LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • g16 Na. 6 lup. 4-6
  • Weekuume Endwadde

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weekuume Endwadde
  • Zuukuka!—2016
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • AMAZZI
  • 2 EMMERE
  • 3 EBIWUKA
  • 4 EBISOLO
  • 5 ABANTU
  • Ennyanjula
    Zuukuka!—2016
  • Engeri gy’Oyinza Okwewalamu—Endwadde
    Zuukuka!—2016
  • 1 Kuuma Obulamu Bwo
    Zuukuka!—2022
  • Lwaki Abantu Tebakyassa Kitiibwa mu Bulamu?
    Zuukuka!—2024
Zuukuka!—2016
g16 Na. 6 lup. 4-6

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENGERI GY’OYINZA OKWEWALAMU ENDWADDE

Weekuume Endwadde

EBIBUGA bingi eby’edda byaliko bbugwe. Singa omulabe yakubanga ekituli mu bbugwe oyo, ne bwe kyabanga kitono kitya, kyateekanga obulamu bw’abantu abaabanga mu kibuga ekyo mu kabi. Omubiri gwo gulinga ekibuga ekiriko bbugwe. Okusobola okuba omulamu obulungi kisinziira ku ngeri gye weekuumamu endwadde. Lowooza ku bintu bitaano ebitera okusaasaaniramu endwadde, era n’engeri gy’osobola okuzeekuumamu.

Omukazi ne muwala we nga bayita mu katale

AMAZZI

OBULABE: Obuwuka obw’obulabe busobola okuyingira mu mubiri gwo okuyitira mu mazzi amakyafu.

KY’OYINZA OKUKOLA: Ekintu ekisooka ky’oyinza okukola kwe kukuuma amazzi ge mukozesa nga mayonjo. Bw’okimanya nti amazzi galimu obuwuka obw’obulabe oba bw’ogateebereza okubaamu obuwuka obwo, osobola okubaako ky’okolawo okugalongoosa.a Amazzi ag’okunywa gasaanikire bulungi, era bw’oba ogasenako kozesa ekintu ekiyonjo oba gateeke mu kintu ekiriko ttaapu gye musobola okukozesa nga mugasenako. Weewale okuteeka engalo zo mu mazzi ag’okunywa. Bwe kiba kisoboka, beera mu kitundu abantu gye bafaayo okulaba nti obubi tebugenda mu nzizi.

2 EMMERE

OBULABE: Obuwuka obw’obulabe buyinza okuba mu mmere oba ku mmere.

KY’OYINZA OKUKOLA: Emmere erimu oba eriko obuwuka obw’obulabe eyinza okulabika obulungi era ng’ewooma. N’olwekyo, fuba okwozanga ebibala nga tonnabirya. Bw’oba oteekateeka emmere oba ng’ogigabula, kakasa nti engalo zo, ebintu by’oteekamu emmere, n’effumbiro mw’ofumbira, biyonjo. Eby’okulya ebimu biba byetaaga okufumbibwa ennyo okusobola okutta obuwuka obw’obulabe obubibaamu. Weegendereze emmere eba ekyusizza endabika, ewunya obubi, oba ewulikika obulala mu kamwa, kubanga ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti erimu obuwuka obuleeta endwadde. Bwe kiba kisoboka, emmere eba efisseewo giteeke mangu mu firiiji. Weewale okuteekerateekera abalala emmere ng’oli mulwadde.b

3 EBIWUKA

OBULABE: Ebiwuka ebimu bwe bikuluma bisobola okukuteekamu obuwuka obw’obulabe obubibeeramu.

KY’OYINZA OKUKOLA: Osobola okwewala ebiwuka ebiyinza okukulwaza nga weewala okufuluma wabweru mu kiseera we bibeerera ebingi, oba ng’oyambala engoye ezikubikka, gamba ng’essaati oba bbulawuzi eyeemikono emiwanvu oba empale empanvu. Weebake mu katimba k’ensiri, oba weesiige eddagala erigoba ebiwuka. Kakasa nti tewali bikebe oba bintu birala mazzi mwe gasobola kulegama, ne kiviirako ensiri okwaluliramu.c

4 EBISOLO

OBULABE: Obuwuka obumu busobola okubeera mu bisolo, ne bwe biba bya waka, ne bitafuna buzibu bwonna, naye ate nga bwe bukuyingiramu bukulwaza. Buyinza okukuyingiramu ng’olumiddwa ekisolo oba nga kikukwagudde, oba ng’olinye mu bubi bwakyo.

KY’OYINZA OKUKOLA: Okusobola okwekuuma endwadde, abantu abamu basalawo okwewala okuyingiza ebisolo mu nnyumba mwe basula. Nnaaba mu ngalo oluvannyuma lw’okukwata ku nsolo yonna, era weewale ensolo z’omu nsiko. Ensolo bw’ekuluma oba bw’ekukwagula, ekiwundu kyoze bulungi era ogende mu ddwaliro.d

5 ABANTU

OBULABE: Obuwuka obuleeta endwadde busobola okukuyingira nga buyitira mu mpewo oluvannyuma lw’omuntu akuli okumpi okukolola oba okwasimula. Era busobola okukuyingira nga weekoonye ku muntu omulwadde, ng’omugudde mu kifuba, oba ng’omukutte mu ngalo. Obuwuka obwo busobola okuba ku bintu gamba ng’eminyolo, abantu we bakwata nga bayita ku madaala, ku ssimu, ku limooti, oba ku mapeesa ga kompyuta.

KY’OYINZA OKUKOLA: Tokozesa na balala bintu gamba ng’eggirita, akasenya, oba tawulo. Weewale okukwata ku musaayi gw’abalala oba entuuyo z’abalala. Fuba okunaabanga mu ngalo. Eno y’emu ku ngeri esingayo obulungi ey’okwewalamu endwadde.

Bw’oba omulwadde, bwe kiba kisoboka, sigala awaka. Ekitongole ky’eby’obulamu mu Amerika kyagamba nti bw’oba olina ekifuba oba ssenyiga, kololera oba yasimulira mu katambaala, so si mu ngalo.

Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Kikulu nnyo okukolera ku magezi ago nnaddala mu kiseera kino nga waliwo endwadde nnyingi mu nsi! Osobola okumanya ebisingawo ebikwata ku kwewala endwadde nga weebuuza ku basawo, era osobola okwewala endwadde ng’ofuba okuba omuyonjo. Ba mumalirivu okubaako ky’okolawo okwewala endwadde!

a Ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna kyayogera ku bintu abantu bye basobola okukola okuggya oba okutta obuwuka obw’obulabe obuba mu mazzi. Muno mwe muli, okugateekamu eddagala eriyitibwa chlorine, okugateeka mu kasana, okugasengejja, n’okugafumba.

b Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba Awake! eya Jjuuni 2012 olupapula 3-9.

c Okumanya ebikwata ku ngeri y’okwewalamu omusujja, laba Awake! eya Jjulaayi 2015 olupapula 14-15.

d Ekintu kyonna eky’obusagwa bwe kikuluma, yanguwa okugenda mu ddwaliro.

Ebisobola Okukuyamba nga Wabaluseewo Obulwadde Obusaasaana Amangu

Omukazi ng’anaaba mu ngalo

Mu 2014, obulwadde bwa Ebola bwabalukawo mu nsi za Afirika ow’ebugwanjuba era ne butta abantu bangi mu kiseera kitono. Ofiisi z’ettabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi ezo zaasitukiramu ne zikola enteekateeka okuyamba abantu okumanya engeri y’okwekuumamu obulwadde obwo. Abajulirwa ba Yakuwa abaalondebwa okukwanaganya enteekateeka ezo baddamu ebibuuzo bino:

  • Nga basomesa abantu

    Abantu mwabayamba mutya okukimanya nti obulwadde bwa Ebola bwa mutawaana?

    Twasomesa abantu ne tubayamba okumanya engeri obulwadde obwo gye busaasaanamu n’ebintu bye balina okwewala.

  • Okunaaba mu ngalo

    Bintu ki ebirala Abajulirwa ba Yakuwa bye baakola?

    Bwe twabanga tukebera abantu, twakozesanga akuuma akapima ebbugumu ly’omubiri gw’omuntu nga tekamukoonyeeko. Abajulirwa ba Yakuwa bonna mu nsi ezo beewala ebintu gamba ng’okukwata abalala mu ngalo oba okubagwa mu kifuba, era baanaabanga mu ngalo enfunda n’enfunda buli lunaku. Okugatta ku ekyo, twateeka mu bifo ebitali bimu amazzi ag’okunaaba mu ngalo nga galimu eddagala eritta obuwuka.

  • Essimu mu nnyumba

    Mwasobola mutya okweyongera okukuŋŋaana n’okubuulira?

    Okuva bwe kiri nti gavumenti yagaana abantu mu bitundu ebimu okubivaamu okugenda mu birala, twasalawo nti enkuŋŋaana zaffe ze tufuna buli wiiki buli omu azifunire mu maka ge. Ate bwe kyatuuka ku mulimu gw’okubuulira abamu baayigirizanga abantu Bayibuli nga bakozesa essimu.

  • Kalenda

    Kiki kye mwakolanga nga waliwo alaze obubonero bw’obulwadde obwo?

    Twategeezanga ab’obuyinza. Omuntu yenna eyabanga abaddeko n’omulwadde wa Ebola, oba eyabanga agenze ku mukolo gw’okuziika omuntu afudde Ebola, oba eyabanga alaze obubonero obufaananako ng’obwa Ebola yeewalanga okubeera mu bantu okumala ennaku 21, ng’ezo ze nnaku ezirina okuyitawo okukakasa obanga ddala omuntu alina obulwadde obwo oba nedda.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza