LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 1 Abassessalonika 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Pawulo alindirira amawulire ng’ali mu Asene (1-5)

      • Timoseewo aleeta amawulire agazzaamu amaanyi (6-10)

      • Pawulo asabira Abassessalonika (11-13)

1 Abassessalonika 3:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 17:15

1 Abassessalonika 3:2

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “oyo akolera awamu ne Katonda.”

  • *

    Oba, “abazzeemu amaanyi.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 16:1, 2; Bar 16:21; 1Ko 16:10

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2009, lup. 14

1 Abassessalonika 3:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 14:22; 1Ko 4:9; 1Pe 2:21

1 Abassessalonika 3:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 2:14

1 Abassessalonika 3:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 3:2
  • +Mat 4:3; 2Ko 11:3

1 Abassessalonika 3:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 18:5

1 Abassessalonika 3:7

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “n’obwetaavu.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Se 1:4

1 Abassessalonika 3:8

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “tuba balamu.”

1 Abassessalonika 3:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Se 1:3

1 Abassessalonika 3:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 4:9; 2Se 1:3

1 Abassessalonika 3:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 1:8
  • +1Se 2:19; 5:23; 2Se 2:1, 2

Ebirala

1 Bas. 3:1Bik 17:15
1 Bas. 3:2Bik 16:1, 2; Bar 16:21; 1Ko 16:10
1 Bas. 3:3Bik 14:22; 1Ko 4:9; 1Pe 2:21
1 Bas. 3:41Se 2:14
1 Bas. 3:51Se 3:2
1 Bas. 3:5Mat 4:3; 2Ko 11:3
1 Bas. 3:6Bik 18:5
1 Bas. 3:72Se 1:4
1 Bas. 3:102Se 1:3
1 Bas. 3:121Se 4:9; 2Se 1:3
1 Bas. 3:131Ko 1:8
1 Bas. 3:131Se 2:19; 5:23; 2Se 2:1, 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Abassessalonika 3:1-13

1 Abassessalonika

3 N’olwekyo, bwe twali nga tetukyasobola kukigumiikiriza twasalawo okusigala ffekka mu Asene;+ 2 era twatuma Timoseewo+ muganda waffe era omuweereza wa Katonda* alangirira amawulire amalungi agakwata ku Kristo, abanyweze* era ababudeebude, okukkiriza kwammwe kusobole okweyongera okunywera, 3 waleme kubaawo n’omu ayuuzibwayuuzibwa olw’okubonaabona kuno. Kubanga mukimanyi nti ebintu bino birina okututuukako.+ 4 Mu butuufu, bwe twali nammwe twababuulirirawo nti tulina okubonaabona, era ekyo kyennyini kye kibaddewo, nga bwe mukimanyi.+ 5 Eyo ye nsonga lwaki bwe nnali sikyasobola kukigumiikiriza, nnamutuma nsobole okumanya ebikwata ku bwesigwa bwammwe,+ si kulwa nga mu ngeri emu oba endala Omukemi+ yabakema, okufuba kwaffe ne kuba kwa bwereere.

6 Naye Timoseewo yaakakomawo gye tuli ng’ava eyo+ era atubuulidde amawulire amalungi agakwata ku bwesigwa bwammwe n’okwagala kwammwe, era nti bulijjo mutujjukira era nti mwagala nnyo okutulaba nga naffe bwe twagala okubalaba. 7 Ab’oluganda, wadde nga twolekagana n’ebizibu* era nga tubonaabona, tubudaabudiddwa olw’obwesigwa bwe mulaga.+ 8 Kubanga tuddamu amaanyi* bwe munywerera ku Mukama waffe. 9 Katonda tunaamuwa ki okumwebaza olw’essanyu lye tulina mu maaso ge ku lwammwe? 10 Ekiro n’emisana tumwegayirira nnyo tusobole okuddamu okubalaba n’okujjuuliriza ekyo ekibula ku kukkiriza kwammwe.+

11 Kaakano Katonda waffe era Kitaffe ne Mukama waffe Yesu ka batuteerewo ekkubo tusobole okujja gye muli. 12 Ate era, Mukama waffe abasobozese okwongera ku kwagala buli omu kw’alina eri munne+ era n’eri abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, era okwagala okwo kubeere kungi nnyo, 13 alyoke anyweze emitima gyammwe, abafuule abataliiko kya kunenyezebwa era abatukuvu mu maaso ga Katonda waffe+ era Kitaffe mu kiseera ky’okubeerawo kwa Mukama waffe Yesu+ ng’ali n’abatukuvu be bonna.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza