Isaaya
3 Laba! Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye,
Aggya mu Yerusaalemi ne mu Yuda ebintu byonna bye beetaaga,
Emmere n’amazzi,+
2 Omusajja ow’amaanyi n’omulwanyi,
Omulamuzi ne nnabbi,+ omulaguzi n’omukadde,
3 Omwami akulira 50,+ ow’ekitiibwa, n’omuwi w’amagezi,
Omufumu omukugu n’omulogo omukugu.+
4 Abalenzi abato be ndifuula abaami baabwe,
Era omuntu akyukakyuka alibafuga.
5 Abantu baliyisa bubi bannaabwe,
Buli muntu aliyisa bubi munne.+
Omulenzi alituusa akabi ku mukadde,
Omuntu owa wansi alijeemera ow’ekitiibwa.+
6 Buli muntu alikwata ku muganda we mu nnyumba ya kitaawe n’amugamba nti:
“Ggwe olina ekyambalo eky’okungulu—tufuge.
Labirira entuumu ya bino ebyayonoonebwa.”
7 Naye ku lunaku olwo aligaana n’agamba nti:
“Sijja kunyiga biwundu byammwe;
Sirina mmere na bya kwambala mu nnyumba yange.
Temunnonda kufuga bantu.”
8 Yerusaalemi yeesittadde,
Ne Yuda agudde,
Kubanga bawakanya Yakuwa mu bigambo ne mu bikolwa;
Boolekera ddala obujeemu bwabwe mu maaso g’oyo ow’ekitiibwa.*+
Zibasanze kubanga beereetako akabi!
11 Zisanze omubi!
Akabi kalimutuukako,
Kubanga ebintu emikono gye bye gikoze naye birimukolwako!
12 Abantu bange banyigirizibwa ababakozesa emirimu,
Abakazi be babafuga.
Abantu bange, abakulembeze bammwe babawabya,
Babalemesa okukwata ekkubo ettuufu.+
13 Yakuwa ayimuka okuvunaana abantu;
Ayimirira okusalira amawanga omusango.
14 Yakuwa alisalira abakadde n’abaami b’abantu be omusango.
“Mwokezza ennimiro y’emizabbibu,
Era bye mwabba ku baavu biri mu mayumba gammwe.+
15 Muyinza mutya okubetenta abantu bange,
N’okubonyaabonya ennyo abaavu?”+ Bw’atyo Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
16 Yakuwa agamba nti: “Olw’okuba bawala ba Sayuuni ba malala,
Nga batambula balalambazza ensingo,
Nga batunuza bukaba, nga badigida,
Nga bakubaganya obukomo obuli ku magulu gaabwe,
17 Yakuwa alireeta ebikakampa ku mitwe gy’abawala ba Sayuuni,
Era Yakuwa alibikkula ebyenyi byabwe.+
18 Ku lunaku olwo Yakuwa alibaggyako eby’okwewunda byonna: obukomo,
Ebiremba n’obujolobero obulinga omwezi ogwakaboneka,+
19 Eby’oku matu, obunyere, n’ebitambaala bye beebikkirira ku mitwe,
20 Ebitambaala bye basiba ku mitwe, obujegere bw’oku magulu, n’emisipi egy’omu kifuba,
Obucupa obulimu eby’akaloosa, n’embira,
21 Empeta ez’oku ngalo n’ez’oku nnyindo,
22 Amaganduula, ebizibaawo, ebyambalo eby’okungulu, n’obusawo,
23 Obulabirwamu+ n’engoye eza kitaani,*
Ebiremba n’ebitambaala bye beebikkirira ku mitwe.
24 Mu kifo ky’akawoowo k’amafuta ga basamu+ walibaawo kivundu;
Mu kifo ky’omusipi baliba na muguwa;
Mu kifo ky’enviiri ensunsule obulungi baliba na biwalaata;+
Mu kifo ky’engoye ennungi baliba na bibukutu;+
Mu kifo ky’endabika ennungi baliba na njokyo.*
25 Abasajja bo balittibwa na kitala,
Abasajja bo ab’amaanyi balifiira mu lutalo.+