EKY’OKUYIGA 5
Okufuna Obulagirizi Okuva Mu Bantu Abakulu
OKUWEEBWA OBULAGIRIZI OKUVA MU BANTU ABAKULU KIZINGIRAMU KI?
Abaana beetaaga abantu abakulu okubawa obulagirizi. Omuzadde, buvunaanyizibwa bwo okuwa abaana bo obulagirizi. Kyokka n’abantu abalala abakulu basobola okukuyambako mu kuwa abaana bo obulagirizi.
LWAKI KIKULU OKUFUNA OBULAGIRIZI OKUVA MU BANTU ABAKULU?
Mu nsi nnyingi, abaana bafuna ebiseera bitono nnyo bye babeerako n’abantu abakulu. Lowooza ku kino:
Ebiseera ebisinga obungi abaana babimala ku ssomero ate nga ku ssomero omuwendo gw’abaana munene nnyo ku gw’abasomesa n’abantu abalala abakulu.
Abaana abamu bwe bakomawo awaka nga bavudde ku ssomero, tebasangawo bazadde baabwe olw’okuba baba bakyali ku mirimu.
Okunoonyereza okumu mu Amerika kwalaga nti abaana abali wakati w’emyaka 8 ne 12, bamala essaawa nga mukaaga buli lunaku nga bali ku masimu, ku kompyuta, oba ku ttivi.a
Ekitabo Hold On to Your Kids kigamba nti: “Leero abaana bangi obulagirizi tebabunoonya kuva eri bazadde baabwe, basomesa baabwe, oba abantu abalala abakulu. Babunoonya . . . kuva mu bannaabwe.”
ENGERI GY’OYINZA OKUWA ABAANA BO OBULAGIRIZI
Funanga ebiseera okubeerako n’abaana bo.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”—Engero 22:6.
Okutwalira awamu abaana batera okwagala bazadde baabwe okubawa obulagirizi. Mu butuufu, abakugu bagamba nti abaana ne bwe bayingira emyaka egy’obutiini, baba baagala bazadde baabwe okubawa obulagirizi okusinga bannaabwe bwe benkana emyaka. Mu kitabo You and Your Adolescent, Laurence Steinberg omukugu mu mbeera z’abantu, yagamba nti: “Okusingira ddala abazadde balina kinene kye bakola ku ndowooza n’enneeyisa y’abaana baabwe mu myaka gya kaabuvubuka ne mu myaka egiddirira nga baakayita mu kaabuvubuka. Abatiini baba baagala okumanya ggwe omuzadde ky’olowooza ne ky’ogamba, ne bwe baba nga tebakkiriziganya na buli kimu ky’ogamba.”
Okuva bwe kiri nti omwana wo aba ayagala okuwulira ky’ogamba, kozesa akakisa ako okumuwa obulagirizi. Funangayo ebiseera okubeerako awamu n’abaana bo obabuulire by’olowooza, by’otwala ng’ebikulu mu bulamu, ne by’oyize mu bulamu.
Bafunireyo anaabayamba.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi.”—Engero 13:20.
Waliwo omuntu omukulu gw’omanyi asobola okukuyambako okuwa omwana wo avubuse obulagirizi obulungi? Oyinza okukola enteekateeka omuntu oyo n’abeerangako n’omwana wo. Kyokka ekyo tekitegeeza kweggyako buvunaanyizibwa bwo ng’omuzadde. Omuntu omukulu gwe weesiga era gw’omanyi nti taayonoone mwana wo naye asobola okukuyambako mu kutendeka omwana wo. Bayibuli eraga nti Timoseewo yaganyulwa nnyo mu kubeerako awamu n’omutume Pawulo era ne Pawulo yaganyulwa nnyo mu ekyo.—Abafiripi 2:20, 22.
Leero ab’omu maka bangi tebakyabeera wamu oba mu kitundu kye kimu. Bwe kityo, bajjajja, bakojja, bassenga, n’ab’eŋŋanda abalala bayinza okuba nga babeera mu bitundu birala eby’ensi. Bwe kiba nti embeera yo bw’etyo bw’eri, fuba okulaba nti abaana bo bayigira ku bantu abalala abakulu abalina empisa z’oyagala okulaba mu baana bo.
a Okunoonyereza okwo era kwalaga nti okutwalira awamu, abatiini bamala essaawa nga mwenda ku masimu, ku kompyuta, oba ku ttivi. Essaawa ezo tezizingiramu ezo abaana n’abatiini ze bamala ku bintu ebyo nga bali ku ssomero oba nga bakola ebyo ebibaweereddwa ku ssomero.