buli mwaka, Abayisirayiri baakuzanga olunaku olwo okujjukira olunaku lwe baava e Misiri mu mwaka gwa 1513 E.E.T. Bwe baali banaatera okuva e Misiri, Yakuwa yabagamba nti olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogusooka lwe baali bagenda okuliirako endiga ey’Okuyitako n’okuva mu buddu e Misiri. (Kuv. 12:1-51) Olunaku olwo lubaawo nga wayise ennaku 13 okuva ku lunaku omwezi lwe gusooka okuboneka mu Yerusaalemi oluvannyuma lwa equinox esooka.a Olunaku lw’Ekijjukizo lutera kubaawo ku lunaku omwezi lwe gusooka okuba ogw’eggabogabo oluvannyuma lwa equinox esooka.

30 Matayo 26:26-28 watulaga obulagirizi Yesu bwe yawa ku ngeri y’okukwatamu omukolo ogw’okujjukira okufa kwe. Omugaati n’envinnyo ebiyisibwa ku mukolo ogwo tebifuuka mubiri na musaayi gwa Yesu Kristo, wabula bikiikirira omubiri gwe n’omusaayi gwe. Abo bokka abagenda okufugira awamu ne Yesu Kristo mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu be balya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo. (Luk. 22:28-30) Abakristaayo abalala awamu n’abantu abaagala amazima nabo bakubirizibwa okubaawo ku mukolo ogwo. Bwe babaawo, baba bakiraga nti basiima ekyo Yakuwa kye yakolera abantu bonna okuyitira mu Yesu Kristo. Ng’omukolo ogwo gunaatera okutuuka, emboozi ey’enjawulo eweebwa era emboozi eyo etegekebwa okuleetera abantu okwesunga omukolo ogwo n’okubaagazisa okuyiga Bayibuli.

31 Abajulirwa ba Yakuwa twesunga nnyo enkuŋŋaana, kubanga mu nkuŋŋaana ezo ‘tulowooza ku bannaffe, okubakubiriza okwagala n’okukola ebirungi.’ (Beb. 10:24) Omuddu omwesigwa afuba okututegekera enkuŋŋaana asobole okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo. Abaweereza ba Yakuwa bonna awamu n’abo abasiima obubaka bwaffe bakubirizibwa okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Bwe tukyoleka nti tusiima ebyo Yakuwa by’atukolera okuyitira mu kibiina kye, tweyongera okuba obumu. N’ekisinga obukulu, tuweesa Yakuwa ekitiibwa n’ettendo.​—Zab. 111:1.

a Waliwo ennaku bbiri mu mwaka essaawa ez’ekiro n’ez’emisana lwe ziba nga kumpi zenkanankana mu nsi yonna. Ekyo kiyitibwa equinox. Equinox esooka ebaawo mu Maaki, ate ey’okubiri ebaawo mu Ssebutemba.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza