Okusaba kw’Omuweereza wa Katonda
Mu Kyapa
1. Yakuwa Katonda Kitaffe,
Erinnya lyo litenderezebwe.
Ekisa kyo kya lubeerera,
Kikakafu kya nnamaddala.
Kikakafu nnyo ddala,
Era kya lubeerera.
2. Tuyambe twagal’a mazima.
Tubituukirize by’oyagala.
Twagala nnyo amateeka go,
Era tunoonya endiga zo.
Tunoonya endiga zo,
Twagala ’mateeka go.
3. Tusiima nnyo amagezi go.
Gatuwe wamu n’okwagala kwo.
Twagalenga abantu bonna,
Tuyambe bonna ’kukumanya.
Tuyambe ’bantu bonna,
Twoleke okwagala.
(Era laba Zab. 143:10; Yok. 21:15-17; Yak. 1:5.)