Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Katonda
Ekitundu ekyasoose kyalaze nti abantu bangi Bayibuli bagitwala nti kitabo kitukuvu. Bakirabye nti bwe bagisoma era ne bakolera ku magezi agagirimu kibayamba okwongera okusemberera Katonda n’okuba n’ekigendererwa mu bulamu.
Enkolagana omuntu gy’alina ne Katonda ekwata ku ndowooza ye ne ku ngeri gy’atambuzaamu obulamu. (Yuda 18, 19) Abantu abataagala Katonda kubawa bulagirizi beesigama ku magezi gaabwe, naye abo abaagala Katonda okubawa obulagirizi batwala emitindo gye nga mikulu nnyo.—Abeefeso 5:1.
ESSUUBI
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Bw’oterebuka mu kiseera ekizibu, amaanyi go gajja kuba matono.”—Engero 24:10, obugambo obuli wansi.
KYE KITEGEEZA: Okuterebuka kisobola okutumalamu amaanyi ne tuba nga tetusobola kwaŋŋanga bizibu bye twolekagana nabyo. Ku luuyi olulala, essuubi lisobola okutuyamba okufuna amaanyi ge twetaaga okwaŋŋanga ebizibu. Kituzzaamu amaanyi okukimanya nti ebizibu bye tufuna si bya lubeerera. Mu butuufu, mu buzibu ebyo muyinza okuvaamu ebirungi.
BY’OSOBOLA OKUKOLA: Fuba okuba n’endowooza ennungi ku biseera eby’omu maaso. Mu kifo ky’okudda awo okweraliikirira ebiyinza okubaawo oba okulinda embeera zisooke zitereere, weeteerewo ebiruubirirwa era obeeko ky’okolawo okubituukako. Kyo kituufu nti “ebintu ebitasuubirwa” bisobola okugwaawo. (Omubuulizi 9:11) Naye emirundi mingi ebintu tebiba bibi nga bwe tubadde tusuubira. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti: “Siga ensigo zo ku makya, era towummuza mukono gwo okutuusa akawungeezi, kubanga tomanyi zinaamera, oba zino oba ziri, era obanga zonna zinaamera.”—Omubuulizi 11:6.
EBY’OKUDDAMU MU BIBUUZO EBIKULU MU BULAMU
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mpa okutegeera . . . Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo.”—Zabbuli 119:144, 160.
KYE KITEGEEZA: Bayibuli eddamu ebibuuzo kyenkana buli muntu bye yeebuuza. Ng’ekyokulabirako, eddamu ebibuuzo nga bino:
Twajjawo tutya?
Lwaki weetuli?
Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?
Omuntu bw’afa biba biwedde?
Okwekenneenya engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo n’ebirala kiyambye abantu bangi okuba n’obulamu obulungi.
BY’OSOBOLA OKUKOLA: Weekenneenye ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akuyambe okuyiga ebiri mu Bayibuli. Soma ebiri ku mukutu gwaffe, jw.org, oba genda mu lumu ku nkuŋŋaana zaffe. Buli muntu ayanirizibwa okujja mu nkuŋŋaana zaffe era teriiyo kusolooza ssente.
AMAGEZI AMALALA OKUVA MU BAYIBULI
Laba vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? ku jw.org. Eri mu nnimi ezisukka mu 880
MANYA OBWETAAVU BWO OBW’EBY’OMWOYO.
“Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”—MATAYO 5:3.
YIGA EBISINGAWO EBIKWATA KU KATONDA EYAWANDIISA BAYIBULI.
‘Noonya Katonda omuzuule, kubanga tali wala wa buli omu ku ffe.’—EBIKOLWA 17:27.
SOMA BAYIBULI ERA OFUMIITIRIZE KU BY’OSOMA.
“Amateeka ga Yakuwaa ge gamusanyusa, era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro. . . . Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”—ZABBULI 1:2, 3.
a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.