LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • g16 Na. 5 lup. 8-9
  • Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Kwegatta

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Kwegatta
  • Zuukuka!—2016
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • OKUSOOMOOZA
  • KY’OSAANIDDE OKUMANYA
  • BY’OSAANIDDE OKUKOLA
  • Yogera n’Abaana Bo ku Bikwata ku by’Okwetaba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yigiriza Abaana Bo Empisa Ennungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Abazadde Bayinza Batya Okuyigiriza Abaana Baabwe Ebikwata ku by’Okwegatta?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ddala Okukomberera Ebitundu by’Omulala eby’Ekyama Kuba Kwegatta Naye?
    Abavubuka Babuuza
Laba Ebirara
Zuukuka!—2016
g16 Na. 5 lup. 8-9
Omukazi ayanika engoye ku waya ng’eno bw’ayogera ne muwala we

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Kwegatta

OKUSOOMOOZA

Omulenzi ng’alowooza ku ngeri ezitali zimu z’ayinza okufunamu obubaka—Bayibuli, ebitabo, amasimu, ne kompyuta

Emyaka mitono emabega, abazadde be baateranga okusooka okwogera n’abaana baabwe ebikwata ku by’okwegatta, era ekyo baagendanga bakikola mpolampola okusinziira ku myaka gy’abaana baabwe.

Naye kati ebintu bikyuse. Ekitabo ekiyitibwa The Lolita Effect kigamba nti: “Leero abaana balaba oba bawulira ebintu ebikwata ku kwegatta nga bakyali bato ddala, era programu z’abaana eziba ku mikutu gy’empuliziganya zibaamu ebintu ebikwata ku kwegatta.” Naye ddala ekyo kiyamba abaana oba kibakosa?

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Ebintu ebikwata ku kwegatta biri buli wamu. Mu kitabo kye ekiyitibwa Talk to Me First, Deborah Roffman yagamba nti, “Emboozi abantu ze banyumya, obulango, firimu, ebitabo, ennyimba, programu za ttivi, emizannyo, ebipande ebitimbibwa ku makubo, amasimu, ne kompyuta, bijjuddeko ebintu ebikwata ku kwegatta, era ekyo kireetedde [abaana abato, abavubuka, n’abo abanaatera okuyingira emyaka gy’obuvubuka] okulowooza nti okwegatta kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu.”

Bannabyabusuubuzi balina kinene kye bakoze. Bannabyabusuubuzi batunda obugoye bw’abaana obw’enkunamyo, mu ngeri eyo ne baba nga batendeka abaana okussa ennyo essira ku ndabika yaabwe ey’okungulu okuviira ddala nga bakyali bato. Ekitabo ekiyitibwa So Sexy So Soon kigamba nti: “Abasuubuzi bakimanyi nti abaana baagala nnyo okuba nga bannaabwe, . . . era baagala okuleetera abaana okululunkanira ebintu.”

Okumanya obumanya ebikwata ku kwegatta tekimala. Nga bwe waliwo enjawulo wakati w’okumanya okuvuga emmotoka n’okuba omuvuzi omwegendereza, waliwo enjawulo wakati w’okumanya ebikwata ku kwegatta n’okukozesa okumanya okwo okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

Ensonga enkulu: Weetaaga okuyamba abaana bo okutendeka “obusobozi bwabwe obw’okutegeera” basobole “okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.”​—Abebbulaniya 5:14.

BY’OSAANIDDE OKUKOLA

Kimanye nti buvunaanyizibwa bwo. Wadde nga kiyinza obutakwanguyira kubuulira baana bo ebikwata ku kwegatta, osaanidde okukikola. Obwo buvunaanyizibwa bwo.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 22:6.

Genda ng’obategeezaako ebintu bitonotono. Mu kifo ky’okutuuza omwana wo okumala ekiseera kiwanvu ng’omubuulira ebikwata ku by’okwegatta, osobola okukozesa akadde k’omala naye nga mutambula oba nga mukola emirimu, okubaako by’omutegeeza ku nsonga eyo. Okusobola okuyamba omwana wo okukweyabiza, mubuuze ebibuuzo ebimuleetera okuwa endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okubuuza omwana wo nti, “Onyumirwa okulaba obulango obulimu ebifaananyi ebikubiriza ebikolwa eby’okwegatta?” oyinza okumubuuza nti, “Olowooza lwaki bannabyabusuubuzi bateeka ebifaananyi ng’ebyo mu bulango bwabwe?” Omwana wo bw’amala okukuddamu, osobola okumubuuza nti, “Ekyo okitwala otya?”​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Ekyamateeka 6:6, 7.

Babuulire ebintu okusinziira ku myaka gyabwe. Abaana abakyali abato ennyo oyinza okubayigiriza amannya g’ebitundu eby’ekyama, n’engeri gye bayinza okwekuumamu abantu ababa baagala okubakabassanya. Bwe bagenda bakula, osobola okubabuulira ebisingawo. We batuukira mu myaka egya kaabuvubuka, basaanidde okuba nga bategeera bulungi ebikwata ku kwegatta n’engeri entuufu gye basaanidde okukozesaamu ekirabo ekyo.

Bayigirize empisa ennungi. Okuviira ddala ng’abaana bo bakyali bato, bayigirize ensonga lwaki kikulu okuba abeesigwa n’okuba n’empisa ennungi. Ekiseera bwe kituuka okubabuulira ebikwata ku by’okwegatta, oba n’omusingi omulungi kw’otandikira. Kikulu okutegeeza abaana bo endowooza gy’olina ku kwegatta. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti okkiriza nti kikyamu omuntu okwegatta nga tannayingira bufumbo, ekyo kitegeeze abaana bo era obabuulire n’ensonga lwaki kikyamu era lwaki kya kabi. Ekitabo ekiyitibwa Beyond the Big Talk kigamba nti: “Abavubuka abakimanyi nti bazadde baabwe bakitwala nti kikyamu omuntu okwegatta nga tannayingira bufumbo, emirundi mingi beewala okwegatta nga tebannayingira bufumbo.”

Teekawo ekyokulabirako ekirungi. Kolera ku ebyo by’oyigiriza abaana bo. Ng’ekyokulabirako, osanyukira okusaaga okw’obuwemu? Oyambala enkunamyo? Ozannyirira n’abantu b’otofaanaganya nabo kikula? Okukola ebintu ng’ebyo kiyinza okuleetera abaana bo obutatwala by’obayigiriza ng’ebikulu.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Abaruumi 2:21.

Ba n’endowooza ennuŋŋamu. Okwegatta kirabo okuva eri Katonda era singa kikozesebwa mu ngeri entuufu, kwe kugamba, oluvannyuma lw’omuntu okuyingira obufumbo, kireeta essanyu. (Engero 5:18, 19) Tegeeza omwana wo nti ekiseera ekituufu bwe kirituuka n’ayingira obufumbo, ajja kusobola okwegatta awatali kweraliikirira kufuna bizibu abo abeegatta nga tebannayingira bufumbo bye bafuna.​—1 Timoseewo 1:18, 19.

EBYAWANDIIKIBWA EBIKULU

  • “Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”​—Engero 22:6.

  • ‘Onoonyiikiranga okuyigiriza abaana bo amateeka ga Katonda.’​—Ekyamateeka 6:6, 7.

  • “Kale ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka?”​—Abaruumi 2:21.

OBUVUNAANYIZIBWA BW’OMUZADDE

Abaana baagala nnyo okukoppa bazadde baabwe bye bakola okusinga ebyo bannaabwe bye bakola. “Abaana batera okukoppa enneeyisa y’abantu abakulu be babeera nabo. We batuukira okusalawo okukoppa abantu abalala, baba bakirabye nti bazadde baabwe tebalina budde kubayamba oba kubaluŋŋamya. . . . Eyo ye nsonga lwaki abaana abakula nga bazadde baabwe babawa amagezi amalungi ku nsonga ezitali zimu, gamba ng’ekwata ku by’okwegatta, batera okusalawo mu ngeri ey’amagezi era batera okwewala okugwa mu mitawaana.”​—Talk to Me First.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza