LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • sn oluyimba 110
  • Ebikolwa bya Katonda eby’Ekitalo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebikolwa bya Katonda eby’Ekitalo
  • Muyimbire Yakuwa
  • Laba Ebirala
  • “Ebikolwa bya Katonda eby’Ekitalo”
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Twakolebwa mu Ngeri ey’Ekitalo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • ‘Twakolebwa mu Ngeri ya Kyewuunyo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Baani Abalizuukizibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
Laba Ebirara
Muyimbire Yakuwa
sn oluyimba 110

Oluyimba 110

Ebikolwa bya Katonda eby’Ekitalo

Mu Kyapa

(Zabbuli 139)

1. Katonda wange ommanyi nze,

Bwe nneebaka ne bwe ngolokoka.

Okebera ebirowoozo byange,

Enjogera yange

n’amakubo gange.

Wandaba bwe nnali ntondebwa;

Amagumba gange wagalaba.

Wandaba nga sinnaba kuzaalibwa.

Ntendereza ’maanyi go

n’obuyinza bwo.

Okumanya kwo nga kwa kitalo nnyo!

Ekyo nze nkimanyi bulungi nnyo.

Ne bwe mba mbuutikiddwa enzikiza,

Omwoyo gwo guba guntuukako.

Wa gye nnyinza okukwekweka,

Ne mba nga sirabibwa ’maaso go?

Waggulu oba wansi Emagombe,

Tewali kifo gye nnyinza kukwekweka.

(Era laba Zab. 66:3; 94:19; Yer. 17:10.)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza